EBBALUWA - Omwezi ogw'ekkumi nebiri 1985
N'emitima gyaffe gyonna, tukkirize nti ekigendererwa eky'obuwereeza obwasindikibwa Katonda mu murembe gwaffe kwe kutuzayo ku kigambo ekyanamaddala, nga y'ensigo nakabala yokka.. Omuntu yenna oba ali kubulira oba kuwuliriza, alina okuba omwetefutefu okufuna okubikulirwa, naye kirina okujja nga kiyiita mu kigambo era na mwoyo. Apolo yali n'okumanya ebintu ebikwatagaana n'obuwereeza obwa Yokana omubatiza, kati awo nasisinkana ne Pulisikira na Akula era yali n'okutegera nnyo “n'engeri ya Katonda” (Bik. 18:24-26). Yali aviira mu kibuga ekimanyiddwa ennyo ekya Alikizandariya era yali amaanyi ebyawandiikibwa, naye si byonna. Buli muntu, oba mubulizi oba awuliriza, bwetuba mu bwakabaka bwa Katonda era n'ekyo kyetumanyi nga kitufu, kati awo tuli betefutefu okukulemberwa mu buziba mu kutesa kwa Katonda.
Tutegere nga tuvunanizibwa ku njigiriza ya Katonda yokka, amateeka ga Katonda, ekigambo kya Katonda, entegeka ya Katonda, kkanisa ya Katonda, obwakabaka bwa Katonda era n'ebirala. Mazima tusobola okwatula nti twakulemberwa mu buziba obw'okutegera ekigambo kya Katonda, era ne mu kubikulirwa kwonna okwa Yesu Kristo. Era kyetagisa, nga tusoma baibuli era nga tuwuliriza obubaka, si kulowooza ndowooza zaffe naye tutwale okugolorwa.
Ku nkomelero ey'ekisera ky'ekisa, tulina okudizibwayo mu buumu n'ekigambo kye, eky'eddembe okuva mu bulombolombo n'envunnula zonna. Ebintu ebisembayo biribelawo mu kkanisa ya Katonda omulamu era omugole alirabika. Ku lwe kkanisa ye, asobola okubala byonna ebyasubizibwa eri omugole. Omugole agenda kufuna buli kyonna kye yamutekeratekera. Katonda yeyongera mu nkolagana ettukiridde okuva ku ntandikwa paka ku nkomelero.
Si kyangu okulondora biki ebyaliwo mu mwoyo mu mirembe egy'ekizikiza. Naye okuva mu kisera eky'okwedabuluza, tusobola okulaba butya amazima ga baibuli bwe gakomezebwa limu ku limu. Kiri mu ntegeeka ya Katonda nti ku nkomelero embeera ze zimu entuukuvu ziribelawo mu kkanisa, nga bwe kyali ku ntandika. Tutekwa okukuba ekifananyi ku saasira ezasoka ne mwezi era oba oly'awo n'emyaka ezasoka oluvanyuma olw'olunaku lwa pentikoti. Buli kintu kyali kitufu: embulira, obumanyirivu, obuwereeza, ebirabo; buli kintu kyakolebwa na mwoyo era kyakulemberwa na mwoyo. Embeera eno we wawo yali ya kasera kampi kokka. Ebizibu ne bitandika mango ago. Ebaluwa ezikwatagana ku by'ebimu zikidulirakko.
Ab'oluganda abataweebwa lukusa bagezako okuwamba obuwereeza, era nga babulira ekigambo ekitabudwa n'enjigiriza zabwe ezewunyisa, okusooka mu nkukutu oluvanyuma mu bwaanga. Buli mu ngeri, omulabe yaleta okuyoogaana era nasiga ensigo ye ey'enjawulo. Nga Pawulo akwaata ku bintu ebiimu, yagamba, “kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe, nga mu kkanisa zonna ez'abatuukuvu” (1 Cor. 14:33). Ky'ekimu ekiriwo n'olwalero. Singa tutukuzibwa okuyiita mu mazima, nga kye kigambo kya Katonda ekibikulidwa mu lnaku luno, kati awo tugenda kuba n'emirembe mu mitima gyaffe, mu maaka gaffe era ne mu kkanisa.
Tulina okukkiriza mu ndowooza zaffe, enjogera, era na buli ngeri, eri enkola ya Katonda. Okuyoogaana ebisera ebisinga kuwerekelwa n'ebintu ebitatasanyusa; emirembe gyigenze era okukungaana kumenyese. Obukyayi, obulaabe ne fitina bye bivamu. Mu kuyoogaana okuli nga bwe kutyo, buli muntu ayogera lulimi lwe, teeri ategeera munne; bonna bakkiriza ndowooza zabwe era ne bakkiriza biki ebiri mu kufumintiriza kwabwe si kiki ekyayogerwa oba okutegezebwa n'omuntu omulala. Teeri n'omu afananirizibwa okuba nga aky'abuza mukama yandikooze atya era yandyogedde atya? Bakkiriza ab'emirembe egyedda abakoola ekitufu, lwe lunaku lwe luumu nga enjuba tenaba kugobola, kakaano bayimuka ku makya agadakko nga tebawuliriza bye baali bakooze. Buli omu alowooza okuba omutufu, batono abeetefutefu okugolorwa n'ekigambo n'omwoyo. Bangi abalowooza okumanya kiki abalala byebandikoze oba nedda.
Omwana wa Katonda atekedwa okuba n'amaanyi n'embara za Yesu Kristo, omwana wa Katonda. Singa tujuziibwa omwoyo, tuberakko ebibala eby'omwoyo nga byeleta byenyini. Kati no awo tubere nabiki Pawulo by'agamba eri Abafiripi mu nsula 2: okudizibwamu amaanyi mu Kristo, ddembe mu kwagala, okukungana mu mwoyo, okwagala okw'okusasira n'okulumirwa.
Obuwereeza obw'okutuzaayo bulina okuva mu by'ebimu.
Watekwa okuberawo okweeza obupya, okutukuzibwa n'okujuzibwa n'omwoyo omutuukuvu - obumu wansi wa Kristo, omutwe ogw'abantu bonna abeegase awamu mu mubiri gwe. Obumu obwo guliba mulimu gwa Katonda mu balonde.
Tulina okufuna obubaaka obw'okutuzaayo, naye era twetabe mu kutukirizibwa kwabwo okwa namaddala. Bwetuba nga ffe otwayiitibwa mu kisera kino, tetulikolagana na njigiriza etaalimu, naye mu mazima ag'ekigambo n'okutuzayo ku njiiri enzijuvu ey'obwakabaka bwa Katonda. Era tusubira okukakasibwa kwe kumu ku kigambo ky'ekimu.
Buli omu asindiikibwa ne Katonda, alyogera ekigambo kye era alisobola okwogera nga tabusabusa kiki kye yagamba, “engigiriza yange si yange nga omuntu, naye y'oyo eyansidika” (Yokana. 7:16). Buli njigiriza eddayo eri gye yasibukira. Mu njjuyi ez'enjawulo ez'obubaka si kigumu okunonya ensibuko yabwo. Abasomesa banji abetekawo benyini bavunanizibwa ku kavuuyo akaleetebwa.
Eriyo omuntu yenna alekeddwayo asobola okwogera amazima mu maaso ga Katonda omuyinza w'ebintu byonna, “Enno y'ensomesa entufu ey'abatume!?” Bonna bakyuka okuva ku kigambo ekyanamaddala era ne bagunjawo envunnula okusinzira ku nfumintiriza zabwe? Ensomesa mmekka ezisasanidwa, nga baziraga okuba okubikulirwa okw'enjawulo! Singa enjjigiriza tesangibwa mu bwiino nga ewandikiiddwa mu byawandikibwa, si ya Katonda. Buli agyogerera, teyasindikibwa naye era buli agyikikiriza, alimbidwa. Bulijjo tulina okugezesa buli kintu ekiijja n'ekigambo.
Kyabwerere okulaga nabbi era n'okwogera ku bubaaka era ne tutwala ebintu ebitatukana mu ndowooza zaffe mu kifo eky'okutwala ekigambo kya Katonda. Ow'oluganda Branham yateeka essiira ku bintu ebyetagisa okuninintiza mu kisera kino. Singa ntegezeebwa burungi, yalina emize ebiri gyoka: kwali kuyiiga na kuvuba. Teeri n'omu alowooze nti yakuba ebitongole n'ebibina bya madini lwa kusaga. Okuyita mu mwoyo, ye yakimanya nga ekkubo lye bakutte ligenda ku bakulembera mu kuzikkirira. Teyalina kusalawo, kubanga yali wansi wakutongozebwa kwa Katonda. Teriyo n'omu yandikoze oba kwogera biki bye yakola. Yalondebwa olw'ekigendererwa ekyo. Teyandisayusiza bantu, yalina kusanyusa Katonda (Bag. 1:10). Era yalaga ebyawandikibwa ebya basajja n'abakazi. Kyali kitundu eky'obuwereeza bwe okuzaayo ebintu mu mbeera y'ensibuko. Enkola ya Katonda yali n'okuzimbibwa mu mbeera yonna, kati no Katonda ow'emirembe abeere n'engeri ye mu kkanisa. Nga Pawulo, yalina obuvunanizibwa obwa Katonda era n'ayagara okuleeta omugole nga emberera eri Kristo (2. SBak. 11:1-3).
Tulina okuyita mu mutendera ogw'okutukuzibwa era tubere betefutefu okusimbibwa nga abaana ab'obulenzi n'obuwala mu kwagala okutukiridde okwa Katonda. Abakkiriza abatufu banazibwa na maazi ag'ekigambo, kubanga banunulibwa na musayi ogw'endiga. Teeri kisigala oluvanyuma olw'okunazibwa n'ekigambo ekitukiridde, tewali baala era tewali lufunyiro. Nga kino kimaaaze okuberawo, okuyonjebwa okw'omugole kusobola okutandika. Bangi bageezako okweyambaza n'okunokola kwe be londende, naye tuleke ebiwandiko ebyo eby'okutukuzibwa eby'amakulu ennyo. Oluvanyuma nga tuyimiridde mu kutya Katonda era netuwa ekitibwa eri ekigambo kye, tugenda kulaba ebisuubizo ebisembayo nga bitukirira.