---
type: BookChapter
work_id: '574'
book_url: https://nasa.misia.sk/books/1791
book_markdown_url: https://nasa.misia.sk/books/1791.md
language: lg
position: 45
canonical_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5240
markdown_url: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5240.md
markdown_source: converted
updated_at: '2020-11-02T11:17:22Z'
translations:
  lg: https://nasa.misia.sk/book_chapters/5240.md
---

# Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi n'ebiri 2012

## Okutakabanira eddembe

Ebyawandiikibwa ebitukuvu bitulaga mu bifo bingi mu ndagaano enkadde n'empya ku bigenda okubaawo mu kiseera ky'enkomerero. Ebintu kaakano ebikolebwa mu nsi zonna mu lwatu biraga nti okukomawo kwa Kristo okwasuubizibwa kuli kumpi nnyo. Amaaso gonna mu kiseera kino okusingira ddala gatunulidde ekyo ekigenda mu maaso mu makati g'ebuvanjuba: ku Isiraeri, ku Iran, ne ku Syria. Amawulire agagenda mu maaso era agakuganyizibwa ne gogeerwa ku mikutu gy'amawulire gatukanga emitima buli lunaku olukya. Okutakabanira eddembe kweyongeredde ddala okwetaggisibwa, era mu ekyo ne Vatican ebibeeramu nga ow'obuyinza asinga amanyiddwa mu nsi zonna.

Akiseera *“… bwe baliba nga boogera nti mirembe siwali kabi …”*kiri mu kutuuka. Naye giriba mirembe, kubanga *“… okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira …”* (1 Abasessaloniika 5:3).

*“Woowe, oluyoogaano lw'amawanga amangi, agawuluguma ng'okuwuluguma kw'ennyanja; n'okuwulukuka kw'amawanga agawulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi ag'amaanyi. Amawanga galiwulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi naye alibanenya …” * (Isaaya 17:12-13) bwe balikyukira Isiraeri ne Yerusaalemi: *“Nti Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okutagatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi. Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikunggaana okukirwanyisa.” * (Zekkaliya 12:2-3).

Tekyetagisa nate okuwandiika ebikolebwa ku bikwata ku kiseera ky'enkomerero. Ebifo byonna, buli kintu kikolebwa mu ngeri y'akyo, wadde nekyukakyuka y'obudde. Emirundi mingi, tuyinza okwezamu amaanyi: *“… Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.”*

Ekyawandiikibwa mu 1Abasessaloniika 5 kigendera ddala eri fenna: *“Naye mmwe, ab'oluganda temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi.”*(vv. 4-11). Abantu ba Katonda, omugole w'Omwana gw'endiga: Laba, anaawasa omugole ajja mufulume okumusisinkana. Ajja mangu!

*“Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, ajja alituuka, so talirwa.”* (Abaebbulaniya 10:37)


## Chapter navigation

- [Previous chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5239.md)
- [Book contents](https://nasa.misia.sk/books/1791.md)
- [Next chapter](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5241.md)

## Available translations

- [Luganda](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5240.md)

## Source

- [Canonical HTML page](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5240)
- [Markdown representation](https://nasa.misia.sk/book_chapters/5240.md)
