KATONDA N'entegeka Ye N'abantu
Okutangirira era n'okutabagana kulaga omutabaganyi oba omuwolereza. Yobu ye yali mu ndagaano enkadde eyateeka esira ku kirowoozo kino mu ngeri ey'enjawulo. “Oba waliwo wamu naye malayika omutegeeza, omu mu lukumi okwolesa abantu ebigwanira; awo n'amukwatira ekisa n'ayogera nti muwonye aleme okukka mu bunnya ndabye ekinunulo. Omubiri ggwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto; adda mu nnaku z'obuto bwe; asaba Katonda, era amukwatira ekisa; n'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.” (Yobu 33: 23-26).
Kino mazima ddala kyamala okutuuka ku abo abakkiriza. Twagulibwa n'omuwendo, twanunurwa, tetulina kibi oba bbala mu maaso ga Katonda. Era mu kujja okw'okubiri okwa Kristo abo ababe balifuusibwa mu mibiri gyabwe era ne bakomawo mu buvubuka obutuukiridde nate era, nga bwe kyayogerwa mu Yobu, kisigala bwe kityo mu butaggwaawo bwonna. Amiina.
Bannabbi n'ab'amagezi mu ndagaano enkadde baali balindiridde obununuzi okubeerawo. Yobu yakaaba n'okukkiriza mu kugezesebwa kwe kwonna era n'embeera etalimu suubi, “Naye mmanyi ng'omununuzi wange aba mulamu, era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi: era ediba ery'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, naye mu mubiri gwange ndilaba Katonda: gw'endilaba nze mwene, n'amaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeme yange emaliddwawo munda yange.” (Yobu 19: 25-27).
Tulaba eyafukibwako amafuta ng'alabisibwa mu ngeri ze zonna ez'enjawulo okuggyako Katonda. Mu kulaga kino, Pawulo yawandika mu 1 Timoseewo 2:5, “Kubanga waliwo Katonda omu era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu.” si ba katonda babiri, si bantu babiri mu bulamba bwa Katonda, naye Katonda omu era omutabaganya omu: Omuntu, Kristo Yesu. Tulina okutegeera omulundi gumu kulwa byonna, yalina okuba omuntu okusobola okununula abantu era n'okusobola okufa era n'okuyuwa omusaayi gwe nga ekinunulo ky'ekkanisa.
Mu Abaebbulaniya 12: 24, kigamba nti twajja “N'eri Yesu omubaka w'endagaano emya, n'eri omusaayi ogw'okumansira, ogw'ogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri.” Tulina okukkiriza buli kintu, nga tekinafuuka eky'omugaso mu bulamu bwaffe bwennyini obw'omwoyo. Mu ndagaano enkadde omutabaganya yayogerwako mu lwatu edda mu buntu obwa Nnabi Musa, eyayimirira wakati wa Katonda n'abantu. Mu ndagaano empya alagibwa mu Bikolwa by'abatume 7:38 nebigambo bino ebigoberera, “Oyo ye yali mukkanisa mu ddungu, wamu n'emalayila eyayogera naye ku lusozi sinaayi, era wamu ne bajjajjafe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe.” Katonda ye yayogera, era Musa ye yali alina okuleta ebigambo bye yafuna eri abantu. Yakolanga ng'omutabaganaya.
Obuweereza bw'omuwolereza n'abo bw'etagibwa. Yokaana ayogera ku abo abakkiriza, “Abaana bange abato, bawandiikide ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw'akola ekibi, tulina omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutukirivu: n'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye olw'ensi zonna.” Era nate tulaba Kristo nga adiridde Katonda si muntu mulala, naye omu mu bifo ebyetagisa ebikwata ku kkanisa n'entegeka y'obulokozi. Kaakano atuula ku mukono ogwa ddyo n'amaanyi g'oyo asinga obukulu ali waggulu. Ekyo kyaweebwako obunnabbi mu Zabbuli 110: 1, “Mukama agamba Mukama wange nti tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lw'endifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.” awo ye asigalawo okutuusa ebiro bwe bikoma, era ebintu byonna nga biteekeddwa wansi w'ebigere bye (Aebbulaniya 1:13).