---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 34
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:48Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/2550.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Okulabula okusembayo

Leero, bonna abasoma eby'enzikkiriza bamanyi nti Yokaana Omubatiza yaali nnabbi ey'asuubizibwa (Isaaya 40:3; Malaki 3:1) eyateekateeka ekubo lya Mukama naye eyagaanibwa n'abawandise: **"Na abafalisaayo n'abayigiriza b'amateeka ne beegaanira okuteesa kwa Katonda kubanga tebaabatizibwa ye."** (Lukka 7:30). ekyo kye kyaliwo edda ekidibwamu ne kaakano? Mu Lukka 19 Omununuzi waffe yakabira Yerusalemi n'agamba, **"… kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo."**(v. 44). Abantu bwe bagaana okukkiriza okusinzira ku Baibuli era ne bagaana okubatizibwa okw'omu Baibuli, baba tebakkiriza, mu mazima, bagaana okuteesa kwa Katonda ne leero? Tekimala okusingira ddala okuddamu okusaba kwa Mukama waffe mu n'geri y'emu n'obuwangwa bw'enzikkiriza: "… Obwakabaka bwo bujje. Okwagala kwo kukolebwe…” Omu waba talina kigendererwa ky'okukola **okwagala kwa Katonda, okubikkurwa eri kin'omu mu Kigambo kya Katonda.**

Tetuli kulaba bw'ebiti nga bidingana mu biro byaffe, ku ebyo Mukama bye yayogerako edda: "Zibasanze mmwe, abayigiriza b'amateeka! **Kubanga mwatwala ekisumuluzo eky'okutegeera:** mmwe bennyini temwayingira, n'abaali bayingira mwabaziyiza." (Lukka 11:52)? Bonna tebali kuzimba bwakabaka bwabwe bennyini, ma kkanisa gaabwe bennyini? Bonna tebalina bigendererwa byabwe bennyini? Ate ku abo abava mu kulongoosa, n'abo abava mu ba pentekoti era abo abeyongera bennyini okulangirira enjiri yaabwe (Abaggalatiya 1:6-10)?

Ekkanisa y'ensi eri kukola nnyo n'obumalirivu nga elubirira okwegatta kw'enzikkiriza okwa maddinni gonna ag'obukristayo era, awamu e'nzikkiriza zonna wansi w'omukulembeze omu nga ye mutwe ng'afuga ensi n'obuyinza bwonna, nga basomoza yokaana 17: "nti bonna babeere omu …" Papa Francis vicariously ya buuza okusonyiwa abantu bonna abalina okukkiriza okw'enjawulo mwennyini ekiseera ebimu ebyayita yali yayiganyizibwako ne kkanisa y'aba Catholic okuva ku ba waldensians okutuuka kwabo abali mu bupentakoti. Kituufu esira teririna nate kutekebwa ku bintu ebyawula naye kwebyo ebigatta, nga okwenenya okubagatta okwa ba "katonda abassatu." n'okulaga amatikira 500 agokuza obujja mu mwaka 2017, okwegatta kwe kkanisa kye kigendererwa eky'enkomeredde.

Kiki ekikwata ku kwegatta kwa abakkiriza bonna aba Baibuli ne Katonda okuyita mu Yesu Kristo, Mukama waffe, nga Omutwe gwe kkanisa

Ani kw'abo alina obuvunanizibwa mu mirimu mingi egy'obuweereza bw'obukristayo, era omubuulizi amanyiddwa ennyo ensi yonna ng'abuulira enjiri y'okukulankulaba , era n'obukadde bwa bawulirisa bali kwetegeka mu kujja kwa Kristo okunaatera okutuuka? Ekisomoza eri buli omu kuffe kyalina okuleta kiri; okudayo eri Katonda! Okudayo ku lubereberye, okudayo ku buli kigambo eky'emirembe gyonna ekyava mu Yerusalemi! **Abali yimirira ku ludda lwa Katonda era ne bagoberera okulungamizibwa ekigambo kya Katonda era ne batatekawo ku gerageranya kwonna?**

Isaaya yalina okulangirira: "Ani akkiriza ebigambo byaffe? Era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?" (Isaaya 53:1). Pawulo yali n'obumanyirivu: "Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?" (Abaruumi 10:16). Ani asobola okukkiriza nga ebyawandiikibwa bwe bigamba? Ani akikirira Ekigambo kya Katonda era leka omu mwennyini alongoosebwe? Buli omu alina okwesalirawo obanga abeera n'okwo okwenenya kw'okukkiriza okutali kwa Baibuli oba nga akkiriza okwenenya okutuufu okubalibwa ne Katonda okwa batume era ne bannabbi. Te kirina mugaso okuva mu nzikkiriza endala okugenda mu dala oba okuva mu kkanisa endala okugenda mu dala. Ekigambo kya Katonda kiri n'okutwalibwa nga nsigo (Lukka 8:11) mu mutima gwo muntu era n'omwoyo gwa Katonda okuleta buli mu munru kin'omu obulamu obutaggwaawo okuyita mu kuzaalibwa okuggya (Yokaana 3:7; 1 Peetero 1:23). Kiri kweyongera obumalirivu, era tuli n'okusalawo n'ekyo tuggya kuyingira mu butaggwaawo.

Abo bonna abanoonya era ne bakkiriza ekisa kya Katonda kikolera mu bo bennyini okulaba ddala oba bali kimu n'ekyo Mukama waffe kye ya ggamba: **"Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga. Katonda gwe mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinza mu mwoyo n'amazima."**(Yokaana 4:23-24). Buli muntu yenna atasinza Katonda mu mwoyo era ne mu mazima okusinzira ku Kigambo ky'amazima aba asinzira bwereere:**"Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye omutima gwabwe gundi wala. Naye bansinziza, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata."** (Matayo 15:8-9; Makko 7:6-7).

Mu ku maliriza kiri n'okuteekebwako esira nate: okwatula okutuufu okwo kukkiriza, enjigiriza entuufu yawandiikibwa mu Baibuli mwokka, era tuli n'okwekebeera fennyini eri Katonda obanga tukkiriza Yesu ng'omutwe gwe kkanisa era ne tuddayo ku jigiriza ya batume, eyava mu Yerusalemi, oba tugenda n'eyo eyava mu kkanisa ye ggwanga mu bwakabaka bwa baruumi. Tutegeera era tuwa ekitiibwa ekyo kyokka Ekigambo kya Katonda ekituufu oba tusigala mu buwangwa bw'enzikkiriza? Okusalawo kulagirwa eri ffe fenna: **"Leero bwe munawulira eddoboozi lye, Temukakanyaza mitima gyammwe." (Abaebbulaniya 4:7). Alina okutu awulire, leka awulire ekyo mwoyo ky'agamba eri abo bonna abali mu kkanisa ya Yesu Kristo! Bw'ekityo bwe kyawandiikibwa emirundi musanvu mu kitabo kyo kubikkulirwa (esula 2+3).**


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5050.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/2550.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051.md)
