KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Mu Danyeri 7:9-10 ekintu ekyaliwo kyawandikibwa, “N'endaba okutuusa entebe bwe zaateekebwawo, n'omukadde eyakamala ennaku ennyingi n'atuula: ebyambalo bye byali bitukula ng'omuzira, n'enviri ez'okumutwe gwe ng'ebyoya by'endiga ebirungi: entebe ye yali nnimi za muliro, ne bannamuziga baayo omuliro ogw'aka …” Katonda awatali kubuusabuusa talina myaka, talina jjajjawe ye Kitaffe era oyo omu Katonda atakyuka emirembe n'emirembe. Mu kuyolesebwa kuno, Danyeri yamulaba ng'omulamuzi, Asinga obuyinza mu bukulu bwe bwonna era ne mu kitiibwa kye. Olutindo lulagibwa mu lunyiriri 13. Danyeri n'agamba, “N'endaba mu ebyo by'enayolesebwa ekiro era, laba, n'ewajja omu eyafaanana ng'omwana w'omuntu, n'ebire eby'omu ggulu, n'ajjira ddala eri omukadde eyakamala ennaku enyingi, nebamusembeza mu maaso ge.”
Ebyawandiikibwa bwe bityo bya kozesebwa okukakasa abantu bangi okuba mu bulamba bwa Katonda, mu byonna mu kutunuulira amazima agali mu kifaananyi ekyabannabbi bannabi b'endagaano enkadde baalaba ebiri beerawo mu ndagaano empya. Okuyolesebwa kuno tekuna tukirizibwa okutuusa ne ku lunaku luno: “N'aweebwa okufuga, n'ekitiibwa, n'onwakabaka, abantu bonna amawanga n'ennimi bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw'emirembe gyonna okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwe obutalizikirizibwa.” (olunyiriri 14).
Ebiseera bijja Kristo bw'alifuga nga Kabaka, era naffe naye. Ogenda kw'ekanga okusanga okulabisibwa kwe kumu okw'ennaku enkadde nga kuli wamu n'Omwana w'Omuntu? Okulambulura kino tugenda kusoma mu Kubikkulirwa 1, okuva ku kanyiriri 13, “… ne wakati we tabaaza n'endaba afaanana ng'Omwana w'Omuntu ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olw'azaabu n'omutwe gwe n'enviri ze nga zitukula ng'ebyoya by'endiga ebitukula ng'omuzira; n'amaaso ge ng'ennimi ez'omuliro …”
Bwe tusoma ku ngeri ezakozesebwa mu ndagaano empya, twandi gambye mu bugonvu, Danyeri yalaba kitaffe n'enviri enjeru, era Yokaana yalaba omwana n'enviri enjeru okulabisibwa kwombi kulagira ddala nga kw'ekumu. Kino kyokka kikakasa nate nti omwana kwe kulabisibwa kwa kitaawe era ekisembayo abeera mu Katonda, nga bwe kyawandiikibwa mu 1 Abakkolinso 15: 28, “Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi o'woyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.” kino kilambulukufu nnyo.
Waliwo ebiseera, Omwana bwe yali nga taliwo, naye yali Mukama kaakano abeerawo nga Omwana, era aliba Mukama nate. Y'omu, Yokaana gwe yalaba ng'atambulira wakati w'etabaaza omusanvu eza zaabu nga Omwana w'Omuntu, eyawa obujulizi bwe yennyini n'ebigambo ebigoberera, “Nze ndi Alufa ne Omega, bw'ayogera Mukama Katonda, abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, omuyinza w'ebintu byonna.” (Okubikkulirwa 1:8). nga Mukama tanaawa obujulizi bwe yennyini, Yokaana yamulaba mu kuyolesebwa ng'ajja, “Laba, ajja n'ebire; era buli liso lirimulaba, n'abo abamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo Amiina.” (olunyiriri 7).
Mu Kubikkulirwa 20: 11, entebe enjeru ey'omusango elagibwa. Omu Yekka ye yali atudde ku ntebe; mu maaso ge bonna balikunggana. Yokaana awa obujulizi, “Ne ndaba entebe ey'obwakabaka enene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi n'ebidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa n'akifo. Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, ng'abayimiridde mu maaso ga Katonda …”.
Mu Kubikkulirwa 22, tusoma ku ntebe ya Katonda era n'eyomwana gw'endiga (olunyiriri 1+3), naye bwe kijja ku mulaga ye ng'omuntu, awatali kubuusabuusa ayogerwako mu muntu omu (akanyiriri 4), “… era banamulabanga amaaso ge (si mu byenyi byabwe); era n'erinnya lye (si: manya gabwe) binabanga mu byenyi byabwe.” mukumaliriza oyo eyayogera mu lubereberye aliwulirwa nate. Mu sula esembayo ey'ekitabo ekisembayo tumuwulira ng'agamba, “Laba, njija mangu; n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omurimu gwe bwe guli. Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero.” (Okubikkulirwa 22: 12-13).
Omuntu yenna amanyi nti ebitabo bingi byandi wandiikiddwa ku mutwe guno omunene. Bino ebitono ebyawandiikibwa eby'okulabirako bigenderera okuyamba buli omu okukola okunonyereza kwe n'okusaba. Tulina okusigala mu Kigambo kya Katonda ekitukuvu mu buli kintu kye tukkiriza ne tuyigiriza. Ebintu byonna bwe biri malirizibwa, tewaliba nate bw'etavu obusingawo obw'omulokozi, omuwonyi, omutabaganyi, n'omuwolereza – byonna birileetebwa nate eri Katonda era n'okutuukirizibwa ku lw'obutaggwaawo bwonna. Awo tetuliwulira nate ku mwana w'omuntu, ku mwana wa Dawudi, ku mwana wa Katonda – Katonda mu bugonvu aliba byonna mu byonna.
Okulabisibwa okusangibwa mu Kubikkulirwa 21: 3-7 kiweebwa nga ekyokumaliriza n'okulabisibwa kuno okumpi, “N'empulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe ng'alyogera nti laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era an'atulanga awamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anabeeranga awamu nabo, Katonda wabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gabwe era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby'olubereberye biweddewo. N'oyo atuula ku ntebe n'ayogera nti laba, byonna mbizziza buggya. N'ayogera nti wandiika kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era by'amazima. N'agamba nti bituukiridde. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina enyotya okunywa ku mu luzzi lw'amazzi og'obulamu buwa. Awangula alisikira ebyo: nange naabeeranga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.”