Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza

Kibuuzo 31: 
Njawulo ki eri wakati wa Isiraeri ne Kkanisa?

« »

Okuddamu: Eky'okuddamu eri ekibuuzo kino kisangibwa mu Bikolwa by'abatume 15:13-18. Mu kusooka Katonda, olw'ekisa kye, akyalira amawanga okuyita abantu olw'erinnya lye. Oluvannyuma alidda mu Isiraeri n'addamu okuzima Yeekaalu ya Dawudi. Abatume n'abo bayagala esula yonna ey'abaruumi 11 eri esomo lino. Mazima tulina eby'okulaba byonna eby'etegeka y'obununuzi ku bikwata ku bayudaaya era n'abanaggwanga, mu kulaga Isiraeri era ne kkanisa. Ensonga enkulu y'eno: Ebika kkumi na bibiri byamala dda okuddayo mu nsi yaabwe esuubize. Lwaki? Kubanga balina okubeera mu Yerusaalemi, mu Isiraeri okusobola okutekebwako akabonero mu biseera by'obuweereza bwa bannabbi ababiri.

Mu n'geri bw'etyo abakkiriza bonna abasasana okuyita mu maddinni g'obukristayo gonna balina kaakano okukungganisibwa era ne bajja mu Kigambo ekyasuubizibwa eky'olunaku luno era batekebweko akabonero n'omwoyo Omutukuvu (Abaefeso 1:13). Bwe kitaba bw'ekityo tebasobola kuba mu kukwakulibwa. Okukkiriza awatali kisuubizo kya Katonda kuba kuvunuula kukyamu okw'enzikiriza. Okukkiriza kw'amazima n'olwekyo kuva mu bisuubizo bya Katonda. Ibulayimu yakkiriza Katonda bye yasuubiza mu ye okutuusa bwe yabilaba nga bitukirizibwa. Kaakano ezadde ery'amazima erya Ibulayimu ekkiriza ebisuubizo eby'olunaku luno era alibiraba nga bituukirizibwa.