---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 20
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:40Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/1847.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Buli akkiriza mu mazima Akkiriza Ekigambo kya Katonda ekyakakasibwa

Tubuuza era Katonda atuddamu okuyita mu Kigambo kye: Katonda anayogera ki gye tuli okuyita mu ndagaano enkadde? Katonda yatuwaki okuyita mu ndagaano empya? Okukkiriza okw'amazima kwe kuliwa era okukkiriza kw'obulimba kwe kuliwa? Bwe buKristayo obwa gunjibwawo, ge makkanisa amangi Ekkanisa ya Yesu Kristo?

Buli muntu yenna eyategeera esomo lino amanyi nti ebisuubizo bya weebwa mu ndagaano enkadde ebyatukirizibwa mu banga lye'ndagaano empya mu biro by'ekisa. Nakyo kimanyiddwa nti ebyawandiikibwa ebitukuvu bi vunuddwa mu makubo age'njawulo mu bukristayo. Kino kitandikira ddala n'akanyirir akasooka aka Baibuli n'ekakomenkereza n'akasembayo.

Wano kyakulagibwa nti Katonda ali mu Kigambo kye kyokka, Okuyita mw'ekyo ayogera naffe, era n'engeri omulabe nga awakanya Katonda yeyingizamu okuyita mu kuvunuula n'abuza abantu mu ng'eri y'enzikkiriza. Omulabe ye yasooka okukyamya Ekigambo kya Katonda bwe ya yimirira mu maaso ga Kawa n'okuwakana, "Bw'atyo bwe yayogera Katonda…" nga bwe kyawandiikibwa mu lubereberye 3. Ya siga ensigo ey'okubuusabuusa era ekyo kyaleta okugwa, okweyawula ku Katonda. N'okutuusa kaakano akya wakanya Katonda kya ggambye n'atekawo okuvunuula kwe. Agezako okulaga okusikirizakwe buli wasobola – newakubadde ku ntebe z'abano abasoma eby'eddinni – era nalisa bano abaali n'ebirowozo bya magezi amangi abagala okulya omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi newakubadde okuyita mw'ekyo kibakulembera mu kufa mu mwoyo. 


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5036.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/1847.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037.md)
