KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Omugole

« »

Nga eri enjigiriza ey'obulamba bwa Katonda abantu tebategera ndagaano empya okusingira ddala enkadde. Kino mu bugonvu kiva ku kosomesebwa eby'enzikkiriza, bye twasikira okutuusa n'olunaku luno. Naye nga ddala tebiri mu byawandiikibwa. Wadde ku kuteesa kwa Nicene (325) tewaliwo kukubaganya birowoozo ku bussatu. Buli we byafayo bye kkanisa alina okumanya nti eky'ogerwako ekikkulu kiri ku bulamba bwa Kristo bwonna, Athanasius kye yawagira mu kuwakanya Arius, eyayigiriza nti Kristo yatondebwa. Okugunjibwa kw'enkola ey'obusatu kw'atandikira kw'olwo n'okutuusa kaakano. Ebyo bye bibala by'okunyonyola kw'abantu – obutategerera dda okwe byawandiikibwa. Ebigambo bya bannabbi ne by'abatume tebya twalibwa nga ekikkulu. Enjigiriza eno evira ddala ku by'obusomi, eby'endowooza eyabasoma eby'enzikkiriza. Abantu baagezako okulagira ebirowooza byabwe okukkiriza mu bantu abassatu nga Katonda omu. Naye tebaalaba omu, baalaba bassatu. Era n'okukyuka okuva ku Omu okudda ku bassatu kya malirizibwa. Tebali bassatum, abakola Omu – ali Omu, ayebikula mwennyini nga Kitaffe, Omwana n'omwoyo omutukuvu. Katonda ali waggulu waffe fenna, ali naffe, era mu ffe.

Mu kulaga entegeka ya Katonda enene ey'obulokozi tutegeera nti Katonda Omu yatandika okukola. Mu butaggwaawo yali tanelaga mwennyini mu ngeri yonna. Naye mu Lubereberye yaali nga "akola byonna" – ekigambo, ekitundu ekikola ekya Katonda. N'alyoka yelaga mwennyini mu mubiri ogufa (Yokaana 1:1). Katonda yayogera okuyita mu bannabbi, naye okw'ogera kwe mu mwana tekyali nate kya kutebereza, kye kyali eky'okuddamu, eky'avamu kyennyini. Tuli kukolaganaga n'okubikkulirwa okunene okwa Katonda mwennyini. Oyo omu, ava mu butaggwaawo, ng'ayingira mu biseera era n'akola ebyafayo. Ekigambo ekyaliwo ku Lubereberye kyafuuka mubiri ne gukoleera mu ffe (Yokaana 1:14). Obutangavu ne bujja, olunaku oluggya ne lu kka – olunaku lw'obulokozi (Isaaya 49: 8). Omusana ne guvayo n'obutuukirivu wansi w'ebiwaawaatiro bye. Obulamu obuggya ne bubaawo.

Katonda yatandika okukola entegeka Ye mu bantu. Tulina okulaba nti Ye n'okwelagakwe ng'akwekumu. Wadde nga by'anjawulo. Kyokka kituufu, nti Katonda yali mu Kristo oba n'akyo kisobola okuba ekituufu, nti yatabagana ye mwennyini naffe (2 Abakkolinso 5:19)? Omu ku be byafayo bye kkanisa yalaga ekigambo ekyayogerwa ne Athanasius, era nate eyalaga ku Irenaeus. Owebyafayo yawandika ebigambo bino: "Kubanga Athanasius ekirowoozo ky'asalibwawo nti mu Yesu Katonda mwennyini yalabikira mu ffe; Katonda yakola mwennyini okumanyibwa eri ffe era n'atununula; mu Ye tulina kitaffe mwennyini.

Martin Luther yayogera n'agamba, "Omununuzi alina kuba Katonda mwennyini, kubanga tewali muntu mulala yenna ey'anditununudde okuva mu kugwa kwaffe mu bibi n'okufa okutaggwaawo. Te waaliwo ngeri enddala yonna okutulokola, okuggyako okuyita mu muntu ataggwaawo alina obuyinza ku kibi n'okufa okutwala ekubo ry'erimu n'aleeta obutuukirivu era n'obulamu obutaggwaawo. Kino tekisobola kubeera malayika oba kitonde ekirala kyonna, kyali kirina okuba Katonda mwennyini." enjigiriza etali ya byawandiikibwa ku bussatu yafuuka eky'esittaza eri abayudaaya, abasiramu era nabalala bonna.

Mukifo ky'okutunulira Katonda n'okwelaga kwe nga Kitaffe, Omwana era n'omwoyo omutukuvu mu ntegeka zaabwe, ebirowoozo by'abantu babitekawo ng'abantu abasatu nga bonna batuula kumpi na kumpi.

Buli muntu atya Katonda alina okukkiriza nti endagaano enkadde n'empya zissekimu ddala. Tewasobola kubaawo kusowagana n'okumu. Obunnabbi era n'okutukirizibwa kw'abwo kulina okutambulira awamu nga bwe bukola! Endagaano enkadde eyogera ku kituufu nti alijja, endagaano empya ekakasa nti yayingira mu ngeri y'omuntu.

Okusinzira ku Lubereberye 1:26-28, Adamu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, eyali mu mubiri gw'omwoyo. Mu biro ebyo Katonda yali tanalabika mu mubiri ogufa. Era mu Lubereberye 2:7, Mukama Katonda yakola omuntu okuva mu nfufu y'ensi. Awo oluvannyuma, kaawa yagibwa mu Adamu. Kubanga omuntu yagwa mu mubiri ogufa, Katonda yali n'okukka wansi mu mubiri gwe gumu, okusobola okutununula. Kristo. Kristo ye yali Adamu ow'okubiri. Ku musalaba oludda lwe lwali lugule, era okuyita mu musaayi omugole we yalabika, redeemed. Ye nnyama evudde mu nnyama yange: ggumba erivudde mu maggumba gange (Abaefeso 5:30). Fe, nga abantu, twali tulina okuzibwa mu ntegeka y'obwa Katonda. N'olwekyo, yali alina okujja gye tuli mu ngeri y'omubiri. Naye mu biseera bye bimu, Ye yasigala nga Katonda mu mwoyo. Yali nga Kitaffe mu ggulu era nga Omwana ku nsi. Kino kyali kirina okuba olw'okwawula e ggulu n'ensi, Katonda n'omuntu.

Endagaano empya yo ejulira ku Katonda Omu, nga endagaano enkadde. Okwelaga nga Kitaffe, Omwana era n'omwoyo omutukuvu tekwayongerako Katonda Omu. "Yesu n'amuddamu nti Ery'olubereberye lye lino nti wulira Isiraeri; Mukama Katonda waffe, Mukama ye omu; era yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna, n'amanyi go gonna: kino kye kiragiro ekyasooka." (Makko 12:29-30). Omuntu yenna alowoza atya nti Katonda asobola okwogera ekintu ekitakwatagana na Kigambo kya Katonda ? Omutume Pawulo ajulira mu Baruumi 3:30, "Oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza." Kino n'akyo kya yogerwa mu lwatu Yuda kyawandika, "Katonda omu yekka omulokozi waffe, kubwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda n'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina.” (akanyiriri 25).

Nga tetunayogera ku kwelaga kwe okw'enjawulo, twagala okukitekako esira nate ku bulamba bwe, n'akyo nga bwe kilagibwa mu ndagaano empya. Mu Baruumi 9:4-5, omutume awandika, "… be Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amateeka n'okuweerezanga Katonda n'ebyasuubizibwa; abalina bajjajja abo, era omwana Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina." Ani asobola okugaana ekya yogerwa bw'ekityo! Omutume Yokaana yakilaga bw'ati, "Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja tatuwa amagezi n'okutegeera tutegeere ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima mu mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo." (1 Yokaana 5:20).

Katonda asobola okwebikula mwennyini nga Kitaffe, omwana n'omwoyo omutukuvu era n'asigala nga ye Katonda oyo Omu. Pawulo awa obujulizi obw'amanyi, "Era awatali kubuusabuusa ekyama ky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.”  (1 Timoseewo 3:16). Obujulizi bwa batume ne bannabbi bulina okuwulirwa era n'ebukkirizibwa ne bonna abakkiriza. Obulamba bwa Yesu Kristo gwe musingi ogw'enkomeredde ogw'oku kkiriza kwaffe. Mu bakkolosaayi 2:2, Pawulo awandika, "emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo." wokka nga tufunye okubikkulirwa okw'amazima okwa Yesu Kristo, tuggya kusobola okw'etusako obugagga buno bwonna obukuusifu.