KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Omuweereza

« »

Ng'omuntu, Kristo ayogerwako ng'omuweereza. Nga bwe kityo yajja okukola okwgala okutukiridde okwa Katonda. Isaaya 42:1:“Laba omuweereza wange gwe mpanirira; omulonde wange obulamu bwange gwe busanyukira ntadde omwoyo gwange ku ye; alyolesa omusango eri ab'amawanga.” kino kyali kisuubizo era ekyayogerwa mu ndagaano enkadde era ne kifuuka ekyamazima ekyatukirizibwa mu ndagaano empya. Abaana bonna ab'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda bakkirizibwa eri Kitaffe ow'omu ggulu okuyita mu Yesu Kristo, Omwana.

Oluvannyuma lw'omwoyo gwa Katonda okujja eri Kristo, yali yafuukibwako amafuta era n'atandika obuweereza bwe. Mu Lukka 4, okuva ku lunyiriri 18, asoma obunnabbi obukwata ku ye mu Isaaya 61: 1-2, “Omwoyo gwa Mukama Katonda guli kunze; kubanga Mukama afuseeko amafuta okubuulira abawombefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira edembe eri abawambe, n'abasibe okugulirwawo ekkomera; okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu.”

Entegeka ya Katonda ne kigendererwa kitukiriziddwa. Kubanga Kristo yazuukira okuva mu bafu era abeera mu banunurwa, ayongera obuweereza bwe okuyita mu bo. Ababula balokolebwa, abo abasibiba balekurwa, abalwadde bawonyezebwa, kubanga Yesu Kristo aba bumu, jjo leero emirembe n'emirembe. Tuli kitundu ku ndagaano Katonda gye yakola okuyita mu Yesu Kristo. Mu Isaaya 42: 6-7 kigamba, “Nze Mukama nakuyita mu butuukirivu, era anaakwatanga omukono gwo era anaakukuumanga, n'ekuwa okubanga edagaano y'abantu, okubanga omusana eri ab'amawanga; okuzibula amaaso gabazibe bamaaso, okuggya abasibe mu bunnya, n'abo abattula mu kizikiza mu nnyumba y’ekkomera.” Tumanyi nti obunnabbi buno bw'afuuka ekyamazima. Okutukirizibwa tusobola okusoma mu Matayo 12: 17-21, “Kitukirire ekyayogerwa mu Isaaya Nnabbi nti laba omulenzi wange gwe n'alondamu; gw'enjagala, ansanyusa emmeme yange: ndimuteekako omwoyo gwange, alibulira amawanga omusango. Taliyomba, so talireekaana; so tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye munguudo. Olulimi olwatifu talirumenya, so n'efuuzi ezinyooka talizizikiza, okutuusa lw'ali sindika omusango okuwangula n'erinnya lye amawanga galisuubira.”

Nnabbi Isaaya alaga omununuzi nga omuweereza mu kubonabona kwe mu sula ya 52, okuva mu kanyiriri 13, okuyita mu sula 53 akanyiriri 12. Bannabbi baali balaba ekubo lye okuva Gesusemane era n'okutuuka eCalivariya n'okubikkulirwa kw'obwa Katonda, Isaaya ya wandiika, “… era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa. Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu w'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe kweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, netutamuyitamu kabuntu. Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula enaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa. Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe. Okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emigo gye gye gituwonya.” (Esula 53: 2b- 5).

Mu Zabbuli 129: 3, okubonabona kwe n'akwo kw'ayogerwako, “Abakabala baakabala omugongo gwange batema ensalosalo empanvu.” tusobola okwewunya lwaki yali alina okuyita mu kubonyaabonyezebwa kwonna, naye tutegeera nti yali alina okutwala okubonerezebwa. Gwali gwatusinga. Mu Isaaya 50 olunyiri lwo 6, ekirowoozo kye kimu kye kilagibwa, “Nawaayo amabega gange eri abakuba n'amatama gange eri abo abakuunyuula enviiri: saakweka maaso gange nsonyi n'akuwanda amalusu.” Buli musomi wa Baibuli bamanyi, engeri Mukama waffe era Omulokozi yasekererwa, n'akubibwa n'awandibwa amalusu nebirala bingi. Buli kintu kyonna bannabbi bye bayogera bya tuukirizibwa.

Ng'omuweereza, eyafuukibwako amafuta bwe yabonyaabonyezebwa mu ngeri nti tewali muntu n'omu gye ky'atuukako mu kiseera kyonna. Yayisibwa ng'omuntu asingisiddwa omusango ku nsi. Mu Makko 14: 65, tusoma, “Awo abamu ne batanula okumuwandira amalusu n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukuba empi.” Ani asobola okukkiriza kino nti Mukama ow'ekitiibwa yafuuka omuntu w'ennaku, n'amaziga,? Mu Makko 15, tusobola okusoma ku ngule y'amagwa, eyamwambazibwa ku mutwe, engeri abasekerezi bamukolako eby'okusekerera bingi ku ye. Mu kanyiriri 28, okunyonyorwa ku weebwa “Olw'o ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigambo nti n'abalirwa awamu n'abasobya.”

Mu kubonyaabonyezebwa kwe tetumulaba nga kabaka mu bulungi bwe; tumulaba ng'omuweereza, nga bateeka ebizibu by'abantu bonna ku ye. Nnabbi Isaaya naye yali yabyogerako ebyo ebibala byokubonyaabonyezebwa kwe bwe biriba, “Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu: era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.” (Esula 53: 11). Yali Mukama, naye yalina okukola ng'omuweereza. Gwali gwa tusinga ffe abaali basana okufa, naye twagibwako omusango n'okukkiriza. Twalekebwa ne Katonda, naye yatwala ekifo kyaffe tatufiirira ku musalaba, n'akaaba n'eddoboozi erya waggulu, “Katonda wange, Katonda wange kiki ekikundesezza?” ekyo kye kyali ekiseera, ebibi by'ensi yonna bwe byamutekeebwako. Katonda tasobola kukwatira kisa kibi, yabivamu mu nsonga eyo. Naye akasale kateekebwa ku ludda lwe, omusaayi omutukuvu gwayiika ku lwo bununuzi bwaffe, era ne tutabagana ne Katonda.

Mu Zabbuli 22: 1, Dawudi yali yawa obunnabbi n'okusikkirizibwa okwo bwa Katonda nti kino kisobole okubaawo. Mu lunyiriri lwo 7, tusoma, “Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe”. Tukimanyi ku lw'ekyo bakikola. Dawudi nate ayogera mu lunyiriri lwe 16-18, “Kubanga embwa zinnetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange. Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso: Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange.”

Mazima tutegeera, engeri bwe kitukiridde obunnabbi obusuka mu kikumi, obwaweebwa mu ndagaano enkadde, bwatukkirizibwa mu kujja okwasooka okwa Kristo? Buli kintu okuva ku kuzaalibwa kwe okutuusa ku kutwalibwa kwe mu ggulu byayogerwako era ne bifuuka mazima. Omutume Peetero ayogera bw'ati, “… nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu. Eby'obulokozi obwo bannabbi abaalagulanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga: nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera.” (1 Peetero 1:9-11).

Ng'omwoyo gwa Katonda ogwa bikulwa eri bannabbi ebyo ebiribaawo, kaakano tutunulira emabega ne tulaba lwa kubikkulirwa kw'omwoyo omutukuvu gw'egumu ogwaliwo kulwa ffe. Pawulo akilaga mu ngeri esinga obulungi mu Abaefeso 2:13-16, “Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo. Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu n'amenyawo ekisenge kya wakati ekyawula, bwe yamala okuggyawo mu mibiri gwe obulabe, tawuleti eyebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya okuleeta emirembe; era alyoke atabaganye bombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba bwe yattira obulabe ku gwo: n'ajja n'ababuulira enjiri ey'emirembe mmwe abaali ewala, n'emirembe abaali okumpi: kubanga ku bw'oyo ffe fembi tulina kusembera kwaffe eri Kitaffe mu mwoyo omu.”

Ffe abafuna, nga tutegeera mu kukkiriza nti tuli ekyo Katonda kye yatukola okuba okuyita mu Yesu Kristo, omulokozi waffe. Tetuli bekyo Setaani kye yatukola okuyita mu butali bugonvu ne kibi. Tu tegeera obununuzi bwaffe bwonna obwateekebwa nate mu kifo eky'abana ab'obulenzi n'ab'obuwala aba Katonda, nga tufunye obulamu obutaggwaawo.

Okulowooza nti Mukama waffe yalina okutambula bw'ati ku lwaffe, twewulira nti tuli batono. Ekisa kye ekingi kyatuweebwa ffe, okwagala kwe kwalabisibwa gye tuli, Mukama era ne Mukama waffe (Yokaana 13: 13), yagaana okuyitibwa bw'atyo, bwe yali akola omurimu ggwe nga omuweereza. “N'omuntu omukulu omu n'amubuuza ng'agamba nti omuyigiriza omulungi, nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo? Yesu n'amugamba nti ompitira ki omulungi? Tewali mulungi wabula omu, ye Katonda.” (Lukka 18: 18-19).

Bwe tumulaba mu buntu bwe, teyatwala bukulu oba kitiibwa okuva ku muntu yenna. Yagamba mu Yokaana 5:41, “Siweebwa bantu kitiibwa.” mu lunyiriri lwa 44, yagamba, “Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa ekitiibwa mwekka n'amwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?” Kilaga omurimu gwe nga omuweereza. Nga bw'atyo bwe yajja okukola okwagala kwa Katonda n'okumaliriza omurimu gw'obununuzi. Mu kitiibwa kino n'agamba, “N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga zekka kubanga nkola bulijo by'asima.” (Yokaana 8:29). Ng'omuweereza, yajja okuweereza. N'olw'ekyo, tusoma mu Matayo 20: 28, “Nga Omwana w'omuntu bw'atajja okuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ekinunulo ky'abangi.”

Mu ndabika ye ey'ebweru, eyafukibwakoamafuta yali muweereza, naye mu munda mmwe yasigala nga ye Mukama ow'ekitiibwa. Kyali kyetagisa kyoka ye okuufuuka buli kintu, bw'ekityo entegeka enene ey'obulokozi esobole okutuukkirizibwa.