---
type: BookChapter
work_id: '1645'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1777
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1777.md
language: lg
position: 40
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5183
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5183.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-10-08T21:34:44Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5183.md
---

# Ebbaluwa Omwezi Gw'okuna 2020

## OMUJULIZI EYALABA N'AMAASO

N'gyogera kino ng'omujulizi eyala era eyawulira mu kussangamu ekitiibwa mu maaso ga Mukama: nga buli omu bw'amanyi, n'alina omukisa ogw'okubeera mu nkunggana ez'enjawulo ez'ow'oluganda Branham. Bwe yali ng'asabira abalwadde, yalinga agamba "Kaakano amaanyi g'obutangavu bwa Katonda, kaakano empagi ey'omuliro eri waggulu w'omuntu ono n'oyo." newakubadde ebikwata ku muntu oyo gwe yalina okusabira byali bilabisibwa gyali. Mu myaka mingi egy'obuweereza bwe, yali asoobola okwogera emirundi egisuka mu lukumi, **"… BW'ATYO BWAYOGERA MUKAMA …"**

Mu mwezi gw'olubereberye 20, 1950, Ow'oluganda Branham bwe yali abuulira mu kifo ekinene mu kibuga kya Houston, Texas, abantu nga 8000 baakunggana. Nga bwe yayogera, abali bakuba ebifaananyi mu kifo ekyo James Ayers era ne Ted Kippermann yamukuba ebifaananyi ebimu. Mu biseera by'okukulankulana kwa film, bakizuula  nti ekifaananyi kimu kyokka kye kyafulumizibwa, eky'okulabirako amaanyi g'obutangavu bwa Katonda obwali waggulu w'omutwe gw'ow'oluganda Branham.

Omusajja avunanyizibwa ku biwandiko ebyebibuuzo ku FBI mu Washington, Dr George J. Lacy, y'ekebejja ekifaananyi n'awandika mu mwezi gw'olubereberye 29, 1950, nti obutangavu mazima ddala bw'ali waggulu w'omubuulizi, awatali ekyo Camera teyadisobodde kukikwata. Era Katonda yennyini bulijo abadde agabirira era akakasa ebiseera byonna.

Mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 1962, Ow'oluganda Branham yayolekera e Tucson, Arizona, nga bwe yalagirwa ne Mukama mu mwezi gw'okusatu 1962. Era kyatuukirira nti mu mwezi gw'okubiri 28, 1963, Ekire ekyamaanyi ga Katonda kyali kirabika eri buli omu mu bbanga. Mu kire, ekyalabikira ku lusozi Sunset, Ow'oluganda Branham yalaba b'amalayika musanvu, era awo omusajja wa Katonda yalagirwa: "ddayo e Jeffersonville, kubanga obubonero omusanvu bugenda kubikkulwa."

Kubanga kyawandiikibwa mu mwezi gw'okuna 19, 1963, amawulire agamanyiddwa obulungi age bya Science ne gateeka n'ekifaananyi kye kire ku lupapula olusooka. Amawulire ga Life magazine ag'omwezi gw'okutaano17, 1963, g'afulumya ekiwandiko nga kuliko ekifaananyi kye kire wansi wakyo nga kuliko omutwe "Era ekyama eky'ekire ekya waggulu"

Dr. James McDonald okuva ku Tendekero lya Atmospheric Physics mu Tucson yawandika ekiwandiko ekiwanvu ku kyo naye teyalina kunyonyola kw'akyo. Amawulire gombi galina n'okutuusa leero.


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5182.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1777.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5184.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5183.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5183)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5183.md)
