---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 22
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:41Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/1849.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Okutegera okw'etegeka Ya Katonda ey'Obulokozi mu Ndagaano Empya

Kulwo kutegera kw'etegeka ye ey'obulokozi etaggwaawo eri omuntu, Katonda yebikula mwennyini okuva mu ntandikwa y'endagaano empya nga Kitaffe mu Mwana era n'okuyita mu Mwoyo mutukuvu mu Yesu Kristo (Abaebbulaniya: "Yahshua HaMashiach"), eyafukibwako amafuta owa Katonda. Erinnya ly'endagaano empya "Yahshua" eva mu linnya ly'endagaano enkadde "YAKUWA" era by'atekebwamu. Ekigambo ky'oluebbulaniya "yasha" kitegeza "okulokola" (Okuva 18:30). Tulina okugerageranya Yoweeri 2:32: **"…Buli alisaba erinnya lya Mukama (YAKUWA) alirokoka …"** ne Bikolwa by'abatume 2:21: **"Olulituuka Buli alisaba erinnya lya Mukama (Yahshua) alirokoka." "Kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka."**(Abaruumi 10:13). YAKUWA w'endagaano enkadde ye Yashua ow'endagaano empya: Mu kitabo ky'oluebbulaniya kyawandiikibwa : "…naawe olimutuuma erinnya lye Yesu (YASHUA): kubanga alirokola (yasha) abantu be mu bibi byabwe." (Matayo 1:21). **YAHSHUA kitegeza "YAKUWA-Omulokozi."**eky'omukisa omubi, Erinnya ly'endagaano empya mu eyo Katonda gye yebikula mwennyini eri nga Kitaffe mu Mwana, nakyo tekyategerekeka mu kumanyiswa kw'akyo mu kulaga entegeka y'obulokozi.

Kyetagisa okubikkulirwa okuyita mu Mwoyo wa Katonda okukutegera bino ebitategerekeka, ebitanyonyorwa ebyama mmwebyo naffe mmwe twa tekebwa. Mu kusooka kino kigenda eri Buli muntu: "Nayeomuntu w'omukka obukka takkiriza bya mwoyo gwa Katonda: Kubanga bya busirusiru gyali; era tayinza kubitegera, **bikeberwa na mwoyo."**Omutume**,**naye yali ajulira: **"Naye ffe Katonda ya tubikulira kubw'omwoyo: kubanga omwoyo anoonya byonna era nebitategeerekeka ebya Katonda."** (1 Abakkolinso 2:10-15).

Nga Omununuzi tana tukiriza ekigendererwa kye era n'okutuwa Obununuzi, yalina okuzaalibwa mu nsi eno nga Omwana mu mubiri gw'omuntu:

**"Naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa nga afugibwa amateeka…"** (Abaggalatiya 4:4).

**"N'okuzaalibwa kwa Yesu kwali bwe kuti…,nalabika nga ali lubuto olw'Omwoyo omutukuvu."** (Matayo 1:18).

**"…Kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo mutukuvu."**(Matayo 1:20).

**"Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire Mukama bye ya yogera mu Nnabbi, ng'agamba nti Laba, Omuwala atamanyi musaja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, balimutuuma erinnya Emmanweri, eritegeezebwa nti Katonda ali naffe."** (Matayo 1:22-25; Isaaya 7:14).

**"Ne malayika n'addamu n'amugamba nti Omwoyo omutukuvu alikujjira, n'amaanyi g'Oyo ali waggulu ennyo galikusiikiriza era ekyo ekirizaalibwa kye kiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda."** Lukka 1;26-38).

Buno bwe bwaali obujulizi bwa Erisabesi, ayali yajuzibwa n'omwoyo omutukuvu: "Nange no ekigambo kivudde wa,**nnyina Mukama wange** okujja gy'endi?" (Lukka 1:43) – si "nnyina wa Katonda."

Tutegezebwa mu bulambulukufu era ne mu butuufu ku kuzaalibwa kw'Omwana wa Katonda. Eno y'engeri Malayika bwe ya kilangirira eri abasumba ku nsi **"Kubanga leero azaaliddwa gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, Ye Kristo Mukama waffe."** (Lukka 2:11).

Mu Kigambo kya Katonda, tusanga Mukama waffe era Omununuzi ng'alagibwa n'ebina ebitegeeza "ebitibwa by'Omwana": nga Omwana wa Ibulayimu, Omwana wa Dawudi, Omwana wa Katonda era Omwana w'Omuntu.

**Nga Omwana wa Ibulayimu** (Matayo 1:1), Ye "Musika w'ensi" (Abaruumi 4:13) – era abanunurwa balondebwa okuba abasika ba Katonda era abasikirawamu ne Yesu Kristo (8:17).

**Nga Omwana wa Dawudi**(Matayo 1;1b), Ye "Kabaka" (Lukka 1:32; Yokaana 18:37) – era n'obafuula eri Katonda waffe Obwakabaka era bakabona; era abafuga ku nsi (Okubikkulirwa 5:10).

**Nga Omwana w'Omuntu**Ye "Nnabbi" Oyo Musa gwe ya yogerako (Ekyamateeka Olw'okubiri 18:15-19), nga Peetero bwe ya kitekako esira mu Bikolwa by'abatume 3:22-24: "…Buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikkirizibwa mu ggwanga."

**Nga Omwana wa Katonda,** Ye "Omununuzi," okuyita mu Ye abanunurwa bafuna okubalibwa nga abaana b'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda "…tulyoke tuweebwe okufuuka abaana." (Abaggalatiya 4:4-9). 

Ku nsonga eno, Omutume ya wandiika ebigoberera: "Pawulo omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda, gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, **ebigambo ebyogera ku Mwana we,** eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri, eyazaalibwa okuba **Omwana wa Katonda** mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, **Yesu Kristo Mukama waffe, eyatuweesa ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw'erinnya lye…"**(Abaruumi 1:1-5).

Okusinzira ku mubiri, Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yava mu buzaalirwa bwa Dawudi (Matayo 1:1-17; Lukka 3:23-38), era Ye yatutabaganya **"Mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyesebwa mu maaso ge…" (Abakkolosaayi 1:22). "eyatuweesa okununulibwa kwaffe olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye…"** (Abaefeso 1:7). okuyita mu kufa kw'okulumizibwa, Yatuwa okutabagana ne Katonda: "**nti katonda yali mu Kristo ng'atabaganya ensi naye yennyini, nga tababalira byonoono byabwe, era nga yatuteresa ffe ekigambo eky'okutabaganya. Kyetuva tubeera ababaka mu kifo kya Kristo, ngafaanana ng'abeegayirira mu ffe: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda."** (2 Abakkolinso 5:14-21). Yafa bw'atyo **"…olw'okufa alyoka azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani…"** (Abaebbulaniya 2:14). Okuyita mu kuzuukira kwe, twawewbwa obuwanguzi okusinga okufa era n'obutafa. 

**"Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n'okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bw'amuntu…kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye. Naye bwayogera nti byonna byasibwa wansi, eyassa byonna wansi we, naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna."** (1 Abakkolinso 15:21, 25,28).

Bonna abanunulwa bali kiraba mu kukomawo kwa Mukama:**"…laba, mbabulira ekyama tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, amangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kali vuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda…"**nera abanunulwa bali yitibwa: **"Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa okulumwa kwo kuli luuyi wa, naye Katonda yebazibwe, atuwanguza ffe kubwa Mukama waffe Yesu Kristo."** (1 Abakkolinso 15:51-57). Amiina.

Katonda Oyo Omu teyegabizanga mu emirundi essatu "abassatu abataggwaawo." ne byawandiikibwa ebitukuvu tekyogerangako ku Katonda "mu bassatu" era "ow'obussatu" oba "ababiri";kyogera nti Kitaffe yelaga mu Mwana yekka kulw'obulokozi bwaffe. Endagaano empya nayo ejulira mu byonna ku oyo Katonda **Omu nga ye Katonda Yekka:** "…nemutanoonya kitibwa ekiva eri **Katonda ali Omu yekka…"**(Yokaana 5:44); "…Okutegera gwe**Katonda Omu**…" (Yokaana 17:3); "**Obanga Kantonda ali Omu** (Abaruumi 3:30); "…naye **Katonda ali Omu."**(Abaggalatiya 3:20); "Era kabaka ow'emirembe, n'emirembe ataggwaawo, atalabika, **Katonda Omu aweebwenga awebwenga etendo…**" (I Timoseewo 1:17); **"Kubanga waliwo Katonda Omu…"** (1 Timoseewo 2:5). **"Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna."** (Okubikkulirwa 1:8).

** Amazima, Okukkiriza kwonna okw'anamadala okw'abatume kwa wandiikibwa mu Baibuli mwokka era kw'atekebwawo eri Ekkanisa ya Mukama lumu n'emirembe gyonna.**

**"Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu, Katonda omu, Kitaawe wa bonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna."** (Abaefeso 4:5-6).

**"Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa mu mawanga, n'abuulirwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa."**(1 Timoseewo 3:16);

Bwe yafuuka omuntu okusinzira ku tegeka y'obulokozi, Mukama alagibwa ng'omununuzi mu mirimu gye adirira Katonda. Ye **Muwolereza: "Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, Omuntu Kristo Yesu…"** (1 Timoseewo 2:5);

nga bwali **Omuwolereza:**"Abaana bange abato, mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, **tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu…"** (1 Yokaana 2:1);

era **Kabona asinga obukulu:** "Naye Kristo bwe yajja **kabona** ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno, so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watuukuvu,**bwe yama okufuna okununula okutaggwaawo."**(Abaebbulaniya 9:11-12).** **


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5038.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5040.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/1849.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5039.md)
