KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Katonda yakola olubereberye olw'ebitonde ebiggya okuyita mu kuzaalibwa. Omuntu yatandikira okuyita mu kutondebwa. Aba Katonda batandikira okuyita mu kuzaalibwa. Enkolagana ya Kitaffe – Omwana wakati wa Katonda era n'omuntu yalina okuteekebwawo. Kino yali tasoobola ku kikola okuyita mu Ibulayimu, Musa oba nnabi omulala yenna, kubanga bonna baali baazaalibwa mu nsi eno mu ngeri y'ensi. N'olwekyo, baali kitundu ku bitonde eby'agwa. Ku lw'amaanyi ga Katonda, Katonda yakola olubereberye lwe bitonde ebiggya. Kino kyaliwo okuyita mu mwana we yekka eyazaalibwa. Katonda yatonda ekintu ekyobulamu mu malyamu emberera. Ye yali asitudde omwana. Malyamu n'agamba, “Laba, nze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw'ogambye. Awo malayika n'ava gy'ali.” (Lukka 1:38). Tewali nnabbi era tewali mutume era n'omwoyo omutukuvu gegumanyi ku kintu kyonna ekikwata ku “nnyina wa Katonda”. Okuva ddi Katonda wali n'okuba ne nnyina? Katonda taggwaawo era tazaalibwangako. Yesu yennyini teyayitako malyamu n'olumu nti “nnyina”, naye buli kiseera “mukazi”.
Kristo yafuuka ezadde ey'olubereberye eri ab'oluganda abangi (Abaruumi 8:29). Adamu yali mwana wa Katonda ku lw'okutondebwa, Kristo yali mwana wa Katonda ku lw'amaanyi ga Katonda. Okuyita mu ye yekka bwe tusobola okufuna okuzaalibwa okuggya era n'etufuuka kitundu ky'abo aba Katonda ku nsi. Kyawandiikibwa, “Kubanga era tuli zzadde lye. Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja” (Ebikolwa by'abatume 17: 28b-29).
Mu kulaga kwe kituufu nti Katonda yatandiika ekitonde ekiggya, tu tegeera Okubikkulirwa 3:14 bulungi nnyo, “Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda.” kino tekilaga kutonda kwa nsi, kino kilaga ekitonde eky'asooka eri ekitonde ekiggya ku kutegera kw'obwa Katonda. Nga malyamu bwe yafuna ekigambo eky'asuubizibwa era n'abutiikirwa n'omwoyo omutukuvu, ku lw'ekyo abaana bonna ab'obulenzi n'ab'obuwala balina okufuna ekigambo ekyasuubizibwa, era awo omwoyo omutukuvu ne gujja gye bali okuleeta obulamu obuggya. Mukama n'agamba mu bulambulukufu, “Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” (Yokaana 3:3). naffe batugamba mu sula y'emu e'ngeri okuzaalibwa kw'omwoyo bwe kubeerawo. Awatali kubuusabuusa n'edda si na mikolo z'enzikkiriza. Ensigo y'obwa Katonda, nga kye Kigambo, birina okusooka okuteekebwa mu mmeeme zaffe. Awatali nsigo y'obwa Katonda tewasobola kubaawo kuzaalibwa okuggya oba bulamu bwa mwoyo. Ebikolwa by'amakanisa byonna tebirina kye biri naye kwekoza kwa bulimba. Byonna bya butalimu era nga kye kiziyinza ekinene eky'abantu. Mukama waffe yalina okuba Katonda era n'omuntu mu biro bimu, naye kino tekyategeerebwa mu butuufu bw'akyo.
Mu Yokaana 10 okuva ku kanyiriri 33, Abayudaaya banennya Mukama waffe eby'obuvvoozi ne bagamba, “… Kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda. Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nn'agamba nti muli bakatonda? Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba), mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi nti, Ovvodde; kubanga ggambye nti ndi mwana wa Katonda?” Mu ndagaano enkadde, Ekigambo kya Mukama kya ggiranga bannabbi. Kulwa ekintu eky'obwa Katonda – Ekigambo kye baafuna – bayitibwanga bakatonda. Okuva eri Katonda ekintu kyokka eky'obwa Katonda kye kisoobola okujja. Bw'ekityo, Ekigambo ekiva eri Katonda kiri n'okuba n'ensigo y'obwa Katonda (Lukka 8:11), okuyita mu ekyo tw'afuuka abaana ba Katonda. Yakobo awandiika okuva mu sula 1:18, “Olw'okuteesa kwe yatuzaala n'ekigambo eky'amazima, tulyoke tubeere ng'omwaka omubereberye ogw'ebitonde bye.”
Omutume Peetero yali abitadeko esiira ebituufu bye bimu n'ebigambo bino, “… Bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula etaggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.” (1 Peetero 1:23). Kino tekirina kubeera jigiriza yokka; kirina okuba obumanyirivu bw'omuntu. Tekirimu kubuusabuusa tekimala kusalawo n'ewegatta ku kkanisa.
Kaakano okudda ku somo yaffe ekkulu obulamba bwa Katonda. Mu bbanga lye biseera by'emyaka enkumi ennya ez'endagaano enkadde, bannabbi te bayogera ku Katonda nga “Kitaffe ow'omu ggulu”. Naffe tetumanyi kintu n'ekimu gye baddira eri Omwana. Mu bugonvu ddala tekiriwo. Okumanya kino nga kya mugaso. Ekisuubizo bisangibwa mu ndagaano enkadde, naye okutuukirizibwa kuli mu ndagaano empya. Enkyuka okuva ku ndagaano enkadde okudda ku ndagaano empya eky'enkomeredde kyonna kyetagisa olw'obulokozi bwaffe. N'endagaano empya, okulabisibwa okuggya kwagattibwa, era kubanga twali bakufuuka abaana, kyali kirina okuba mu Mwana. Mu kiseera kye kimu, tutegeera Mukama y'omu Yakuwa okuva mu ndagaano enkadde ye Mwana, Mukama Yesu, mu ndagaano emya.
Katonda atalabika – Elohim yalabisibwa yennyini okuyita mu biseera by'endagaano enkadde yonna ngalabika nga Mukama – Yakuwa. Katonda y'omu ye Kitaffe eyalabisibwa mu Mwana mu ngeri y'omubiri ogulabika. Ekigambo “Yesu” - Yahshua mu kya namaddala kitegeza “Yakuwa – Omulokozi”. Buli linnya lya Katonda lirina okulekebwa nga bwe liri. Singa ekigambo “Kitaffe” kikozesebwa, tosobola kukisikiza ne kigambo “Omwana”. Singa ekigambo “omwana” kyogerwako tosobola kukozesa kigambo “Kitaffe” okugyako buli kintu kirina obutuufu bw'akyo n'entegeka, ng'omutonzi, Omulokozi, Kabaka, Omulamuzi era nebirala bingi. Okulabisibwa okw'enjawulo okwa Katonda tekusobola kukyusibwa.
Katonda omu, oyo nga y'ebintu ebingi, byafuuka kitaffe ow'omu ggulu, okuva bwe yalabisibwa yennyini ku nsi mu mwana. Nga Kitaffe teyazaalibwa era teyafa. Ng'omwana yazaalibwa, yaboonyaboonyezebwa, yafa era n'azuukira nate. Katonda yali atwagala; n'olw'ekyo, kyali kyetagisa ye okutufuula okuba ekitundu ku ntegeka ze okuyita mu bununuzi. Mu Baruumi 6:5, agamba, "kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe.” nga bwe kitali kya kubuusabuusa nga Katonda bwe yebikula yennyini mu Kristo, Kristo aly'ebikula yennyini mu bakkiriza, nga bwe kitali kya kubuusabuusa nga bwe yazuukira okuva mu bafu, abo ababe n'abo baliba kitundu ku kuzuukira okusooka. “era Katonda yazuukiza Mukama waffe, era naffe alituzuukiza olw'amaanyi ge.” (1 Abakkolinso 6:14).
N'akyo kyandibadde kirungi ekyokuwa amagezi ekituufu nti si n'akiseera n'ekimu mu byawandiikibwa byonna ekigambo “omwana ataggwaawo” oba “omwana ow'omu ggulu” we kisangibwa. Naye tusanga “Katonda ataggwaawo” era ne “Kitaffe ow'omu ggulu”. Tulina okutwala bino byonna n'obwegendereza. Eky'okulabirako, tewali n'omu yagamba, “nti nalaba Katonda, era n'olwekyo nalaba ne Mukama”, naye bonna abalaba Katonda nga bagamba, “Ndabye Katonda.” Kitaffe yali tasobola ku ggamba nti, “Buli muntu yenna andaba aba alabye Kitange.” (Yokaana 14: 9). Kiri eri kubikkulirwa kw'abwa Katonda kwokka, nti ffe tw'amanya Katonda. Tetukoma ku kw'ebikula kwe okw'enjawulo, naye tononyereza okuddayo emabega gye by'asibuuka. Mu lukka 10: 22 Tusoma, “… tewali muntu amanyi Omwana bw'ali wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw'ali, wabula Omwana n'oyo Omwana gw'ayagala okumubikkulira.”
Katonda yategeka ebintu byonna ng'emisingi gy'ensi teginabaawo. Ekitiibwa kye ky'ali ky'amaladda okubaawo mu butaggwaawo okubikulwa okuyita mu Yesu Kristo. Olw'amagezi ge agayogerwa naye yalonda abo abaali balina okufuuka abana ab'obulenzi n'abobuwala aba Katonda ng'emisingi gy'ensi teginabaawo (Abaefeso 1:4-5). yawandiika amanya gabwe mu kitabo ky'omwana gw'endiga ng'ebiseera tebinabaawo (Okubikkulirwa 13: 8). Waliwo okwawula kwenyini. Kristo yali yateekebwawo okuba omununuzi, era n'omugole we yaali yateekebwawo okununurwa. Ku lwa amagezi ge Katonda yategeera abo abalikkiriza ekigambo kye n'obulokozi. N'olwekyo, yabawula okusinzira ku bulamu obutaggwaawo. Olw'amagezi ge yatuteeka ffe mu ntegeka ze enene. (Abaruumi 8:29-30).