Kulubereberye waaliwo Kigambo si ku vunuula

Kiki eky'esigamibwako?

« »

Katonda era n'ekigambo kye kyoka ky'esigamibwako. Ibulayimu y'akkiriza Katonda n'atabalibwako kibi (Abaruumi 4). Abakkiriza bonna ab'amazima y'ensigo ya Ibulayimu ey'omwoyo (Abaggalatiya 3). Batambulira mu bigeere by'okukkiriza, nga bakkiriza nga eby'awandiikibwa bwe bigamba. Obujulizi bwa Katonda bulambulukufu, bw'ekutyo bwe buli n'obw'abannabbi n'abatume. Kaakano ekyetagisa bwe bujulizi bwaffe obwagalwa okutambulira awamu n'ebyo ebyawandiikibwa.

Buno Obukristayo buganye okukkiriza kwa mazima ne ba gunjawo e'nzikkiriza yaabwe. Katonda Omu yayawulwa mu bantu abassatu ab'enjawulo, abasinzibwa abassatu nga b'anjawulo. Ne bagoberera Okugulumiza Mariamu mu n'geri ya "Mama wa Katonda", ne "Azaala Katonda" (431 nga Kristo amaze okufa). Kino kya bumalirivu, wano emyoyo gye yawula, kubanga kyawandiikibwa, "Mutegeerenga ku kino omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga yesu Kriso yajja mu mubiri nga guvudde eri Katonda: na buli mwoyo ogutayatula yesu nga te guvudde eri Katonda: era ogwo ggwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo…" (1 Yokaana 4:2-3). Kubanga bajja be kkanisa balangirira Omwana okuba "Katonda okuva mu Katonda era Obutangavu okuva mu butangavu", ekyo kye, ku lw'ekyo, okwenenya okugendera ddala eri omulabe wa Kristo. Baibuli temanyi Katonda alina nnyina. Katonda ava mu butaliko ntandiikwa n'akomerero okutuuka mu butaliko ntandiikwa n'akomerero. Elizabethi bwe yajuzibwa n'omwoyo omutukuvu, ya yogera ekyabalibwa emirembe gyonna. Bwe ya buuza Mariamu te ya ggamba nti, "Mama wa Katonda aze gye ndi.", naye bw'ekiti bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'amazima, "Nange no ekigambo kino kivudde wa, nnyina Mukama wange okujja gye ndi?" (Lukka 1:43). Malayika naye te ya langirira okuzaalibwa kwa Katonda, naye okuzaalibwa kwa Mukama waffe, nga bwe kyawandiikibwa mu Lukka 2:11.

Omwana yazaalibwa, Ye Kristo, Omulokozi, Eyafukibwako amafuta, Masiya, eyelaga mu mubiri gw'omuntu. Si Mwana atalina ntandiikwa n'ankomerero eyelaga mu mubiri – gw'omuntu naye Ye eyali Ekigambo mu lubereberye, nga bwe yali mu lubereberye yelaga ng'Omwana mu mubiri gw'omuntu. Gano ge mazima g'obw'aKatonda. Okwenenya kw'ekkanisa mu bwonna ddala si kwa byawandiikibwa, si kwenenya kwa Kristo, naye okwo kwa mulabe wa Kristo. N'olw'ekyo kyawandiikibwa mu kulaga okwenenya kwa Baibuli okukwatagana ku Mwana, "Buli muntu yenna agaana omwana, ne kitaffe nga tali naye; ayatula omwana – ng'ebyawandiikibwa bwe bi mulangirira – ne Kitaffe ali naye."(1 Yokaana 2:23). Nga okwogera kuno kumaze okubaawo Omutume Yokaana yalabula ku mulabe wa Kristo, atenenya nti Yesu ye Kristo okuva bw'eyelaga mu mubiri gw'omuntu Kye yatekako esira Kwe kufuukibwako okw'amafuta g'omwoyo omutukuvu, ogutuyigiriza okusinzira ku byawandiikibwa "Nti tewali bulimba – si kw'oyo omwana atalina ntandiikwa n'akomerero – ye w'amazima" (1 Yokaana 2:18-27). Omwoyo mutukuvu tegwogera lumu ku kuzaalibwa kwo mwana wa Katonda mu ggulu, naye elangirira mu ndagaano enkadde Okuzaalibwa kw'omwana okwaliwo ku nsi, nga endagaano empya bwe kakasa. Mu ggulu waaliyo kyoka >>Omwana w'okumakya<<, Lusifa. Naye yegulumiza yekka, n'agwa, n'afuuka omuwakanyi (Isaaya 14:12-14; Ezeekyeri 28:11-17), katonda w'ensi eno (2 Abakkolinso 4:4).

Era n'okugulumiza Mariamu ng'omutabaganyi n'omuwolereza, okutuuka okumuyita kabaka omukazi ow'omuggulu, era okutwala obulombolombo obw'ekifo ekyetegeredde era eky'okutwalibwa kwe mu ggulu nebilala, nebilala, byo mulabe wa Kristo. Singa kyaliwo, awo abatume okusingira ddala bandi kilaze mu baluwa zaabwe, nga bwe bakola mu kuwandiika kw'oyo atamanyi musaja mu kuzaalibwa kwa Kristo n'okutwalibwa kwe mu ggulu. Enjogera ezo zonna ezo kukkiriza te zirina musingi gwa Baibuli, teziva eri Kristo, ekitebe ekikulu eky'ekkanisa, era n'olw'ekyo ziri n'okulangirirwa okuba omulabe wa Kristo. Buli kyawandiikibwa kye kitawako bujulizi kiri n'okuganibwa. Baibuli eyogera ku Yesu yekka okuba omutabaganyi era omuwolereza, era teri muntu mulala yenna. Ye yekka ye Kabaka wa ba kabaka. Tewali bwetavu bwa Kabaka omukazi ow'eggulu – oba mu ggulu oba ku nsi. Nakyo kyawandiikibwa, "Tewali muntu eyali alinye mu ggulu wabula eyava mu ggulu ye mwana w'omuntu ali mu ggulu" (Yokaana 3:13). Kiki eky'esigamibwako: nti kigambo kya Katonda kilanga ki oba kkanisa ki bajja ba makkanisa ne papa ba gunjizawo mu biseera? Era ne byamaanyi ebikwata ku "kusikiza obuyinza bw'omyo obw'abatume eri ba papa" era nti ne peetero ye yali Papa eyasooka tekikkirizika. Oba Baibuli oba byafayo bya kkanisa teragako mu buwandiike nti yali abeera mu Roma.

Mu kulaga okusinza Mariamu na batukirivu abalala bonna era n'emukulabika kwabwe, omu asobola oku yimiriza eki buuzo singa kino ki kya yitibwa obuweereza bwa Katonda. Okusoma ku Mariamu ne bitibwa byonna ebimuwebwa n'abatukirivu mu butuufu kya bugwirwa eri Baibuli. Oluvannyuma lwo lunaku olwo olwamanyibwa olw'abatume bwe yali nabo 120 yafuna omwoyo omutukuvu eky'etagibwa eri abakkiriza teyayogerwako nate okuyita mu ndagaano empya yonna. Yali ekibya kya Katonda eky'alondebwa, ebeerera, okuzaala Omwana w'obulenzi (Isaaya 7:14) era yali atukkiriza ekyo ekimu, mulimu gw'amuwendo ogw'amuweebwa. Yali era ngalina okuba ekitundu kyo kugwa, omukozi we kibi ng'omuntu, mu oyo omununuzi mwe yali alina okuzaalibwa okutulokola okutujja mu kugwa. N'olw'ekyo yenenya nga Kristo okuba omulokozi we (Lukka 1:47). Ekkanisa ya Roma mazima ekyusiza enjigiriza y'aKatonda eyasooka era mu kitundu yafuusa ebintu okuva ku Kristo okubiza ku Mariamu. Setaani, omulangira w'ensi eno, yakozesa bajjajja ba makkanisa okuleta okuzikkiriza kw'omwoyo. Omulabe te ya zikkiriza entegeka y'obutonzi yokka naye netegeka ya Katonda ey'obulokozi, n'olw'ekyo Okusinza te kugenda eri Mukama Katonda, Omutonzi era Omulokozi naye wansi w'amaanyi g'enzikira ku ye. Byonna ebintu ebitali mu byawandiikibwa mu abo abagaana Katonda wansi w'obubondo bw'obukristayo bali n'okutekebwa mu kugezesebwa bamale ba tekebwe ku musango.

Bajjajja ba makkanisa tebali batume oba bannabbi, ba gunjawo okutegera kwabwe eri Katonda era n'amasomo g'enjawulo, oluvannyuma ga tekebwa okuba ag'okukkiriza n'obulombolombo. Tebalina kutegera kw'okumanya okwanamadala okw'entegeka ya Katonda ey'obulokozi, e'ngeri bwe yagambibwa mu ndagaano enkadde ne baawo mu biseera by'endagaano empya. Katonda ya nunula abagwa okuva ku Ye yayawula omuntu okuva mu kufa era natabagana naffe ne ye mwennyini, nga atuwa obulamu obutaggwaawo. Adamu yatondebwa ng'omwana wa Katonda mu ntandiikwa y'obutonzi bwa Katonda. Kristo ye Mwana yekka eyazaalibwa, entandiikwa y'obutonzi bwa Katonda obupya (Okubikkulirwa 3:14). "Oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye we bintonde byonna." (Abakkolosaayi 1:15-16). "Kubanga bwe yamanya edda, era yabaawula dda okufaanaanyisibwa n'engeri y'omwana we, abeerenga omubereberye mu boluganda abangi." (Abaruumi 8:29). "Kubanga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n'okuzuukira kw'abafu kw'abaawo ku bw'amuntu. Kuba bonna nga bw'ebaafira mu Adamu, era bw'ebatyo mu Kristo bonna mwebalifuukira abalamu." (1 Abakkolinso 15:21-22).

Eri bonna babazaalibwa-omulundi ogw'okubiri abaana b'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda ebyawandiikibwa ebidako bigenda gye bali, "Omuntu yenna wa aba mu Kristo kyava abeera ekitonde ekijja: eby'edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya." (2 Abakkolinso 5:17). "Era okufuuka abajja mu mwoyo ogw'ebirowoozo byamwe, okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butukirivu ne mubutuku obw'amazima." (Abaefeso 4:23-24). "Nammwe bwe mwali nga mufudde olwebyonono byammwe n'obutakomolebwa mu biri gw'ammwe, yabafuula mulamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna." (Abakkolosaayi 2:13). "Olwo kuteesa kwe yazaala n'ekigambo eky'amazima, tubeere ng'omwakka omubereberye ogw'ebitonde bye." (Yakobo 1:18). "Bwe mwazaalibwa omulundi si na nsigo eggwaawo wabula etaggwaawo n'ekigambo kya Katonda ekitaggwaawo eky'olubeerera (1 Peetero 1:23).

"Era nga bwe twatwala ekifaananyi kyoli ow'ettaka, era tuli twala n'ekifaananyi ky'oli ow'omuggulu." (1 Abakkolinso 15:49). "Naye Mukama waffe ggwe mwoyo: era awaba omwoyo gwa Mukama waffe we waba edembe. Nafe fenna we tumasamasa ng'endabirwamu, ekitiibwa kya Mukama waffe tufaananyisibwa e'ngeri eri okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa nga kubwa Mukama waffe mu mwoyo." (2 Abakkolinso 3:17-18). Omununuzi yali alina okulabika mu mubiri gw'omuntu wano ku nsi okumaliriza omurimu gw'obununuzi. Ku musalaba ya kaba, "Kiweedde!" "…Katonda, bwe yatuma Omwana we Ye mu kifaananyi eky'omubiri ogw'ekibi era olw'ekibi n'asalira omusango ekibi mu mubiri." (Abaruumi 8:3).

Nga Katonda emabega bwe yatuma bannabbi bonna wadde ne Yokaana omubatiza eyalabibwa omusaja eyatumibwa okuva eri Katonda naye bonna nga bazaalibwa ku nsi Omwana naye yatumibwa oluvannyuma lw'okuzaalibwa wano ku nsi. Ensobi eyaaliwo okuyita mu yigirizibwa eby'enzikiriza esangibwa mu kabondo kabo abakkiriza nti Omwana abeerawo ng'ogyeko Katonda mu butaggwaawo. Omutume Pawulo yalambulura kino eri ffe mu Baggalatiya 4:4, "Naye okutuukirira kwe biro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazalibwa ng'afugibwa amateeka." Era n'olw'ekyo "mu byonna okufaanaanyisibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi eby'abantu." (Abaebbulaniya 2:17).

"Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bwalilabisibwa tuli faanana nga Ye; kubanga tuli mulaba nga bwali."(1 Yokaana 3:2). Okuzuukira kwe mu mubiri ogw'ekitibwa kwe kukakasibwa kw'okuzuukira n'omubiri gw'ekitibwa.