KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Okuba Omwana

« »

Mu Zabbuli 2:7, tusoma, “Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaggamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.” Ekigambo “olunaku luno” oba, nga okukyusa okumu bwe ku kiteeka, “Leero” tekirina we kyegattira ku butaggwaawo. Kyogera ku biseera. Mu ndagaano enkadde, ky'ali dda kisuubizo ekyebyo eby'alina okubaawo mu biseera ebijja. Kaakano tutunulira emabega netulaba by'ebimu nga bitukirizibwa. Entegeka yonna ey'obulokozi yatekeebwa wansi mu bigambo by'obunnabbi mu ndagaano enkadde; naye okutukirizibwa kwa buli kisuubizo kubeerawo mu ndagaano empya. Mu Zabbuli 2:8, tusoma ku mwana, “Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, n'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go.” mu bunyiriri 7 era ne 8, tuwulira ku mwana era nti amawanga gonna galimuweebwa nga obusika. Kirina okuba kilambulukufe eri bonna nti omuntu yenna aleme okulokolebwa nti mu bongonvu okukkiriza mu kubeerawo kwa Katonda, kubanga Setaani naye akkiriza mu ye era mu bubi (Yakobo 2:19). okununula, okukkiriza kw'obulokozi kwe kukkiriza nti oyo Katonda omu ow'amazima yatutabaganya eri yennyini okuyita mu mwana. Singa omuntu yenna takkiriza mu kwelaga okw'olwatu okwa Katonda mu Kristo mazima ddala mu bugonvu aba abuuze. Ebyawandiikibwa bisigala nga bya mazima, “kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo.” (Ebikolwa by'abatume 16: 31). Omuwana yafuuka omulokozi waffe; n'olwekyo, tulina okukkiriza mu ye, okusobola okulokolebwa.

Mu Zabbuli 2:12, obutangavu obungi bulabibwa mu somo. Tusanga eky'ayogerwa, “Munywegere omwana, aleme okusunguwala nammwe ne mubula mu kkubo, Kub anga obusungu bwe buli buubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.” Tetusobala okuyita ku kigambo kino mu ngeri yonna. Bangi bogeera ku Katonda, ku Katonda ow'omu ggulu alina okwagala, naye tebamanyi nti Kitaffe yafuuka omulokozi waffe okuyita mu mwana. Bw'ekityo, abatuufu bakkiriza mu Kitaffe kitandika n'okukkiriza mu mwana, kubanga mu mwana obununuzi bwaffe bwabeerawo. Okukkiriza kwokka okubalibwa mu Katonda kwe kukkiriza mu Mukama Yesu Kristo. Mu ye yekka, Katonda yasisinkana n'omuntu, era ne mu ye, tusobola okusisinkana Katonda ne tulaba Katonda era ne tulokolebwa. Tulina okukkiriza mu ye mu ngeri gye yebikula ku lwaffe.

Ku lwaffe yalina okuteekawo Kitaffe-Omwana okutabagana. Twali tulina okufuuka abaana b'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda. Mu 2 Samwiri 7:14, tusanga nti ekirango ky'obunnabbi, “Nze ndiba Kitaawe naye aliba mwana wange.” naye tekikoma awo. Katonda atekamu abaana be bonna ab'obulenzi n'ab'obuwala mu ntegheka ze enene. Mu Koseya 1:10b, tusoma, “Mmwe temuli bantu bange, we baligambirwa nti mmwe muli baana ba Katonda omulamu.” kino kyasoboka okuyita mu Yesu Kristo. Pawulo awandiika mu 2 Abakkolinso 6:18, “… Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.” Bonna abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala abamazima aba Katonda balina okuba abagonvu era n'okukakasa bennyini okuba abesigwa.

Mu abaefeso. 1:5, omutume Pawulo akiteekako esira entegeka ya Katonda naffe, akilaga nga bwe bigobeerera, “… bwe yatwawula edda okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okwagala kwe …” twogera ku Katonda era n'entegeka ye n'abantu. Waliwo abantu ku nsi abategera kye kitegeza okuba kitundu ku ntegeka ya Katonda. Balondebwa mu Kristo, bali mu ye. N'olwekyo, tewali kkanisa eteekebwa okubalwanyisa. Bafuna okubalibwa nga tebaaliko musango okuyita mu bununuzi. Bassanyusa Katonda, engeri gye bateekebwa ng'abaana b'obulenzi n'ab'obuwala.

Mu kulaga enkolagana wakati wa kitaffe n'omwana, tusoma mu Zabbuli 89, akanyiriri ka 26-27, “Anankaabiranga nti Ggwe Kitange, Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange. Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab'ensi.” bw'ali bunnabbi mu ndagaano enkadde, naye tulaba okutukirizibwa n'olwekyo okuyita mu Yesu Kristo, Mukama waffe. Mu mubiri ogufa, yabonyaabonyezebwa era nafa nga omwana yekka eyazulibwa, okutwala ekifo kya bonna abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda. Okuyita mu kuzuukira kwe, omubiri gwe gwafuusibwa okuva mu gufa mu gutafa. Mu butuufu buno, okuzuukira kwaffe n'okufuusibwa kw'emibiri gyaffe kwa kakasibwa.

Tetukola ku kuyigiriza kw'okka, kwe ebyo abantu bye bagala okukubaganyako ebirowoozo. Tuli kulaga okutegeera entegeka ya Katonda ey'obulokozi, abatwala abaana ba bantu ne babafuula aba Katonda. Si bibi byaffe byokka ebirina okutugibwako, naye naffe twali tulina okununulibwa okuva mu kufa era ne tununurwa okuva emagombe. Mu Zabbuli 68: 19-20, tusoma, “Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa.”

Si omu ey'azaalibwa mu nsi eno eyalina amaanyi okusinga okufa. Mu bitali bumu, buli muntu yenna yali yatwalibwa n'okufa okugyako Enoch ne Eriya. Tulina ebyokusoma bingi ebitwetooloddwa. Byo bigya era n'ebigenda. Naye Mukama ya ggamba, “Ndibanunula eri amaanyi ag'amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? Ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Okwenenya kulikwekebwa amaaso gange.” (Koseya 13: 14).

Kino kyali mkisuubizo mu ndagaano enkadde – kaakano kya ddala tumanyi oyo eyawangula okufa, Setaani era n'amagombe ku lwaffe. Mu Zekkaliya 9:11, tusoma, “Era naawe olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.” Tunamanyi ku bya Lazaro n'omusajja omugagga, ey'ali akaabira amazzi.

Okutangirira n'akwo kw'ali eri abaali balindirira eyafukibwako amafuta okujja. Bagenda mu lusuku lwa Katonda, naye Kristo bwe yazuukira, abo abaali abiseera by'endagaano enkadde, abaalina okuba ekitundu mu kuzuukira okusooka, bajja naye okuva emagombe (Matayo 27 okuva mu kanyiriri 51). Mu Abaefeso 4:8, tusoma, “Kyava ayogera nti Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga N'awa abantu ebirabo.”

Endagaano empya yali yamala dda okusuubizibwa mu ndagaano enkadde. Tukolagana n'ebyo n'ago amazibwa agaakakasibwa. Nnabbi Yeremiya yawandiika mu sula 31: 31-34, “Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya … si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'emisiri; endagaano yange eyo n'ebagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama. Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lwe nnaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange: nga olwo omuntu tokyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo bw'ayogera Mukama: kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.”

Mukama Katonda naye yawa ebisuubizo ebigoberera era n'abikola okusooboka, “Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe: era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama. Era nditeeka omwoyo gwange munda mu mmwe, ne mbatambuliza mu mateeka gange, era mulikwata emisango gyange ne mugikola.” (Ezeekyeri 36: 26-27).

Kaakano tutunulira emabega ku lunaku olunene olw'okutangira, nga tumanyi nti yatusonyiwa ebibi byaffe nga takyajjukira bibi byaffe nate. Omulokozi waffe bwe yafa, endagaano empya n'eteekebwawo. Ye yennyini yakijulirako, nga tekinabaawo, mu Matayo 26: 28, “… kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.” Enjiri zirimu byonna ebyawandiikibwa ku ebyo eby'aliwo omulokozi waffe bwe yafa. baali abajulizi abamulaba oluvannyuma lw'okuzuukira kwe. Si byakwogerako bwogezi. Ge mazima. Yajja nga omuwanguzi ow'amaanyi.

Omutume Peetero awandiika ku mukolo guno omunene, “… Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri naye n'azuukizibwa omwoyo” (1 Peetero 3:18). Tw'agulibwa n'omuwendo. Tw'anunulibwa, tw'alokolebwa. Okufa era n'amagombe tebirina maanyi gye tuli. Mu bugonvu tukkiriza ebyo byokka Katonda by'agamba mu Kigambo kye, “Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y’okufa.” (Abaebbulaniya 2:14-15). Yamaliriza omurimu gw'obununuzi, nga bwe yazuukira ku lunaku olw'okusatu. N'alyoka abeera n'abayigirizwa be okumala ennaku makumi ana, ng'ayogera gye bali ku ebyo ebintu ebikwata ku bwa Kabaka bwa Katonda. Oluvannyuma yatwaliba mu ggulu mu maaso g'abayigirizwa be (Lukka 24: 50-51). Ebyawandiikibwa ebyo eby'ekitiibwa byamanyizibwa eri ffe fenna.

Ekitundu ekisinga okuba ekyamaanyi kiri nti ebintu byonna byateberezebwa era n'ebyogerwako mu ndagaano enkadde era ne bilabibwa n'okumanyirirwa mu ndagaano empya. Mu Zabbuli 68: 18, agamba, “Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.” Kwe kw'ogera kw'ekumu okusangibwa mu Zabbuli 47: 5, “Katonda alinnye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.” Fenna tumanyi nti Yesu Kristo yatwalibwa waggulu, naye naffe tutegera nti yali Katonda, eyalabisibwa mu mubiri. N'olw'ekyo kituufu, nti Katonda yatwalibwa mu ggulu n'okulekana. Entegeka ya Katonda n'abantu yafuuka ekyamazima. Mu Abaefeso 4:10, tusoma “Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna.”

Twandyeyongedde okuwa ebyawandikibwa ebisinga obungi ebikwata ku somo lino. Tumaliriza esula eno n'okwogera okugoberera, “Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera; era nga yaziikibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera ; era nga yalabikira Keefa; n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka; n'alyoka alabikira Keefa Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna; era oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole.” (1 Abakkolinso 15: 3-8).