---
type: BookChapter
work_id: '1006'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1761
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1761.md
language: lg
position: 35
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-09-07T10:36:48Z'
translations:
  en: https://nasa.misia.sk/book_chapters/2551.md
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052.md
---

# BAIBULI - Ekitabo ekisinga Okusomebwa Ku Nsi N'omuweereza

## Obunnabbi bw'enkomerero butuukirizibwa

Fenna tukimanyi nti Buli kintu ku nsi kifuusiddwa: Obufumbo, amaka, era ne bifo byonna ebibeeramu abantu tebikyali nga bwe byali edda. Okubuguma kw'ensi, ekyukakyuka mu beera y'obudde kutuuse ku mbeera y'okwazirana. Omuwendo era n'obuzibu obuleteddwa n'okutabanguka kw'embera y'obudde ng'amataba musisi ne bilala bye yongeredde ddala. Okulwanagana mu mawang entakera n'akwo kuletedde abantu okuttya kungi ku ebyo ebiggya mu maaso. Obukubagano bweyongeera wano n'awali buli lukya, okusingira ddala kumpi mu makati ge buvanjuba. Ensi yonna eri mu kaabi akatagambika era obukadde n'obukadde bw'abantu bali mu duka duka. Amawanga ganoonya kye ganakola okumalawo obusambatuuko buno bwonna naye kilabika tegakyayinza kumalawo butabanguko buno n'okusomozebwa kuno okunji.

Mukama waffe ya yogera mu Matayo 24, mu Makko 13, mu Lukka 21, era ne mu byawandiikibwa ebilala ku ebyo ebiribaawo nga tanakomawo, era tubiraba nga bituukirizibwa. Byonna ebigenda mu maaso ebye biro by'enkomerero, bye tutasobola kwannjula wano mu bujuvu, bya yogerwako mu bunnabbi bwa Baibuli. N'obubbaka obusembayo n'okuyitibwa okusembayo abantu ku nsi bajja kuweebwa omukisa okuba n'okusalawo okutuufu mu maaso ga Katonda.

N'enjiri eno ey'emirembe gyonna kaakano ebuulirwa eri amawanga gonna okuba omujulizi nga Mukama waffe mwennyini bwe yakilangirira: **"N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja."** (Matayo 24:14). Kaakano tusemberedde nnyo ku kukomawo kwa Kristo okw'asuubizibwa (Yokaana 14:1-13). Obubonero bwe biro by'enkomerero mu bulambulukufu bulaga bino: n'olw'ekyo, abantu bonna abagalira ddala okukkiriza mu Baibuli bali n'okwelekereza amakubo gaabwe banoonye ekubo lya Katonda. Oluvannyuma lwa bonna, Mukama mwennyini ya gamba mu Lukka 21, **"Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka."** (v. 28).

Okulagibwa kuno te kuli tuuka ku nkomerero awatali nga okwogera kwa Baibuli te kunaba kutukirizibwa eri bonna abatya Katonda era ne bakkiriza Ekigambo kye:

***"Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? Oba omusana gussa kimu gutya n'ekizikiza? Era Kristo atabagana atya ne Beriyali oba mugabo ki eri omukkiriza n'atali mukkiriza? Era yeekaalu ya Katonda yeegatta etya nebifaananyi? Kubanga ffe tuli yeekaalu ya Katonda omulamu: nga Katonda bwe yayogera nti Nnaabeeranga mubo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. Kale muve wakati w'abo mweyawule, bw'ayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; nange ndibasembeza, Era nnaabeeranga kitammwe gye muli, nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama O'muyinza we bintu byonna."*** (2 Abakkolinso 6:14-18).

***"Ne mpulira eddoboozi eddala eriva muggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye."*** (Okubikkulirwa 18:4).

***"Ne kaakano, abaana, abato, mubeerenga mu ye; bw'alirabisibwa tulyoke tubeere n'obugumu,******era ensonyi zireme okutukwatira mu maaso ge mu kujja kwe******."***(1 Yokaana 2:28).

***"Era, laba, njija mangu. Aweereddwa omukisa akwata ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino."*** (Okubikkulirwa 22:7).

***"Eggulu n'ensi biriggwaawo; naye ebigambo byange tebiriggwaawo n'akatono."*** (Okubikkulirwa Lukka 21:28).

***"Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna. Amiina."***(2 Bakkolinso 13:14).

***"Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, Mu mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo."*** (1 Yokaana 5:20). 

 

**Ekigambo kyange bwe kiba nga si kituufu okukkiriza kwange kuna beera wa si vunanyizibwa ku nsi lukumi Naye gezako okukola ebirungi** (N.L., Count von Zinzendorf )

 

Buli ayagala okutegeera ebisingawo ku ebyo Katonda by'akoze era ne by'akyakola mu biro byaffe asobola okuwuliziganya naffe ku ndagiriro eziweereddwa wansi. 


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5051.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1761.md)

## Available translations

- [English](https://nasa.misia.sk/book_chapters/2551.md)
- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5052.md)
