---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 21
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:40Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/1848.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Katonda/Elohim – Mukama/Yakuwa Ebigeregeranyisibwa Eby'omugaso

Endagaano enkadde ey'oluyonani ekyusa ekigambo ky'oluebbulaniya "Elohim," ekyawandiikibwa emirundi 3,526 mu Baibuli okutandikira mu lubereberye 1, akanyiriri 1, era kyalagibwa mu yaffe nga "Katonda," mu "Theos"; era ne Kigambo "Yakuwa"/YHWH, Eki kikirirwa mu Baibuli zaffe emirundi 4,024 okuva mu lubereberye 2:4 nga "Mukama," mu "Kyrios." Ekigambo ekigatte "Elohim-Yakuwa"/"Mukama," kisangibwa mu Baibuli emirundi 6,356.

Kyaali era nga kilambulukufu eri buli muebbulaniya nti "Elohim" kitegeza Omu era yekka Katonda, omutonzi we ggulu n'ensi. Oluvannyuma lwa byonna, Ye yannjula dda mwennyini mu ndagaano enkadde nga "Omu," era "NZE." YE, Oyo ataggwaawo, tabeerawo nga abantu abangi naye yebikkula mwennyini mu bungi bw'okweraga kwe (Endabika ya Katonda) nga Omutonzi, Omubeezi, Omununuzi, Kabaka, Omulamuzi, nebilala. Gano si mannya bino ebiva mu bantu nga by'efaananyiza Katonda. Katonda tayitibwa mutonzi Ye Mutonzi. Tayitibwa "Kabaka" Ye Kabaka. Erinnya lye si "Mulamuzi"; Ye Mulamuzi. Tayitibwa "Mulokozi"; Ye mulokozi, nebilala. – era Ye bulijo **aba Omu.**

Ebyokulabirako bitono: mu lubereberye 14:19 Yelaga mwennyini nga **"El Elyon"** – nga Katonda ali waggulu ennyo: "N'amusabira omukisa, n'ayogera nti Ibulaamu aweebwe omukisa Katonda ali waggulu ennyo **(El Elyon),** nannyini ggulu n'ensi…"

Mu lubereberye 17:1 Yalabikkira Ibulayimu nga **"El Shaddai "** – nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna: "Nze Katonda omuyinza w'ebintu byonna **(El Shaddai);** tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu."

Mu lubereberye 21:33 ki gamba **"El Olam"** – Katonda ataggwaawo: "Ibulayimu…n'akoowoolera eyo erinnya lya Mukama, Katonda ataggwaawo **(El Olam)."**

Mu Isaaya 9:5-6 tusanga ekisuubizo ekyokuzaalibwa kw'Omwana "…n'erinnya lye liriyitibwa nti wakitalo, ateesa ebigambo, Katonda ow'amannyi, **(El Gibbor),** Kitaffe ataggwaawo, Omukulu w'emirembe."

Ebigambo byonna eby'oluebbulaniya ebitandika ne **El-**oba ekikomenkereza ne -**el**kijulira Katonda mu n'geri Ye, ebigambo byonna ebitandika ne **yah**- oba ekikonmenkereza ne **-yah**kilaga YAKUWA, Mukama. Kina kyakomeredde nga kyamugaso era nga kirimu okuvunuula kwonna ng'ekyokulabirako, "Emmanw-eri" kitegeza "Katonda naffe"; **"Isra-el"** = "Omulwaanyi wa Katonda"; **"Beth-el"** = "Enyumba ya Katonda"; **"Dani-el"** = "Katonda Mulamuzi"; **"Eli-jah" =**"YAKUWA ye Katonda"; "Isa-iah" = "YAKUWA bwo Bulokozi"; **"Hallelu-jah"** = "tendereza YAKUWA"; nebilala.

**Erinnya ly'endagaano** etukuvu "**YAKUWA"** nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ekyasooka eky'oluebbulaniya kya mugaso ogw'enjawulo. Nga we kimaze okugambibwa, "Elohim" kya kyusibwa nga "Theos" era ne "YAKUWA" nga "Kyrios." ekyo te kitambulira wamu nekitegeza kyennyini ekyasooka. Krios ye mufuzi – ono asobola okuba Kabaka oba mufuzi yenna – naye okulaga kuno**tekukyali mu bumu n'okubikkulirwa kw'errinnya lya Katonda**nga bwe tusanga kyayogerwa mu kuva 6, kanyiriri 2 era na 3: **"Katonda (Elohim) n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA: nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo nga Katonda omuyinza w'ebintu byonna, (El Shaddai), naye mulinnya lyange YAKUWA (Elohim-Yakuwa) samanyibwa nabo."**

Erinnya "YHWH," eriyitibwa ekigambo ekye nyukuta enya, **lye linnya etukuvu ery'endagaano eyabikulwa eya "Mukama Katonda"**mu ndagaano enkadde. Endagaano ne Isiraeri yali etuuse era nti kyova Mukama Katonda yabikula eri Nnabbi we Musa era n'abantu be abendagaano erinnya lye ery'endagaano "YHWH" – YAKUWA."

Mu teeka (Okuva 20) Omuyinza w'ebintu byonna ya yogera, **"Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo; (Yakuwa) kubanga mu maaso ga Mukama (YAKUWA) omusango guli musinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye."**Erinnya lino lya lituukuvu nnyo nti Yayagala okukakasa abantu ba Isiraeri ba tegere obutuukuvu bwe. Ng'ekyokulabirako, erinnya lya Mukama Katonda lyali terikirizibwa okwogerwako ng'omufu afulumizibwa mu nyumba (Amosi 6:10): **"N'alyoka ayogera nti sirika; kubanga tetuyinza kwatula elinnya lya Mukama (YAKUWA)." –**kubanga Katonda si Katonda wa bafu, naye wa balamu (Matayo 22:32). Naye ekyawandiikibwa kino okuva mu nnabbi Amosi teyategerebwa era ne vunuurwa mu bukyamu nti erinnya ly'edagaano ey'aMukama Katonda "YAKUWA" terikozesebwa wonna naba Orthodox abayudaaya, newakubadde okutuusa leero, era nga kiri n'amanyi ne "Adonia." ekigambo ky'oluebbulaniya "Adon" kitegeza "Kabaka," "omufuzi," era nga "Ye mufuzi omusukulumu mu bonna." Saala yayita Ibulayimu "Afuga byonna" (0lubereberye 18:12; 1 Peetero 3:6).

**Naye Elohim-YAKUWA/ Mukama Katonda si Kabaka kyokka, Ye "Ataggwaawo," "NZE" "Ninga bwe ndi" (Okuva 3:14; Okuva 34:5-6; era n'endala). "YAKUWA" mu n'geri y'enjawulo y'endagaano eyabikulwa era erinnya ly'obununuzi erinnya lya Katonda mu ndagaano enkadde.**

Entegeka y'obununuzi yonna eberamu byonna ebigoberera ebyelaga omusanvu: **"YAKUWA-JIREH"**kitegeza "Mukama Katonda aneefunira Omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo" (Olubereberye 22:1-14); "**YAKUWA-RAPHA"** = "Mukama awonya" (Okuva 15:26); **"YAKUWA-NISSI"** = "Mukama ye bendera yange" (Okuva 17:15); **"YAKUWA-SHALOM"** = "Mukama y'emirembe gyange" (Ekyabalamuzi 6:24); **"YAKUWA-SHAMMAH" =**"Mukama waali" (Ezeekyeri 48:35); **"YAKUWA-SABAOTH" =**"Mukama we ggye" (1 Samwiri 1:3).

**Elohim/Katonda, atalabikka, ye mwoyo mu mbeera ze** (Yokaana 4:24), omuntu yenna gwatalabangako (Yokaana 1:18; 1 John 4:12), yali yekweka mu butaggwaawo mu bujuvu bwe obw'omwoyo, Omusana era Bulamu (1 Timoseewo 1:17). Ku lubereberye lw'ebiseera, ye bikkula nga YAKUWA (Mukama) mu n'geri elabika. Yayogera byonna mu butonde era mu kubaawo kw'obutonzi bwe okuyita mu Kigambo kye ekyobuyinza n'agenda mu lusuuku lwe.

Okusooka "okulangirira okukkiriza mulugudde" ekyatulekerwa mu byawandiikibwa ebitukuvu nga**"Sch'mah Israel,"**kyava mu kammwa ka Mukama Katonda mwennyini. Mukama ya yogera ng'alagira: **"Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama Omu…"** (Ekyamateeka Olwokubiri 6:4-9). Mu makko 12:29 tulina obukakafu okuva mu kammwa ka Katonda era n’omununuzi: **"Wulira, ggwe Isiraeri; Mukama Katonda waffe ye Mukama Omu…" **

**Okukkirza okw'asooka okubaawo: **

**YAKUWA ELOHIM YAKUWA Echat – YAKUWA/Mukama Ye Katonda waffe: YAKUWA/Mukama ali Omu!**

Kijulira okukkiriza okw'amazima mu Omu, Katonda ow'amazima. Newakubadde singa oyo ataggwaawo yebikula mwennyini mu n'geri ez'njawulo, eky'okulabirako nga Omutonzi, Omununuzi, Kabaka, Omulamuzi, nebilala, Ye asigala oyo ataggwaawo awatali Ye tewaliwo mulala. *"Nze Mukama so tewali mulala; tewali Katonda wabula nze…"* (Isaaya 45:5-6). ***"Nze Mukama Katonda wo…tobanga na bakatonda balala we ndi."*** (Okuva 20:2-3). 


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5037.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/1848.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038.md)
