Book

Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Ewald Frank

library_books Kapitoly: 34 calendar_month 7. 9. 2006

Navigate

Kapitoly

expand_more

Navigate

Kapitoly

Jump to any chapter without leaving the reader.

EBIBUUZO EBY'ABUUZIBWA ERI OW'OLUGANDA EWALD FRANK N'ABAWEEREZA OKUVA MU MAWANGA AG'ENJAWULO 1 Kibuuzo 1: Oyimiridde wa leero ku buweereza bwo w'oluganda Branham? 2 Kibuuzo 2: Bigambo ki byennyini eby'atumibwa William Branham? 3 Kibuuzo 3: Okukkirizakwo kuli kutya ku bikwata ku bubbaka bwe biro by'enkomerero? 4 Kibuuzo 4: Otereza nnabbi mu nsonga endala? 5 Kibuuzo 5: Eky'enkomeredde kyo kye ki Baibuli oba bubbaka? 6 Kibuuzo 6: Oyigiriza mu n'geri y'enjawulo etakwatagana ne y'ow'oluganda Branham gye yayigiriza? 7 Kibuuzo 7: Okkiriza mu kubikkulwa kw'obubonero omusanvu? 8 Kibuuzo 8: Akabonero k'omusanvu nako ka bikkulwa? 9 Kibuuzo 9: Okkiriza nti Okubikkulirwa 10:1-7 kw'atukkirizibwa mu 1963? 10 Kibuuzo 10: Okkiriza nti Ow'oluganda Branham yafuna okubikkulirwa kw'ebibwatuka omusanvu? 11 Kibuuzo 11: Lwaki Ow'oluganda Branham ya yogera ng'adigana ku "Okusikibwa kw'okusatu"? 12 Kibuuzo 12: Lwaki Ow'oluganda Branham emirundi minji alaga Okubikkulirwa 10, akanyiriri ko 7? 13 Kibuuzo 13: Okkiriza mu buweereza bw'omubaka w'omunana? 14 Kibuuzo 14: Okkiriza mu jigiriza yo "kujja kwe mu mubiri" 15 Kibuuzo 15: Okkiriza nti Omwana W'omuntu yamala okujja okusinzira ku Lukka 21:27? 16 Kibuuzo 16: Obuweereza bwo buli butya? Busangibwa mu byawandiikibwa? 17 Kibuuzo 17: Obuulira ebuulira z'ow'oluganda Branham? 18 Kibuuzo 18: Emmere y'omwoyo ye liwa, Okubuulira kw'ow'oluganda Branham oba Baibuli? 19 Kibuuzo 19: Ani ali kikirira Ekkanisa ye biro ebisembayo eri Mukama? 20 Kibuuzo 20: Weyisa otya ku abo aba kw'ogeerako bubi? 21 Kibuuzo 21: Ow'oluganda Branham ya yigirizako "Okuwassa abakazi abangi"? 22 Kibuuzo 22: Okuyigiriza kwo kuli kutya ku kuwassa n'okugoba? 23 Kibuuzo 23: Kiri kitya ku makka g'omuddu wa Katonda? 24 Kibuuzo 24: Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa? 25 Kibuuzo 25: Ebanga lya buli mulembe ku mirembe omusanvu egy'ekkanisa bya bikkulwa eri Ow'oluganda Branham? 26 Kibuuzo 26: Ow'oluganda Branham yawa obunnabbi nti 1977 lwe lw'ali lugenda okuba e'nkomerero? 27 Kibuuza 27: Ow'oluganda Branham yalaba Kalenda eya komenkereza n'omwaka 1977? 28 Kibuuzo 28: Okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu kw'ekumu ng'okuzaalibwa omulundi ogw'akubiri? 29 Kibuuzo 29: Kiri kitya ku kw'olesebwa kwe kumi Ow'oluganda Branham kwe yalina? 30 Kibuuzo 30: Ekintu eky'alabibwa mu kw'olesebwa kisobola okusigala nga tekitukiriziddwa? 31 Kibuuzo 31: Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa? 32 Kibuuzo 32: Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey'obulokozi? 33 Okumaliriza 34

Kapitola 25

Kibuuzo 24: Kiri kitya ku kitabo kye mirembe musanvu gy'ekkanisa?

25 / 34

Okuddamu: Ndese obutabo bubiri "Nnabbi we kyassa ky'amakkumi abiri" era "Omulembe gw'ekkanisa ya Lawodikiya" era ne kitabo "Okulaga emirembe omusanvu ez'ekkanisa" nga komyewo okuva mu USA mu gw'okunna 1966. Nga ndi wansi w'okusikirizibwa nti Ow'oluganda Branham ye yali omuwandiisi we kitabo ekyo, n'akyusa ekitabo ekyo ne fulumya ebitabo 10,000 mu lulimi oluGermany. Era ne kitegera nti akatabo kano akatono, akakempapula 48 "omulembe gwa Lawodikiya" guli mu kumalizibwa kw'akyo, okuva ku kigambo ekisooka okutuuka ku kisembayo, ekisangibwa mu kitabo ky'emirembe gye kkanisa, olupapula 319-365. Nga wayise akaseera katono n'ategera nti waaliwo abawula wakati we bibiri ebirina okuba ekimu wakati w'okubuulira kwa ow'oluganda Branham era n'ebyo ebiri mu kitabo ky'omulembe gw'ekkanisa. Waliwo ne bingi ebiyigirizibwa ebitali byawandiikibwa mu kitabo ekyo ebyo Ow'oluganda Branham by'atabuulira nako. Ky’ogera, eky'okulabirako, abantu abantu abo abatazaalibwa mulundi gw'akubiri bandifunye obulamu obutaggwaawo kubanga baakwatira ekisa aboluganda abalala. Kino mu ky'enkomeredde tekikwatagana na 1 Yokaana 5:11-12, "Era okutegeeza kwe kuno nti Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu obwo buli mu mwana we. Alina Omwana alina obulamu; atalina Mwana wa Katonda talina bulamu."

Eky'okulabirako ekirala kye ky'ayogerwa ekitakirizikika ku muti gw'obulamu n'omuti gw'amagezi, "… bw'atyo omutukirivu n'omubi bayimirira eludda ne ludda wakati w'olusuku … era awatali kubuusabuusa amatabi gaabwe gennyini gatabagana.” (olupapula 92-98)! Ekitabo kyo tekyawukanya wadde Matayo 25 okuva ku kanyiriri 31, amawanga bwe galikuganyizibwa ne gasalirwa omusango, ekiribaawo nga okufuga kw'emyaka olukumi tekunatuuka, era n'omusango gw'entebe enjeru okw 'Okubikkulirwa 20 okuva mu kanyiriri 11, omusango ogusembayo bwe gubaawo oluvannyuma lw'okufuga kw'emyaka olukumi. N'agaana okukolagana n'ensonga ez'enjawulo ezitaalambulurwa mu butuufu mu kitabo ekyo ekigambibwa. Nkutira bulyomu okukzesa Obubaka bwennyini obwa n'amaddala.

Ng'obunonyerezako, n'ategeezebwa nti Ow'oluganda Lee Vayle yaali ddala omuwandiise we kitabo ky'omulembe gwe kkanisa. Ow'oluganda Branham mu n'geri y'enjawulo yayogera nti ye nga omuntu teyakisoma nako. Mu mwezi gw'okubiri 17, 1965, mu bubaka bwe "Okudduka okuva mu maaso ga Katonda", olupapula 6, ya yogera, "Era n'emirembe musanvu ez'ekkanisa … Ndowooza, muganda waffe ow'omuwendo y'aggyamu okusikirizibwa kutono mu n'geri emu oba endala, era n'agamba, yali agenda kuwandika ebitabo ebibye mwennyini ebitali nga ebyo. Era bw'atyo yawandika ekimu ekiyitibwa, Nzikkiriza, oba ekintu g'ekyo … Si kisomangako mwennyini. Bw'embisoma sobola okukyusa ebirowoozo byange ku ekyo."

Okuva ku njigiriza endala mu ekyo tekisobola kutabagana ne byawandikibwa ebitukuvu, Ndina okugammba nti kiri n'okukozesebwa wokka ku lw'omusingi gw'ebyafayo naye si buyinza eri ebigendererwa ky'okuyigiriza.

Available translations