Ebbaluwa Omwezi - gw'ekkumi n'ebiri 2005

Emyaka anna – ebiseera bya Baibuli

« »

Ne Musa, Nnabbi asinga amaanyi ow'endagaano enkadde, era ne Dawudi, kabaka wa Isiraeri eyali yafukibwako amafuta okusinga abalala bonna, waaliwo ekiseera ky'emyaka 40 mu bulamu bwa buli omu obwali ekyokulabirako ekirungi nga okwagala kwa Katonda n'abaddu be era n'abantu be. Ekintu kyonna ekikolebwa mu ntegeeka ya Katonda ey'obulokozi, oba kiri ku Isiraeri oba ekkanisa, kiba kyateekebwayo edda era bwe kityo be bo abaali ekitundu ku ekyo. Era bwe kityo ebigoberera bulijo bituukirira, “… naye abaalondebwa baakiraba …” (Abaruumi 11:7).

Ng'omusingi gw'ensi tegunabaawo, ng'olubereberye terunabaawo, ng'ebiseera tebinabaawo Katonda yali yasalawo dda entegeeka yonna ey'obulokozi. Ya manya nti Omwana we omubereberye Adamu, gwe yatonda yennyini, mu ngeri yonna ng'alina okugwa, mu mubiri guno ogw'enyama. So bwatyo yalina okusalawo nti Omwana we ow'obulenzi omubereberye, ow'okubiri Adamu, yali wakulabikira mu mubiri ogw'enyama okutununula okuva mu kugwa era ne mu kufa, kwali kugidde abantu bonna. Adamu yakolebwa mu kifaananyi kya Katonda (Olubereberyr 1:27; Oluberebeye 5:1), Kristo ye yali ekifaanayi kya Katonda (2Abakkolinso 4:3-6; Abaebbulaniya 1:3).

Kimanyiddwa bulungi nnyo nti mu myaka egiyise ebittaano, okuva ku kuyitamu kw'okuza obuggya, enjiri nate ebuulirwa. Okuza obuggya okw'enjawulo okw'agoberera kw'ali essuula empya era kw'aweereza ng'okweteekerateekera okuza obuggya okudako. Emyaka nga kikumi egiyise, essuula empya enddala n'ejja okuyita mu kuzibwa obuggya okw'abapentakooti, mu ekyo omwoyo gwa Katonda gw'atambula mu ngeri ey'amaanyi. Emyaka nga nkaaga egiyise, Katonda nate n'akola essuula empya n'okuyitibwa akw'amaanyi ga Katonda William Branham mu mwezi gw'okutaano 7, 1946. kino kyavamu okuyitamu okunene okw'obulokozi era n'okuzibwa obuggya okw'okuwonyezebwa, okukya genda mu maaso mu kubuulira okw'enjawulo, newakubadde nga Omusajja wa Katonda yatwalibwa mu kitiibwa mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 24, 1965.

Olw'ekisa kya Katonda ndina omukisa okutegeera ekyo Katonda kye yasuubiza eri ekiseera kino era nage mu buntu okubeera ekitundu ku kyo, era n'olwekyo nandyagadde okugabana nammwe ebintu ebyagatira ddala ku ntegeka ey'obulokozi era n'okulaga omusana mu myaka makumi anna agiyise. Ekigendererwa kwe kulaga ekyo Mwkama waffe kyakoze mu bantu be okumala akaseera, ng'anakyo kitundu ku byafayo by'obulamu bwange. Bonna balina eddembe okutegeera ku eyo essuula empya era n'okweyongerayo okw'ebyewunyo. N'amanya Ow'oluganda Branham era twalina enkolagana ng'abantu okumala emyaka kkumi. Nze manyi bulungi okuyitibwa kwe era n'ekiragiro. Yawandiikibwa mu byafayo ng'omuntu eyatumibwa okuva eri Katonda; n'obubaka bwe, obulina omusingi gwabwo okuva mu Kigambo, ddala kituufu, newakubadde ng'abamu bagezako okukiwakanya, okukulembera okujja okw'okubiri okwa Kristo, nga bwe kyayogerwa gyali mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933. Bw'endaga eby'okulabirako engeri Mukama bw'akulembedde era n'anokolayo obumanyirivu obumu, awo ne kiryoka kibeera kyangu omuntu yenna okumanya ebyo Katonda byakoze era ne bye yeyongera okukola mu biseera byaffe.

Okusooka kwa byonna n'alina omukisa okubeera mu nkunggana ez'Ow'oluganda Branham mu Karlsruhe, Germany, ezategeekebwa mu mwezi gw'omunana 13 – 19, 1955. Bwali bumanyirivu obw'enjawuloo era okuva ku lunaku olwasooka n'amatizibwa nti tewali muntu yenna ayinza kukola emirimu gino egyalabibwa okuggyako nga Katonda ali mu ye era n'abikola. Ddala byaliwo: Abatulu baalaba mu kiseera kyennyini, abalema ne batambula, abalwadde ne bawona. Ndabye e nnaku za Baibuli. Ndabye ebiseera by'obutume; nze mu butuufu ddala ndi mujulizi eyalaba era eyawulira. Nga kiseera kya mukisa! Nali mbuulira okuva mu 1953, naye bwe nalaba ebyo Yesu Kristo bye yakola mu nkunggana zino lunaku ku lunaku mu maaso g'abantu nkumi, awo n'endyoka manya nti Yesu Kristo jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe. Nayagala okumanya kiki omusanjja ono kye yali ayigiriza, Kubanga nalaba nti Katonda yali naye.

Nali manyi ku nzikkiriza ez'enjawulo n'ejigiriza. Naye kaakano nali njagala okumanya ebikwata ku njiri ey'amazima, n'enjigiriza ey'amazima Katonda mu maanyi mangi kye yakakasa mu maaso gange. N'okulindirira okugumivu n'etaba ku “Lukunggana olw'eddoboozi ery'okuwonyezebwa” mu Dallasi, Texas, USA, olwategeekebwa ne Gordon Lindsay nga lwa mwezi gw'omukaaga 6, 1958. Mu biseera bw'obuweereza obw'okumakya n'obwe ky'egulo, Ababuulirizi abamanyiddwa ensi yonna ab'omuyaga ogwasooka ogw'okuza obuggya baali babuulira. Obuweereza obw'ekyegulo Ow'oluganda Branham ye yali omwogezi omukulu. Ekyo kyampa akakisa okusobola okugerageranya, era ne nnaku essaatu ezisooka zaali zisingako okumala okufuna okulambulurwa.

Nga Mukama waffe nga Omwana w'omuntu bwe yalaba mu kwolesebwa ebyo ebiri beerawo, “…Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku kitaawe ng'akola…” (Yokaana 5:19-20), Ow'oluganda Branham naye yalaba mu kwolesebwa okubonaabona kw'omuntu ayimiridde mu maaso ge era nga yalina okumusabira. Buli bwe yalabanga omuntu ng'awonyezebwa, yali ng'agamba n'obuyinza bw'obw'akatonda, awatali kya kwekwasa newakubadde bulwadde ki omuntu bwe yalina, W'onyezebwa mu linnya lya Yesu Kristo omunazaaleesi! Okukkiriza kwo kwe kukuwonyeza.” era ne kibeerawo mu kiseera kyennyini! Okuyita mu buweereza buno obulungi bwali bwatuukirizibwa ne Mukama waffe ng'agamba mu Yokaana 14:12: “…Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola…” Obukadde n'obukadde bw'abantu babilaba mu biseera by'obuweereza bwe. Tekisobola kuwakanyizibwa, kisobola okuganibwa. Enjawulo wakati w'Oluganda Branham n'ababuulizi abalala bonna yali nkola yamateeka ey'obwakatonda mu buweereza bwe katonda bwe yamuwa.

Ng'obuweereza bw'olwegulo lumu terunnabeerawo mu Dallas n'asobola okwogera n'ow'Oluganda Branham era n'emugamba, “Ow'oluganda Branham, kukkiriza okuba omuntu eyatumibwa okuva eri Katonda. Ndaba enjawulo wakati wo era n'ababuulizi abalala bonna. Nandyagadde okumanya kiki kyokkiriza era n'okuyigiriza.” Nali sirina magezi ga “bubaka” mu biro ebyo. Eky'okuddamu kye kyali, “Genda ye Leo Mercier, oyo yafulumya entambu z'okubuulira kwange. Mugambe okuwe ntono ku zo.” ku nkomerero y'okwogerezeganya kuno n'agamba, “Ow'oluganda Frank on'ogenda mu Germany n'obubaka buno.”

olunaku olwadako n'engenda ye Leo Mercier era n'empebwa entambi ttaano. N'angamba “Ow'oluganda Frank, olina okusooka okuwuliriza okubuulira kuno awo olyoke otumanyise oba ng'oyagala okufuna obulala bungi.” Okuddamu kwange kwali, “Yino endagiriro yange, ddala, ntumira buli kubuulira Ow'oluganda Branham kwa buulira.” Bwe kityo okuva mu 1958 nafuna buli bubaka obwateekebwa ku lutambi Ow'oluganda Branham lwe yabuulira mu USA.

Okuyitibwa kwe nafuna okuva eri Mukama mu mwezi gw'okuna 2, 1962, kumanyiddwa eri abo bonna abekussa ku bubaka bw'enkomerero. Nakyo kimanyiddwa bulungi nti Ow'oluganda Branham yakikakasa mu maaso g'ab'oluganda Banks Woods ne Fred Sothman, bombi ku bo abakyali abalamu, mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 3, 1962. Era awatali kubuusabuusa kwonna Katonda akikakasiza okumala emyaka egisoba mu anna egiyise.

Nga tunnatera okukomenkereza okwogerezeganya kwaffe Ow'oluganda Branham n'agamba, “ Ow'oluganda Frank, emeere yolina okuteereka kye kigambo ekyasuubizibwa eky'ekiseera kino ekyabikkulwa n'Omwoyo omutukuvu … Naye lindirira okugaba emeere okutuusa ng'ofunye endala yonna.” nali ndina okukkiriza ekyo, oluvannyuma ng'amaze okufuna okudibwamu waggulu n'okutuusa awo, nali sitegedde ekitundu kino. Nali ndowooza nti ekiseera kyange kituuse. Kyandetera ennaku nti nalina okulinda. Wokka oluvannyuma kyafuuka kyerufu gye ndi nti okulindirira kwali kulaga kitundu eky'okubiri, ekyokulabirako okugaba emeere nnabbi Branham gye yatereka, si mu kitundu ekyasooka, okugenda kibuga ku kibuga era n'okubuulira Ekigambo kya Katonda.

Okwogerezeganya kw'agenda mu maaso. Amangu ddala Ow'oluganda Branham yakiyimiriza era n'agamba, “Ow'oluganda Frank, tolina kweralikirira ku lugendo lwa Pawulo okugenda e Yerusaalemi, kubanga kyali mu kwagala kwa Katonda.” okumala emyaka mingi kintabudde era siyinza kutegera lwaki Pawulo yagenda mu Yeekaalu, nalayira era okusinzira ku teeka yasasulira obulongoofu bwe yennyini era nabo abamwegatako (laba mu bikolwa byabatume 21). kyalabika obutakwatagana kye yalinako obumanyirivu era ne kye yali abuulira. Awo, emyaka mingi egiyise, mu kumaliriza n'engamba, “Pawulo, bwe kulaba mu ggulu, ndi kubuuza lwaki wakola kino.” mu kwogerezeganya kuno awatali kubuusabuusa salowooza ku ekyo mu ngeri yonna. Katonda ow'omu ggulu amanyi ebintu byonna yabibikkulira nnabbi we. Mu kiseera ky'okwogerezeganya kuno Ow'oluganda Branham naye yangamba nti, Katonda ng'ayagadde, ye ne David Duplessis tulijja mu Germany, eky'omukisa omubi kino tekyatuukirira.

Ku kikwata ku Germany, ekibuuzo kibadde kitekeddwa ku nze okumala akaseera oba nga waliwo ekikolimo ku Germany kubanga abatemu ab'abantu obukadde 6 obw'abayudaaya mu biseera by'okufuga kw'abanazi okw'okusatu. Ekyo bwe kutyo bwe bawulira okusingisibwa omusango mu makkanisa ga Germany okuvira ddala ku nkomerero ey'olutalo. Kaakano ng'amaliriza nali ndina okubuuza ku kino era eky'okuddamu kye kyali ng'ekintu ekitetegekeddwa, “Nedda, tewaliwo kikolimo ku Germany. Katonda alisalira omusango era alinenya abo bokka abaakola ekyo.” nange nali njagala okutegeera okuva ku w'Oluganda Branham oba nga nali nsobola okusabira abalwadde. Eky'okuddamu kye kyali buterevu, “Ow'oluganda Frank, Katonda akuyise, era buli muntu yenna eyayitibwa okubuulira enjiri naye yayitibwa okusabira abalwadde. Nakyo kitundu ku kulagirwa kwe kumu.” Ow'oluganda Branham nalyoka ambuuza singa nsobola okwogera eri abasajja abasubuzi ab'enjiri enzijuvu essuula mu Los Angeles. Yali yeteekateeka okugenda mu Tucson n'abomumaka ge ku ntandiikwa y'omwezi omubereberye era n'olwekyo nga tasobola kugenda mu Los Angeles. Yayogera ne Demos Shakarian, n'amutegeza ku kyo era so n'ali omwogezi omukulu ku ssuula mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 10, 1962, mu Clifton's Cafeteria. Ow'oluganda Branham naye yayogera gye ndi ebikwata ku Henry Martin owa Edmonton, eyali, nga bwe twakola mu Germany, yali awlirisa entambi ze n'akabinja akatono, nakyo omwali ab'oluganda ne bannyinaze aboogera olu German. N'olwekyo n'atambula okuva mu Los Angeles okugenda e Canada, ne sembezebwa n'ow'Oluganda Martin era nalyoka anyingiza mu nnyumba eyabakkiriza aboogera olu German. Ekyo nga wayise akabanga kyatuwa akakisa okufulumya ebitabo byaffe mu lulimi Olungereza era n'okubiweereza wabweru mu mawanga gonna ag'ensi.