Kulubereberye waaliwo Kigambo si ku vunuula

Katonda yelaga mwennyini

« »

Mu butaggwaawo Katonda yali yekka mu bujuvu bwe bwonna obw'omwoyo, ekitangaala n'obulamu. Mu luberyeberye yajja mu ngeri elabika eyitibwa ekifananyi kye. Okusookera ddala yelaga mwennyini mu mubiri gw'omwoyo, nga b'amalayika n'abo bantu b'amwoyo b'atondebwa mu kifananyi kyekimu nga Adam.

Okusooka Mukama Katonda y'atonda Eggulu ne byona ebiririmu, n'awo ensi n'ennyanja ne byonna ebibijuza. Malayika bulijo bali bamwetolola muggulu ne ku nsi. Okusingira ddala, twagaala ku gobereera ebigere by'okweraga Kwa Katonda okutegera e'ngeri gye yelaga mwennyini mu ndagano Enkadde n'Empya.

Okuyita mu ndagano Enkade yonna Mukama Katonda yebikula mwennyini mu ngeri elabika. Eyo y'engeri Adam ye yamulaba. Yakyalira ibulayimu, yebikula mwennyini eri Musa, yakoobo yalwanagana naye n'ebannabbi ne bamulaba ku Ntebe y'obwakabaka bwe. Eby'awandiikibwa ebitukuvu bimwogerako.

Ani, nga wetwalaba, ayagala okutegera eri ani Katonda yayogera mu lusuuku weyagamba, "Katonda nayogera nti tukole omuntu mu ngeri yaffe mu kifaananyi kyaffe…" (Oluberyeberye 1:26-27), olina okusoma eby'awandiikibwa eby'ekitibwa ebitugamba ebikwatagana ku kifaananyi ky'aKatonda, Mukama wa kozesa "ffe" kubanga yali ayogera kw'abo abaliwo okuba mu kifaananyi kye.

Mu lubereberye 3:22 Mukama Katonda ya gamba, "Laba omuntu afuuse ng'omu kuffe…"

Mu lubereberye 11:7 Mukama ya gamba, "Kale tuke, tutambuliretabulire eyo…"

Mu Isaaya 6:8 Mukama abuuza, "Naatuma ani era anatugendera ani?"

Nga Pawulo bwe yali abuuza, "Eby'awandiikibwa bigamba ki?" fenna tulina okukola kyekimu ate nga mu buli nsonga tubuuza, "Eby'awandiikibwa bigamba ki ku somo?" tulina okutambulira mu bigere by'abatume, tukkirize nga bwe bakkiriza tuyigirize bye bayigirizanga, okubatiza nga bwe babatizanga awatali kuleka kyonna, buli kibuuzo ky'aBaibuli esobola okudibwamu mu butuufu n'eBaibuli yennyini.

Mu Yobu 38 tugambibwa eri oyo Katonda mwennyini yayogera mu luberyeberye 1. Yabuuza Omuddu we, "oli ludawa wennassawo emisingi gy'ensi?…Emunyenye zenkya wezayimbira awamu n'abana ba Katonda bonna ne bogera waggulu olw'essanyu?" (vv.4-7). Abo abaliwo mu butonzi bali b'amalayika n'abo ab'omuggulu. Mukama we yakka wansi okuwa ebiragiro b'amalayika n'abo baliwo Eby'awandiikibwa ebituku bimanyi okusigira ddala bimanyi omu omuteesi w'amateeka. "Kubanga Mukama Ye mulamuzi waffe, Mukama Ye Muteesi w'amateek a gy'etuli…" (Isaaya 33:22). Naye okujjako amazima gano Kigambibwa, "Kale amateeka kiki gasibwawo lwa kwonona okutuusa walijjira omuzzukulu ey'asuubizibwa, nga alagirwa b'amalayika mu mikono gy'omutabaganya." (Abaggalatiya 3:19). "Kuba oba ngekigambo ekyayogerwa b'amalayika kyanywera, n'abuli kyonono n'obutawulira by'aweebwanga empeera y'ensonga…" (Abaebbulaniya 2:2). Kituufu Mukama nga Malayika w'endagano y'egatirwako ne b'amalayika n'ebakka wansi ku lusozi n'ebawa amateeka. "Oyo ye yali mu kkanisa mu dungu, wamu n'emalayika eyayogera naye ku lusozi sinaayi, era wamu n'ebajjajaffe ey'aweebwa Ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe." (Ebikolwa by'abatume 7:38).

Si kyoka mu ntandiikwa y'obutonzi ne mu kuwa amateeka naye nakyo ekiseera ky'obununuzi bwe kyatuuka b'amalayika baliwo. Mu Lukka 1 Malayika gabulyeri yasooka ku langirira okuzalibwa kwa Yokaana omubatiza. Nawo tusoma, "Awo mu mwezi gw'omukaga Malayika gabulyeri naatumibwa Katonda mu kibuga eky'eGgaliraaya elinnya lyakyo nazaaleesi." (v.26) yalanga okuzalibwa kw'omulokozi awo Malayika naleta amawulire amalungi eri abalunzi, "Kubanga leero azaliddwa gy'emuli omulokozi mu kibuga kya dawudi, Ye Kristo Mukama waffe…Awo amangu ago waaliwo n'emalayika oyo bangi ab'omujjye ly'omuggulu nga batendereza Katonda nga bagamba nti ekitibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa." (Lukka 2:11-14).

Omwana w'aKatonda y'awangula okugezeseebwa kw'okukemebwa tugambibwa, "Awo setaani n'amuleka; laba, Malayika ne bajja, n'ebamuweereza."

(Matayo 4:11). Mu Yokaana 20:12 b'amalayika babiri bayimirira ku tana enjerere,

Omu ku Mutwe n'omulala ku bigere gye bikoma, nga balanga nti ey'atekebwa ku musalaba azukidde. Byonna eby'endagano Enkadde n'Empya by'akakasa mu bunji eri okubeerawo kw'abamalayika buli Mukama wabeera.

Buli asoma Baibuli okutuusa ku kubikkulirwa aba amanyi binji eby'ogerwa nti Katonda alina ababaka mu ggulu ne ku nsi. Buli bintu byakola biba by'egata nentekateka ze ez'obulokozi, eky'obw'aKatonda kibeerawo ku nsi Yokaana ku kizinga ekiyitibwa patumo naye yalaga ebirowozo bye bimu, "Nagamba nti Ebigambo bino by'abwesigwa era by'amazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gy'abannabbi yatuma Malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu." (22:6)

Tulaba obutuufu bwonna obw'endagano Enkadde n'Empya nakyo mu kitibwa. Yegatibwako ne b'amalayika ababiri Mukama Katonda yakyalira Ibulayimu awali emivule gy'a mamueule (oluberyeberye 18). Mu sula eno bangi mu bukyamu bavunuula "enjigiriza y'obussatu" Ibulayimu yalaba abasaja bassatu n'olwekyo bakitekawo nti "abassatu abatukirivu". Naye mu butuufu tekyali "kitukuvu"oba "si kitukuvu" Obussatu Yali Mukama n'ebamalayika babiri nga Ebyawandiikibwa we byogera.

Ibulayimu yabaweereza ku kyokulya, "ne balya." (v.8)

Nate batugamba, "Mukama nayogera nti, naamukisa ky'enkola?… Abasajja ne bava eyo, ne bagenda e sodoma: naye Ibulayimu ng'akyayimiridde mu maaso ga Mukama." (vv.9,10, 13a, 16-17 ne 22).

Mu sula 19 abasaja ababiri nate b'amalayika ababiri. "N'ebamalayika babiri nebatuuka esodoma akawungezi; ne lutti yali atudde mu mulyango gwesodoma: lutti nabalaba, nagolokoka okubasinsinkana navunama amaaso ge" (v.1). Ekigambo "Malayika" kitegeza "mubaka".

Nate b'amalayika ababiri be basaja ababiri, ekibuga kyonna we kyajja mu nyumba ya lutti nga babuuza, "Ne bayita lutti ne bamugamba nti abasaja baliwa abayingidde ewuwo ekiro kino? Obafulumye gy'etuli tubamanye." (v.5). Lutti nayogera nti mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi bwenkanidde wano laba no nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musaja; kambafulumye abo gy'emuli mbeegayiridde namwe mu bakole nga bwe kiri ekirunji mu maaso gamwe: abasaja abo temubakola Kigambo…" (v.8)

Ekitundu kyenyini ekyetagisa kiri nti ffe olumu ne mu byonna tutegera nti Katonda abadde nga yetolorwa b'amalayika abali n'endabika y'abantu okuvira ddala ku luberyeberye. Mukama Katonda mwennyini emirundi nga nsanvu ayogerwako nga "Malayika wa Mukama", nga "Malayika wa Katonda", nga "Malayika we ndagano"

(Okuva 6; Malaki 3:1; Ebikolwa by'abatume 7:30-38) era nga "Malayika Owokubeerawo kwe" (Isaaya 63:9).

Mu lubereberye 28 yakobo atugamba obumanyirivu bwe n'obw'aKatonda ne Katonda. Yalaba eddala eyatuuka okuva ku nsi okutuuka mu ggulu. "Era laba Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndi gikuwa ggwe n'ezzadde lyo…" (v.13).

Mu lubereberye 32 Mukama teyali nnyo wa ggulu, ku nkomerero y'eddala, naye wano ku nsi, tusanga kya weky'awandiikibwa, "…omusajja n'ameggana naye okutuusa emmambya bwe yasala. Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye. N'ayogera nti nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera nti sijja kukuta, wabula ng'ompadde omukisa. N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? N'ayogera nti yakobo. N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n'abantu, era osinze. Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti nkwegayiridde mbuulira Erinnya lyo. N'ayogera nti kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa. Yakobo n'atuuma ekifo erinnya lyakyo penieri: kubanga ndabaganye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwange buwonye.” (vv.24-30).

Ekigambo "penieri" kitegeza "amaaso ga Katonda". Katonda yali wa ddala, nga waali mu kikula ky'amalayika, nti Yakobo asobole okumulaba. Y'ameggana naye nga we yali asobola n'omuntu, okutuusa bwe yafuna obuvune ku vivi lye. Y'amanyirira Katonda ng'omuntu. Omusana n'eguvayo eri ye ne Yakobo omukadde. Ekitegeza "", ekyafuuka Isiraeri Empya, "alwana ne Katonda".

Nnabbi koseya awandiika obumanyirivu Yakobo bwe yalinda nga we bugoberera, "Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n'aba n'obuyinza eri Katonda: weewaawo, yabanga n'obuyinza ku Malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe; Mukama Katonda ow'eggye; Mukama kye kijjukizo kye."(12:3-5).

Kuno nga kulaga kw'akitibwa! Y'ameggana ne Malayika mu kiseera kye kimu yali Mukama, Katonda w'eggye, Erinnya lye lyali YAKUWA – Oyo ataggwaawo.

Tusobole okuyita Musa okubeera omujjulizi waffe addako ow'amazima oba tudeyo kwe byo eby'emabega ku bumanyirivu bwe yalia mu byo bw'aKatonda mu Okuva 3 "Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira. Musa n'ayogera nti Ka nneekooloobye kaakati, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira. Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno. N'ayogera nti tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye nsi entukuvu. N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda."(Okuva 3:2-6).

Okulaga kuno kwonna okussatu kutegeza omuntu oyo omu: Malayika wa

Mukama, kubanga ya leta omubaka; Mukama, Kubanga ye yekka nannyini buyinza bwonna; Katonda, kubanga ye yekka alina okugulumizibwa n'okufuna ekitibwa kyonna okuyitira ddala mu butaggwaawo bwonna.

Musa yayagala okutegera Erinnya lya Katonda eyali yebikula mwennyini eri bajjajja be Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo. "Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti bw'otyo bw'olibagamba abaana ba isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe. Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu,

Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna."(Okuva 3:14-15).

Mu Kuva 6 tusanga ky'awandiikibwa, "Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA: nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, nga Katonda omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo."(vv.2-3). Nga endagaano tenakolebwa, Katonda yabikula erinnya lye ery'endagano. "NZE" ye "NZE YAKUWA", n'olwekyo tusanga erinnya ly'oyo omuyinza w'ebintu byonna nga liwandiikidwa mu lu Abaebbulaniya nga tetragram. Ku lw'ekyo kikulaga erinnya YAKUWA. Mu kukyusa Baibuli mu nimi ez'enjawulo abamu basalawo okukozesa erinnya "Mukama", abalala bakozesa "ATALINA NTANDIIKWA NA NKOMERERO", n'abalala "YAKUWA". Buli kiseera kimu ne kye kimu kirina okuba bw'ekityo, n'awo kirina okutekebwaako esiira nti YAKUWA lye linnya ly'endagano ery'abikurwa. Kino ky'eyongerera ddala n'amanya gonna agatandiikanga ne ga nkomekereza ne "yak". Mukama bulijo ye yannjula mwennyini nga kyali, okusingira ddala n'ekyo eky'omusanvu "Yakuwa" amanya, okuva Yakuwa-yire – "Mukama aja kutugabirira" (Olubereberye 22:13-14) eri Yakuwa-shammah – "Mukama waali" (Ezeekyeri 48:35). Kuba Katonda – ELOHIM wadde "El" kyo kimala. N'akyo ne "EL" tusanga okwelaga kw'emirundi musanvu kw'ekyo Katonda kyali: El Elyon – "Katonda ow'ewa ggulu ennyo" (Olubereberye 14:18), El Shaddai – "Katonda om'uyinza we bintu byonna", El Olam – "Katonda ataggwaawo" (Olubereberye 21:33) ne El Gibbor – "Katonda ow'amaanyi" (Isaaya 9:6). Nga El Shaddai Katonda yebikula mwennyini okusingira ddala okutuusa ku biseera eby'okuwa amateeka. Oluvannyuma nti erinnya lye ery'endagano YAKUWA ekozesebwa nnyo. Immanu-El kitegeza "Katonda naffe", alleluyah – "Tendereza Mukama", Isa-jah kitegeza "YAKUWA obulokozi", Dan-El – "Katonda Mulamuzi"! "El" bulijo kitegeza Katonda ne "Yak" kitegeza awatali kujjako ekyegase ku Mukama.

Kirungi okutegera nti bulyomu ow'okwelaga kwa Katonda okuva mu lubereberye aba ne kyalaga mu tekateka y'obulokozi. Omu asobola okulaba obumu wakati w'endagano Enkadde n'Empya. Erinnya ly'endagano Empya Yesu ye mu lulimi olu ebbulaniya JAH-SHUA, nga kyo mu buterevu kigamba Oyo mwennyini yoyo alina okujja, n'erinnya Yakuwa-omulokozi, "…kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe." (Matayo 1:21). Kino mu buziba kyejusibwa era tekisaana eri Katonda nti ekitegeza ekituufu kyennyini mu kwelaga kwe okw'emirundi essatu te kw'ategerebwa n'abano abakyusa Baibuli mu nimi. Bali bali bantu abalina okutegera kw'enimi, naye ekyo tekimala, nga we tusobola okulaba. Ebintu byonna bi tu weebwa n'okubukkulirwa. Kubanga Omwoyo anoonya byonna era n'ebitategeerekeka ebya Katonda (1 Abakkolinso 2:10-16), era n'atukulembera ffe mu mazima gonna (Yokaana 16:7-15a.o.), mu byama eby'akwekebwa eri etekateka ey'obw'aKatonda ey'obulokozi (Abaefeso 3:1-5a.o.).