KATONDA N'entegeka Ye N'abantu

Okumaliriza

« »

Okuyita mu biseera by'endagaano empya yonna, Yesu Kristo alabibwa nga tewali mulala wabula Katonda; newakubadde si muntu ow'okubiri eri Katonda, naye bulijo nga ye oyo mu bifo by'obuweereza by'eyalina okutuukiriza. Eky'okulabirako nga Omwana w'omuntu. Suteefana bwe yatunuulira mu ggulu, n'agamba nti “Laba, ntunuulidde eggulu nga libukkuse N'OMWANA W'OMUNTU ng'ayimiride ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.” (Ebikolwa by'abatume 7:56). Yesu Kristo yalina okubeera ebintu bingi: Omwana gw'endiga ogwa Katonda, kabona omukulu, Omwana w'omuntu nebirala bingi, nga bwe tulabye mu bujuvu. Buli kiseera yalabibwanga awatali Katonda, yalagibwa mu bikolwa, okusinzira ku byetago eby'entegeka enene ey'obulokozi.

Yalina okufuuka bino byonna ku lwa ffe okufuna obununuzi. Mu Abaebbulaniya 12: 2, tusoma, “… nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono gwa ddyo ogw'entebe ya Katonda.”

Y'omu oyo eyalabibwa ne Suteefano ng'Omwana w'Omuntu, Yokaana yalaba ng'atambulira wakati w'etabaaza za zaabu (Okubikkulirwa 1:12-20). Suteefano yamulaba mu ggulu, Yokaana yamulaba ku nsi mu kkanisa. Y'omu oyo kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe (Abaebbulaniya 4:15). Ye muwolereza akola okutakabananga naffe ku ntebe y'ekisa.

Naye yasobola okulabikira mu butangavu bw'omusana eri Sawulo mu kubo lye ng'ayolekera Ddamasiko, nga bwe kyawandiikibwa mu Bikolwa by'abatume 9:3-6. Pawulo bwe yabuuza, “N'agamba nti ani ggwe, Mukama wange? ye N'agamba nti Nze Yesu, gw'oyiganya ggwe …” Kale, Ani ye?, Ye ani? Ye aliwa? Omu amulaba nga Omwana w'Omuntu ali kumpi ne Katonda ku ntebe omulala amulaba ku ntebe y'e kisa nga Kabona asinga obukulu, nga atutakabaniranga. Adirira amulaba ng'atambulira wakati w'etabaaza omusanvu eza zaabu. Era nate, yalabibwa mu maanyi ga Katonda ag'obutangavu agaziba amaaso ga Sawulo.

Kino si kyonna: Yokaana awandika, nga ali ku kazinga ka Patimo, nti yamulaba nga empologoma y'ekika kya Yuda eyawangula. N'alyoka amulaba g'Omwana gw'endiga ogw'atibbwa. Twandyeyongede okulaga okulabisibwa kwe okw'enjawulo. Okuggyako ebyo byonna, asigala nga y'omu. Gino gyali mirimu egy'enjawulo gye yalina okukola. Naye singa tujjira ddala ku muga gw'ensonga yonna, okuddayo emabega kitukulembeera eri Mukama Katonda ataggwaawo. Te tukoma ku kulabisibwa kwe kwetagibwa, naffe tumanyi nti olunaku lumu, nga buli kintu kyonna kimaliriziddwa, tuli mulaba nga bw'ali. Mukama asobola okw'ebikula nga bw'akissanyukira, era tabuuza muntu yenna lukusa kukikola.