---
type: BookChapter
work_id: '574'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1791
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1791.md
language: lg
position: 41
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5236
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5236.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-11-02T11:17:20Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5236.md
---

# Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012

## Omwana w'omuntu bwe yebikkula yennyini, era bw'ajja

Mu Matayo 24, mu Makko 13, mu Lukka 17, ne mu Lukka 21 tugambibwa ekibeerawo mu biseera by'enkomerero, Omwana w'omuntu bwe yebikkula, era naffe mu mazima tugambibwa ekibeerawo bw'aba aze. Mu kiseera kyaffe yebikkula yennyini mu ngeri y'emu nga bwe yakola emabega edda, mu biseera by'emyaka gy'obuweereza bwe, bwe yatambulira ku nsi. Yakka wansi mu kire era ne mu mpagi ey'obutangavu era n'asanga ekibya mwe yali asoobola okwebikkula yennyini nga Omwana ow'omuntu nga bwe yali mu biseera by'emyaka gy'obuweereza bw'obunnabbi.

Mu mwezi gw'okutaano 7, 1946, omubaka ow'omugulu n'ayogera eri ow'oluganda Branham ekiribeera mu buweereza bwe. Akabonero ke kamu ak'onunnabbi obwa Masiya nga Omwana w'omuntu (Yokaana 1; Yokaana 4; Yokaana 5:19; a. o.), e'ngeri gye kyatuukirira mu maaso gabayudaaya n'abasamariya emabega, kibaddewo mu biseera byaffe mu kkanisa okuva mu mawanga. Ow'oluganda Branham yali akyogerako buli bwe yali ng'agenda okusabira abantu. Kituufu, yakigerageranya n'ekyo ekyaliwo mu biseera bya Sodoma, Mukama bwe yasisinkana Ibulayimu (Olubereberye 18). Kino kisoobola okulambulurwa mu kubuulira kwe mu bujuvu. Nze kenyini ndi mu julizi eyalaba n'amaaso era n'awulira n'amatu gange mu myaka 1955-1965.

Okukomawo kwa Yesu Kristo, naye, kulibeerawo nga teri n'omu amanyi, nga okutwalibwa kwe mu ggulu. Yakigumiza yennyini, ekyokulabirako *“… Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.”* (Matayo 24:27). *“Mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.”* (1Abakkolinso 15:52).

Ekitundu ky'obunnabbi obusuka mu 100 mu ndagaano enkadde, obwatuukirizibwa mu kujja okwasooka okwa Kristo, n'akyo ye Zabbuli 47:6: *“Katonda alinnye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.”* Ng'omuwanguzi, Mukama eyazuukirz yatwalibwa mu ggulu n'omubiri mu kire n'okwogerera waggulu, alinnya n'eddoboozi ery'akagombe era n'ekigambo ne kituukirizibwa: *“Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira. Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza, Mukama ow'obuyinza mu kulwana.”*(Zabbuli 24:7-8). Mu kiseera ekyo, Mukama yatwala abatuukirivu b'endagaano enkadde abaazuukira naye (Matayo 27:50-54) mu kitiibwa. Ng'ebikolwa by'abatume 1:9-11, Mukama y'omu eyazuukira alikomawo mu ngeri bwetyo nga bwe yatwalibwa waggulu mu ggulu (Lukka 24:51).

Ekigambo ky'ekimu “okwogerera waggulu” okuva mu Zabbuli 47:6 kiyinza nate okusangibwa mu 1 Abasessaloniika 4:16, Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu, okwogera okw'obuwanguzi. Nga bwe kyali mu kuzuukiza Lazaaro, we kyogera: *“Bwe yamala okwogera bwati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi eddeni nti lazaaro fuluma ogye.”* (Yokaana 11:43), mu kiseera ekyo okusooka kiriba ku kuzuukira kw'abo abafa. Nga 1Abasessaloniika 4:13-18, alikka nate mu mubiri n'okwogerera waggulu, eddoboozi ery'akagombe, era n'eddoboozi lya Malayika omukulu. Eddoboozi lye eddene, n'eddoboozi eriragira, abo abafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, naffe abalamu abaasigalawo balifuusibwa okuva mu mubiri ogufa okuyingira mu gutafa.

Obuwanguzi bw'omununuzi n'abwo bwe buwanguzi bw'oyo eyanunurwa. Okuzuukira kwe kye kikakasa okuzuukira kwaffe. Okufuusibwa kwe okw'omubiri okuva mu gufa okuyingira mu gutafa era n'okutwalibwa kwe mu ggulu – buli kintu ekyamuliko n'akyo kiri tubeerako. Omutume Pawulo yawandiika ku kyo: *“Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa. Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, Ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti okufa kumiriddwa mu kuwangula.”* (1Abakkolinso 15:53-55).

Okutwalibwa mu ggulu kye kiriba ekyenkomeredde, okukomawo okusembayo, okwambazibwa engule ey'omulimu oguwedde ogw'obununuzi, nga bonna abali ekitundu ku mugole ogw'omwana gw'endiga mmwe balibeera. Kiriba eky'amazima eky'obwa Katonda ekimalirizibwa, naffe tulibeera ne Mukama emirembe gyonna (1Abasessaloniika 4:17). Ekisuubizo okuva mu Yokaana 14:1-3 kilyoke kituukirizibwe: *“… ndikomawo nate n'embatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.”* Abaana b'okusuubiza (Abaggalatiya 4:28) bakkiriza ebisuubizo byonna ebya Katonda ebiri weewaawo era kyava aleeta Amiina (2Abakkolinso 1:20-22). Walyoke wabeerewo okusanyuka okunene, nga Peetero bwe yawandiika: *“… musanyukenga: era ne mu kubikkulibwa okw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n’okujaguza.” * (1Peetero 4:13b).

*“N'empulira ng'eddoboozi ery'ekibina ekinene, era ng'eddoboozi ery'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ery'okubwatuuka okw'amaanyi, nga byogera nti aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe omuyinza w'ebintu byonna afuga. Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.”* (Okubikkulirwa 19:6-7).

Buli kintu kirimalirizibwa mu mazima! Buli muntu yenna eyazaalibwa mu mazima n'ekigambo nsigo era n'omwoyo, buli muntu yenna azaalibwa Katonda buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda akkiriza buli kintu nga ebyawawndiikibwa bwe bigamba. Okusiima kubeere eri Katonda nti tuteeka ebintu byombi mu mazima, ekyokulabirako “Bwe yebikkula yennyini” era “kiki ekibeerawo bw'ajja,” mu bwa Katonda bwabwe, entegeka ya Baibuli! Atuwadde ekisa kye ku lwekyo, era n'omutima gwonna tukiwadde ekitiibwa *“… nga mumaze okutegera kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekitegeza kukoma kw'oyo yekka.”* (2Peetero 1:20). Buli kuvunuula kw'omuntu kin'omu bulimba, era kya buvoozi.

Buli ayigiriza nti n'okubikkulibwa kw'obubonero entebe y'ekisa efuuse entebe ey'omusango era Mukama ali biseera by'okukka oba yamala okujja agudde ku mulembe ogwakatyabaga, era bonna abakikkiriza. Kikyali kiseera kya kisa; omusaayi gukyatwogerera (Abakkolosaayi 1:14; Abaebbulaniya 9:14); ng'abo abatumibwa naye, tukyakaba: *“Mutabagane ne Katonda.”* (2Abakkolinso 5:14-20); Ababi bakya lokolebwa. Akyanoonya ababe, bonna abaterekerwa obulamu obutaggwaawo (Ebikolwa by'abatume 13:48)! Obubaka, obukya kulembera okujja okw'okubiri okwa Kristo kutwaliramu n'obulokozi obujuvu.

Buli kintu nnabbi kye yagamba kirina okutekebwa mu butuufu bw'akyo obw'obwa Katonda mu Baibuli. Ekigambo ekyawandiikibwa Ow'oluganda Branham kye yayogerako emirundi n'emirundi nga eky'enkomeredde kye, kye kyokka eky'enkomeredde kye tulina. Buli muntu yenna atateeka bigambo bye mu Baibuli ajja kuvunuula bubi ebigambo bye era akyamye abantu. Eno y'ensonga lwaki ebibinja byonna eby'enjawulo mu bubaka obw'enkomerero bimeruse. Naye buli wali enjigiriza ey'obulimba, Katonda mazima ddala tasoobola kubeeramu, kubanga Katonda ge mazima ag'enkomeredde: *“… era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.”* (1Yokaana 5:20b). Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; Naye omutima gwabwe gundi wala. Naye bansinziza bwereere, nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata. (Matayo 15:8-9; Makko 7:6-7). Katonda ow'amazima mu nsonga eno tasoobola na kukiwulirisa. Okusinza okwa n'amaddala okutukuvu kwe kwetagisibwa: *“Katonda gwe mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzanga mu mwoyo n’amazima.” * (Yokaana 4:24).


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5235.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1791.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5237.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5236.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5236)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5236.md)
