Book

Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Ewald Frank

library_books Chapters: 34 calendar_month 7. 9. 2006

Navigate

Chapters

expand_more

Navigate

Chapters

Jump to any chapter without leaving the reader.

EBIBUUZO EBY'ABUUZIBWA ERI OW'OLUGANDA EWALD FRANK N'ABAWEEREZA OKUVA MU MAWANGA AG'ENJAWULO 1 Kibuuzo 1: Oyimiridde wa leero ku buweereza bwo w'oluganda Branham? 2 Kibuuzo 2: Bigambo ki byennyini eby'atumibwa William Branham? 3 Kibuuzo 3: Okukkirizakwo kuli kutya ku bikwata ku bubbaka bwe biro by'enkomerero? 4 Kibuuzo 4: Otereza nnabbi mu nsonga endala? 5 Kibuuzo 5: Eky'enkomeredde kyo kye ki Baibuli oba bubbaka? 6 Kibuuzo 6: Oyigiriza mu n'geri y'enjawulo etakwatagana ne y'ow'oluganda Branham gye yayigiriza? 7 Kibuuzo 7: Okkiriza mu kubikkulwa kw'obubonero omusanvu? 8 Kibuuzo 8: Akabonero k'omusanvu nako ka bikkulwa? 9 Kibuuzo 9: Okkiriza nti Okubikkulirwa 10:1-7 kw'atukkirizibwa mu 1963? 10 Kibuuzo 10: Okkiriza nti Ow'oluganda Branham yafuna okubikkulirwa kw'ebibwatuka omusanvu? 11 Kibuuzo 11: Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"? 12 Kibuuzo 12: Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7? 13 Kibuuzo 13: Okkiriza mu buweereza bw'omubaka w'omunana? 14 Kibuuzo 14: Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri" 15 Kibuuzo 15: Okkiriza nti Omwana W'omuntu yamala okujja okusinzira ku Lukka 21:27? 16 Kibuuzo 16: Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa? 17 Kibuuzo 17: Obuulira ebuulira z'ow'oluganda Branham? 18 Kibuuzo 18: Emmere y'omwoyo ye liwa, Okubuulira kw'ow'oluganda Branham oba Baibuli? 19 Kibuuzo 19: Ani ali kikirira Ekkanisa ye biro ebisembayo eri Mukama? 20 Kibuuzo 20: Weyisa otya ku abo aba kw'ogeerako bubi? 21 Kibuuzo 21: Ow'oluganda Branham ya yigirizako "Okuwassa abakazi abangi"? 22 Kibuuzo 22: Okuyigiriza kwo kuli kutya ku kuwassa n'okugoba? 23 Kibuuzo 23: Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda? 24 Kibuuzo 24: Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa? 25 Kibuuzo 25: Ebanga lya buli mulembe ku mirembe omusanvu egy'ekkanisa bya bikkulwa eri Ow'oluganda Branham? 26 Kibuuzo 26: Ow'oluganda Branham yawa obunnabbi nti 1977 lwe lw'ali lugenda okuba e'nkomerero? 27 Kibuuza 27: Ow'oluganda Branham yalaba Kalenda eya komenkereza n'omwaka 1977? 28 Kibuuzo 28: Okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kw'ekumu ng'okuzaalibwa omulundi ogw'akubiri? 29 Kibuuzo 29: Kiri kitya ku kw'olesebwa kwe kumi Ow'oluganda Branham kwe yalina? 30 Kibuuzo 30: Ekintu eky'alabibwa mu kw'olesebwa kisobola okusigala nga tekitukiriziddwa? 31 Kibuuzo 31: Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa? 32 Kibuuzo 32: Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey'obulokozi? 33 Okumaliriza 34

Chapter 12

Kibuuzo 11: Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"?

12 / 34

Okuddamu: Ekigambo "okusikibwa okw'okusatu" kulaga okw'okusatu era ne kitundu ekisembayo eky'obuweereza bwe. Okunogola: “OKUSIKIBWA OKUSOOKA – okuwonyezebwa, OKUSIKIBWA OKW'OKUBIRI – okuw'obunnabbi. OKUSIKIBWA OKW'OKUSATU, OKUBIKULA KWE KIGAMBO, EBYAMA EBY'ABIKULWA …" (Golden Nuggets olupapula 158). Mu gw'okubiri 28, 1963, Ow'oluganda Branham bwe yawulira ebibwatuka omusanvu eby'amaanyi nga ebivuga, bye yadingana ng'abiyita ebibwatuka omusanvu oba ebibwatukira omusanvu. Mu butuufu ya konkona ku kituti emirundi musanvu n'omukono gwe n'agamba, "Ebibwatuka omusanvu ebyadingana byaali by'amaanyi era byaali bigezako okulaga ekintu ekimu.” (Obubonero musanvu, ogw'okusatu 24, 1963). Awo era n'ayogera ku kyama Setaani ky'atamanyi era ne ku kusikibwa okw'okusatu – okubuulira eri ababulira ddala.

Yayogera ku kitala kya Kabaka eky'ateekebwa mu mukono gwe era n'ayogera nate, "Kuno kwe kusikibwa okw'okusatu." Era naye yakifaananyiza nga Ekigambo eky'obuweereza eky'ayogerwa.

Eky'omugaso ennyo, tulina okwawula wakati we bibwatuka omusanvu eby'awulikika bwe yali ku lusozi Sunset nga okubikulwa kw'obubonero omusanvu tekunatuuka era n'ebibwatuka omusanvu eby'Okubikkulirwa 10, ebisobola okubaawo wokka Malayika w'endagaano bwa aba ng'akka wansi n'akatabo akabikkuse mu mukono gwe. Eddoboozi lya Katonda ly'ogerera waggulu ng'ekibwatuka eky'amaanyi, "Abwatuka n'eddoboozi ery'obukulu bwe … Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye;akola ebikulu bye tutayinza kutegeera." (Yobu 37). (Laba ne mu (Kuva 20:18; Yokaana 12:28-29; Abaebbulaniya 12:18-19; a. o.)

Available translations