KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Omwana gw'endiga ogwa Katonda

« »

Mu biseera by'endagaano enkadde, endiga yatunulirwa nga ssaddaaka etalina musango, okulaga ekifaananyi eky'endiga ya Katonda erijja okufiirira abantu nga telina musango. Yokaana Omubatiza bwe yalaba eyafuukibwako amafuta ng'ajja, y'amusongako n'agamba, “Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!” (Yokaana 1:29). Peetero awandiika, “Nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe; wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala ye Kristo.” (1 Peetero 1:18-19).

Abo abali ekitundu ky'ekkanisa ya Katonda omulamu twafuna okununulibwa okutukiridde okuyita mu musaayi ogw'obwa Katonda (Ebikolwa by'abatume 20: 28). Mu Baruumi 3:25-26, abatume balaga ekirowoozo kino, “… Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza; okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu.” Amazima agekitalo ge galagibwa gye tuli okuyita mu njiri ya Yesu Kristo! Tulina Kristo, nga kye ky'okuddamu kyaffe eri ebibuuzo byaffe byonna. Okuyita mu kukkiriza abo aba kkiriza baggyibwako omusango, era batukuzibwa emirembe n'emirembe, nga naye bwe yetukuza yennyini ku lwa ffe (Yokaana 17: 19).