Book

Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 34 calendar_month 7. 9. 2006

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

EBIBUUZO EBY'ABUUZIBWA ERI OW'OLUGANDA EWALD FRANK N'ABAWEEREZA OKUVA MU MAWANGA AG'ENJAWULO 1 Kibuuzo 1: Oyimiridde wa leero ku buweereza bwo w'oluganda Branham? 2 Kibuuzo 2: Bigambo ki byennyini eby'atumibwa William Branham? 3 Kibuuzo 3: Okukkirizakwo kuli kutya ku bikwata ku bubbaka bwe biro by'enkomerero? 4 Kibuuzo 4: Otereza nnabbi mu nsonga endala? 5 Kibuuzo 5: Eky'enkomeredde kyo kye ki Baibuli oba bubbaka? 6 Kibuuzo 6: Oyigiriza mu n'geri y'enjawulo etakwatagana ne y'ow'oluganda Branham gye yayigiriza? 7 Kibuuzo 7: Okkiriza mu kubikkulwa kw'obubonero omusanvu? 8 Kibuuzo 8: Akabonero k'omusanvu nako ka bikkulwa? 9 Kibuuzo 9: Okkiriza nti Okubikkulirwa 10:1-7 kw'atukkirizibwa mu 1963? 10 Kibuuzo 10: Okkiriza nti Ow'oluganda Branham yafuna okubikkulirwa kw'ebibwatuka omusanvu? 11 Kibuuzo 11: Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"? 12 Kibuuzo 12: Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7? 13 Kibuuzo 13: Okkiriza mu buweereza bw'omubaka w'omunana? 14 Kibuuzo 14: Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri" 15 Kibuuzo 15: Okkiriza nti Omwana W'omuntu yamala okujja okusinzira ku Lukka 21:27? 16 Kibuuzo 16: Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa? 17 Kibuuzo 17: Obuulira ebuulira z'ow'oluganda Branham? 18 Kibuuzo 18: Emmere y'omwoyo ye liwa, Okubuulira kw'ow'oluganda Branham oba Baibuli? 19 Kibuuzo 19: Ani ali kikirira Ekkanisa ye biro ebisembayo eri Mukama? 20 Kibuuzo 20: Weyisa otya ku abo aba kw'ogeerako bubi? 21 Kibuuzo 21: Ow'oluganda Branham ya yigirizako "Okuwassa abakazi abangi"? 22 Kibuuzo 22: Okuyigiriza kwo kuli kutya ku kuwassa n'okugoba? 23 Kibuuzo 23: Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda? 24 Kibuuzo 24: Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa? 25 Kibuuzo 25: Ebanga lya buli mulembe ku mirembe omusanvu egy'ekkanisa bya bikkulwa eri Ow'oluganda Branham? 26 Kibuuzo 26: Ow'oluganda Branham yawa obunnabbi nti 1977 lwe lw'ali lugenda okuba e'nkomerero? 27 Kibuuza 27: Ow'oluganda Branham yalaba Kalenda eya komenkereza n'omwaka 1977? 28 Kibuuzo 28: Okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kw'ekumu ng'okuzaalibwa omulundi ogw'akubiri? 29 Kibuuzo 29: Kiri kitya ku kw'olesebwa kwe kumi Ow'oluganda Branham kwe yalina? 30 Kibuuzo 30: Ekintu eky'alabibwa mu kw'olesebwa kisobola okusigala nga tekitukiriziddwa? 31 Kibuuzo 31: Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa? 32 Kibuuzo 32: Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey'obulokozi? 33 Okumaliriza 34

Kapitola 13

Kibuuzo 12: Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7?

13 / 34

Okuddamu: Kiringa ekikanga nti ekitundu ku bibuuzo mu n'geri emu oba endala bikwata ku kubikkulirwa, esula 10. ffe nate tulina okw'etegereza ennyo eri ebyo byennyini eby'ayogerwa. Bwe yali alaga ku kubikkulirwa 10:7, yali bulijo ayogera mu bunji, ku "ebyama", si ku kimu "ekyama", nga kye "kyama kya Katonda". Ow'oluganda Branham yakola ekyo kubanga ye yali omubaka w'omulembe ogusembayo ogw'ekkanisa, okuyita mu ye ebyama byonna eby'ali bya kw'ekeebwa mu Kigambo bya bikkulwa. Mu kubuulira kwe "Yabuuzibwa, kino kye kiseera?" (Ogw'ekumi nebiri 30, 1962), okusokera ddala yayogera ku byama kumi na musanvu eby'abikkulwa, okutandikira ku "kyama ky'obwa kabaka bwo muggulu", era ng'akomenkereza ne "kyama: empagi y'omuliro ng'ekomawo." Yesu Kristo kye kyama kya Katonda. Kino tukisanga nga kya kakasibwa mu 1 Timoseewo 3:16, we tusoma ku "kyama kya Katonda" – mu n'geri y'omu. Abayudaaya te ba kkiriza Okubikkulirwa era n'okwelaga kwa Katonda omu ow'amazima mu Yesu Kristo era bakyali tebakilaba okutuusa ne leero, Naye Ekkanisa y'endagaano Empya yategeera ekyama kya Katonda okuva mu lubereberye (Abakkolosaayi 2:2-3; a. o.).

Mu biseera nga kino ekyama kya Katonda ekinene nga kimaliriziddwa, abayudaaya bali tekebwamu, nga bwe ky'abikkulwa eri abaddu be, bannabbi. Ekkanisa y'endagaano Empya bwe ba ng'eyogerwako, tusoma ku batume ne bannabbi (Abaefeso 3:5; a. o.), kubanga Ekkanisa ya Yesu Kristo ezimbibwa ku musingi gw'abatume ne bannabbi (Abaefeso 2:20). Ekintu kyonna bwe kiba nga kya Bayudaaya, awo ebidirira bye bigenderawo, "… nga bwe ky'abikkulwa Eri abaddu be bannabbi."

Oluvannyuma lwe kilango mu Kubikkulirwa 10:7, Yokaana yalina okulya akatabo akabikkuse era ekilagiro ky'aweebwa, "Era osobole okuwa obunnabbi nate …" mu sula 11 bannabbi ababiri eri Isiraeri bawa obunnabbi bwe mwyezi makumi ana mu ebiri mu Yerusaalemi, nti egyo gye myaka essatu ne kitundu. Ekyo tekiri mulwatu ekimala?

Mu sula yo 8 ne 9 emisango gy'obugombe mukaaga obusooka bulagibwa, mu sula ye 10 akagombe ak'omusanvu kalangirirwa. Okutukirizibwa kw'ennyini kudirira mu sula ye 11, okuva mu kanyiriri ka 15, "Malayika w'omusanvu n'afuuwa: ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we:era anaafuganga emirembe n'emirembe." Tulina okuwa ekitibwa entegeka y'obwa Katonda eyalagibwa mu Kigambo kya Katonda. Buterevu oluvannyuma nga akagombe k'omusanvu kafuuyiddwa, tusoma ku busungu obujja n'entuuko ez'okusaliramu omusango gw'abafu, n'ez'okuweeramu empeera yaabwe "… abaddu bo bannabbi, n'abatukuvu …" (esula 11:15-19).

Kitegerebwa nti mu kwegatta n'akabonero k'omusanvu era ne malayika w'akagombe k'omusanvu ekigambo ky'oluebbulaniya "shofar",kya kyusibwa nga "akagombe", kikozesebwa emirundi kumi n'emu okuva mu sula 8, akanyiriri 2, okuyita mu sula 9 era ne sula 10, akanyiriri 7, okutuuka ku sula 11, akanyiriri 15. Obugombe obussatu obusembayo bulangirirwa mu Kubikkulirwa 8:13 era biyitibwa "amaloboozi", nga mu Kubikkulirwa 10:7, "Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa."

"Naye mu nnaku ze ddoboozi lya Malayika w'omusanvu …"

Available translations