---
type: BookChapter
work_id: '574'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1791
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1791.md
language: lg
position: 39
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5234
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5234.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-11-02T11:17:19Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5234.md
---

# Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012

## Mwekebere mwekka na mwekka

*“Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alilabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali. Era buli muntu yenna alina essuubi eryo mu ye yeetukuza ng'oyo bw'ali omutukuvu.”* (1Yokaana 3:2-3). Kituufu, okubikkulirwa kuno bwe kutuukirira! Ekyo kye tulindiridde. Naye wokka nga Kristo alabisiddwa mu bulamu bwaffe naffe tulilabisibwa naye mu kitiibwa (1Abakkolosaayi 3:1-4).

Tutuuse awasinga omugaso mu ntegeka yonna ey'obulokozi, era n'olwekisa tulina okuba ekitundu ku ebyo Katonda kyali kukola kaakano. Kirubirirwa kyaffe okukkiriza, okuba abalamu, era n'okuyigiriza mu buli mbeera nga ebyawandiikibwa. Tutwala okulabula mu bumalirivu: *“Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika.”* (Lukka 21:34).

Eky'omugaso nnyo gye tuli kwe kulabula kuno kwe yatuwa yennyini: *“Wekuumenga mugandawo …”* (Lukka 17:3-4). Era *“Mugobererenga emirembe eri abantu byonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali alilaba Mukama …”* (Abaebbulaniya 12:14). Mu bakkiriza, ebintu byonna birina okumalirizibwa okuyita mu kusonyiyibwa era n’okutabagana (Abakkolosaayi 3:12-17).

Oyo yekka alina obubanyirivu bw'okwogerezeganya kwennyini era n'okuzibwa obuggya okusinzira ku Baibuli: *“Natulokola, si lwa bikolwa eby'omubutukirivu bye twakola ffe wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunaazibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abajja mu mwoyo omutukuvu …”* (Tito 3:5) – Omuntu oyo yekka ayinza okwogera nti, *“… naye ndi mulamu; si kubwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze …”* Wokka nga tuleese wabweru ebyaffe ebyayita, *“Ndi,”* awo tulyoke tukakasibwe ffe abaggya – “Nga bw'onokkirizanga!” – n'obuziba obw'obulamu bwaffe (Abaefeso 4:22-29). Mu mubiri gwe, omununuzi waffe yali mu bulamu obuggya Obw'obwa Katonda nga ekyokulabirako gye tuli: *“Naye si nga nze bw'enjagala kwange, wabula nga ggwe bw'oyagala!”* (Makko 14:36). Kituufu, yabonaabona era n'atwala omusango gwonna okumusinga okusoobola okutulaga nga abatukuvu, abataliko kunenyezebwa, abataliko kubuusabuusa mu maaso ge. (Abakkolosaayi 1:22; Abaefeso 5:27).

Tekimala okwogera obulungi oba okuwandiika ku kkanisa ey'omugole era n'okutwalibwa mu ggulu bwe tuba nga tetulaga n'obumalirivu bwonna ebintu ebilibaamu omuntu yenna okuva mu bwakabaka Katonda era n'okuva mu kutwalibwa mu ggulu. Mukama yayogera edda ku Isiraeri: *“Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange: nammwe mulimbeerera obwakabaka obw'abakabona, n'eggwanga entukuvu.”* (Okuva 19:5-6). Mu ndagaano empya, abayigirizwa Yesu be yayagala bawandiika: *“Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe; natufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda kitaffe …”* (Okubikkulirwa 1:5-6; 5:9-10).

Omuntu yenna asoma mu byawandiikibwa ebitukuvu n'obwegendereza, oba nga biri mu ndagaano enkadde oba empya, ategeera nti okutukuzibwa kusooboka wokka n'obugonvu ng'oleeka ekigambo kya Katonda mu bifo byonna. Yesu Kristo, Mukama waffe, yatununula era n'atujja okuva mu bibi byonna, okuva mu butali butuukirivu bwonna, okuva mu kikolimo kyonna. Abanunulwa teboogera ku “ekisa ekitaliko muwendo” naye bikolwa bya Kigambo. Nga ensonga eyokugoberera, batwala buli kintu Mukama kye yalagira mu Kigambo kye. *“Ng'abaana abagonda, nga twefaananya okwegomba okw'edda okw'omubutamanya bwammwe naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era**nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna; kubanga kyawandiikibwa nti munaabanga batukuvu kubanga nze ndi mutukuvu**…”* (1Peetero 1:14-16).

Katonda yetaga entegeka era n'obutuukirivu mu kkanisa ye. Obutakirizza era n'obujemu eky'ekomeredde tebuyinza kuyimirira mu maaso ge (Abaebbulaniya 3:18-19). Yali Pawulo okusingira ddala oyo mu bbaluwa ze ennyingi yalaga ebintu ebiri beeramu omuntu yenna okuva mu bwakabaka bwa Katonda. Olumu yalaga 15 “Emirimu gy'omubiri,” ekyokulabirako obwenzi, obukaba, empitambi, okusinza ebifaananyi, okuloga, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumo. n'ebiri nga ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. Naye, obutafaanana n'ebyo mu bulambulukufu n'ayogera nti buli atambulira mu mwoyo *“… temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.”* (Abaggalatiya 5:16-21). Tekiriko kubuusabuusa nti tewali muntu alisangibwa mu mirimu bwe gityo egy'omubiri alitwalibwa mu ggulu. Kiriba kisanidde eri kyo okutunulira mu ndabirwamu ey'ekigambo era n'okusoma ebyawandiikibwa bwe bityo nate.

Buli mukkiriza ow'amazima ali omu ku mugole w'Omwana gw'endiga, oba musajja oba mukazi oba mulenzi oba muwala yetuukuza yekka, newakubadde nga mutuukirivu bw'atyo, n'omusajja atakkiriza, n'omukazi atakkiriza newakubadde n'omwana atakkiriza tewalibeera n'abutakkiriza bwa munda okulwanyisa ekigambo kya Katonda, si na katono.

*“Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.*

*Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatiranga bukambwe.*

*Abaana abato, muwulirenga abakadde bammwe mu byonna kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.”*(Abakkolosaayi 3:18-20).

Buli ali kitundu ku kkanisa y'oyo Omubereberye eyazaalibwa, omuntu eteekebwa ku musalaba ne Kristo era nga yafuna obulamu obuggya n'amaanyi g'okuzuukira kwe, kumalirira okuwulira ekigambo kya Katonda era ng'akikkiriza okulongoosa ekibi ekijja kyonna.

Olw'okutuukiriza ekkanisa Katonda ataddewo obuweereza *“… olw'okutuukiriza abatukuvu olw'omulimu ogw'okuweereza …”* (Abaefeso 4:11-15). Bwe tusoma 1 Abakkolinso 4:11, tutegeera nti ebirabo mwenda eby'omwoyo biweereza ekirubirirwa kino nabyo. Okuva ku lunyiriri 12 – 26, obwegassi obw'enkomeredde obwabakkiriza mu mubiri gwa Kristo kiteekebwako esira, era mu lunyiriri 27-31, ekkanisa nate emulisibwa okuba ng'omubiri gwa Kristo, mu ekyo Katonda yennyini yateekawo abatume, bannabbi, abayigiriza, era n'abalala. Buli atawa kitiibwa kino aba muzibe mu mwoyo, omuvoozi, omunyomi (Okubala 16:30; Ebikolwa by'abatume 13:41), era buli eyeyawula yennyini okuva ku kkanisa asikkirizibwa ebikolwa ebikyamu; omwoyo teguyinza kwogera naye nate era atambulira mu makkubo ge ye yennyini. Oluvannyuma lwa byonna, Mukama tava mu ttabaaza ye (Okubikkulirwa 2:1). Kisooboka kitya abakkiriza abagamba nti bagoberera obubaka, naye abatakunggana mubo bokka na bokka, abatayimbira awamu, abatajaguza mubiri gwa Kristo awamu, naye nga betwala nti bakyali kitundu ku mugole, abawanguzi era nga balowooza nti balikkirizibwa okujaguza embaga ey'obule mu ggulu, awamu nga bayimba oluyimba lw'Omwana gw’endiga?

Wano kyeyolesa lwatu nti tuli kitundu ku kkanisa eya Yesu Kristo oba nga ekugganiro y'enzikkiriza. Kirina okulagibwa nti obuweereza obwatumibwa ne Katonda yennini tebuleetangako kwawukana n'okutuusa leero, kubanga obuweereza bwonna obwalagirwa ne Katonda buweebwa olw'okuzimba omubiri gwa Katonda si lwa kusanyizibwawo. Oba okuba n'enjigiriza ey'amazima okuleeta okwawukana. Bokka ababuulizi abeteekawo bakkiriza okuvunuula kwabwe okw'ekyeyagalire okuleeta enjigiriza zaabwe ez'obulimba, ekileeta awatali kukugirwa okwawukana. *“Era mbeegayiridde ab'oluganda, mutunuulirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'ebyokwesittaza, ebitali bya kuyigiriza kwe mwayiga: mubakubenga amabega abo.”*(Abaruumi 16:17).

Tewali n'omu ali kitundu ku mwana gw'endiga atalikkiriza kigambo era n'omusaayi gw'endagaano wabula alyeyongeera okukolera mu byawandiikibwa era naba mulamu okusinzira ku kyo. Omugole kaakano awulira obubaka obusembayo, obukulembera okujja okw'okubiri okwa Kristo, era ne kuba n'obumanyirivu bw'okuyitibwa, okwawulibwa, era n'okweteekateeka, so ku nkomerero, alyoke abeere mu kusseekimu okutuukiridde n'oyo anaawasa omugole – obutabeera wabweru w'ekigambo mu nsonga n'emu, obutaba mujemu wadde mu nsonga n'emu, akkiriza awatali kya kwekwasa era awatali kulya nguzi! Eky'enkomeredde kye kye Kigambo kya Katonda kyonna mu ndagaano enkadde n'empya.

Si mulonde n'omu alileeka ekiragiro eky'olubereberye era naba ne bakatonda abalala; tewali n'omu alikyusa Katonda omu Elohim/Yakuwa mu bassatu abataggwaawo, abassatu abalina obuyinza bwe b'ebintu byonna, bakatonda abassatu abamanyi byonna, Si omu ku bo alitondawo akabonero oba ekifaananyi; teri n'omu ku mulonde alitunuulira ekifaananyi ky'omusalaba (Ekyamateeka elw'okubiri 27:15), naye baalisinza Katonda yekka mu mwoyo era ne mu mazima, mu linnya lya Yesu Kristo (Yokaana 4:24).

Tewali mulonde n'omu alikozesa obubi erinnya etukuvu ery'endagaano erya Mukama Katonda YAKUWA oba YAHSHUA/ Yesu. Teri n'omu alitta nga Kayini bwe yakola, oba akola empisa ey'okutta oba olwogera eby'obulimba ku muntu mune. Tewali n'omu eyanunulibwa abeerawo mu kusobya kw'ebiragiro ekkumi oba ebimu ebikwata ku byo, nga bwe byawandiikibwa mu Eby'Abaleevi 20 ne Ekyamateeka Olw'okubiri 27:15-26. Mu balonde nabo tewaliwo kuwasaganya kw'abantu bekikula ekimu, oba n'abakazi oba basajja (Abaruumi 1:24-32). Katonda yennyini yateekawo buli kintu mu bifo byonna era ng'atuwa amaanyi g'omunda okubeerawo mu bugonvu so tusoobole okuwa ekitiibwa entegeka ey'obwa Katonda, mu by'omwoyo ne mu by'omukka.


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5233.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1791.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5235.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5234.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5234)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5234.md)
