KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Tuli kukolera ddala ku mazima agetagisa, nti Katonda amaliriza entegeka ze n'abantu. Yalina okuteekawo enkolagana eri ffe; n'olw'ekyo, yalabikira abaana ba bantu nga Omwana w'Omuntu. Mu Abaebbulaniya 2:6-9, tusoma, “Omuntu kiki, ggwe okumujjukira? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira? Wamukola okubulako akatono okuba nga malayika; wamussaako engule y'ekitiibwa n'ettendo, n'omufuza emirimu gy'emikono gyo: wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye. Kubanga mukuteeka ebintu byonna wansi we teyaggyako kintu obutakiteeka wansi we. Naye kaakano tetunnalaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. Naye tutunuulira oyo eyakolebwa okubulako katono okubanga malayika, ye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'assibwako engule ey'ekitiibwa n'ettendo, olw'ekisa kya Katonda alyoke alege okufa ku lwa buli muntu.” Kino kyonna kyaliwo ku lwa ffe. Yalina okutwala omubiri gwe tulimu, okusobola okubonaabona, okufa, era n'okuzuukira okuva mu bafu n'agenda mu kitiibwa. Ku lw'ekyo, yatuteekerawo ekubo.
Mu Abaebbulaniya 2:10-11, kigamba, “Kubanga ky'amusaanira oyo ebintu byonna bwe biri ku bubwe era yabikozesa byonna, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutukiriza omukulu ow'obulokozi bwabwe olw'ebibonyoobonyo. Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omu bonna: kyava alema okukwatibwa ensonyi okubayita ab'oluganda.” Oluvannyuma lw'okuzuukira Mukama yayogera n'omukazi eyali ku ntaana, “Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gy'ebalindabira.” (Matayo 28: 10).
Kirowoozo nga kya kyewunyo! Oyo atukuza era n'abatukuzibwa balina kitaabwe omu. N'awo, Ekigendererwa Kya Katonda kimalirizibwa okutuuza gy'ali nga abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala okuyita mu Yesu Kristo. Ekirowoozo kye kimu kye kisangibwa nga kyakakasibwa mu Yokaana 20: 17, “Yesu n'agamba nti tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye bagende eri baganda bange, ababuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitaamwe eri Katonda wange, era Katonda wammwe.”
Mu kumalizibwa kiri bikulwa nti bonna abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala balifuusibwa era bali labikira mu kwagala kw'ennyini okwa Mukama waffe Yesu. Yokaana awandiika, “Abagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alilabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tuli mulaba nga bw'ali.” (1 Yokaana 3:2). Awatali kubuusabuusa nga bwe kyawandiikibwa kijja kubaawo. Okuteesa kwonna okwa Katonda okutaggwaawo kujja kuyimirira era n'abo abakkiriza ddala mu mazima balilaba ekisembayo kyennyini.
Mu Zabbuli 22: 22, kigamba, “Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: wakati mu kibina naakutenderezanga.” Erinnya lye teryakolebwa kumanyibwa n'abuli omu era na buli muntu yenna, naye nga bwe kyawandiikibwa yennyini akola okumanyibwa eri baganda be. Be bo abatwala Katonda mu butuufu nga Kitaabwe ow'omu ggulu. Buli kintu kituweebwa ne Katonda okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe. “Era mwatuukirira mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna” (Abakkolosaayi 2:9-10). Kino n'akyo kituufu era kinalabisibwa mu baana b'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda.
Tulaba Katonda mu ngeri y'omuntu, nga bw'afuga ebintu byonna ebyegatta ku murimu gw'obununuzi. Nga omuzanyi bwalina okukola emirumu gy'enjawulo, n'olwekyo alina okuzanya ebimiru gyonna egyetagisa mu bulokozi bwaffe. Singa tunonyereza ebyawandiikibwa nga bwe batugamba okukola, tumusanga ng'alagibwa mu ngeri yonna. Mu ndagaano enkadde, ebyawandiikibwa byajjulira ky'alibeera. Mu ndagaano empya kilaga nti yali kutuukirira ku ebyo. Ku lw'abo abagamba nti balina obulamu obutaggwaawo era ne bakkiriza okuba abazalibwa omulundi ogw'okubiri mu butuufu kijja kuba kyangu okutegeera n'okubikkulirwa kw'obwa Katonda nti Kristo alagibwa mu kulabisibwa okw'enjawulo era ne mubuweereza.
Mu Yokaana 17: 3, ekyayogerwa ekyomuwendo kisangibwa. Yesu ya gamba, “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda Omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma Yesu Kristo.” Nga bwe tulaze, Kristo talabibwa nga Katonda omulala wabula ali Omu, naye ye kwe Kulabisibwa kw'olwatu nga bwe kyawandiikibwa mu Abaebbulaniya 1:3a, “…oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye ddala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonna n'ekigambo eky'obuyinza bwe …”. Mu Yokaana 6:40, ya gamba, “Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino, buli muntu yenna alaba omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.” nga kyamugaso okukkiriza bwe kuli nti Katonda yebikula mu mwana bwe kiri, kisobola okulabibwa mu bigambo ebigoberera: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza mwana, talilaba bulamu” (Yokaana 3:36).
Mukama yayannjulwa gye tuli. Mu kumaliriza tutunuulira emabega eri olubu lw'omuntu era netwenennya nga tomasi, bwe tulaba Yesu nga omuwanguzi omunene, “Mukama wange era Katonda wange!” (Yokaana 20: 28). Okusinzira ku bujulizi bw'omutume Pawulo, abo bokka abalina omwoyo omutukuvu mu mazima be basobola okw'enenya Yesu Kristo nga Mukama Kituufu, nga Mukama ye Katonda (1 Abakkolinso 12: 3).
Nga omulunzi omulungi, yawaayo obulamu bwe olw'endiga ze. Nga omwana gw'endiga ogwa Katonda, yayuwa omusaayi ggwe ku lwo bununuzi bwaffe. Nga kabona asinga obukulu, ya genda eri awatukuvu wa watukuvu. Nga omuwolereza atakabana ku bwaffe, nebirala. Naye ye jjija ekkulu ery'oku nsonda eryo ennyumba ye, ekkanisa ye kwe yazimbibwa (1 Peetero 2:4-10). ekkanisa bwe limalirizibwa, yalibeera ejjija ekkulu, ye Alufa era Omega, Ow'olubereberye era ow'enkomerero. Nga Omwana w'Omuntu, ye yali nnabbi; nga Omwana wa Dawudi, aliba kabaka, nga Omwana wa Katonda, yali mununuzi.
Buli muntu yenna alaba Mukama mu kulabisibwa kwe okw'enjawulo wabula Katonda, balina okukuma mu birowoozo nti bino byetagisa eri entegeka enene n'ekigendererwa kya Katonda eri omuntu okumalirizibwa. Ebiseera bwe biri yingira mu butakoma buli kintu kiriba kiwedde, era tulilaba Katonda okuba byonna mu byonna oluvannyuma lwe biseera by'ekisa nga bituuse ku nkomerero, tujja kufuga emyaka lukumi ne Kristo (Okubikkulirwa 20: 6). Kino ekisuubizo ekinene yakituwa mu Kubikkulirwa 3:20-21. Oluvannyuma lw'okufuga kw'emyaka olukumi kijja kuba omusango ogw'entebe enjeru, era ebiseera n'ebilyoka bikoma ne tuyingira mu butaggwaawo.