---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 31
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5048
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5048.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:46Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/2547.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5048.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Okukkiriza okutuufu

***"… atakkiriza Katonda nga amufudde mulimba …"*** (1 Yokaana 5:10).

***"Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye Katonda abeerenga wa mazima, naye Buli muntu abeerenga mulimba nga bwe kyawandiikibwa nti obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo, osinge bw'osalirwa omusango."*** (Abaruumi 3:4).

Ebigoberera bye by'ogerwa ku Ibulayimu: ***"Nga Ibulayimu bwe yakkiriza Katonda, ne kumubalirwa okubeera obutuukirivu.” *** (Abaruumi 4:3; Abaggalatiya 3:6). Ibulayimu ye kyokulabirako ekirungi eky'okukkiriza okutuufu: Okukkiriza okutuufu kusoboka kwokka nga Katonda ayogera eri buli omu ne buli muntu yenna okuyita mu Kigambo kye, obutakkiriza ku letebwa n'okukkiriza omulabe okubuuza ebyo Katonda bye ya yogera mu Kigambo kye. Okukkiriza n'o butakkiriza byonna bya tandikira mu lusuku lwa Katonda. Oluvannyuma nga Mukama Katonda ayogedde ne Adamu, Setaani yanweza Kawa mu kukubaganya ebirowoozo ku ebyo Katonda bye ya ggamba. Setaani bulijo atwala ebyo Katonda bya ggamba, asiga okubuusabuusa, ayongerako, aggyako, abuzabuza, avunuula. Ebyavamu byali butakkiriza, obw'aleta obutawulira era ekyavamu kwali kulimbibwa mu kugwa. Setaani naye yatukirira Omununuzi waffe ng'alina kya ggamba: "Kyawandiikibwa …" okwo kwe kukemebwa kwennyini. Okukemebwa, okulimbibwa, era n'okumenya amateeka gasoboka wokka nga ekigambo kya Katonda nga kiyitiibwa mu bibuuzo. Naye Mukama n'amuddamu, *"Bw'ekityo kyawandiikibwa…"* (Matayo 4:1-11; Makko 4:1-13). Kino n'akyo kisobola okuba ensoga yabasoma eby'enzikkiriza: esomo lisobola okuba lya Baibuli, naye ekigambibwa ku kyo kisobola oku nga si kituufu. Omuntu yenna bw'atwala ebyawandiikibwa n'alagayo okubuusabuusa, awo aba mulabe ayagala oku kyikyusa mu kukemebwa, eki kulembera ku kugwa. Abaana ba Katonda aba mazima bulijo batwala ebyawandiikibwa ebigoberera eby'esomo ekibajirayo esomo bulungi. 


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5047.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5049.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/2547.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5048.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5048)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5048.md)
