---
type: BookChapter
work_id: '150'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1759
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1759.md
language: lg
position: 5
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5030
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5030.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:08:11Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5030.md
---

# Ebbaluwa 2006 Omwezi gw'okussatu/n'ogw'okuna

## Okumaliriza

Wulira kino, amawanga gonna: emu era yokka ey'amazima, Katonda omulamu gyatebikulira mwennyini mu nzikkiriza nyinji ku nsi. Ye kyokka yebikulira ddala nga Kitaffe mu ggulu mu mwana we yekka omu ey'azaalibwa, Mukama Yesu Kristo, era bw'atyo n'afuuka omulokozi waffe. Katonda yali mu Kristo era natabagana ne nsi. Yesu Kristo kwe kutabagana n'abantu, mu ye mwokka mmwe tulina okusonyiwibwa kwe bibi byaffe. Yekka ye yawangula okuffa nemagombe nawa obulamu obutaggwaawo eri abao aba mu kkiriza. N'olw'ekyo obujulizi bwe byawandiikibwa ebitukuvu bye bino, **"Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana talilaba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku Ye."**(Yokaana 3:36).

Omuntu alina okugambibwa amazima gonna mu kittibwa kino. N'olw'ekyo enjiri eyemirembe n'emirembe ey'obwakaba bwa Katonda erina okulangirirwa eri amawanga gonna okuba omujulirwa (Matayo 24:14).

Abaweebwa omukisa be bo abekwekera mu kuyita kwa Katonda era ne bakyukira emirimu gyonna egy'enzikkiriza egyitalimu nsa, nga beyawula okuva mu buwangwa bwonna obwasikirwa n'okugonda era ne bakomawo ku mazima, n'okukkiriza okulamu okuyigirizibwa ne byawandiikibwa. Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama:**"Mutunuulire Nze, mulokoke, mmwe enkomerero zonna ez'ensi: kubanga Nze Katonda so tewali mulala."** (Isaaya 45:22). Nate Mukama n'agamba, **"… leero bwe munawuliranga eddoboozi lye temukakanyazanga mitima gyammwe …"**(Abaebbulaniya 3:7-8).


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5029.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1759.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5031.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5030.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5030)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5030.md)
