Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Kibuuzo 23: 
Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda?

« »

Okuddamu: Nate twetaga okubuuza ebyawandiikibwa kye bigamba ku kino. Mu Matayo, esula 5, 6 era ne 7, Mukama abuulira mu buulira zonna ezibetoolodde eri enkkumulitu y'abantu. Mu kumaliriza kwo kubuulira okwo okuwanvu tusoma, "Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuuunya okuyigiriza kwe." (7:28).

Mu Matayo 10 Mukama ayogera eri abayigirizwa kkumi n'ababiri b'ayita abatume, si bungi bw'abantu. Ng'ayogera gy'ebali ya ggamba, "… Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe, bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe." (Matayo 10:14).

"Laba, nze mbatuma ng'endiga mu wakati mu misege …"

"… Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky'okubiri …" (v. 23). Mukama naye yayogera ebigambo bino eby'omugaso, ekiyinza obulungi okusalawo obulamu bw'omuntu obutaggwaawo, "Akkiriza mmwe ng'akkiriza nze, akkiriza nze ng'akkiriza eyantuma.” (v. 40). Omuntu yenna alina okusoma n'obwegenderevu bunene ku ebyo Mukama waffe bye ya ggamba eri abo be yatuma. Baali ba kugenda kibuga ku kibuga, oba baali bafumbo obanga te banaawasa. Okuyita kye kiragiro.

Yesu Kristo, Mukama waffe, yayogera ku byawandikibwa bino ebidirira eri abo be yayita okulangirira emirembe, "Temulowooza nti najja kuleeta mirembe, wabula ekitala. Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we…abalabe b'omuntu baanabanga ba mu nnyumba ye …" (Matayo 10:34- 36). Ako ke kavuyo k'omu makka akayogerwako, akasobola nako okubeerawo mu nnyumba y’omubuulizi. Waddenga kiri bw'ekityo, Omuddu wa Katonda alina okw'eyongerayo Okubuulira. Abaddu be yatuma tebasuubizibwa obulamu bw'amakka agaliawamu oba obuweereza obusanyusa. Katonda te ya ggamba nti omutume, nnabbi, oba omuyigiriza alina kuba mufumbo. Mu n'geri yonna e'nkolagana yababafumbo abaddu ba Katonda bw'eri, alina okuba omugonvu eri okutumibwa kw'obwa Katonda.

Mutunule, mu n'geri mu byonna ky'anjawulo ebigambo eby'ayogerwa eri abakadde mu kkanisa y'okukyalo we biri. Okusinzira ku 1 Timoseewo 3 era Tito 1, abakadde ne ba Deconi baali balina okuba bafumbo. Nga bwe ky'ayogerwa, "bali n'okuba omusajja w'omukazi omu." tekitegeza nti abalala bonna balina okuba n'abakazi bangi nga bwe bayagala. Mu bugonvu kitegeza nti omusajja alina obuvunanyizibwa obw'enjawulo mu kkanisa y'okukyalo alina kuba mufumbo. Kubanga alina okugongyola ebizibu ebibaawo mu kkanisa ey'okukyalo. Kunogola: "Baibuli eyagala Deconi okuba omusajja omufumbo. Alina okuba omusajja w'omukazi omu." (COD, Vol. 1, olupapula 364).

Kiri kitya ku mwana wa Katonda? G'ojeko amaanyi g'obuweereza bwe, okw'eyongera kwe migaati, okonyezebwa kw'abalwadde, okuzuukira kw'abafu, okukakana kw'omuyaga, nebirala bingi, tusoma, "… Kubanga ne baganda be `tebaamukkiriza." (Yokaana 7:5). Bamutegeera oluvannyuma lwa mubiri, si luvannyuma lwa mwoyo. Okusinzira ku Matayo 13:53-58, Omwana w'omuntu yali tasobola kumaliriza kintu kyonna mu kibuga kye mwennyini ku lw'obutakkiriza bwabwe. Bagamba "Tumumanyi, ye mwana w'omubazzi, tumanyi nnyina malyamu, tumanyi baganda be, tumanyi bannyina." era ne besitala, kubanga basala omusango okusinzira amaaso gaabwe bwe galaba era n'abantu bye baali bagamba. Era kidirirwa eky'ayogerwa mu Matayo 13:57b, "Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe ne mu nnyumba y'ewaabwe."

Kituluma ffe okusoma ebyo abakulembeze b'enzikkiriza abe biseera ebyo bye bayogeranga ku mulokozi waffe. Abafalisaayo n'abawandiisi bamubulira maaso ku maaso "Tetuli baana beeborereze … nebaddamu ne bamugamba nti ggwe oli musamaliya, era oliko dayimooni?" Fumintirizamu mu kaseera kamu, Mukama waffe, omuwana omu yekka eyazaalibwa owa Katonda, ya yitibwa musamaliya, ne bamugamba nti yazaalibwa mu bweborereze. Ekyo kye ky'ali ekiseera bwe yayogera, "… Kubanga nnava eri Katonda, ne njija … Mmwe muli ba kitaammwe, Setaani." (Yokaana 8:41- 48).

Omuddu asobola okusubira okuyisibwa mu n'geri y'enjawulo okusingako Mukama we? Kilaga nti Omulokozi teyajja kuteekawo amakka oba okukyusa obuweereza bwe okuba eby'obusubuzi ebikola amagoba. Kyekimu kigenda ddala eri abaweereza be. Bakola kyekimu okuba n'okuyitibwa okwa waggulu okuweereza omubiri gwa Kristo, okuyitibwa okugenda waggulu okusinga amakka bwe gali.

Tewaliwo kisuubizo mu Kigambo kya Katonda eri abaana ba nnabbi, oba omutume oba muyigiriza, okuba abasika b'okutumibwa oba kuyitibwa. Nnabbi Samwiri yategeza bulungi bwe yalonda batabane be ababiri okuba abalamuzu, naye, "… ne bakyama okugobereranga ebintu, nebalya enguzi, nebalya ensonga." (1 Samwiri 8:1-5). Wadde n'okusalawo okulungi okwannabi kusobola okulemwo, n'akyo kisobola okubaawo nti omwana wa nnabbi, oba owa Kabaka, oba ne yeegulumiza mwennyini, okusikiriza abantu okumugoberera. Ekyokulabirako kimu ng'ekyo kilabibwa mu 1 Bassekabaka, esula 1, awo Adoniya, mutabani wa Kaggisi, “… ne yeegulumiza ng'ayogera nti nze ndiba Kabaka … ne yeetegekera amagaali n'abeebagala embalaasi, n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge.” Okusalawo kwa Katonda kw'ali kwa kolebwa dda: Sulemaani ye yali alina okuba omusika ku ntebe ya Dawudi. Baganda be, n'abo, tebalowooza nti ya genda okutwala entebe.

Kisobokera ddala nnyo nti abaana basobola okw'egamba era neri abalala, "ngyakuba Pulezidenti!" "ngyakuba mukulembeze!" "nze ngenda okuba kamalabyonna!" "ngyakutegeka enkunggana!" "ngyakuba n'ekkanisa …" "ngya …" "ngya …" awatali kwekwassa mbeera zaabwe, okuva ku lubereberye lw'ebiro bonna abaddu ba Katonda ab'amazima bagodera okutumibwa kw'abwe, Katonda kw'atasobola kuzaayo. Tewali muddu wa Katonda yaali agambyeko, "ngya …nandyagadde okuba … njagala kukola kino oba kiri!? Bangi kubo baali tebagala kugenda mu kusooka, naye balina okugenda, kubanga okuyita kwa Katonda tekubeerawo lwa kwenenya. N'olwekyo, amakka oba awatali makka, mufumbo oba si mufumbo, okutumivbwa kw'obwa Katonda kitundu ku ntegeka y'obulokozi era kulinokukolebwa wansi w'embeera zonna.