---
type: BookChapter
work_id: '331'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1776
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1776.md
language: lg
position: 43
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5172
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5172.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-10-08T20:45:21Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5172.md
---

# «OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna

## Obuwangwa obwakolebwa abantu

Buli omu ku nsi ku nsi alina okukkiriza kw'azaalibwamu oba e'nzikkiriza, era bangi ku bo bagisigalamu okutuusa ku nkomerero, nga tewali n'akuwa kilowoozo okw'ekebejja oba kye bakkiriza ne kye besiga kituufu oba kikyamu. Tebamanyi oyo era yekka alungamya omutuufu, ekyenkomeredde ekye Kigambo kya Katonda. Wonna kikkirizibwa nti buli omu asigala n'obuwangwa obusikkire. Era ne bangi abakola eby'obuwangwa bwabwe tebagala ku wulira bya Yesu Kristo era n'amasomo ga Baibuli. Abantu bangi bamaliriza ga bagamba nti balimbibwa era babalimbye, mu by'obufuzi era ne mu nzikkiriza oba kiri ne Katonda oba n'edda. Ensonga z'endowooza eno zisangibwa mu nzikkiriza ez'enjawulo z'ennyini. Ekitegeerekeka amangu abantu bangi bali wansi w'okusikkirizibwa nti abakulembeze babwe ab'omwoyo bagenda ku bakolera buli kintu era ne babalungamya mu butuufu. Okuva mu kuzaalibwa kwabwe okutuusa mu kufa kwabwe, obugero n'emikolo gikolebwa awatali kuwulira bubaka bw'obulokozi, awatali mukisa gw'obumanyirivu bw'omuntu obw'obulokozi era basanga emirembe ne Katonda.

E'nzikkiriza z'amaddini n'ebibinjja byabwe si kya kusuubira kyonna. Bonna bakumye endabika ey'ebweru ey'obwa Katonda, naye kakaano balina okuweebwa »Ekigambo-okugezesebwa«, balina okufaananyizibwa ne yokka eyamazima eyakakasibwa ekkanisa eyasooka ey'abatume. Ebiro by'amazima bituuse. Tekimala okufaananyiza ku Kristo, abatume ne Baibuli. Amakkanisa gonna, newakubadde amakungganiro amatono, gakozesa eby'efaananyiza eya Baibuli okusobola okweteekamu mu kutegera kwabwe. Omulimu gwonna ne gulyoka guyitibwa »obwegassi mu kumanyibwa«. Mu butuufu, enjigiri ey'obu Catholic mu nsi mu ngeri yabwo ey'obuwangwa leero terina ky'efaananyizibwa ne kkanisa eyasooka eya Yesu Kristo. Ne kkanisa y'abaruumi ensibuko yayo teri ku Kristo ne Peetero, nga abamu bwe balowooza era ne bayigiriza, naye yajja okubeerawo okuva mu nnaku za Constatine era n'okuteesa kwa Nicea mu 325 AD. Mu »Imperium Romanum«. Wokka mu banga lye kiseera abayitibwa »ekkanisa ye ggwanga« yafuuka kibina n'ekitiibwa kyakyo. Ebyassa ebyasooka byayita awatali Papa oba kkanisa ya ggwanga. Mu mwaka 380 abaruumi Caesars Theodosius ne Gratian bateeka ekomo ku dembe ery'enzikkiriza elyali limanyiddwa. Omwaka gumu oluvannyuma, mu kuteesa kwa Constantinople, mu byonna »obuKristayo« yalangirirwa okubeera »e'nzikkiriza ye ggwanga«, eryali nga teeka eri abatunze bonna mu bwakabaka bw'abaruumi. Omulimu guno gwa malirizibwa n'omuruumi ow'ebuvanjuba Caesar Justinian (527-565) eyafuusa bakabona abakozi be ggwanga.

Baibuli y'emu evunuulwa mu makubo mangi ag'enjawulo, wadde ne leero, mu buwangwa bwa bajjajja b'amakkanisa. Mu kifo kyokubeera n'ebigambo ebyasooka eby'okubikkulirwa, ebyali eby'okulungamya eby'obwa Katonda eby'obukristayo obwasooka, bwali nga busikibwa n'obugya buli kaseera, e'njigiriza z'abantu, okunyonyola, e'njigiriza n'obulombolombo ne birala bingi, byonna awamu ebitalina musingi gwonna mu byawandiikibwa ebitukuvu. N'olwekyo si kituufu, nti amaddini gonna gataddewo obwakabaka bwabwe bennyini, nga babulangirira okubeera obwakabaka bwa Katonda? Ng'ogyeko bino byonna, kisigala mazima nti Yesu Kristo azimba ekkanisa ye wakati w'ekkanisa yonna mu nsi era alimaliriza ky'ekimu amangu. Katonda alina entegeka n'abantu yali kuleeta mu ` kutuukirira. Okugitegeera mu butuufu bwayo, ffe bennyini tulina okuba nga twalekulwa okuva ku nzikkiriza yonna ensikire ey'obuwangwa era tukomewo ku Kigambo ekyasooka ekya Katonda. Mukama waffe tanoonya okukiiriza okutalaba. Mu butuufu, okukkiriza kwennyini okwa n'amaddala kulina amaaso abiri n'ebigere bibiri ebinyweredde eby'omwoyo. Omusingi ogw'amazima y'endagaano enkadde n'empya, e'ntegeka ey'obulokozi ey'omuntu bwe lagibwa okuva ku Lubereberye okutuusa ku nkomerero.


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5171.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1776.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5173.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5172.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5172)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5172.md)
