Book

Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Ewald Frank

library_books Chapitres: 34 calendar_month 7. 9. 2006

Navigate

Chapitres

expand_more

Navigate

Chapitres

Jump to any chapter without leaving the reader.

EBIBUUZO EBY'ABUUZIBWA ERI OW'OLUGANDA EWALD FRANK N'ABAWEEREZA OKUVA MU MAWANGA AG'ENJAWULO 1 Kibuuzo 1: Oyimiridde wa leero ku buweereza bwo w'oluganda Branham? 2 Kibuuzo 2: Bigambo ki byennyini eby'atumibwa William Branham? 3 Kibuuzo 3: Okukkirizakwo kuli kutya ku bikwata ku bubbaka bwe biro by'enkomerero? 4 Kibuuzo 4: Otereza nnabbi mu nsonga endala? 5 Kibuuzo 5: Eky'enkomeredde kyo kye ki Baibuli oba bubbaka? 6 Kibuuzo 6: Oyigiriza mu n'geri y'enjawulo etakwatagana ne y'ow'oluganda Branham gye yayigiriza? 7 Kibuuzo 7: Okkiriza mu kubikkulwa kw'obubonero omusanvu? 8 Kibuuzo 8: Akabonero k'omusanvu nako ka bikkulwa? 9 Kibuuzo 9: Okkiriza nti Okubikkulirwa 10:1-7 kw'atukkirizibwa mu 1963? 10 Kibuuzo 10: Okkiriza nti Ow'oluganda Branham yafuna okubikkulirwa kw'ebibwatuka omusanvu? 11 Kibuuzo 11: Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"? 12 Kibuuzo 12: Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7? 13 Kibuuzo 13: Okkiriza mu buweereza bw'omubaka w'omunana? 14 Kibuuzo 14: Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri" 15 Kibuuzo 15: Okkiriza nti Omwana W'omuntu yamala okujja okusinzira ku Lukka 21:27? 16 Kibuuzo 16: Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa? 17 Kibuuzo 17: Obuulira ebuulira z'ow'oluganda Branham? 18 Kibuuzo 18: Emmere y'omwoyo ye liwa, Okubuulira kw'ow'oluganda Branham oba Baibuli? 19 Kibuuzo 19: Ani ali kikirira Ekkanisa ye biro ebisembayo eri Mukama? 20 Kibuuzo 20: Weyisa otya ku abo aba kw'ogeerako bubi? 21 Kibuuzo 21: Ow'oluganda Branham ya yigirizako "Okuwassa abakazi abangi"? 22 Kibuuzo 22: Okuyigiriza kwo kuli kutya ku kuwassa n'okugoba? 23 Kibuuzo 23: Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda? 24 Kibuuzo 24: Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa? 25 Kibuuzo 25: Ebanga lya buli mulembe ku mirembe omusanvu egy'ekkanisa bya bikkulwa eri Ow'oluganda Branham? 26 Kibuuzo 26: Ow'oluganda Branham yawa obunnabbi nti 1977 lwe lw'ali lugenda okuba e'nkomerero? 27 Kibuuza 27: Ow'oluganda Branham yalaba Kalenda eya komenkereza n'omwaka 1977? 28 Kibuuzo 28: Okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kw'ekumu ng'okuzaalibwa omulundi ogw'akubiri? 29 Kibuuzo 29: Kiri kitya ku kw'olesebwa kwe kumi Ow'oluganda Branham kwe yalina? 30 Kibuuzo 30: Ekintu eky'alabibwa mu kw'olesebwa kisobola okusigala nga tekitukiriziddwa? 31 Kibuuzo 31: Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa? 32 Kibuuzo 32: Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey'obulokozi? 33 Okumaliriza 34

Chapitre 15

Kibuuzo 14: Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri"

15 / 34

Okuddamu: Eri ekibuuzo kino bulijo nziramu mu n'geri y'emu: Mukama bw'ajja njja kutwalibwa mu kitibwa awamu n'abatukirivu bonna. Buli kujja kwa Mukama go mazima, kiri mu muntu, okubeerawo mu mubiri. Ekigambo "par ou sia" mu kyo kyennyini kitegeeza mu kubeerawo kwe mu mubiri. Nga Ekkanisa y'omugole bw'eri ku nsi, anaawasa omugole tanatuuka. Mukama bw'alijja g'anaawasa omugole, abafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira era naffe, abalamu, tulifuusibwa era awamu tulitwalibwa waggulu okusinsinkana Mukama mu bbanga (1 Abasessalonika 4:13-18). Eky'enkomeredde tewaliwo kisuubizo mu Kigambo kya Katonda nti Kristo alijja era abeere naffe ku nsi okumala akaseera okukwakulibwa kulyoke kubeerewo. Mu butuufu tulaburwa, "… omuntu bw'abagambanga nti laba, Kristo ali wano, oba nti wano; temukkirizanga!" (Matayo 24:23). Kubanga kyawandiikibwa, "… ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu." (Matayo 24:27). Nera tewaliwo kisuubizo nti okukka kutandika mu biseera by'okubikkulwa kw'obubonero oba nti entebe ye kisa egya kukyusibwa okuba entebe y'omusango mu biro ebyo.

Enjigiriza etali y'abyawandiikibwa y'esigama ku butategeera era n'okuvunuula. Ow'oluganda Branham ya ggamba, "Obubaka bwe bugenda mu maaso mu kusooka, abalamu be bavaamu obulamu, nga kizaala omugole … bubaka bwe buleta abantu awamu. Obubaka bwe busooka okujja. Kaakano kino kiseera kya kulongosa ettabaaza. Mu Zukuke mulongoose ettabaaza zammwe. Kiki mutunule byaali bye byo? Ow'omusanvu, si w'omukaaga, ow'omusanvu. Laba anaawasa omugole ajja. Muzuukuke mulongoose ettabaaza zammwe!" mutegeere, e'ngeri omwoyo omutukuvu bwe gu kulembedde okuva mu abasessalonika 4 okutuuka mu Matayo 25, we tusoma ku luyoogaano mu ttumbi. Kuno kuyita kwa kuzuukuza, eri bonna abawala ekkumi aba bongoota ne beebaka. Era okusinzira ku kanyiriri ke 10, abo abeeteeseteese nga anaawasa omugole ajja bayingire naye mu mbaga y'obugole. Tusobola okusoma ku mbaga y'obugole mu Okubikkulirwa 19:1-10. omuntu yenna ali kw'awula embaga ku bugole alina okusooka okusoma Matayo 22, awo ebigambo embaga n'obugole awamu bikozesebwa emirundi musanvu ku mukolo gwe gumu.

Obugole era n'embaga y'obugole bigenda mu maaso mu ggulu (Okubikkulirwa 19:1-10), si ku nsi. Ekkanisa y'omugole okuva mu mirembe gyonna baali beerawo ku mbaga y’obugole, Awamu ne Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, era ne bonna abanunurwa.

Available translations