Ebbaluwa Omwezi - gw'ekkumi n'ebiri 2005

Essuula Empya

« »

Nga simanyi nti Ow'oluganda Branham yatwalibwa ewaka mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 24, 1965, Nalaba ku lunaku olwo engeri gye yatwalibwa mu ggulu mu kire. Mu bumanyirivu buno n'engamba, “Ow'oluganda Branham, toli mwana w'amuntu, lwaki kulaba ku kire kino?” Nekitegeera oluvannyuma lwakyo nti kyali kiseera kye kimu Ow'oluganda Branham bwe yatwalibwa mu kitiibwa. Tekyali okutuusa ku ntandiikwa y'omwezi omubereberye 1966 olwo ne nafuna ebbaluwa okuva eri Ow'oluganda Armbruster okuva mu Pennsylvania, ng'entegeza ku kabenje akaliwo mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 18, era nalyoka atwalibwa ewaka nga wayisewo ennaku mukaaga. Ebiseera bitono nga biyisewo nakisanga mu Baibuli nti si Mukama waffe yekka eyatwalibwa mu ggulu mu kire, “…ekire ne kimutoola…” (Ebikolwa by'abatume 1:9), Naye ne bannabbi ababiri batwaliddwa waggulu mu kire, “Ne balinnya mu ggulu mu kire …” (Okubikkulirwa 11:12). wokka nga ebiseera bigenderera n'entandiika okutegeera nti ddala tuli mu kiseera ekisinga omugaso mu ntegeka yonna ey'obulokozi.

Mu kiseera kyokuweereza kw'okutunula ekiro okw'omwezi gw'ekkumi n'ebiri 1965/66, omwoyo gwa Katonda gwa tambulira ddala mu ngeri esinga amaanyi mu makati gaffe. Ddala ab'oluganda ne bannyinaze 120 be bakunggana. Olwa BW'ATYO BW'AYOGERA MUKAMA N'ayogera nange buterevu, “Omuddu wange, ntadde ekitala kyange mu mukono gwo.” Ndina okutwala ekyo nti sisobola kukkiriza mu kiseera kyennyini ekyayogerwa, kubanga ebirowoozo byange byagenda eri Ow'oluganda Branham, mu mukono gw'ani ekitala kya Mukama mwe kyali kiteekeddwa. Awo wennyini tetwamanya ebikwata ku kutwalibwa kwe ewaka. Oluvannyuma n'ategeera nti Mukama Katonda mazima ddala yali ataddeko ekitala kye, ekitala eky'omwoyo, nga kye Kigambo kya Katonda, mu mukono gwange. Bwe kityo kyatambulira wamu n'okulagirwa kwange, “… ndikutuma mu bibuga ebilala okubuulira Ekigambo kyange …”

Mu mwezi omubereberye 19, 1966, natwalibwa mu mwoyo mu kifo ekigazi ennyo eky'okusinziramu. Oludda olumu ku kyo waliwo ekizimbe ng'esinzizo nga kuliko empagi enene era endala zali n'etolovu nga weema. Nali tudde ku mpagi enene n'endaba abantu bangi nga bali mu nsindikagano okuyingira mu kifo ekyo. Awo n'edyoka ndaba nti bonna nga batudde ku bitebe byabwe era nti abayaniriza abagenyi abaali bambadde akasipi ku mukono baali batambula waggulu ne wansi mu makati g'akazinga. N'endyoka ndaba Julius Stadsklev, eyali mukwano gw'ow'OLuganda Branham ow'okumpi ennyo, ng'ayimiridde mu maaso g'ekifo ekigulumivu. N'atunulira waggulu ku mpagi enene n'agamba “Ow'oluganda Frank, Kino kye kiseera kyo. Kka wansi kaakano.” ne nyimirira n'ekka wansi ku madala agali gabikkuse okwolekera weema era nga kirabibwa n'ekumi ezali zikungganidde ku lw'olukunggana luno. Awo ne ndyoka ngenda mu kifo ekigulumivu ekiyimirirwamu nayimirira eyo okumpi n'ow'Oluganda Stadsklev, eddoboozi bwe lya yogera, “Tetukungganidde wano ku lwa Yokaana Omubatiza. Tukungganidde wano ku lwa William Branham, nnabbi wa Katonda, yatugibwako.” Awo, amangu ennyo, eddoboozi n'eryogera nate, “Tunulira abantu abakungganye era oyogere nabo, “Okujja kwa Mukama kuli kumpi nnyo.” mu kwolesebwa kuno n'etunulira ekungganiro mu weema eyo enene era n'ebagamba ebyo bye nalagirwa.

Ne walyoka wajja omwezi gw'okuna 11, 1966, olunaku omubiri ogw'okunsi ogw'ow'Oluganda Branham lwe gw'azikibwa. Gye ndi lw'ali lunaku olw'ogera okunakuwala. Si jukira kuba nabumanyirivu bw'ekintu nga kino nate. Nga sisobola n'akwegata mu kuyimba oluyimba “Okukkiriza kwokka …” ekyadibwamu emirundi n'emirundi. Nali njuziddwa, nakaaba era n'esaaba, ne njogera eri Mukama era n'emugamba, “Ddala njagala kumanya engeri ekkanisa ey'omugole bw'eyinza okweteekerateekera okukomawo kwo awatali buweereza buno.” Kyalabika newakubadde nga ensi yonna etabuddwa mu maaso gange ku lunaku olwo.

Nga buwungera ku lunaku olwo, n'enzirayo, ng'akoyedde ddala, mu woteli yange n'entula wansi, amangu ago bwe nakyeteekako n'empulira omugugu omunene ne gusitulwa okuva mu nze. Ennaku ennyinji n'eriggwaawo era essanyu eritagambika n'erijula munda mu nze. Nga mpulira emirembe gya Katonda era ne kyogera mu mutima gwange, “Kaakano ebiseera byo bituuse okubawa emmere ey'omwoyo.” Katonda alabiridde ensonga yonna. Asalawo olubereberye bw'obuweereza, okweyongerayo kwabwo, era n'enkomerero. Kinabeera kitya mu ngeri endala? Naye ayawula essuula Empya era n'okweyongerayo kw'obuweereza obugoberera. Ng'okufa kwa Yokaana Omubatiza bwe kwali tekutegeerekeka eri abakkiriza ab'edda, so bwe kityo bwe kyali mu kufa kw'ow'Oluganda Branham ku lwa bangi mu kiseera ekyo. Bombi baali bamaliriza okulagirwa kwabwe, omu mu kujja okwasooka okwa Kristo, omulala, eyatumibwa okuleeta obubaka obw'obwakatonda mu nnaku zaffe, ng'okujja kwa Kristo okw'okubiri tekunnatuuka.

Olunaku olwaddako n'ayita ab'oluganda okukunggana era ne kisalwawo nti Okubuulira kw'ow'Oluganda Branham kwokka okwateekebwa ku ntambi okutuusa ku biseera ebyo, kaakano bisobola okufulumizibwa mu mpapula. Ow'oluganda Roy Borders yakkiriza okutwala obuvunanyizibwa obw'omulimu ogwo.

Tekyali kyangu eri Omutume Peetero okwogera kino ebiseera ebisinga obukulu bwe by'ajja, “Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'enjiri ne bakkiriza.” (Ebikolwa by'abatume 15:7). Yakobo n'akakasa ekyo Peetero kye yayogera n'okulangirira kuno kwennyini okw'omugaso, “Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu Ebigambo bya bannabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti …” (vv.14-15).

Bw'entyo bwe nayawulibwa ne Katonda yennyini era n'epebwa omukisa okusitula obubaka okuvira ddala ku ntandiikwa okutuuka ku nkomerero y'ensi. Ku mukono ogumu kikwata ku kulangirira Ekigambo kya Katonda ekyamazima era ne ku mukono omulala nga kya kubawanga emmere ey'omwoyo, nga mw'otwalidde ebisuubizo byonna eby'ekiseera kino.

Nali mpuliziganya n'ow'Oluganda Branham bwe yali akyali mulamu. Ab'oluganda mu USA baali tebalinyangako bigere ku taka ly'ebulaya. Katonda nga bwe yakyawula so nti nze nga bwe nafuna okulagirwa okw'ennimi ssaatu, kubanga omuntu awulirwa mu mawanga gonna. Tewaliwo semazinga yonna ku nsi gy'entatwalangamuko bubaka. Mukama Katonda yennyini yagulawo enzigi n'emitima. Nga bwe kyali edda mu 1963 nali ntandise okuweereza mu bibuga ebilala mu nsi yaffe. Mu 1964 nafuna olugendo olwasooka okugenda mu bungereza, awo n'edyoka ngenda mu Buyindi, Yoludani, ne Isiraeri. Mu 1965 N'eyongerayo n'obuweereza mu mawanga ag'ebugwanjuba ag'ebulaya. Oluvannyuma lw'abyo, nasobola okutegeka enkunggana mu Belgium, mu Netherlands, Germany, Switzerland, era mu Austria mu 1966.

Mu myaka ekkumi egyagoberera nagenda mu nsi 86, era mu myaka kkumi egyaddako omuwendo gweyongera okukula okusuka mu mawanga 120. ng'antambula ensi, mu kusooka nali mpisawo obubaka ku ndagiriro eya Jeffersonville eri ab'oluganda abakwatibwako ensonga mu nkunggana, basobole okutwala okubuulira kw'ow'Oluganda Branham okwateekebwa ku mpapula mu lulimi olungereza. Ku ntandiikwa y'omwaka 1970's Mukama yakikulembera mu ngeri bw'etyo nti Ow'oluganda Don Bablitz, ng'ayambibwako abantu batono, yasobola okutandiika okutuma wabweru okubuulira kw'ow'Oluganda Branham okuva mu Edmonton, Canada, mu nsi yonna. Yali Ow'oluganda Don Bablitz, oluvannyuma ng'abeera mu Whitehorse, Canada, ey'ajja okwogera nange ku lw'omukaaga olwo ku makya mu makati g'ensanvu. Yali yawangulwa n'amazima nti ab'oluganda okuva mu mawanga mangi we nali mbuulidde baali bamuwandiikira, nga babuuza okubuulira kw'ow'Oluganda Branham. Okwogerezeganya ne kugenda mu maaso, Ow'oluganda Bablitz naryoka agamba, Ow'oluganda Frank, tulaba Obuweereza bw'oluganda Branham mu Baibuli. Ate obuweereza bwo, kaakano obukolebwa mu nsi yonna? N'abwo busangibwa mu Baibuli?” nali nsuubira ng'alina enzikkiriza eyazimbibwa ku muntu era nakiganirawo ne kigoba ng'agamba, “Ddala kikomye. Obuweereza bwange bubeera butya mu Baibuli? Ekyo tekisoboka!” twakomenkereza okwogerezeganya kwaffe era ne tulyoka tusabira omulimu gw'ensi yonna, nga mw'otwalidde okutuma ebitabo ng'atwesigama ku kisa kya Katonda.

Era nate nekibeerawo nga tekisuubiddwa era mu bwangu: Olwaddako ku makya omusana gwali gwakira mu kisenge nga bwe natuuka ku mukono gwange ogwa ddyo okukwata Baibuli yange, Mukama bwe yayogera nange n'ebigambo ebigoberera, “Omuddu wange, nakwawula nga Matayo 24, olunyiriri 45-47, okubawanga emmere.” Nali si buulirangako ku kyawandiikibwa kino emabega era n'okutuuka awo nali simanyi nti nakyo gye kiri, ekyo kyokka kyali kisuubizo okuva ku lulimi lwa Mukama waffe. Awo wokka ne ndyoka soma ekyawandiikibwa ekyo era ne kiba kikangabwa gye ndi okusoma kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, Mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyakyo? Pawulo yawandiika mu kuwa ekyokulabirako ku makulu g'ekyawandiikibwa kino eri mukozi munne Timoseewo, “Bw'onojjukizanga ab'oluganda ebyo, onoobanga muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okukkiriza n'eby'okuyigiriza okulungi kwe wagoberera.” (1Timoseewo 4:6).

Omu alina okusoma ennyiriri ezisooka ettaano era omwo ennaku ezo ez'akatyabaga we zogerwako, okugwira ddala okuva ku kukkiriza n'emirimu gy'emyoyo egikyamya era n'enjigiriza nga ziva ku dayimooni. Awo wokka turyoke tutegere omugaso ogw'ekigambo kino era n'esira eyateekebwa ku njigiriza eyamazima, nga kye kyokka ekitulunggamya. Ebiseera biri kumpi. Ekyawandiikibwa kino nakyo kiri kutuukirira mu bwakabaka bw'ombi. Mu kifo ekisooka obuweereza buno bwa bonna ab'oluganda abaweereza, basobole okuteeka ekigambo kya Katonda ekyabikkulwa mu ntegeka ey'omwoyo era n'okuleeta emmere ng'emmere etegekeddwa abaana ba Katonda ku meza ya Mukama. Kintu kimu okuteereka mu maduka gonna ag'emmere okubeezawo obulamu, era kintu kirala okuleeta emmere etegekeddwa eri abantu okusobola okukusa enjala yaabwe ey'omwoyo ne manu ekwekeddwa. Katonda n'agamba, “Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama Katonda, lw'endiweereza enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey'amazzi, enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama …” (Amosi 8:11).

Awatali kubuusabuusa tekyali kya kakisa nti Matayo 25 kwe kuyita okw'okuzuukusa, oluyoogaano ekiro mu ttumbi, “Laba, anaawasa omugole ajja…” kidirirwa oluvannyuuma lwe ssuula 24. Obubaka obusembayo bugenda buterevu eri abawalala abalina amagezi balongoofu. Abo bokka abali ekitundu ku kkanisa ey'omugole anasembeza ekigambo ky'anaawasa omugole ekitufuula abalamu abawala abalongoofu abalina amagezi, abaliba beeteeseteese mu kujja kw'anaawasa omugole baligattibwa ku buweereza bwa Katonda obw'ayawulibwa. Ekikyali ekyamazima kye tukyasoma n'okutuusa leero mu 2Abakkolinso 11:2, “Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke mbaleete eri Kristo nga omuwala omulongoofu.”

Nange nsobola okwogera nti mu linnya lya Mukama, “Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa bwe yanteeka mu buweereza …” (1Timoseewo 1:12).

Obuweereza obusembayo bw'ayawulibwa ne Katonda yennyini nga mwotwalidde byombi okulangirira Ekigambo ekitaliggwaawo era n'okubawanga emmere ey'omwoyo, era alyoke alabikire mu kumalirizibwa kwe kkanisa ey’omugole. Siri mumwa gwa luuyi lumu olwa Branham oba Omutume Pawulo. Nsobola okwogera kino n'obuyinza bw'obwa Katonda: Ndina okubeera kammwa ka Katonda okulangirira okuteesa kwonna okwa Katonda, nga nteeka mu nkola enjiri etaliggwaawo nga bwe yabuulirwa n'omutume Pawulo n'ow'Oluganda Branham. Tewali n'omu ayinza kumpulira ng'akiddinggana nti “Nnabbi yagamba …nnabbi yagamba …” Sa yitibwa na mutume Pawulo oba Ow'oluganda Branham, nayitibwa n'oyo Mukama Yesu Kristo eyazuukira. Okutuusa ku nkomerero yennyini Ekigambo kya Katonda kyokka ekitakyuka kye kiriwulirwa okuva ku lulimi lwange, era nga si kuvunuula okulala kwonna, kye kyawa Kubanga BW'ATYO BW'AYOGERA MUKAMA, “Omwoyo gwange oguli ku ggwe n'ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko tebivenga mu kamwa ko …” (Isaaya 59:21).

Tewali muddu wa Katonda yenna eyalina eky'okwogera ku nsonga; tewali n'omu eyabuuzibwako oba nga ajja kuba mulungi okuweereza Mukama. Ebikolwa bya Katonda bya kwemalirira mu bwakabaka bwe era ne mu kkanisa ye. Kimanyiddwa gye tuli ffena nti omutume Pawulo nti yalina obuweereza obw'enjawulo era n'okulagirwa ku lwe kkanisa. Emirundi essaatu ng'ekyokulabirako kikolebwa eri okuyitibwa kwe; Ebikolwa by'abatume essuula 9, essuula 22, n'essuula 26, n'obuyinza bw'obwa Katonda yandibadde ateeka mu nkola ebisuubizo ebyawandiikibwa mu bigambo bya Isaaya 42:6 ne 49:6, ebyayogerwa ku Mukama ku kulagirwa okw'amuweebwa (Ebikolwa by'abatume 13). Lwaki? Kubanga omwo mwe tusanga ekisuubizo eky'emirundi ebibiri. Ekisooka kilaga omununuzi era n'ekyogera nti ebika bya Isiraeri birizibwa buggya. Eyo y'ensonga lwaki Mukama yasooka n'agamba, “Temugendanga mu makubo g'ab'amawanga …” (Matayo 10). ebiro bwe by'ajja era ng'ekitundu eky'okubiri eky'ekisuubizo ekyo, ekyali kigenda buterevu eri ab'amawanga, ky'asanga okutuukirizibwa, tusoma, “Kubanga Mukama yatulagira bw'ati nti nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.” (Ebikolwa by'abatume 13:47). Ebiro ebiggya n'ebitandiika, ebiseera by'enkyukakyuka okusooka. Waliwo entegeeka eya Baibuli eri ekkanisa ebyama gy'ebiteekebwa mu kyo olw'okuyimusibwa kw'akyo ky'ennyini, era ng'awaliwo enteekateeka ey'obwa Katonda eri entegeeka yonna ey'obununuzi.

Yokaana Omubatiza yamanya kigambo ki ekyatuukirizibwa mu buweereza bwe. Yali ng'abuuzibwa, "Ye ggwe Kristo? Ye ggwe nnabbi oyo? Ye ggwe Eriya?" emirundi essaatu n'addamu,"N'edda!" Era abo abaali batumiddwa okumubuuza baali baagala kumanya mu mazima yali ani. Okuddamu kwe okw'omwoyo kusangibwa mu Yokaana 1:23, “Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu …” Nakyo kyabikkulwa eri Pawulo kyawandiikibwa ki ekyali kikwata ku ye mu kiseera kye. Bw'atyo n'ow'Oluganda Branham yamanya kyawandiikibwa ki ekyatuukirizibwa okuyita mu buweereza bwe. Yakiwako obujulizi mu kubuulira kwe kunji. Eryo lye lyali ejjinja ery'esitalwako eri ababuulizi bonna. Bannyizibwa, newakubadde ng'abatandiikawo obuweereza bwabwe wokka oluvannyuma lw'okubeera mu lukunggana lw'ow'Oluganda Branham. Ndina amagezi ag'omukono ogusooka ag'akino, kubanga n'ajja okumanya bangi ku bo ng'omuntu. Baakwata omusajja eyatumibwa okuva eri Katonda nga bamutwalira ddala ng'omubuulizi ow'okuwonya, ng'abakakasa ekirabo eky'omwoyo. Nabo baawa obujulizi nti obuweereza bw'ebuti tebubeerangawoko ku nsi okuvira ddala mu nnaku ez'abatume. Naye esira bwe ly'akolebwa nti awo ekisuubizo eky'ebyawandiikibwa ky'atuukirizibwa, “Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entisa olwa Mukama …” (Malaki 4:5-6; Matayo 17:11; Mark 9:12), tebamukkiriza. Baakakanyaza emitima gyabwe era ne batateekebwateekebwa okwewaayo bennyini wansi w'omukono ogw'amaanyi ogwa Katonda, eyali atuukiriza ekisuubizo kye yawa, kubanga ye asibibwa olw'ebisuubizo bye. Baali tebeeteeseteese okuleeka enjigiriza ey'obuwangwa bwabwe era n'ensonga zaabwe. Tebayagala kukyusa makubo gaabwe. Baali tebalina kaganya konna ne balangirira nti William Branham yali ku mulimu omutuufu ku ntandiikwa y'obuweereza bwe, naye nti yava ku kubo oluvannyuma, ng'ali kumpi kutuuka ku nkomerero.

Kaakano emyoyo giyimirira ng'agyawuddwamu nate Kulw'omuntu Katonda gwe yalonda, ebyafayo bizemu byennyini, Kaakano boogera nti, yalina okuyitibwa okw'enjawulo era n'obuweereza ku ntandiikwa, naye oluvannyunma …” nga ensi bw'etamanya muweereza yenna atalina buweereza obw'amuweebwa Katonda, bw'ekityo ne kaakano tewali n'omu eyali awuliddeko ab'oluganda okuva mu USA mu nkulungo y'obubaka. Bannyiga nate, kubanga omuntu alaga ekyawandiikibwa kyennyini obuweereza bwe kwe bw'esigamamyeko. Ky'etagisa okwogerwa nti singa obuweereza buno tebwalina musingi mu Baibuli, tebwandisanidde okubeerawo. Abamu bemulugunya nti nteereza nnabbi. Tebafumintiriza nti singa wabaawo enjawulo wakati w'ekyo nnabbi kye yagamba n'ekyo Baibuli kye gamba, ku ekyo kitwetagisa okuddayo emabega mu byawandiikibwa tulabe ekyateekebwamu mu byawandiikibwa bibiri oba bissaatu, oba n'ebisingawo.

Ekisuubizo nti enkomerero y'ekiseera ky'ekisa kya Katonda ajja kutuma nnabbi kitegeeza buli kintu kyonna eri abalonde. Naye kaakano waliwo ebintu bissaatu ebikolebwa: "Abawandiisi" ab'amaddini tebaamukkiriza, "Abakulembeze" mu bubaka obw'enkomerero bamutunulira nga omutandiisi w'enzikkiriza empya, naye abo bokka abalonde bakitwala ku mutima era balikukomawo ku nzikkiriza ya bakitaabwe, ng'abakomawo ku njigiriza ey'abatume nga bwe byali ku Lubereberye. Mu kiseera kino eky'omugaso ekikulu kye kigambo eky'obunnabbi, ekitalina kuvunuulwa, naye ekirina okulabibwa mu kutuukirira kwakyo (2Peetero 1:15-21). Wulira kino, amawanga gonna: n'ensonga ey'okumaliriza ekkanisa ya Kristo, Obuweereza obw'okuyigiriza kaakano bw'amugaso nga bwe bwali ku Lubereberye (Ebikolwa by'abatume 13:1; 1Abakkolinso 12:28), so tuzibwayo emabega mu bumu bw'okukkiriza (Abaefeso 4:1-16) era nga tebazunzibwa n'akibuyaga w'enjigiriza ez'enjawulo.

Bwe kibanga kyamazima, era nga kituufu, nti obubaka bwa Katonda obw'asooka, nga bwe kyali ku Lubereberye, kaakano kibuulirwa okuyita era n'okuteekawo enjigiriza y'emu mu kkanisa ey'omugole nga Yesu Kristo tannaba kukomawo, abawala abalina amagezi abalongoofu balina okuwulira omwoyo ky'agamba ekkanisa. Be balibatizibwa n'omwoyo omutukuvu gwe gumu mu mubiri gwa Kristo okufuuka ekkanisa ey'obulamu, omununuzi alyoke agyereetere yennyini nga terina bbala newakubadde olufunyiro (Abaefeso 5:26-30). Mu bwekanya si kya kubuusabuusa nti abawala abasirusiru bajja kuyita ku ebyo Katonda byali kukola era nga yeyongera okugoberera abakulembeze abamu abetanidde okuwa eky'okulabirako ekya nnabbi, nga baleeta era ng'aboogera okubikkulirwa okw'enjawulo okuleeta egyawukana. Bonna bamatizibwa, oba bagezi oba basiru, abawulidde okuyita kw'oyo anawaasa omugole. Abamu boogera nti yajja dda, abalala nti abadde akka wansi mpolampola okuvira ddala ku kubikkulwa kw'obubonero. Tekimala okweyongera okunokola nnabbi kye yagamba, Baibuli bwe ba nga tetwalibwa ng'obuyinza obw'enkomeredde. Ng'abakulembeze b'enzikkiriza bwe bavunuula Baibuli y'emu mu makubo mangi ag'enjawulo, so ne kaakano bwe kiri n'ebigambo by'ow'Oluganda Branham (2Peetero 3:16). Eri abakkiriza kino kye kiseera eky'okweteekateeka kwabwe mu kukkiriza n'obugonvu, ekiseera ky'ogwegatta kw'omugole n'anaawasa omugole mu kwagala kw'obwa Katonda, mu kuyigiriza okutuufu era ne mu kukkiriza okw'amazima, okwaweebwa lumu ne mu byonna eri abatukuvu (Yuda 3)!

Okuyita mu buweereza bw'ow'Oluganda Branham okuteesa kwonna okwa Katonda kwa buulirwa. Ebyama byonna ebyali by'akwekebwa bya bikkulwa. Omwoyo omutukuvu kaakano gutukulembera mu mazima gonna ag'ekigambo kya Katonda. Kaakano, ku nkomerero y'ekiseera ky'ekisa, ku nkomerero ey'olunaku lw'obulokozi, ng'olunaku lwa Mukama terunnatuuka n'enjuba nga tennaba kufuuka kizikkiza era n'omwezi okufuuka omusaayi, Ekigambo eky'obunnabbi era n'okuyigiriza okw'amazima kuli tukulembera okutuusa ku kirubirirwa ekisembayo mu kumaliriza. Okulongoosa okw'enkomeredde kitundu ku kisuubizo ekikulu eri ekkanisa eya Katonda omulamu. Anaawasa omugole ng'atannatwala mugole we ewaka, alina okuyitibwa, alina kuba ng'ayeeteeseteese. Kubanga bwe kityo kyawandiikibwa ku Yesu Kristo, Mukama waffe, "…Eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku Lubereberye.” (Ebikolwa by'abatume 3:18-22).

Kwali kusalawo kwa Katonda ow'emirembe gyonna okufuula omu ku baddu be. Emirundi n'emirundi yayogera nange mu ddoboozi eriwulikika, emirundi gyonna eriva mu waggulu, bulijo ku mukono gwange ogwa ddyo. Omulundi gumu gwoka, mu mwezi gw'omukaaga 16, 1979, nga buyingiri olunaku oluggya, nawulira eddoboozi ery'obukambwe erya Katonda ng'aka wansi ng'ekibwatuka ekitebereka ng'alikira ddala ku mukono gwange ogwa ddyo, okubwatuka kwayo nga kweyongerera ddala waggulu era nga likomenkereza mu buwanvu butono waggulu wange. Ne walyoka wajja eddoboozi ly'ebigambo mwenda, buli ddoboozi lyali kibwatuka mu kyo kyennyini (Olubereberye 3:17), era buli Kigambo omuyinza w'ebintu byonna bye yayogera kyalangirirwa mu bulambulukufu (Fano, Denmark).

Kaakano kyagala kuwa kyakulabirako ku bumanyirivu butono ezamakulu gye ndi, eri abalala kin'omu, neri ekkanisa. Kimanyi nti abo bokka abaafuna obumanyirivu obw'amazima ne Katonda ku ekyo baalizibwamu amaanyi mu kukkiriza kwabwe. Obujulizi bwange tebulina kye butegeeza eri abo abatalina nkolagana ya buntu ne Mukama. Bagenda kweyongera ng'abesiitala nakyo. Bayinza okwelowoozako boka na boka, "Kiki kye yekola yennyini?" Abalala bajja kukitegeera nti tewali muntu ayinza kubeera na kintu kyonna okuggyako nga kimuweereddwa Katonda. Omutume Pawulo yawako obujulizi nti yatwalibwa mu ggulu ery'okusatu, mu Lusuku lwa Katonda (2Abakkolinso 12). Yakikola ekyo olw'ekitiibwa kya Katonda. Ng'ogyeko ekyo yalina nate okubonerera okunene okw'ebintu bingi kulw'obuweereza bwe, nga bwe tukisanga ng'akiwandiikiddwa mu 2Abakkolinso 11. Yakola ekyo olw'ekitiibwa kya Katonda. Okubeera mu buweereza bwa Mukama kusobola okwegattibwako ebintu bingi, nga obukyayi okuyiganyizibwa , okubonaabona, naye n'obumanyirivu obw'ewunyisa n'emikisa. Bannabbi n'abasajja abatuukirivu tebaayiganyizibwa era n'ebatibwa kubanga baali bazibamisango, naye kubanga baali basitudde Ekigambo kya Katonda. Ng'oggyeko ekyo nyinza okwogeera nti, "Era n'ebaza Kristo Yesu Mukama waffe, ansobozeza, ku lw'ekyo yambala okuba omwesigwa, ng'anteeka mu buweereza …” (1Timoseewo 1:12).

N'atandiika obuweereza bwange ng'ampa ekyokulabirako eky'okulagirwa kw'obwa Katonda, nga Ibulayimu bwe yakola, Musa, Omutume Pawulo, n'ow'Oluganda Branham:

  • Ebintu bibiri ebisembayo Mukama bye yandagira byali: "Omuddu wange, toteekangawo makkanisa g'akukyalo era tofulumya bitabo byo by'annyimba…" (Krefeld). Nzikkiriza nti amakkanisa ag'okukyali gali mu byawandiikibwa, naye si mulimu gwange okuteekawo amakkanisa mu bibuga ebilala era ne mu mawanga.
    Y'enkola mu makkanisa gonna okukozesa ekitabo eky'ennyimba naffe bwe tukola. Naye, sirina kufulumya kimu kyonna. Mukama yakingamba buterevu: "…Kubanga kabonero k'eddini." Ekyo ky'amazima ng'amazima bwe gabeera. Buli kkanisa, buli ddini lirina ekitabo kyakyo eky'ennyimba, newakubadde ebibinja ebilala mu bubaka obw'enkomerero.
  • "Omudu wange, golokoka osome 2 Timoseewo 4, kubanga njagala okw'ogera naawe…" (Marseille). Oluvannyuma lw'obuweereza olugulawo ekyegulo natuukirirwa n'ekibuuzo ekikwata ku bibwatuka omusanvu. Nali sirina ky'akuddamu mu kiseera ekyo. Amakya agaddako Mukama yennyini yampa eky'okuddamu okuva mu byawandiikibwa, buulira Kigambo; beerawo lubeerera mu kiseera, newakubadde ng'atuvudde mu kiseera, ebivume, okubogolerwa, okuzibwamu amaanyi era n'okubonaabona okungi n'enjigiriza." Oluvannyuma lw'okusoma ekiwandiiko kino, n'ateeka Baibuli yange ku kameza akatono, n'enyimusa emikono gyange waggulu n'engamba, “Mukama omwagalwa. Ng'awatali kubuusabuusa nga bw'ondagidde okusoma ekyawandiikibwa kino, mu ngeri y'emu awatali kubuusabuusa nti ebibibwatuka omusanvu byonna ebyayogeerera waggulu tebyawandiikibwa mu Kigambo kya Katonda. N'olwekyo tekisoboka kubuulirwa.” BW'ATYO BW'AYOGERA MUKAMA. Abaddu ba Katonda ab'amazima bavunanyizibwa okusoma era n'okukuma ebigambo ebyawandiikibwa mu Baibuli (Okubikkulirwa 1:1-3). Ebintu byonna ebyetoolozebwa ku kigambo “enjigiriza y'ebibwatuka” ebyo bigambo bitaliko mutwe na maggulu, newakubadde ng'ebinokole mu nsobi bikozesebwa. Ago mawulire ga njwanjwa si kubikkulirwa. Tewali muntu n'omu alina buyinza kwongerako ekigambo n'ewekiba kimu ku bigambo eby'obunnabbi mu kitabo kino (Okubikkulirwa 22:18-21). akikola yenna mu ngeri yonna y'egyamu yekka.
  • "Omuddu wange, okutambula okusembayo bwe kuli tandiika jja kwogera naawe nate, kubanga awo omwoyo gwange gujja kuba nga gutuukuziddwa mu ggwe…" (Krefeld). Ekibuga kya Zurich kyayogerwako mu bumanyirivu buno. Nzikkiriza nti Katonda ow'omuggulu ajja kukola emirimu eminpi era n'eminene abakkiriza ab'amazima mmwe balibeera. "Kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako." (Abaruum 9:28).
  • Okwolesebwa n'enimiro y'enggaano n'ekyuma ekisiba enggaano kyali kyamaanyi nnyo. Obumanyirivu buno buluddewo okuva edda nga kye kibadde ekisongebwamu olunwe n'abo abawakanya okuyitiibwa kwange. Emyaka mingi egiyise omuntu omu mu Hamburg yawandiika ekitabo n'omutwe ng'agugamba nti "The combine dossier". Era omwa n'andaga nti nze ndi mulabe wa Kristo era n'answaza mu ngeri esekererwa. Nze mu mazima ddala njogerera mu maaso ga Katonda omuyinza w'ebintu byonna ebyo byokka bye nalaba ne by'enawulira. Mu mwoyo natwalibwa awagazi, ku nggaano eyali ekaze. Nalaba enggaano nga yesulise wansi, ng'ayayokebwako katono n'omusana. Manyi nti okuyita mu biseera byonna eby'ekisa ekigambo ensigo esigibwa era mu buli mulembe gw'ekkanisa amakunggula g'emmeme galeetebwa. Naye ebyawandiikibwa nabyo ku ebyo ddala ebiribeerawo ku nkomerero (Matayo 3:12; a. o.) Mu Kubikkulirwa 14:15 tusoma, "ebikungulwa eby'ensi bikaze." Nategeera nti temwali bisusunku mu nimiiro y'enggaano yonna era n'amanya mu mwoyo nti ebisusunku byali byagibwamu dda, nga bwe kyawandiikibwa, "…Mukunggaanye enggaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda …" (Matayo 13:30). N'endyoka tunulira ku luuyi lwange olwa kkono era n'endaba ekyuma ekipya tuuku ekikola ku nggaano. Mu kiseera ekyo Mukama yayogera n'eddoboozi eriragira, "Omuddu wange, ekyuma ekyo ekikola ku nggaano kikoleddwa ku lulwo okuyingiza amakungula. Tekikozesebwangako n'amuntu yenna …" Mu kiseera kyennyini n'atambula n'eninya ku kyuma ekyo ekikola ku nggaano. N'ewalyoka wakwata ekizikkiza. Nga bwe n'atunulira mu bire, waali walabika ng'awaaliwo olutalo olugenda mu bire. Era n'engamba, "Mukama omwagalwa, ng'akikerezi, sisobola kuyingiza makungula. Emisango zikubye ensi." ekiseera ekyaddako omusana n'amaanyi gaagwo ne gwakira mu bire, ng'agwakayakana ku nimiiro yonna ey'enggaano. Amangu ago n'atambuza ebikondo by'ekyuma ekikola mu nimiiro y'enggaano era n'entandiika okuyingiza amakungula. Nali n'akamaliriza ekitundu ekisembayo, ebire bwe byakyuka nebifuka kizikkiza nate era wokka nga okubwatuka n'okulekana kw'ebire kwe kwawulirwa.
  • "Omuddu wange, sazamu olugendo lwo olw'ebuyindi!"  (Krefeld). Nalina maze okuggyayo empapula okuva mu b'entambula z'ennyonyi era nalina okufuluma ebweru olw'okutaano. Ennyonyi mwe nalifunye empapula ezintambuza okuva e Bombay okugenda e Madras yakwata omuliro mangu ddala ng'ayakayimuka mu bbanga, n'esanawo, era abasabaze bonna abaali mu nnyonyi 96 baafirwa obulamu bwabwe.
  • "Omuddu wange, n'akwawula nga Matayo 24:45-47 okubawanga emmere mu kiseera kyayo." (Edmonton). Ekyo kye kyali eky'okuddamu kyange okuva mu kamwa ka Mukama, akuma Ekigambo kye okusobola okukituukiriza.
  • "Omuddu wange, ensalosalo bwe zinagulwa, ndyoke mpite omugole okuva mu mawanga g'abulaya ag'ebuvanjuba…" (Krefeld). Mu kwolesebwa kuno nali nyimiridde mu katuti akanene mu kifo ekikunggaanirwamu. Abantu ne bayingira okuyita mu mulyango omukulu oguyingirwamu ne batula ku butebe bwabwe. N'atunulira okwetoolola n'endaba nti entebe nnyingi zali sikyali nga teziriko bantu. Ekiseera ekyaddako eddoboozi n'eryogera, ng'aliva waggulu w'etabi ly'ekinyumo w'enali nyimiridde, "Kino bwe kibaawo, okukomawo kwange kuli kumpi nnyo!" N'endyoka tunulira luuyi lwange olwa kkono ne kiraba nga omulyango ogwateekebwawo mangu nga gwa kufulumiramu ogw'agulwawo era ebibinja kin'omu okuva mu mawanga g'abulaya ag'ebuvanjuba mmwe bayingiriranga mu ngeri enteeketeeke. Buli Ow'oluganda eyakulemberanga ekibinja y'ajjanga ku kituti ekiyimirirwako mu maaso, n'ankwata mu ngalo, era n'ebeyongera mu maaso n'ekibinja okutuula ku ntebe zaabwe. Oluvannyuma ng'ekibinja ekisembayo kimaze okujja, n'atunulira ekifo ekyali kinetoolodde nate n'endaba nti kaakano buli ntebe yali etuliddwako. N'alina obumanyirivu buno emyaka kkumi n'essaatu ng'awakaki wa Germany tannaba kugwa era n'ensalosalo z'ebuvanjuba bw'abulaya z'agulibwawo. Mu kiseera ekyo tewali n'omu yakilowoozako nti ekibinja ky'amawanga g'abulaya ag'ebuvanjuba nti ziyinza okumulungulwa era nti obw'egasi bwa Germany n'ebulaya okubaawo.
  • "Omuddu wange, tambula ogende ku kifo ekyo ekikuli kumpi okiweeyo gye ndi …" (Krefeld). Ekifo ekyo lyali komera ly'abasibe mu sematalo ow'okubiri era ng'akyali kirina sengenge mg'eweza meter 2.3 nga kuliko zi wire waggulu waayo okugyetoolola. Nayitira mu kalyango akatono omwava ekifo ekifulumizibwamu ebitabo, n'entambula ekifo kyonna okukyetoolola, n'evunama wansi okuwaayo ekifonekyo mu mikono gya Katonda ow'omuggulu ku lw'ekkanisa ye wano ku nsi.
  • "Omuddu wange, genda ewali R. T., twala abakadde naawe era osome gyali ekigambo nnabbi Isaaya kye yayogerera Hezekiya. Agenda kuwona." (Krefeld). Nali n'akafuluma wabweru oluvannyuma lw'olukunggana era mu kiseera nali kumpi n'omuti omukadde ogwali mu kifo kyennyini wakati w'enyirir biri, Mukama bwe yayogera gye ndi. Twakola nga Mukama bwe yalagira era Katonda yakakasa ekigambo kye.
  • "Omuddu wange, genda mu maaso yogera ekigambo, kubanga omukazi akkiroza taliswazibwa mu maaso ga musajja we atakkiriza." (Krefeld). Mwannyinaffe omwagalwa yali aze mu lukunggaano n'emotoka empya nga telaga nadde km 1,000 ku koma akabala, era nga emotoka ye nga tesobola kutambula. Ab'oluganda baffe abamu abalina amagezi era nabo abakugu ku buyambi obw'okugudo baagezako okukola kye basobola, naye tebaasobola kugitereza kutambula. Nali ntambula okuyita mu kisenge eky'okusabirwamu eddoboozi lya Mukama bwe ly'ayogera, "Omuddu wange, genda mu maaso ng'oyogera ekigambo…" Tewali n'omu ayinza okufumintiriza kikula ki ekitabuusibwabuusibwa era ky'ankomeredde ekigambo ekiva buterevu mu kamwa ka Mukama akileeta nakyo. N'engenda wabweru, n'ensisikana mwannyinaze eyali aky'etooloddwa n'aboluganda abamu n’agamba, "Ddayo mu motoka yo ovuge, kubanga bw'atyo Mukama bw'ayogedde …" mwannyinaze n'addamu, " Naye tugezezako ebintu byonna …" N'amutuukirira n'emugamba nti, "Toyogera kintu kyonna, naye genda okole nga bw'olagiriddwa mu linnya lya Mukama …" Yakikola nga bwe yalagirwa era emotoka n'etambula mu kiseera ky'ennyini, n'alyoka avuga ng'adayo ewaka, olugendo oluweeza km 250, nga tewali kizibu kyonna. Amakya agaddako musajja we, omusawo, yali ayagala okuvuga okugenda ku dwaliro, naye emotoka teyatambula. Yalina okutwalibwa mu garagi. Ekifo amafuta mwe gateerekerwa kyali kimenyese era nga ekilala kyalina okuteekebwamu ekipya. Wokka nga mu mazima Mukama ayogedde okusooka omuddu wa Katonda okubeera n'obuweereza obw'ekigambo ekyayogerwa.
  • Olw'omukaaga, omwezi gw'ekkumi n'omu 18, 1978, essaawa 10:00 a.m. Mukama yayogera gye ndi bwe nali nga ndi muyafisi ey'ekitebe ky'obuweereza, "Omuddu wange, w'ekebejje mu kitabo ky'ebikolwa by'abatume ng'omusajja yenna yayawulibwa mu buweereza n'omukazi we." N'ekyuka ku luuyi lwange olwa ddyo, n'ekwata Baibuli yange n'entandiika okusoma mu kitabo ky'ebikolwa by'abatume. Mangu ddala n'ategeera nti newakubadde badeconi omusanvu bayitibwa awatali bakazi baabwe. Okuyita mu kuwabulwa kuno obunnabbi obw'obulimba obuweebwa mu kibuga kya Bremen mu mwezi gw'omukaaga 1976 tekyabikibwako ne Katonda yennyini, eyandagirira okw'ekebejja mu kitabo ky'ebikolwa by'abatume. Emirembe gyonna vunannyizibwa okugoberera ekyokulabirako ekyasooka era n'okulungamizibwa okw'ebiseera by'abatume.
  • N'agibwa mu mubiri n'efuna obumanyirivu bw'okutwalibwa mu ggulu. N'alaba ng'ekibuga ekitukuvu ng'akika wansi (Edwaliro lya Krefeld).
    Mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 1980 Nali ku lugendo lw'obuweereza okuyita mu Afrika. Mu kiro kimu mu Accra, Ghana, nalumibwako emirundi enna n'ensiri. Bwe n'akomawo ewaka ng'atunnatera okutuuka ku lunaku lwa sekukulu nali sewulira bulungi. Mu mwezi omubereberye 1, 1981, natwalibwa mu dwaliro mu ambulance. Oluvannyuma lw'okukebera kyazulwa nti gw'ali musujja nga gukuliridde. Mu mwezi ogusooka 3, 1981, nawulira Prof. Dr. Becker, eyali akulira ekibinja ky'abasawo bonna ng'ayimiridde kumpi nange, ng'abagamba,” muluddewo nnyo, muluddewo nnyo, tewali kiyinza kukolebwa. Tewali dagala, tewali kukyusa musaayi kuyinza kumujuna kaakano.” Nali sisobola kwogera, naye nali kyawulira. Abasawo bwe baali baweddemu esubi ng'abatadde okuffa, nga bwe naligoyezeddwa n'omusujja ng'abuli bukya n'eyongera okugonderera, muganda wange Artur yayimirira kumabali gange n'ayogerera waggulu nti.” Yesu Kristo teyali muwanguzi wokka kumusalaba, muwanguzi ne mukisenge kino.” ng'oggyeko ebyo byonna nali n'ewulira ng'ansemberedde enkomerero era ekyali ekikulu ku nze kyali, “Mukama omwagalwa, nyimirira ntya mu maaso go?” Mu kiseera kyennyini n'agibwa mu mubiri era wasi w'ebire ebya bululu, gye n'alaba abantu bangi ng'abambadde ebyeru. Bonna baali bato (Yobu 33:25). olukalala olw'asooka lwali lukoleddwa ab'oluganda, we nali nnyimiridde nange. Bannyinaffe baalina enviri empanvu ng'azika wansi ku migongo gyabwe. Ky'enzijukira y'endabika z'enviri ez'enjawulo. Mu ngeri ey'ekitiibwa ennyo tw'eyongera okutwalibwa waggulu nnyo. N'endyoka ndaba akasitaze akawula, nga bwe ky'efaananyiza nga bwe kilabika ng'enjuba yakavayo waggulu mu bire. N'amanya mu mwoyo nti twali tutwalibwa waggulu okusisinkana Mukama mu bbanga. N'endyoka tunulira waggulu era n'endaba ekibuga ekitukuvu ng'akika wansi ku kasitaze kano akali kawuliddwa. Kyali kyakitiibwa, kyali kikulu nnyo nga ky'egombesa. Kibuyaga ow'ekitiibwa eyakulukutira mu mubiri ogw'omuggulu. N'amanya: nti kuno kwe kutwalibwa mu ggulu. N'andyagadde nkomenkereze wano era eky'okwogeera ekisomoza kyoka kye nafuna bwe n'akomezebwawo mu mubiri.
  • "Omuddu wange, nkunggannyiza abantu bange awamu, bonna abaakola endagaano nange mu kuwaayo …" (Krefeld). Kino ky'aliwo lumu mu mwezi gw'ekkumi n'ebiri 28, Mukama bwe yayogeera ebigambo bino gy'endi. Ky'anewunyisa nnyo ddala nti mu mulimu ebifo bibiri ebitwoleka bino: Zabbuli 50:5 n'ekyamateeka 4:10. Bonna abaana ba Katonda bakkiriza ebisuubizo era bakakasa endagaano yaabwe ne Katonda, gye yateekawo naffe okuyita mu Yesu Kristo, Mukama waffe. Ky'akolebwa ng'assaddaaka. Era kaakano abantu ba Katonda bakungganye okuwulira ebigambo bya Mukama.
  • N'agibwa mu mubiri okutwalibwa mu ggulu. Oba lw'ali lusuku lwa Katonda (Varna, Bulgaria). Ekitangaala n'ekikolebwa ng'akiri mu ndabika y'amusoke, eby'ali bitambula wamu mu ddembe, ng'ebijuziddwa n'obulamu n'amanya mu mwoyo nti namulondo yali ku mukono gwange ogwa ddyo, era awo obutangaavu obwayakayakana gy'ebwetabula n'omuliro. Ku mukono gwange ogwa kkono ekibinja ky'abayimbi abasajja ky'ali kitunulidde namulondo era ng'akiyimba Zabbuli 34 mu lulimi oluGerman okusinzira ku kukyusa kwa Luther. Ebigambo, "Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya N'abalokola" n'ekiryoka kigoberera ebintu ebibiri eby'ali bibaddewo era ng'akyo ky'anjawulo ku byo, "Malayika wa Mukama kaakano aliwano!" Oluvannyuma lw'okuyimba "Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga", ekibinja ky'abayimbi ky'ayimba n'amaloboozi gonna ng'agawuluguma nti,"Mukama kaakano aliwano!"

N'andyeyongedde okugabana obumanyirivu obw'omuwendo bwe nafuna okuyita mu myaka gyonna emingi. Kubanga buli bumanyirivu ku obwo nsobola okuyita Katonda okuba omujulizi wange mu linnya lya Yesu Kristo. Ekigambo n'okuteesa kwonna okwa Katonda tekubikkulwngako bwe kutyo emirembe gyonna nga bwe kikoleddwa mu bulambulukufu ne wona mu biseera byaffe. Mazima ddala, Katonda y'ebikkulira abatume be ne bannabbi kye yali ateeseteese eri ababe okuvira ddala edda ng'omusingi gw'ensi tegunnabaawo (Abaefeso 3), era mu biseera bino ebisembayo naye abikkuliddwa gye tuli.

  • "Omuddu wange, sazamu olugendo lwo olw'ebuyindi!"(Krefeld). Nalina maze okuggyayo empapula okuva mu b'entambula z'ennyonyi era nalina okufuluma ebweru olw'okutaano. Ennyonyi mwe nalifunye empapula ezintambuza okuva e Bombay okugenda e Madras yakwata omuliro mangu ddala ng'ayakayimuka mu bbanga, n'esanawo, era abasabaze bonna abaali mu nnyonyi 96 baafirwa obulamu bwabwe.