---
type: BookChapter
work_id: '331'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1776
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1776.md
language: lg
position: 47
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5176
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5176.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-10-08T20:45:24Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5176.md
---

# «OKWOLESEBWA 7000» Amawulire g'ensi yonna

## KATONDA AKOLERA MU MAANYI GE

Okujja kw'omununuzi waffe mu mubiri guno omuzaalirwana kyatuukirizibwa n'amaanyi ga Katonda. Malyamu yazaalibwa mu nsi eno mu ngeri ey'obuzaalirwana, nga omuntu omulala yenna era naye ng'ayagala okununulibwa. kye kyali ekibya ekyalondebwa ensigo y'obwa Katonda mmwe yateekebwa, so nti ekigambo kibeera kilamu. Naye yalina okuba n'obumanyirivu bw'obulokozi nga abalala bonna, era n'olwekyo yali n'abo 120 abali bakungganye mu »kisenge kya waggulu« Mu Yerusaalemi, nga basuubira okuyiika kw'omwoyo omutukuvu ku lunaku lwa bapentakoti. Obumanyirivu buno bwetagisa okumaliriza obulokozi bwaffe (Ebikolwa by'abatume 1:14; Ebikolwa by'abatume 2). yali yatuukuzibwa okusinzira ku bujulizi obwe byawandiikibwa, kubanga yakkiriza ekisuubizo ekyamuweebwa. Baibuli si mu kifo ne kimu eyogera ku bafu okubalangirira okuba abatuukirivu oba okubayingiza mu butuukirivu oluvannyuma lw'okufa kwabwe. Kyokka kilangirira okutuukuzibwa n'obutuukirivu obwa balamu abakkiriza ebisuubizo bya Katonda era ne bafuna obumanyirivu bw'okutuukirizibwa kwabwo kwonna

Katonda alokola mu kkubo limu lyoka, ekyokulabirako bulijo mu kwegata n'okukkiriza mu kigambo kyekisuubizo, nga bwe kyali ku Ibulayimu. Malyamu yakkiriza obubaka bwa Katonda Malayika Gaburyeri bwe yamuleteera n'amugamba, *“Laba omukono omuyambi ogwa Mukama kibeere gye ndi okusinzira ku Kigambo kyo.”* Bw'ekityo ekigambo ne kikolebwa okuba omubiri era n'Omwana wa Nazaalibwa. Mu ngeri y'emu abasajja bonna n'abakazi balina okuwulirisa era ne bakkiriza obubaka bw'obwa Katonda, beera wa mazima mu maaso ga Katonda era obeere n'obumanyirivu bw'okutuukirizibwa okw'ekigambo ky'ekisuubizo. Wokka mu kkubo bwe liti eby'omwoyo, obulamu bwa Katonda gye bujja mu mmeme zaffe okutyita mu kuzaalibwa okuggya. Oluvannyuma lw'okutongozebwa kw'amaanyi ga Katonda ag'ekkanisa y'endagaano empya okuyita mu kuyiika kw'omwoyo omutukuvu ku lunaku lwa bapentakoti, Malyamu teyayogerwako nate, okutuusa ku nkomerero ya Baibuli. Newakubadde Peetero, Yokaana oba Yakobo, oba Pawulo oba omulala yenna teyawako kyakulabirako kya Malyamu nate. Omulimu ggwe gwali guwedde. Ekitukwatako ye Yesu Kristo, omulokozi yekka, omutabaganya era omuwolereza. »Mariology« tebimanyiddwa mu byawandiikibwa era mu butuufu kitegeeza okuwakanya Yesu Kristo, n'olwekyo njigiriza ya bulabe bwa Kristo. Okuyitibwa n'okusinza kw'abatukuvu buterevu kuwakanya Katonda, oyo yekka omutukuvu era asanidde okusinzibwa (Yokaana 4:23-24) era ekitiibwa kye talikiwa mulala (Isaaya 42:8).

Yesu Kristo ye Mukama, eyajja mu mubiri era n'afuuka omuntu. Yali mutuukirivu eky'enkomeredde era nga taliko kibi kyonna, n'olwekyo yali atwala emisango gyaffe gyonna nagyeteekako era natufirira. Okuyita mu musaayi gwe, mmwe mwali obulamu bwa Katonda, twafuna okutabagana era n'okusonyibwa. Buli omu akkiriza kino alibeera n'obumanyirivu obw'obununuzi obw'emmeme, omwoyo n'omubiri. Kulwo kuzuukira kwe ku lunaku olw'okussatu omulimu gw'obununuzi gw'ateekebwako engule ey'obwakatonda,era n'okufa, emagombe ne Setaani bya wangulwa. Oyo eyazuukira bwe buwanguzi obw'amazima obw'omusalaba. Yalabikira abayigirizwa be okumala ennaku makkumi anna oluvannyuma lw'okuzuukira kwe n'ayogera n'abo ebintu ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda (Ebikolwa by'abatume 1). Oluvannyuma lw'enaku ezo b'amulaba ng'atwalibwa mu ggulu (Luka 24). Bonna abakkiriza mu kkubo lya Baibuli bayinza okusanga ensibuko entufu ey'emmeme zaabwe mu mazima gaabwe ag'obwa Katonda. Olw'okuzuukira kwe okuzuukira kwaffe kwa n'amaddala. Mu kutwalibwa kwe mu ggulu tulina obukakafu nti naffe tulitwalibwa mu ggulu okubeera naye emirembe gyonna.

Katonda omuyinza w'ebintu byonna yateekateeka obwaka bwe obutagwaawo eri abaana be ab'obulenzi n'abobuwala. Okulemwa kw'omuntu tekuyiza kusazamu oba okulemya nteekateeka ya Katonda. Waliwo okuteteganyizibwa, mu kaseera katono Katonda ky'akiriza. Abantu, abasalawo mu kwagala okulwanyisa Katonda baalina okwewayo eri obufuzi bwa Setaani, nate nazibwa ne Mukama yennyini okuba ababe. Okwenunula wekka tekisooboka. Obulokozi mazima g'ebyafayo era kikolwa ky'abwa Katonda okusinzira ku ntegeka ya Katonda. Okuyita mu kubuulira kw'enjiri obubaka bw'obulokjozi buleeta okusumulurwa. Kibikkula Katonda kyalina okuwa omuntu olw'ekisa kye. Okuyita mu bununuzi, olw'amaanyi ga Katonda abaana ba bantu abo okuva mu kuzaalibwa kwabwe baana ba kufa, bazaalibwa omulundi ogw'okubiri, baafuna obulamu obutagwaawo ne bafuuka abaana ab'obulenzi n'abobuwala aba Katonda, bwe bakkiriza ne batwala ekyo ekyakolebwa ku bwabwe.

Okuva obwakabaka bwa Katonda tebugwaawo , bonna abagaala okububeeramu balina okubeera n'obulamu obutagwaawo. N'olwekyo ky'etagisa nga Mukama waffe bwe yakiteekako esira, nti buli omu alina okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri (Yokaana 3). ensigo ey'okuzaalibwa kuno okuggya okuva mu ggulu kye Kigambo kya Katonda (Luka 8:11). Kirina obulamu kyo. Omwoyo omutukuvu gukka ku bonna abafuna Ekigambo n'okukkiriza, era naffe tw'azaalibwa mu bwa Katonda so ne tufuuka abaana ba Katonda (Matayo 13:38.a). Okuyita kutegeera kw'obuzaale tufuuse ba nsi, ebitonde ebifa, abaana ba bantu. Okuyita mu maanyi ga Katonda nga tuzaalibwa n'omwoyo tufuuka abaana ba Katonda *“Bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na sigo eggwaawo wabula eteggwaawo, n'eigambo kya Katonda ekiramu eky’olubeerera.”*(1Peetero 1:23). Omuntu yenna akkiriza mu Mukama ng'omulokozi we nga Baibuli bwe gamba asoobola okubeera n'obumanyirivu buno obwo buntu. Ekiweebwayo ekitenkanika olw'ekisa kya Katonda we kiri eri bonna abakyagaala, nga olunaku lw'obulokozi bwe lu kyaliwo. Tewali muntu yenna ayinza okufumitiriza engeri yakatyabaga bwe kiriba eri abo abatakkiriza bulokozi era ne bagenda mu butagwaawo nga bawukana ne Katonda! Mu saawa y'okufa abo abatakkiriza nti waliwo Obulamu oluvannyuma lw'okufa n'abo bali sisinkana n'amazima.


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5175.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1776.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5177.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5176.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5176)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5176.md)
