KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Eyafuukibwako amafuta naye yalina okuba Kabona ow'okwenenya kwaffe. Mu Abaebbulaniya 9:14, tusoma, “Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno, so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo. Kuba oba ng'omusaayi gw'embuzi n'ente ennume n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri; omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ogutaggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?” Nga kabona tumulaba okuba nga yawaayo ssadaaka. Mu kiseera kyekimu ye yali endiga, ssadaaka yennyini. Mu biseera by'ennaku ze ku nsi yasaba. Kuno tekwali kya kwelaga, naye kino kyali kyetago ky'omuntu.
Mu Baebbulaniya 5 okuva ku lunyiriri 7, tusoma, “… Oyo mu nnaku ze yabeereramu mu mubiri gwe, bwe yawaayo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n'okukaaba ennyo n'amaziga, era bwe yawulirwa olw'okutya kwe Katonda, newakubadde nga Mwana, naye yayiga okugonda olw'ebyo bye yabonaabona: awo bwe yamala okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abamuwulira; Katonda gwe yayita kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.” Mu mubiri yali muntu; yabonaabona; yali mugonvu ddala. Byonna ebyali ekitundu ku ntegeka enene ey'obununuzi. Yajja okutulokola, kubanga twali tetusobola kweyamba bennyini.
Tusoma ekyama kya Merukizeddeeki mu Lubereberye 14: 18, “Ne merukizeddeeki kabaka w'e Ssaalemi n'aleta enmere n'omwenge: era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo. N'amusabira omukisa, n'ayogera nti Ibulayimu aweebwe omukisa, Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi: era Katonda ali waggulu ennyo atenderezebwe akugabidde abalabe bo mu mukono gwo. N'amuwa ekitundu ky'ekkumi ekaya byonna.” Singa omutu omulala asoma ekyawandiikibwa kino, asobola okulowooza nti waaliwo kabaka mu Yerusaalemi, naye ayalina obukulu bwa Kabona.
Mu Baebbulaniya 7, kabaka ono ne kabona alagibwa mu ngeri y'okumpi, “… Era Ibulayimu bwe yagabira ekitundu ky'ekkumi, ekya byonna (Eky'olubereberye, mukutegeezebwa, kabaka w'obutuukirivu, era eky'okubiri, kabaka w'eSsaalemi ye kabaka w'emirembe; atalina Kitaawe, atalina nnyina, atalina bajjajjaabe, atalina lunaku lwe yasookerako newakubadde enkomerero y'obulamu, naye afaananyizibwa Omwana wa Katonda), abeera kabona ow'olubeerera ennaku zonna.” (lunyiriri 2-3).
Waliwo omu yekka asobola okuyitibwa “Kabaka w'obutuukirivu” era “Kabaka w'emirembe” ye kabaka wa bakabaka. Mu nnaku za Ibulayimu yali tanajja mu mubiri; n'olw'ekyo teyalina ntandikwa. Ekyo kyekiva kigamba nti mu kwegatta ku ekyo, teyalina Kitaawe era ne nnyina. Naye okuva lwe yajja mu mubiri, yazaalibwa Omwana n'olw'ekyo, yalina okuba ne Kitaawe ne nnyina.
Buli kabaka oba kabona ku nsi alina Kitaawe ne nnyina, naye Merukizeddeeki kabaka w'emirembe teyalina n'omu. Ekyo nate bukakafu obw'amaanyi nti Mukama, eyajja eri Ibulayimu nga Kabona yajja oluvannyuma mu nsi eno nga Omwana. Nga kabona yajja n'omugaati n'eninnyo eri Ibulayimu, ekilaga emmere ya Mukama. Oluvannyuma nga olutalo luwedde omulabe yawangurwa, emmere nebeerawo. Kiriba kyekimu n'abo abanunurwa. Oluvannyuma lw'olutalo lw'omwoyo nga luwedde abo abalifuna obuwanguzi, balitwalibwa okulya emmere ne Mukama.
Mu ndagaano enkadde, kabona omukulu ngayingira awatukuvu wa watukuvu omulundi gumu mu mwaka mu lunaku olukulu olw'okutangira (Abaebbulaniya 9:7). Naye Kristo yayingira n'omusaayi gwe yennyini nga kabona omukulu omulundi gumu kulwa byonna, era nawo yamaliriza obununuzi bwaffe. Omusaayi gwe tegwayambazibwa nfufu y'ensi eno, gwayiika ku nsi eno, naye okusinzira ku byawandiikibwa yagenda eri awatukuvu n'omusaayi gwe yennyini era n'aguteeka wansi ku ntebe y'ekisa.
Okuva ku lunaku olwo, ekisa kya Katonda we kiri eri abo bonna abagala okukifuna. Omusaayi gu kya twogeerera leero. Gwe musaayi gw'endagaano empya, okugenda eri abo bonna abakkiriza mu biseera by’ekisa. Kino kitujjukiza obunnabbi Isaaya bwe yawa mu sula 53: 10, “Naye Mukama yasiima okubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriba mukisa mu mukono gwe.”