KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Okulambulura

« »

Ku lw'okuvunuula okukyamu n'okutwala ebyo eby'ali ebyobulimba akaseera akawanvu, ky'etagisa okulambulura ku oyo Katonda gwe yayogera naye mu butonzzi, bwe yagamba, "Tukole omuntu mu ngeri yaffe …" (Olubereberye 1:26). tetwagala kunyonyorwa ku kyawandiikibwa kino, twagala okuddibwamu awatali nsobi okuva mu Kigambo kya Katonda kyennyini. Wano ekisomozza ensi yonna kya weebwa: ddi era ludda wa nnabi omu oba omutume w'eyasoma era naanyonyola katonda abangi mu kyawandiikibwa kino?

Mu Yobu 38, okuva mu kanyiriri 4-7, Mukama ya buuza abaddu be, "wali ludda wa bwe (si ffe) nnassaawo emisingi gy'ensi? Yatula oba olina okutegeera. Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi, Oba ani eyagireegera omugwa? Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda; Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne bogeerera waggulu olw'essanyu?" Kino kisobola okutegerebwa n'omuntu yenna. Katonda bwe yatonda ensi, eggye lyonna ery'omu ggulu lyaliwo era ne balekanira waggulu olw'essanyu. Katonda teyali yekka oba mu ye teyali abaawo okusuka omuntu omu. Mu butuufu teyeyogerako oba eri Katonda omulala, ataliwo. Ya yogera eri abamalayika, abaali ng'abaana ba Katonda abaaliwo naye.

Mu Lubereberye 11: 7, Mukama ya yogera nate mu bungi, "Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera enjogera yaabwe bokka na bokka." Nate Mukama n'ayogera eri abo abaali bamwetoolodde. Akanyiriri ko 5 mu lwatu kyogera, "Mukama n'akka okulaba ekibuga …" emirundi gyonna era nate yalabibwa nga yetooloddwa eggye ry'omu ggulu. Nnabbi Mikaya awa obujulizi obumalira ddala. Ayogera, "Ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono." (2 Ebyomumirembe 18:18). Mu nsonga eno nayo, kiri mu lwatu eri oyo Mukama gwe yayogerako. Yandiyogedde nabo bokka ab'omuggulu abaali bayimiridde gyali.

Nnabbi Isaaya awandika ekimu ku bumanyirivu bwe, "Nalaba Mukama ng'atudde ku ntebe, empanvu eyagulumizibwa, n'ekirenge kye nga kijjula yeekaalu. Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka ku maaso ge, n'ebibiri yabibikka ku bigere bye, n'ebibiri yabibuusa Omu n'ayogerera waggulu eri mune ng'agamba nti Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama w'eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye." (Isaaya 6:1-3). Ebintu bwe bityo tebyagala nate kunyonyola kulala. Zo ntaagavu bulungi. Naffe tulaba enjawulo wakati wa bamalayika abalina ekifaananyi ky'abantu ne bano ba cerubini ne Basseraafi. Bano bantu bamanyi ga Katonda nga balina ebiwawatiro, nga batendereza Mukama mu biseera byonna. Bamalayika bayimirira mu maaso ge; bo myoyo egiweereza (Abaebbulaniya 1:14). be baali be yayogera mu Isaaya 6:8, "Naatuma ani era anaatugendera ani" "ffe" tekyaliko wekyegattira ku muntu omulala yenna mu bulamba bwa Katonda. Eky'enkomeredde ekyo tekisooboka; wadde ne birowoozo, nti Katonda abeerawo mu bantu abassatu si kintu kirala kyonna naye buvoozi bwo bukkulu bwe. Si bantu bassatu naye Omu, era naye si muntu omu n'emitwe essatu oba ye taliwo mu "bussatu"", nga bano abasoma eby'enzikkiriza ye nnaku zino bwe bakitekawo.

Katonda yebikula mwennyini eri abao abamukkiriza. Bafuna ebisuubizo byabwe era nebatalekebwa mu kizikkiza ku bikwata ku Ye. Oba ba nnabbi b'endagaano enkadde oba abatume mu ndagaano empya, si n'omu kubo eyakubaganya ebirowoozo ku Katonda. Kino kyatandikira mu kyassa ky'okusatu oluvaannyuma lwa Kristo, nga abasomi abayonaani n'abaruumi bwe baaleeta ebirowoozo ebya bakatonda babwe eri abagaana obukristayo bwabwe. Abayitibwa "abasomi" bagezezako okunyonyola obulamba bwa Katonda okusinzira ku kutegeera kwanbwe okw'obuwangwa. Eyo y'engeri okuyigiriza kw'obussatu bwe kw'atandika. Ky'annaku naye kituufu, eby'okusoma eby'enzikkiriza mu makkanisa bisinzira ku ebyo abantu bye baalowooza, era si nga bwe kikkirizika, ku bujulizi obutuufu obwa bannabbi n'abatume. Okuyigiriza okukyamu ku bulamba bwa Katonda kye kisinga okukkirizibwa ng'ekituufu, era n'amagezi amatuufu aga Katonda gatunulirwa okuba amakyamu. Katonda tali mu ngeri gyetugezako okumu kola, ye mu bugonvu ali mu ngeri gyali. Abantu bakola bakatonda, naye Mukama asigala Katonda, jjo ne leero aba bumu n'okutuusa emirembe n'emirembe (Zabbuli 102: 27; Isaaya 48: 12; Abaebbulaniya 13: 8).

Katonda teeyeyongeerako mwennyini, oba yakyuka. N'edda Omuyudaaya omutuufu yandikkiriza ekirowoozo ky'obusatu. Eky'enkomeredde ekyo tekisooboka, kubanga ekintu bwe kityo tekisangibwa mu byawandiikibwa ekitukuvu. Katonda yebikula mwennyini mu ngeri z'enjawulo zokka, okusinzira ku ntegeka ye enene.