---
type: BookChapter
work_id: '150'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1759
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1759.md
language: lg
position: 3
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5028
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5028.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:08:10Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5028.md
---

# Ebbaluwa 2006 Omwezi gw'okussatu/n'ogw'okuna

## Okwelaba mundabirwamu

Ebbaluwa ey'omwezi gw'ekumi nebiri 2005 kyali kitegeza okudingana kwe ddobozi okutabangawo. Ab'oluganda ne banyinyaze abali mu nsi yonna kaakano bategedde bino ebiddako kye bitegeza ddala, **"Mutegeere nti Mukama akulembera abatuukirivu be mu n'geri esinga obulungi."**Bangi ku bo bakisoma omulundi gwabwe ogusooka e'ngeri Mukama omw'esigwa bwe yadingana ng'awa ebilagiro ne ddoboozi ery'omwanguka, eddoboozi lyonna eriyingira nga lifumitira ddala. Kyo mazima agategeerekeka okuyita mu buweereza kw'obutume n'obunnabbi obw'oluganda Branham twayannjulwa eri ekigambo eky'asuubizibwa eky'ebiro bino. Bw'etutyo twaweebwa ekirabo okuba mu kitundu eky'omugaso mu ntegeeka y'obulokozi. Lwaki omununuzi talabirira abanunulwa? Ye takya tambulira wakati we Ttabaaza omusanvu? Abalonde tebakyali ku nsi eno? Tebaali kuwulira mwoyo kya gamba eri amakkanisa? Kiki ekirala Mukama kyalina ku nsi eno g'ogyeko ekkanisa ye zzadde ery'asooka (Abaebbulaniya 12:22-24), ku ebyo yawayo omusaayi gwe n'obulamu (1 Peetero 1:13-22)? awasa omugole kaakano ayita omugole we mu nsi yonna era ajja ku mutwala mangu ewaka. E'nzikkiriza zonna n'obuwangwa tebuli kutwala amakubo gaabwe bennyini, ebyo ebigenda ddala okubakulembera mu kuzikkirira? Ensi yonna teyesiogamye ku mubi, nga omutume Yokaana bwe yawandika(1 Yokaana 5:19)? Ekyo ekya yogerwa tekikwata ku Mukama waffe Yesu Kristo akya kola ne leero, **"Oyo lye jjinja eryanyomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda…"** mu ekyo ekkanisa ekya gobeerera ekyo era kikya buulirwa mu kulaga Yesu Kristo, **"So tewali mulala mulokozi kubanga tewali n'alinnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola …"** (Ebikolwa by'abatume 4:11-12)?

Okuyita mu mirembe gyonna abaddu ba Katonda bawulira eddoboozi lya Mukama, bafuna okubikkulirwa n'okulagirirwa era ne babuulira ekigambo ekituufu. Mukama yayogeera ne Ezeekyeri emirundi kyenda. Era nsobola okulaga ekifo kyennyini ekitufu ne ngamba, nga Pawulo, bwe yakola **"Awo olwatuuka…"** (Ebikolwa by'abatume 22:6). Era, nga Pawulo, sobola okujulira nti n'awulira eddoboozi ly'oyo omuyinza we bintu byonna mu lulimi lwa Mange (Ebikolwa by'abatume 26:14). nga bwe kisaanidde okutekebwako esira. Naye, ntegeera lwaki abantu bangi bazibuwalira okukkiriza ekyo, kubanga waliwo bingi ebya gunjizibwawo n'abantu era nga balina embozi nyingi ezisikiriza ezigenda mu maaso. Biseera ki, eky'okulabirako, Omubuulizi agamba, "Nzikkiriza Mukama ayogede gy'endi …" nera wade nga kya sazewo ku bigambo kilaga nti ddala kibagwanira bya kusuubira mu birowoozo, okubibikula nti mazima tekyaaliwo.

Nga bwe kiri ne bintu ebilala, wade nga tutuuse ku nsonga ye somo lino waliwo ebimu bitegeza birungi, naye ebilala bikyamya, tukoperera ne tulimbibwa. Mwanyinaze yajja gy'endi oluvannyuma lw'okuwulira nti Mukama ya yogera nange ne ddoboozi ery'omwaguka n'agamba, "Ow'oluganda Frank, nkyikkiriza, kubanga Mukama naye ya yogera nage ne ddoboozi lya waggulu." Ne mu buuza, "Eddoboozi lyava waggulu? Lyali ddoboozi lya musajja?" "N'edda," n'addamu, "nti eddoboozi lyali linva maaso." bwe na mu buuza okubulira mu butuufu bw'akyo nga we byali, n'agamba, n'awa obunnabbi ne ddoboozi eddene. Nti lyali ddoboozi lya Mukama! "Omuntu yenna bw'awa obunnabbi kiba bw'atyo bw'ayogera Mukama." nali n'okukinyonyola mwanyinaze oyo nti obunnabbi bw'ogera n'eddoboozi ly'omuntu kin'omu, ku ekyo ffe kitwetagisa okumanya okusikirizibwe gye kuva. Ekyo tekirina we kifaanana ne ddoboozi ery'omwanguka erya Mukama.

Waliw okukyamizibwa mu ebyo ebitekebwawo eby'omwoyo ebitasobola kufuusibwa okuba ebituufu. Ekyokulabirako eky'ennaku: mu mwezi ogusooka 2006 ow'oluganda yajja gy'endi oluvannyuma ng'asomye ebbaluwa na ggamba, "emyaka ekumi egiyise olwa jjo mu mwezi ogusooka 1996, eddoboozi lya Katonda lyali lilina okw'ogera ebigambo ebigoberera nga by'ogerera waggulu era nga bilambulukufu, 'kubanga tewayawukana ku ye, kale, manyi n'akwawula ku ye era ojja kubaawo."' ne kigambo ekyo omukyala yayita muwala we ayawukane mu mateeka ku musajja we, nti asobole okuwonyezebwa obulwadde bwe obwa kokoolo. Lunaku ki Katonda lwe yayagala ekintu bw'ekityo kulwo kuwonyezebwa? Ebyawandiikibwa biyigiriza nti kulw'okukubibwa kwe twawonyezebwa (Isaaya 53; a.o.)

Ekikolwa ky'okugoba kikolebwa era kyatekebwawo n'abanamateeka, naye omusajja teyakkiriza kugoba era yagaana okulabika mu kkoti mu gw'ekumi n'omu 1997, era omukazi yafa mu gw'ekumi nebiri nga tebatabaganye. Okuva kw'olwo bino ebigobeerera bye bamunenya: Omusajja we avunanyizibwa ku kufa kwe, kubanga yagaana okugobebwa bw'atyo "eddoboozi" lyali ry'etaga bw'ekito, okugoba murimu gwa Setaani ogw'okusanyizibwa era kuleta ennaku eyamaanyi eri amaka gonna. Ekyo kisobola kitya okuleta okuwonyezebwa kwonna? Okusinzira ku Malaki 2:16 kikolwa kya kyejo – ekyo kaakano kyabikibwako n'ekyambalo ky'enzikkiriza! Ne mu Ndagaano Katonda kyokka kye yakkiriza omusajja okuwa mukazi okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana nga wabaddewo ensonga, naye teyakkiriza omukazi okuleta ebbaluwa egoba eri musajja we. Kyatwalibwa mu butuufu nti abo bonna abawa ekitiibwa obuweereza bw'oluganda Branham mu bwegendereza basoma ekyamubikkulirwa ne Katonda ku somo ly'o >>okuwasa<< era n'okubukola mu buntu nga ebyawandiikibwa bwe bigamba. 

Setaani, asendasenda yakyusa omutwe gwa kaawa mu lusuku Eden n'awo yasobola okumusimba ensigo y'okubuusabuusa ku Kigambo Kya Katonda. Waliwo obunnabbi bw'obulimba n'okwolesebwa kw'obulimba, nga buli kintu bakiyoyota okusobola okugenderawo mu beera (Yeremiya 23; Ezeekyeri 13; a.o.). abantu abagwa mu kusikirizibwa kuno okw'obulimba basobola okubeera ddala bafu era nga bamalirivu nga bategeza nti kirungi mu makubo gaabwe bennyini, naye nga omulundi gumu bakungula ebyo kagala kwabwe bennyini – beteka bennyini mu kusikirizibwa eri oyo olumu eyali kumpi ennyo ne Katonda. Basseraafi ebafukibwako amafuta, omwana w'enkya yeyogerako, "Ndigulumiza entebe yanga … Ndi … Ndi …" (Isaaya 14:12-14). Mwennyini okwegulumiza, okweyagaliza okufuga, okutekawo entebe ye mwennyini, Okwegomba okw'enkanakana ne Katonda kyavako okugwa kwe. Okugwa muggulu kwavamu okugwa mu kibi eky'asooka ku nsi. Setaani, eyali olumu nga museeraafi eyafukibwako amafuta, yakyamya kaawa nga akozesa ebisikiriza eby'omulyolyomi, nga muwa ebiganbo ebiwomerevu ku ebyo Katonga bye ya yogera. Ya mu sendaseda okuwayo eri okwagala kwe kwennyini. Eri abkkiriza si kulimbibwa kunene okusinga okukyusakyusa ekigambo okusinzira ku kusanyizibwawo kw'omuntu mwennyini. 

Ekkanisa entuufu esigala nga ye dwaniro okulwana kwe by'omwoyo okw'eyongerera ddala. Ekintu ekituufu kyennyini era n'eky'obulimbibwa biriraganye byombi. Nti okusingira ddala ki tujukiza ku kyabaawo wano mu 1979. Omusango gumu omulala ogw'aliwo tu sobola oku kyogeerako. Mu kusaaba emabegako, mwanyinafe omu nn'obunnabbi yayita mwanyinafe ne rinnya mu maaso asabirwe okusobola okufuna okusiburwakwe. Mu kifo ky'omwanyinafe eyayitibwa musajja we yajja mu maaso nalangirira nti mukazi we yali tasobola kukikola kubanga yali bweru wa kibuga. Kino te kyali kiseera kituufu eky'obunnabbi okujja mu maaso okusaabirwa, asobole okusimulurwa okuva ku mwoyo ogw'ali gw'amukyamya.

Abantu abakungula emyoyo zaabwe bennyini era nabo abakkiriza bennyini okukyamizibwa nabo – ogwo, ekyennaku, kibaawo ebiseera byonna – ba kisanga ddala nga kizibu okukkiriza amazima. Okuva bw'ebatyo bwe bakola ne bafuna obumanyirivu okufukibwako amafuta okutuufu era ne bafuna ebirabo by'omwoyo, amalala gaabwe te ga bakkiriza okw'enenya omusango gwabwe. Bayita abalala bonna mu kw'enenya, naye bo bennyini tebewa kirowoozo kya kwekebera, kubanga balowooza nti tebalina nsobi mu bwakabaka bw'omwoyo. Naye, ebyawandiikibwa mu bulambulukufu biyigiriza**"Okukakasa ebintu byonna!"** Wadde ne bannabbi bandibadde basalirwa omusango ne kungganiro (1 Abakkolinso 14:29). eky'ennaku abantu abo tebewayo eri okugezesebwa okwo eri ekunganiro, naye baleka ekkanisa kubanga – okuva ku nsonga zaabwe ez'akyamizibwa – waliwo ekintu ekikyamu n'ayo. Mu bugonvu baleka ekunganiro era mu lwatu taweebwa magezi mu ekyo agamaze okuleta akatabanguko mubo. Kitwalibwa mu bwangu nti buli kiva mu mulabe kileta e'ngeri enyangu okuwuliziganya n'obulabe obubaawo mu biseera by'obulamu, okujjako nga Katonda abiyingiddemu olw'ekisa kye. Mu bulamu bwa banunulwa abatuufu tusanga nga kyalagibwa nti Yesu Kristo teyawangula obulabe bwokka ku musalaba naye ne mubo. Olw'ekisa yaba fuusa okuba abaleta emirembe (Abaefeso 2:1-22).

Ekitundu ky'okussatu kiri nti abantu bagwa wansi we bikolwa bya Setaani mu misango gyombi: kulw'obunnabbi bw'obulimba oba enjigiriza y'obulimba, byombi bisikkiriza. Obulimba busiba, amazima gokka ge gakufuula mulekule. Abantu abo tebasobola kulekulwa okujjako nga bakkiriza ensobi zaabwe ne basaaba okulekulwa n'okusaaba mu linnya lya Yesu Kristo, okusinzira ku Kigambo,**"Era byonna bye muli sumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu…"** (Matayo 18). Makama waffe naye yayogera ku ba kristo b'obulimba – abafukibwako amafuta ab'obulimba asobola okulimba omuntu yenna, n'okusuubira kw'omulonde. Mukama waffe atuwa kuno okulabula okwetagisa ku lwe biro bino, **"Nti mulabe omuntu yenna tabakyamyanga."** (Matayo 24:4). Nti, ennyo, birikubaawo nga tubilaba n'amaaso gaffe. Okufukibwako amafuta n'ebirabo by'omwoyo ogwa bantu abalala abakola ebisikkiriza bitwala abantu kulwe bigambo byabwe ebiwomera abangi bi balimba. Awatali okufukibwako amafuta kyandibadde nga tekisoboka okw'ogera ku buno obulimba bwe e'nzikkiriza mu bakkiriza. Oluvannyuma lw'okuwulirisa kulusitalo mu bulambulukufu okukola kw'omwoyo Omutukuvu.


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5027.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1759.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5029.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5028.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5028)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5028.md)
