KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Abayudaaya, abakristayo era n'abamuhammedi e'nzikkiriza bo beyita nti ba “monotheistic”, kwe kugamba, nti bakkiriza Katonda omu. Naye bajira ddala mu byonna mu kufuna ewbivamu nga by'anjawulo ku Katonda. Enjigiriza zaabwe era n'okusuubira kwabwe kwonna tekufaananira ddala.
Omu ananyonyola atya enkulankulana endala zonna, bwe kiba nga bonna bava wamu? Katonda teyali mulambulukufu ekimala? Abayudaaya ng'abalondebwa ab'obujulizi bwe te bategeera okwelaga kwe mwennyini? Abakristayo ba vunuula mu bukyamu ky'ekimu? Era n'abasiramu mu byonna bakigaana, ne batabulibwa n'amateeka agayita edda? Katonda yawa obujulizi bwonna obumala obwa ye mwennyini, naye tulina okwawula wakati w'obujulizi bwe mwennyini obuli mu Kigambo kye, ekiweebwa mu mazima okuyita mu bannabbi be bonna, era wakati waba wandiise ne byo bye bakola. Oyo akkiriza ddala mu mazima, mu ebyo Katonda bye yagamba mu Kigambo kye mwennyini. Abantu kye bagamba ku Ye era n'ekigambo kye si kituufu, naye kye ky'ali ensibuko y'okugunjawo amaddinni ag'enjawulo era n'enzikkiriza okubaawo. Mukama ayagala okweyannjula mwennyini e'ngeri gy'ali, si n'geri gye tumukola abeere.
Okuyita mu nnabbi Isaaya Ayogera “Mmwe muli bajulirwa bange, bw'ayogera Mukama, n'omuweereza wange gwe nnalonda: mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; TEWALI KATONDA eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra. Nze, nze mwene, nze MUKAMA; so TEWALI MULOKOZI wabula nze.” (esula 43:10-11). Omujulizi omutuufu alina okuba yalaba era nga yawulira ekintu, alina okuba nga yaliwo nga byonna bikolebwa, nga tanawa bujulizi. Ekigambo kyajja eri bannabbi. Katonda yabakozesa okujulira ebyo bye balaba, bye bawulira era ne babimanyirira. Abantu ba Isiraeri awamu bayitibwa “abaddu”era “abajulizi”. Okuyita mu Ibulayimu, Isaaka, era ne Yakobo, baali balondebwa okusitula obujulizi obusinga obutukuvu obwa Katonda mwennyini. Omurimu gwe kkanisa kwe kujulira ku kwelaga kwa Katonda mwennyini, nga kwe kutegeera kwennyini okwe kyama ekikulu ekimanyiddwa.
Okwa Yokaana Omubatiza tusoma, “Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana. Oyo yajja Olw'okutegeeza eby'omusana, bonna bakkirize mu bubwe. Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'omusana.” (Yokaana 1:6-8). Obujulizi obw'ali businga obukulu yali Mukama mwennyini, ey'agamba, “Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa nsi, ayogera bya mu nsi: ava mu ggulu ye afuga byonna. Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima.” (Yokaana 3:31-33). Pawulo awandika, “Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba.” (Abaruumi 3:4). Kumpi kigambo kye kimu nga bwe kiri ne mu Isaaya 43 kya yogerwa eri eriso era n'okutu okwo lunaku olwo, “abatume”, abalaba byonna eby'aliwo n'oyo eyafukibwako amafuta, “nammwe munaabanga bajulirwa bange mu yerusaalemi ne mu buyudaaya bwonna ne mu samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa by'abatume 1:8b).
Abatume n'abo bawa obujulizi mu n'geri y'enjawulo ku kino. Yokaana awandika, “Ekyabaawo okuva ku lubereberye, kye twawulira, kye twalaba n'amaaso gaffe, kye twatunuulira, era engalo zaffe kye zaakwatako, ebya Kigambo eky'obulamu … n'obulamu bwalabisibwa, ne tulaba, era tutegeeza, era tububuulira mmwe …” (Yokaana 1:1-3). Peetero yawa obujulizi bwe, “Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.” (2 Peetero 1:16).
Obumu bw'endagaano enkadde n'empya era n'okukolera awamu okwa namaddala okwa ba nnabbi n'abatume kirina okubeera ekyamaanyi eri buli omu. Kubanga emirembe kyonna kye kimu Katonda ayogera n'akola. Yokaana awandika, "… eyategeeza ekigambo kya Katonda n'okutegeza kwa Yesu Kristo, byonna bye yalaba.” (Okubikkulirwa 1:2). Bannabbi era n'abatume te bayogerako nti, "ndowooza bw'entyo", "oba kisobola okuba" "kyandibaba bw'ekiti" oba "singa kiri bw'ekiti". Mu bigambo byabwe era n'obujulizi kye kiri eri eky'enkomeredde, kubanga baawulira, baalaba, ne babimanyirira.
Mu kulaga kuno te tugenda kwe tekamu ffe bennyini ebirowoozo bingi eby'abasomi era ne zabasomi be by'enzikkiriza, oba ne bye bawandika oba bye banyonyola. Mu kusingira ddala tugenda kusigala mu byawandiikibwa ebitukuvu, nga kye kipimo era gwe musingi gwokka. Tewali muntu asobola okutegeera ebyama bya Baibuli eby'ebuziba; ekyo kituufu. Kubanga ekyawandiikibwa mu 1 Abakkolinso 2:14 kigya kwe bikula kyennyini okutuuka ku nkomerero, “Naye omuntu ow'omukka obukka takkiriza bya mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy'ali; tayinza ku bitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.”
Pawulo naye awandika ebikwata ku bintu, amaaso bye gataanalaba, n'amatu bye gataawulira, nebirala bingi, naye bikoleddwa okumanyibwa, “Naye ffe Katonda yatubibikkulira ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda.” (I Abakkolinso 2:10). Okuyita mu Kigambo kya Katonda tutegeera ebyama eby'akwekebwa era n'amagezi ag'alagibwa aga Katonda nannyini buyinza (1 Abakkolinso 2:7) .
Abakkiriza bennyini bakulemberwa mu mazima ge Kigambo okusinzira ku Yokaana 16: 13, “… Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabalunggamyanga mu mazima gonna." Okwogera mu Baruumi 8:14 ki ky'ali kituufu: “Kubanga bonna abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo be baana ba Katonda.” Omwoyo gw'omuntu tegulina buyinza ku maanyi ago aga Katonda.
Katonda ava mu butaggwaawo: Ye muntu mu n'geri y'omwoyo, (Yokaana 4:24). yali yakwekebwa mu bukulu bwe okutuusa bwe yajja. Mu 1 Timoseewo 6:16, tusoma ku Ye, “… alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.” Obutagwawo tebulina ntandikwa, era n'olw'ekyo, tebusobola ku komenkereza. Katonda bwe yava mu butaggwaawo, ebiseera n'ebitandika. Baibuli ey'ogeera ku kiseera ekyo nga "olubereberye" Mu lubereberye, Katonda, ebitamanyiddwa n'ebitanalabibwa, by'ava mu bulamba bwe obw'obukulu era nalabika mu n'geri elabibwa, okulabika kwa Katonda, nga gwe mubiri gw'omwoyo.
Mu Lubereberye 1:1, tusoma, "Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi." ekyo "Olubereberye" te ky'ali butaggwaawo butakoma naye nsonga ezilaga entandikwa y'ebiseera, Katonda bwe yatandika okukola ku ntegeka ze enkulu.Yokaana awandika ku biseera bya Katonda ng'akola, "Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda." (Yokaana 1:1). Okusookera ddala, Katonda yatonda eggulu era ne byonna ebiririmu, n'alyoka atonda ensi n'ennyanja era n'ebiririmu byonna. Semazinga ono, ayitibwa "ensi" yali telina kikula kyonna era nga teriwo; te waaliwo butangavu era n'obulamu ku nsi. Ekizikiza ky'ali ku nsi. Katonda n'alyoka ayogera "Katonda n'ayogera nti wabeewo obutangavu. Ne wabaawo obutangavu." (Olubereberye 1:3). Buli kintu kya beerawo lwa maanyi ga Kigambo kye eky'ayogerwa. Ekigambo kye kirina amaanyi g'obutonzi mu kyo kyennyini (Abaebbulaniya 11:3). Obutonzi obukulu obw'ensi bujulira obukulu bw'omutonzi.
Tewali muntu alina kugeregeranya magezi ge agobusomi ku mutonzi, oba omuntu yenna okumunyonyola okuyita mu ku soma eby'enzikiriza mu matendekero. Ye ali waggulu wa byonna ebya gunjibwawo era ali waggulu wa magezi gonna agalibaawo emirembe n'emirembe, nga bwe kyawandiikibwa "… laba, eggulu n'eggulu ly'eggulu teriyinza kukugyamu." (1 Bassekabaka 8:27). mu Isaaya 66: 1, tusoma, "Bw'ati bw'ayogera Mukama: nti Eggulu ye ntebe yange n'ensi ye ntebe y'ebigere byange." Nannyini buyinza ajuza buli kintu kyonna; Ye takoma era n'obuyinza bwe tebulina ntandikwa na nkomerero. Teyasigala nga tamanyiddwa, Katonda eyakwekebwa atalina linnya na ndabika – Yakola mwennyini okutegerebwa mu makubo ag'enjawulo okuva ebiseera lwe byatandika.