KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Malayika wa Mukama

« »

Musa atutegeeza nti Malayika wa Mukama yamulabikira ng'omuliro ogwaka, ggwe yalaba mu lulimi lw'omuliro (Okuva 3:2-6)). Mu kanyiriri ko 4, tusoma, “Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno. N'ayogera nti tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu. N'ayogera nate nti nze ndi Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda.”

Kikanga nnyo, naye ku kino tusoma, “…Mukama yalaba…” “…Katonda yayita…”, n'ebyo ebikwata ku “Malayika wa Mukama” ng'alabika. Ey'ali awo? Mazima ddala si bantu bassatu, naye omu era omuntu omu oyo y'alagibwa mu n'geri ez'emirundi essatu. Malayika wa Mukama mu bugonvu ye Katonda mu kulabika mu kifaananyi kya Malayika. Eyo y'engeri gye yatambula nga Yakuwa mu lusuku lwa Edeni era n'ayogera eri Adamu: eyo y'engeri gye ya sisinkana Ibulayimu. Okusinzira ku Lubereberye 18, yajja gy'ali ng'alina bamalayika babiri, abamala ne bagenda esodoma. Awo tusoma, "Mukama n'amulabikira awali emivule gya mamule, bwe yali ng'atudde mu mulyango mu ttuntu." (Olubereberye 18: 1). Ibulayimu naye yayagala ebisinziiro by'abagenyi ab'omu ggulu okw'ozebwa. Yalina n'emmere eyabatekerwatekerwa. Bamalayika ababiri abalala nabo bali mu kifaananyi ky'omuntu; mu butuufu okusinga ennyo nti abo abatwalibwa n'amasetaani abawasa abasajja ku basajja baali bagezako okubakwatirira mu sodoma. Mukama yasigala ne Ibulayimu era nebogerezeganya naye okumala akaseera kawanvu. Ekifaananyi kya malayika, Mukama mmwe yalabikira, ly'ali ddala mu kifaananyi ky'omuntu. Katonda yatonda omuntu mu ngeri ye!

Mu Kuva 33: 11, tusoma, "Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe." Musa yafuna okuyayana kwe okw'enjawulo bwe yasaba Mukama okugenda naye. "N'ayogera nti amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula. N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nage, totutwala okuva wano." (Okuva 33: 13-15). Mazima ddala Musa te yabuusabuusa ekisuubizo ekyamuweebwa, naye yayagala kitukirire, kubanga mu Kuva 23: 20-21 Mukama yali yamala dda okumukakasa ne bigambo bino ebigoberera "Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka. Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye.” Kw'ali kulabisibwa mu ngeri y'omuntu okwa Mukama.

Waliwo ebyawandiikibwa ebirala bye tusobola okulaga ebyogera ku kulabisibwa bwe kutyo mu ngeri elabika. Mu Isaaya 63: 9, tusoma, "Yabonyaabonezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga: mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abetikkiranga ennaku zonna ez'edda." Mukama yaliwo mu ngeri ya Malayika. Ye yanunula Isiraeri; ye yali gye bali balindiridde. Mu Malaki 3:1 kigamba "… era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano …"

Ekigambo "Malayika" era ne "Omubaka" kye kimu. Mu Bikolwa by'abatume 7:38 tusoma ku kuwaayo amateeka, Musa, era ne Malayika eya yogera gy'ali, "Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe." fenna tumanyi nti Katonda teyatuma malayika, naye Mukama mwennyini yakka wansi nawa ebiragiro eri Musa. Mu bugonvu yalabikira mu ngeri erabibwa eya malayika.

Okulabisibwa kwe mu ngeri erabibwa mu ndagaano enkadde kyamugaso nnyo eri okubikkulirwa kwe mu ngeri y'omubiri gw'omuntu. Tujja kuyita Yakobo ng'obujulizi. Ku ye tusoma, "Weewaawo, y'abanga n'obuyinza ku malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe – MUKAMA KATONDA OW'EGGYE; Mukama kye kijjukizo kye." (Koseya 12: 4-5). Oba Mukama w'eggye oba Katonda ayogerwako, bulijo kye kyo ekimu, yebikula mwennyini mu makubo ag'enjawulom, naye asigala nga y'omu emirembe gyonna.

Obumanyirivu bwa Yakobo ne Mukama kyamala dda okuwandiikibwa mu Lubereberye 32, okuva mu kanyiriri ka 24, "Yakobo n'asigalayo yekka; omusajja n'amegana naye okutuusa emmambya bwe yasala … N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? Nti Yakobo. N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n'abantu era onsinze … Yakobo n'atuuma ekifo erinnya lyakyo Penieri: kubanga ndabaganye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwange buwonye."

Obumanyirivu buno tebusobola kuteberezebwa mu ngeri enyangu. Katonda omuyinza w'ebintu byonna, akolera mu bukulu bwe, nga beera buli wamu, nate asobola okwelaga mwennyini mu kifaananyi ky'omuntu, oyo Yakobo gye yalwanagana naye. Yakobo nga taanafa, yawa omukisa batabane ba Yusufu nayisanganya emikono gye n'agamba, "Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero, malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi …" (Olubereberye 48: 15-16).

Katonda atalabika ng'asobola okulabika mu ngeri erabika mu Kuva 24 okuva mu kanyiriri ko 9, tusoma, "Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; ne balaba Katonda wa Isiraeri … ne balya era n'ebannywa."

Ani ayosobola okukola ekyo okulabika eri Katonda omuyinza w'ebintu byonna era n'alya ne bannywa mu kubeerawo kwe? Tukkikiriza okuba ekituufu, kubanga kyawandiikibwa mu mu Kigambo kye ekitukuvu. Tewali n'omu eyaali asobola okulaba Katonda, bwe yaali mu bujuvu bw'ekitiibwa kye, mu mwoyo okuva mu butaggwaawo bwe. Yalabibwa wokka okuva mu lubereberye oluvannyuma ng'amaze okwelaga mu mubiri gw'omwoyo. Abakadde e'nsanvu era nabo, abaali ne Musa, balaba Mukama Katonda mu kitibwa kye. Katonda ky'amazima. Asobola okw'ogera, asobola okuwulira, asobola okwandika, nebirala bingi.

Nnabbi Ezeekyeri naye yawandika ekimu ku bumanyirivu bwe, "Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo kwaliko ekifaananyi eky'entebe ng'embala ey'omuntu ku yo waggulu." (Ezeekyeri 1:26). Si mu kiseera kyonna omuntu yenna we yalaba babiri oba bassatu ku ntebe. Ekigambo "katonda abassatu" , "obussatu" tebisangibwa mu byawandiikibwa ebitukuvu. Si nnabbi n'omu oba omutume yenna eya vunuula ebyawandikibwa nti katonda bangi mu bulamaba bwa Katonda. Naye tusanga okw'elaga kwa Katonda kwokka mu ngeri nyingi.