Book
Abantu ba buuza ebibuuzo Katonda abiddamu Ne Kigambo kye N'omuweereza
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 33
Kibuuzo 32: Kitundu kye tulimu kaakano okusinzira ku ntegeka ey'obulokozi?
33 / 34
Okuddamu: Mazima ddala tuyingidde mu kitundu ekisembayo eky'omulembe gw'ekkanisa – mu mulembe gw'omugole. Okukomawo kwa Kristo mazima kusemberedde. Tusobola okulaba nti n'obubonero bwe biro era n'obunnabbi bwe byawandiikibwa eby'ayogerwa ku lw'ebiro byaffe, kaakano ebiri kubaawo, okusingira ddala ne Isiraeri. Obubaka bwe nkomerero lwe luyoogaano olw'omugaso ekiro mu ttumbi, kwe kuyita – eri bonna abali ekitundu ku kkanisa ey'omugole. Omutume Pawulo kye yayogera mu lunaku lwe n'akyo kikola ne leero. Abo bokka abalondebwa ne kisa be baalifuna n'ebasikira ebintu byonna, nga bwe baali bokka abawulira era nebagondera omwoyo kye gugamba eri amakkanisa. Kituufu, Omurimu omukulu Katonda gwe yali akoze ku nsi n'agwo gwe gunaba omurimu gwe ogusembayo. Eky'okulabirako, Okumaliriza okulongoosa ebintu byonna. Ekitundu ku ekyo kye Kigambo eky'obuweereza eky'ayogerwa era n'okukola okw'amaani okw'omwoyo, ekinakulembera eri okwelaga okw'abaana ba Katonda, Okuzuukira kw'abafu, era n'okuba mu kukomawo kwa Yesu Kristo.
Available translations
PDF
EPUB