KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Nnabbi

« »

Omutume Peetero yalaga eky'okulabirako eri eyafukibwako amafuta okuba nnabbi eyasuubizibwa mu Ekyamateeka Olw'okubiri 18: 18. Ayogera mu Bikolwa by'atume 3:22-23, “Musa agamba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba. Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikirira mu ggwanga.” Mukama naye yalina okutukiriza omurimu nga nnabbi. N'olw'ekyo, ekilagiro ne kiweebwa, nti buli muntu ataliwulira nnabbi oyo elizikirizibwa. Tulina okumuwulira era n'okumukkiriza, okusobola okuwulira n'okukkiria Katonda era n'okufuna obulamu obutaggwaawo.

Ku lusozi lw'okufuusibwa, eddoboozi lyawulirwa okuva mu maanyi ge kire kya Katonda, “Ono ye mwana wange gw'enjagala gw'ensanyukira ennyo mumuwulire. Abayigirizwa bwe bawulira, nebagwa nga bevunise nebatya nnyo.” (Matayo 17: 5-6). Wokka nga okutya kwa Katonda kuze gye tuli, tugya kuba nebigendererwa ebirungi eri Mukama, Ekigambo kye, era neri ekyo kyakola. Bwe tulaba Yesu Kristo ng'agulumizibwa, tugya kwekweka mu Kigambo, “Mumuwulire mmwe!” tetulina kyitwetagisa okuwulira ekibina kyonna, Abalabirizi, oba obuyinza bw'omwoyo; tugambibwa okuwulira era n'okumugondera kwokka.

Yali Mukama, ng'akola nga Nnabbi, ng'alangirira okwagala kwa Katonda okuyita mu Kigambo kya Katonda ekitukiridde. Yokaana Omubatiza yabuuzibwa, “nti kale lw'oli ani?” N'agamba nti “Si nze ye” (Yokaana 1:21). Yokaana yali nnabbi omunene, kubanga yali lutindo wakati w'endagaano enkadde n'empya, era n'ayannjula eyafukibwako amafuta ng'endiga ya Katonda, naye teyali nnabbi oli Musa gwe yayogerako. Ono ye yali Eyafuukibwako amafuta. Okuytita mu ye, ekitundu ky'obunnabbi eky'entegeka y'obulokozi bw'akolebwa okutegerekeka era ne bukakasibwa n'obuweereza bwe. Mu Yokaana 6:14, tusoma, “Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.”

Wali walina okubaawo ekitundu ky'obuweereza bw'oyo eyafukibwako amafuta obwali bulina okuba obw'obunanbbi. Buli kyawandiikibwa kyetaga okutukirizibwa. Bwaba ayogerwako nga nnabbi, yalina okugamba nti yatumibwa nga bannabi bonna bwe batumibwa okukola emirimu gye. Kino kye kyali ekimu ku bukulu bwe yalina, bwe yali alabisiddwa ng'omwana. N'olwekyo tusoma mu Yokaana 5:19, “Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola bw'atyo.”

Nga Omwana, Yalabisibwa obuntu bwe mu ngeri y'emu ng'abannabbi bwe baakolanga. Wano teyali Katonda atayamba, ngayogera ne Katonda ow'amaanyi, naye Omwana w'omuntu, Yesu Kristo, ku murimu gwe ogw'obunnabi yali ayogera eri Katonda. Bannabbi Mukama beyatuma bali bantu abawa obunnabbi ku bintu ebigenda okubaawo gyebuggya mu maaso; n'okusikirizibwa kw'obwa Katonda okw'omwoyo baalaba okuyolesebwa, era n'okwagala kwa Katonda kwa tegeerekeka eri bo. Wano tulaba Omwana W'omuntu, ng'atwala ekifo nga nnabbi, awa obunnabbi, okutukiriza ebyawandiikibwa. Yayogera ebyo bye yalaba era ne bye yawulira.

N'ebyawandiikibwa by'endagaano enkadde ebyawandiikibwa mu Zabbuli 40: 7-8 byalaga ye nga bwe kilabibwa mu Abaebbulaniya 10: 7-9, “Ne dyoka njogera nti Laba nzize … okukola by'oyagala, ai Katonda.” Bannabbi era ne bangi abatuukkirivu bayayanira okukola okwagala kwa Katonda, naye awantu awamu balemwa. Wano we wali oyo atalemwa, teyali alina okukikola kyokka, naye yalina amaanyi okukikola. Mu Abaebbulaniya 10: 10, kigamba, “… mu ebyo by'ayagala twatukuzibwa olw'okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu.” ye yali endiga etuukiridde – ssaddaaka etukiridde, okuyita mu ye tulina obununuzi obutuukiridde.

Nga omwana eyazzulibwa owa Katonda yaggyawo obutali bugonvu bwa Adamu ey'asooka n'ateekawo obugonvu obw'enkomeredde eri Katonda. Kubanga yakolanga n'amaliriza okwagala okutuukiridde okwa Katonda wano ku nsi, kaakano twateekebwa mu kifo nafe okukola okwagala okutukiridde okwa Katonda. Okusinzira ku Abakkolosaayi 2:13, twafuna okusonyiwibwa kwonna, “Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonono byammwe, n'obutakomolebwa mubiri gwammwe yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna.” Fenna tumanyi, nti Kristo yalina okuba nnabbi, naye yali asingako nnabbi. Yali Mukulu NZE eyayogera okuyita mu bannabbi bonna. Ye yali asobola okugamba nti “Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa NZE NGA WENDI.” (Yokaana 8:58).