---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 19
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:39Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/1846.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Olw'okukakasibwa

Baibuli, endagaano enkadde, yali edda yawandiikibwa mu lulimi olu ebbulaniya. Olubebulayi lwe lwali olulimi lwokka olwasooka ku nsi 1,750 emyaka okutuusa mu kuzimba omunala gwa baberi (Olubereberye 11:6-7). mu lubereberye 14:13 Ibulayima yali ayitiibwa a "omuebbulaniya," Mu kuva 7:16 Musa ya ggamba eri Falaawo, "N'omugamba nti **Mukama, Katonda wa Baebbulaniya,** antumye gy'oli ng'ayogera nti leka abantu bange, bampeereze muddungu…" Mukama Yesu naye yayogera oluebbulaniya oluvannyuma lw'okugenda kwe mu ggulu – buno bwaali bujullizi bwa Pawulo: *"Netugwa fenna wansi n'empulira eddoboozi nga ly'ogera nange mu lulimi oluebbulaniya…"* (Ebikolwa by'atume 26:14). Mu lulimi oluebbulaniya, abantu n'amanya nga bwe bisangibwa okusingira ddala gabeera ne kyegategeza nti waliwo ekibuzibwa mu ku kyusa mu nnimi enddala.

Endagaano enkadde ekomenkereza ne Nnabbi Malaki, eyabeerawo ddala okutuuka emyaka 400 nga Kristo tanajja. Okutuusa kw'olwo, waaliwo ebitabo bitano ebya Musa, bannabbi, era ne Zabbuli mu n'geri y'emizingo, tekyali okutuusa mu biseera bya 300 ku 200 emyaka nga Kristo tanajja nti endagaano enkadde ne bitabo byayo 39 byagattibwa wamu mu butuufu, naye, emizingo kinomu nagyo gya sigala. Wakati wa 1947 era ne 1956, enkandde omuzingo ogwawandiikibwa n'omukono za sangibwa mu qumrani ku nnyanja eyafa. Ku zo zaali 7.3 obukadde mu buwanvu, wonna tegwayononebwa omuzingo gw'ekitabo kya Isaaya, Zabbuli n'ekitabo kya Danyeri. Bisobola okulagibwa mu "lye tabi eriterekerwamu eby'edda" ku terekero ly'ebyedda mu isiraeri. Mu Lukka 24:44-45 Yesu, Mukama waffe era omulokozi, ya kitetekako esira okugabizibwa mu mateeka ga Musa, Zabbuli, era ne bannabbi: **"…bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli: N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa."** Mu kkuggaaniro mu nazaaleesi, nate asoma mu muzingo gw'annabbi Isaaya (61:1) era n'agamba, **"N'atanula okubagamba nti leero ebyawandiikibwa bino bituukiridde mu matu gammwe.”**(Lukka 4:16-21). Mu mazima obunnabbi obusuuka kikumi obw'endagaano enkadde ebyo ebiri ekitundu ku ntegeka y'obulokozi bwa tukirizibwa mu biro ebyo. 

Endagaano enkadde ey'oluebbulaniya yasooka okukyusibwa mu lulimi olwaliwo olw'ensi oluyonani mu biseera by'emyaka 250 Nga Yesu tanajja. N'abasomi abayudaaya mu Alexandria, Egypt. Abasomi abaebbulaniya ab'ebitabo ebitano ebisooka kw'ebyo ebitabo 24 ebye Baibuli y'oluebbulaniya mu Isiraeri, naye, tebategera okukyusa kuno, okwa lagibwa nga "Endagaano enkadde ey'oluyonani" wadde mu kukyuusa okw'edda, waliwo eby'omuwendo n'ebyomusa ebirabirwako, ekyava mu biwandiiko by'oluebbulaniya awatali ku kalubisibwa. Ebyo mu biseera ebisinga ebutategerebwa n'abasomi. Kulw'ensonga eyo, ekitegeza kyennyini ekituufu, nga bwe kiri okuva mu biwandiiko by'oluebbulaniya, bina tekebwa mu kulagibwa kuno buli bwe kyetagisibwa. Naye n'abo abogera ennimi enyingi bali n'okwesigama ku kulungamisibwa era n'okubikkulirwa n'omwoyo wa Katonda. Tukkiriza mu kusikkirizibwa okwenkomeredde okw'ebyawandiikibwa ebitukuvu, ekyo eky'amazima n'okussa ekimu wakati w'endagaano enkadde n'empya.

Endagaano empya n'ebitabo byayo 27 byatandika mu biseera mu byassa ebyasooka eby'obukristayo nga "eteeka erifuga ekintu" – endagiriro. Lukka yayogera mu kwannjula enjiri ye ebyaaliwo kusooka: **"Bwe baali abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukirizibwa mu ffe…"** ebya "Bangi" bana abasigala, Okusingira ddala Matayo, Makko, Lukka, era ne Yokaana, ebwandiko byabwe byayingizibwa mu mateeka ga Baibuli nga "enjiri." Ba londebwa okubaawo mu mirembe egiggya mu kubalibwa kw'ebyo ebyaliwo mu bulamu n'emirimu gya Yesu Kristo ng'ekitundu ku ntegeka y'obulokozi. Buli njiri erina kyetegeza. Birimu ebintu by'enjawulo, Kilaga byonna ku kifaananyi kya Mukama waffe era Omulokozi, okutandiikira ddala n'okuzaalibwakwe okutuusa ku kutwalibwa kwe mu ggulu.

**Matayo**, eky'okulabirako, mu bwangu ekulaga ekikakasa nti n'okuzaalibwa kwa Kristo obunnabbi okuva mu Isaaya 7:14 bwa tukirizibwa: "**Laba, omuwala atamanyi musaja aliba olubuto, era alizaala omwana wabulenzi, balimutuuma erinnya lye Emmanweri…”**(1:18-25) Mu sula yo 2:1-6 awandiika ku kuzaalibwa mu besirekemu era nateka esira ku kutukirizibwa kw'ekisuubizo okuva mu Mikka 5: *"Naye ggwe Besirekemu … mu ggwe mmwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri."*

**Makko**atandika n'obunnabbi obubiri obw'endagaano enkadde mu kulaga obuweereza bwa Yokaana omubatiza, eky'okulabirako Isaaya 40:3: *"Eddoboozi ery'ayogerera wa ggulu nti mulongoose mu lukoola ekubo lya Mukama…"* era ne Malaki 3:1: *"Laba ntuma omubaka wange…"*

Lukka awandiika buterevu mu sula esooka eya Zekkaliya olw'okukyala kwa Malayika Gabulyeri mu Yeekaalu, eyayogera eri ye okuzaalibwa kwa Yokaana, era n'okukyalirwa kwa Malyamu ne Malayika Gabulyeri, eyalangirira eri malyamu okuzaala oyo Omununuzi: **"Awo Malayika n'amugamba nti, totya Malyamu: kubanga olabye ekisa eri Katonda. Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana w'obulenzi olimutuuma erinnya Yesu (Yahshua)."**

**Yokaana** agendera ddala emabega mu lubereberye najulira: **"Kulubereberye waaliwo Kigambo…"(Yokaana 1:1) "Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli…"** (v.14).

Nga tusoma mu njiri enya zonna kikola eky'omugaso kimu ekimaliriziddwa ekilaga emirimu n'obulamu, obuweereza, okubonerera n'okufa, era n'okuzuukira n'okutwalibwa mu ggulu kw'omununuzi waffe nga ensoga eyalindirirwa okumala akabanga kawanvu ak'entegeka y'obulokozi, nga bwe yali yalangirirwa mu ndagaano enkadde.

Enjiri ya gobererwa ne "Ebitabo by'ebikolwa" ebye kkanisa ey'edda, awo n'ejja ebbaluwa y'abatume, era ekyasembayo "Ekitabo ky'okubikkulirwa ekya Yesu Kristo," ekya weebwa eri omutume Yokaana ku kazinga kabayonani eke patamo.

Mu kusooka enjiri era ne ebbaluwa z'abatunme zaali zisomebwa era n'okubiyitamu mu ma kungganiro ag'okukyalo: "Ebbaluwa eno wemalanga okusomerwa mu mmwe, era mugisomese n'emukkanisa eyabalawodikiya; era nammwe musome eriva mu lawodikiya." (Abakkolosaayi 4;16). okulangirirwa kwa twalibwa eri ensi yonna nga Mukama bwe yakiragira mu kutuuma kwe okunene.

Ng'ebyaliwo edda n'okugunjibwa kwe bifulumya ebiwandikiddwa mu kyassa kye 15, ebitabo bya tekebwa mu buwandike n'emikono emirundi n'emrundi nate.

N'okukyusa mu nnimi enddala ne wajja okwawula mu sula era n'enyiriri. Kiri n'okutekebwako esira nate nti si kugeregeranya okwe bya kyusibwa bingi – nga bwe ba biwanika – ebituletera okubimanya, Naye omwoyo gwa Katonda gwokka ggwe gunonyereza ebintu by'obuziba ebya Katonda (1 Abakkolinso 2:10) era nga gutukulembeera mu mazima gonna (Yokaana 16:13). Ebbaluwa, Ekigambo ekyawandiikibwa kye kiri n'okuba ekyawandiikibwa, ekigambo ekilamu mu ffe. Ekigambo kya Katonda kisigalawo emirembe gyonna (1 Peetero 1:25; Isaaya 40:8).


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5035.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/1846.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036.md)
