KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Mu n'geri y'emu nga Elohim ekozesebwa mu n'geri ey'enjawulo, nakyo kye kimu n'erinnya Yakuwa. Buli kintu ekyetagibwa kyatekebwa mu linnya eryo. Yahweh-jireh – "Mukama aligabirira" (Olubereberye 22: 7-14); Yakuwa-rapha – Mukama awonya" (Okuva 16: 26); Yahweh-nissi – "Mukama ye bendera yange" (Okuva 17: 8-15); Yahweh-shalom – "Mukama emirembe gyaffe" (Ekyabalamuzi 6:24); Yahweh-tsidkenu – "Mukama obutukirivu bwaffe" (Yeremiya 23:6); Yahweh-shammah – "Mukama ali omwo" (Ezeekyeri 48: 35); Yahweh Sabaoth – "Mukama ow'eggye" (1 Samwiri 1:3). Amanya ago gonna galaga Katonda. Ye buli kintu.
Abayudaaya bakozesa amanya Adonai era ne Elohim mu kusaaba kwabwe. Oba mu n'geri endala kubanga tebagala kw'ogera linnya, nga bwe kya yogerwako mu Amosi 6:10, "… Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama." Ekigambo Adonia kitegeeza "Mukama ne Mukama we". Ekigambo kino n'akyo kikozesebwa emirundi mingi ku lwa Kristo, nga bwe kisangibwa mu Yokaana 13: 13; Lukka 6:46, nebirala.
Tewaliwo kwegatta kwonna kutekeddwa ku kigambo Adonia, nga bwe kiri ne Elohim era ne Yahweh. Mu kuva 4:10, tusoma, "Musa n'agamba Mukama nti Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi … newakubadde okuva lw'oyogedde n'omuddu wo: kubanga soogera mangu, n'olulimi lwange luzito." Musa yategera nti Katonda amuyise ku mulimu gw'enjawulo. N'olwekyo, yayita Mukama n'alinnya lya Adonia. Mu bugonvu kilaga okutabagana okuli wakati wa Mukama ne Mukama we era n'oyo alina okugondera omurimu gwe ng'omuddu.
Teyali Yahweh eyebikula mwennyini nga Elohim; yali Elohim eyelaga mwennyini nga Yahweh. Mu butaggwaawo waaliwo Katonda yekka. N'alyoka alabika nga Yakuwa. N'alabisibwa, ya yogera era n'akola okuyita mu biseera by'endagaano enkadde yonna. Katonda omuyinza w'ebintu byonna atusisinkana nga Mukama – amanya abiri okulabisibwa kw'emirundi ebiri, naye bulijo aba bumu. Kino kya mugaso nnyo ku lw'okulabisibwa mwennyini mu ndagaano empya. Omwana teyebikula mwennyini nga Kitaffe, naye omwana yalabikira mwennyini mu mwana. Okwo kwe kubikkulirwa kwa Katonda.
Te waaliwo nnabbi oba mutume ey'akkiriza mu bantu abangi mu bulamba bwa Katonda. Mu n'geri emu oba endala esira yali ku kituufu nti bassatu ye Katonda omu yekka. Okuyita mu Musa, Mukama yawa obujulizi bwe mwennyini, "Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu: era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, nemmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna." (Ekyamateeka Olw'okubiri 6:4-5). ekyo kirina okuba kyonna ky'amazima kubanga ataggwaawo yayogera mwennyini. Mu Ekyamateeka Olw'okubiri 4:35-39, tusoma, "Gwe walagibwa bw'otyo olyoke omanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala wabula ye. Yakuwuliza eddoboozi lye ng'ayima mu ggulu alyoke akuyigirize: ne ku nsi yakulabya omulimu gwe omunene; n'owulira ebigambo bye nga biva wakati mu muliro … Kale manya leero, okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi: TEWALI MULALA."
Waliwo katonda omu yekka, naye asobola okwebikula mwennyini mu kiseera kye kimu mu ggulu ne ku nsi mu n'geri z'enjawulo. Eddoboozi lye lisobola okulabika nga liva waggulu, naye nga ye ali ku nsi, eky'okulabirako ku lusozi Sinaayi. Bwe tutyo, tusoma mu Nekkemiya 9:13, "Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag'amazima, ebyakuutirwa ebirungi n'ebiragiro." eky'okulaga gwe mukolo omunene ogw'okuwaayo amateeka. Mukama yakka wansi ku lusozi mu manyi ga Katonda ag'omuliro, naye yayogera okuva mu ggulu ne ddoboozi ery'ekitalo naye ng'ali ku nsi. Abo abaaliwo be baali abajulizi abalaba era abaawulira ab'omukolo ogwo era n'ebatya nnyo. “Abantu bonna nebalaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'enggombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala. Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.” (Okuva 20: 18-19).