---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 24
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5041
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5041.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:42Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/2540.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5041.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Okusalawo ng'omaze okubyawukanya

Obujulizi bwe endagaano enkadde n'empya obw'Omulokozi waffe Yesu Kristo nga bukiriziganya wamu. Mu kugerageranya, mu katabo akayigiriza okukkiriza mu ba Catolich era nebitabo ebilala ebiyigiriza eby'enzikkiriza tusanga nga babiwandika ebikwata ku kukkiriza ebya gunjibwawo n'abantu. Omutume Yokaana mu bulambulukufu ya yogera,**"Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: Buli mwoyo ogwatula nga Yesu yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda: Na Buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: Era ogwo gw'emwoyo ogw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja era kaakano gu maza okuba mu nsi."**(1 Yokaana 4:2-3). Ku somo y'okwenenya eri Kristo, Omwana, agenda ku nsonga na buuza, "Omulimba ye ani wabula oyo agaana **nga Yesu si ye Kristo (= Ayafukibwako amafuta)?**Oyo ye mulabe wa Kristo agaana Kitaffe n'omwana." (1 Yokaana 2:22). Ekigambo "mulabe" kitegeza "alwanyisa, ekitakwatagana, nga bwe kyandibadde." Kilaga omwoyo gw'omulabe wa Kristo, ekyokulabirako emwoyo ezikolera mu kuwakanya Kristo n'omulabe wa Kristo, ali wansi w'okusikkirizibwa omwoyo omukyamu. **Buli gigiriza y'omuntu yenna etakwatagana n'ekyo Omwoyo wa Katonda kye yalangirira mu jigiriza ya Kristo mu Baibuli oba mulabe wa Kristo , ekibeera ddala kumulwanyisa, era kitwawula ne Katonda – okuva ku muti gw'obulamu** (Okubikkulirwa 22:19).

Bwe tukweeka okulabula kw'abatume nti Buli mwoyo ogutenenya mu Yesu Kristo mu Baibuli, ekyokulabirako nga Omwana eyalabikira mu mubiri, si Katonda, awo ebibuuzo ebigoberera biggya: **Kiki ku abo bonna abenenya Omwana, Okuzaala kw'oyo emberera kwalangirirwa mu Isaaya 7:14 era Eyazaalibwa mu Besirekemu nga bwe kya yogerwa mu Mikka 5:1, nga omuntu w'[okubiri ataggwaawo mu Bulamba bwa Katonda, ekitasangibwa wantu wonna mu Baibuli?** Omutume Yokaana ya kitekako esira, **"…Buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda era ogwo gwe mwoyo ogw'omulabe wa Kristo…"**(1 Yokaana 4). 

Okugunjibwawo kw'obulombolombo bwe kkanisa, nga bwe bwa tondebwa mu kuteesa kwa Nicaea mu mwaka 325 era kweyongerayo okutuuka mu Constantinople mu 381, te bifaanana n'obujulizi obwa tulekebwa mu byawandiikibwa ebitukuvu. Ekyokulabirako, bogera ku **"…Omwana wa Katonda yekka, ataggwaawo eyazaalibwa owa Kitaffe, Katonda okuva eri Katonda, Omusana okuva eri Omusana, Katonda ow'amazima okuva eri Katonda ow'amazima, eyazaalibwa, naye ata kolebwa, omu abeerawo ne Kitaawe."**Omwana yazaalibwa okuba nga Katonda okuva eri Kitaffe mu ggulu ng'ebiro te binatandika nga kitegeza mu butaggwaawo? Ekyo mu byonna ki kyamu.

Nekyo tebasobola mu butuufu kutegeza Kristo, Omwana, Eyafukibwako amafuta. Oluvannyuma lwa byonna, ebyawandiikibwa ebitukuvu bi ggamba muZabbuli 2:7: **"Nti ggwe oli mwana wange; leero nkuzadde."** Naye obutaggwaawo tebulina leero n'enkya; nga bwe kyaliwo bwe kiribeera. Malayika Gabudheri yajja okuva mu ggulu n'alangirira **okuzaalibwa kw'Omwana ku nsi.** Ya yogera eri eberera Malyamu, **"Era, laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma erinnya YESU (Yahshua)."** (Lukka 1:31).

Obulombolombo **"Kitaffe ye Katonda, Omwana ye Katonda, era Omwoyo omutukuvu ye Katonda; Kitaffe taggwaawo, Omwana taggwaawo,era n'Omwoyo omutukuvu taggwaawo"**Mu byonna tekiri mu byawandiikibwa era aba mulabe wa Kristo. Waliwo Katonda Omu yekka ataggwaawo: **"…Okuva ku mirembe gyonna okutuusa ku mirembe gyonna ggwe Katonda."**(Zabbuli 90:2). Ebigambo **"Katonda Omwana" era nga "Omwana ataggwaawo" tebisangibwa mu Baibuli akaseera n'akamu, oba "Katonda Mwoyo omutukuvu."** Mu yo kyogera ku Mwana wa Katonda n'Omwoyo omutukuvu gwokka. Omwoyo omutukuvu si muntu wa kusatu naye Mwoyo gwa Katonda, Ogwo mulubereberye gw'amaamira ku mazzi (Olubereberye 1:1) era kyogerwako emirundi 378 mu Baibuli nga "Ruach YAKUWA" era gw'afukibwa ku kkanisa y'endagaano empya ku lunaku lw'abapentakoti (Ebikolwa by'abatume 2). Wokka mu mwaka 381 Omwoyo omutukuvu we gwa langirirwa okuba Omuntu ow'okusatu mu Bulamba bwa Katonda mu kuteesa kwa Costantinople. Bwe-bayita "Obulombolombo bw’abatume”. Si by'abatume oba Baibuli. **Ebyo byokka ebiva mu batume bye biba eby'abatume, era ebyo byokka ebyawandiikibwa mu Baibuli bye biba eby'aBaibuli: "Naye gy'etuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, Omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu Yesu Kristo, abeesaawo byonna."**(1 Abakkolinso 8:6). **Katonda Omu yebikula mwennyini nga Mukama – Kitaffe mu Mwana.**

Si kya mugaso eri ekkanisa yonna okukitekako esira mu bulombolombo bwabwe ebigambo okuva mu baefeso 4:5,"Mukama waffe Omu, Okukkiriza kumu, Okubatizibwa kumu," singa ba Mukama bajawulo, ezikkiriza z'ajawulo, n'okubatizibwa kw'anjawulo okuva kw'okwo okuli mu byawandiikibwa ebitukuvu okw'ajulirwa, n'ekuyigirizibwa, era ne kukolebwa.

Obukubagano mu kusomesebwa kw'eby'enzikkiriza mu kyassa eky'okussatu eky'obukristayo kweyongera bwokka kubanga ebirowoozo by'omuntu bya gezako okulaga ekifaananyi kya Katonda mu Bulamba bwe, mu kugezako okutambulira awamu n'akyo, era n'okunyonyola okubikkulirwa kwa Kitaffe mu Mwana, wade balowooza nti kyawandiikibwa: **"…So tewali muntu amanyi Omwana wabula kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na Buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira."** (Matayo 11:25-27; Lukka 10:21-22). Abatume ne Nnabbi te ba kubaganyako birowoozo ku somo ly'Obulamaba bwa Katonda Kubanga Katonda kye yali agambye eri Peetero kyali n'akyo kigenda gy'ebali: **"…Kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikkulira ekyo wabula Kitange ali mu ggulu."**(Matayo 16:16-19). 

Amazima gennyini ag'okukkiriza ag'ekkanisa emu ey'amazima, nga yo yennyini y'empagi n'omusingi gw'amazima (1 Timoseewo 3:15), kisangibwa mu Baibuli mwokka. Mu kyo ba tugamba Yesu Kristo kyali, Omwana wa Katonda, ow'anamaddala. **Ow'emirembe gyonna. Okukkiriza kw'aBaibuli-okw'abatume Kwa yogerwako ne Katonda mwennyini.**Oluvannyuma lwa byonna, ki kwata ku bununuzi era n'obulamu obutaggwaawo: "**Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuma obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo Buli mu Mwana we. Ali n'Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu."**(1 Yokaana 5:11-12).

Bumanyirivu bw'obulokozi nti Buli muntu asobola okukikola ng'omuntu olw'ekisa kye.**"Naye bonna abamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda be bakkiriza erinnya lye."** (Yokaana 1:12).

**"Era tumanyi nti Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeere ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda Ow'amazima n'obulamu obutaggwaawo."**(1 Yokaana 5:20). Amiina, kituufu, Amiina!

Kubanga ekkanisa ey'amazima eya Yesu Kristo, etali kibina naye ekintu ekirina obulamu, mazima ejigiriza ya Baibuli ntuufu nga bwe yawandikibwa mu byawandiikibwa ebitukuvu. Mu kkanisa Ye, ebyo byokka **ebyatekebwawo mu ndagaano z'emirembe gyonna**bye bisobola okukkirizibwa era n'ebiyigirizibwa, Kubanga tewali kisobola kufuusibwa mw'ekyo era Tewali kisobola kwongerwa kw'ekyo (Abaggalatiya 3:15; Okubikkulirwa 22:18-21). **"Naye obanga ffe oba Malayika ava mu ggulu bwa buuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira akolimirwenga."**(Abaggalatiya 1:8).

Buli muntu yenna ayafuna okuyitibwa kwa Katonda ng'abatume Peetero, Yokaana, Yakobo, era ne Pawulo bakuyimirira era baliyimirira kulwa Katonda yekka era ne Kigambo kya Katonda. Bw'ekityo, bonna abali mu kuweereza kkanisa bakuliriza ekyo kye bakkiriza, kye bayigiriza, era ne kye bakola, ekyokulabirako, obukulu bw'okukkiriza kwabwe era n'obulombolombo bwabwe obw'asalibwawo mu nteesa ez'enjawulo era ne mu kuteesa kw'ekkanisa okuva mu kyassa ky'okuna eky'obukristayo. Newakubadde oluvannyuma lw'okudabulurwa, gonna amaddinni amapya aga gunjizibwawo ag'obukristayo basalawo enjigiriza yaabwe bennyini, nazo ezitakkiriziganya ne byo eby'omu Baibuli. Kaakano waliwo abantu abasuuka mu buwumbi bubiri aba sikirizibwa ennyo n'obukristayo mu nsi yonna, nga beyawula mu ba Catholic, aba Orthordox, aba Protestanti, era na b'ekkanisa ya angelican ng'abalala abangi ab'enjawulo ab'amakkanisa amatono. 


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5040.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5042.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/2540.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5041.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5041)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5041.md)
