Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi 2017
“Kubanga mbakwatirwa obuggya obwa Katonda Kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke mbaleete eri Kristo ng'omuwala omulongoofu owa Kristo, naye ntidde, ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukuusa bwagwo, mpozi ebirowoozo byammwe okwonoonebwanga mu kulaba wamu ne mu bulongoofu ebiri eri Kristo.” (2Abakkolinso 11:2-3).
Kituufu ddala kya kwekanga nti Omutume Pawulo y'andyogedde ku kulimbibwa kwa Kaawa mu kwegata ku maanyi ge okuleeta omuwala omulongoofu eri Kristo.
Mu kwolesebwa, Ow'oluganda Branham yalaba ekkanisa era n’omugole. Yalagibwa nti ekkanisa yali ekulemberwa n'omulogo era nti waaliwo omuvuyo gw'enzikkiriza. Naye yalaba nti omugole takyali bumu ne Kigambo, naye yalagibwa e'ngeri gye yafuna okugatibwakwe era n'azibwa mu Kigambo kya Katonda. Ekyo kye kiriwo kaakano mu nsi yonna. Nga mu kuzaalibwa okwabulijo, twalongoosebwa ddala mu bumalirivu mu Kigambo kya Katonda. Obubaka obw'amazima tebuli genderera bwerere, naye buli malirizibwa mu kkanisa ey'omugole kye bwatumibwa okukola.
Abasirusiru b'ajja n'okukomya omwoyo n'omubaka eyatulaga fenna ekkubo; abawala abagezigezi bagoberera omununuzi mu makkubo gonna, okutuusa ku kutuukirira. Abagezigezi bebazza era ne basanyuka. Kubanga Mukama omwesigwa ayogedde n'omuddu we ng'akiddinggana ne ddoboozi ery'omwanguka era n'amuwa ebiragiro buterevu (Matayo 24:45-47). Ekibuuzo eky'obusirusiru ekiragiro; nga Kaawa, balimbibwa ne baggwa mu kibi ky'obutakkiriza. Laba mmwe abanyooma, mwewunye, mubule kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng'agubabuulidde nnyo (Ebikolwa by'abatume 13:41). Abasirusiru bakkiriza nti nnabbi alikomawo era bingi eby'obusirusiru ebirala bwe bityo.
Abagezigezi era n'abamazima abanununulwa bakkiriza mu kukomawo kwa Kristo. Abo bonna abali ekitundu ku kkanisa ey'omugole balina ekitundu ku ekyo Katonda kyakola kaakano ku nsi ekyo Kristo kye yagula n'omusaayi ggwe era ekyajuzibwa n'omwoyo omutukuvu, kinazibwa n'amazzi g'ekigambo mu bubi bwonna era ne mu bwakabaka bw'omwoyo era ne kiyimirira awatali kuneneyezebwa kwonna mu maaso ga Katonda.
“Alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu n'abatukuvu be bonna.” (1Abasessaloniika 3:13).
Olw'ekisa kya Katonda, nsigadde mwesigwa eri okuyitibwa kwa Katonda era ne kilagiro era soobola okuwa obujulizi awamu n'omutume Pawulo: “Kale bwe nnafuna okubeerwa okuva eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno, nyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye yayogera nga bigenda okujja …” (Ebikolwa by'abatume 26:22).
Ekikwatako ennyo kye kisuubizo ekikulu eri ekkanisa eyamazima, ekyokulabirako ekigambo obubaka ekikya genda mu maaso ng'okukomawo kwa Kristo tekunnabaawo, so buli bulamu bwa mukkiriza nga bulungi nga obulamu obw'omwoyo mu kkanisa buzibwa nate mu ntegeka eya Katonda. Obubaka obusembayo nga okukomawo kwa Kristo tekunnabaawo kwegatira ddala buterevu ku kukkiriza n'obugonvu nga okwawulibwa era n'okuteekebwateekebwa, era ne,nga Ow'oluganda Branham bwe yagamba, Okagala okutuukiridde era n'okukkiriza mu buli Kigambo kya Katonda. Ekyo kye kigendererwa kyennyini ekyekiragiro kya Katonda okukyusa emitima egy'abaana ba Katonda eri okukkiriza okwa ba kitaabwe mu Lubereberye so Mukama alisanga abagole be nga beteeseteese bulungi.
Mukama waffe kye yayogera mu Ebikola by'abatume 1:5 kikyali kyamazima n'okutuusa leero: “Kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'omwoyo omutukuvu mu nnaku si nnyingi.” Ebigambo eby'omutume Peetero ku lunaku lw'abapentakoti, ku ntandikwa y'ekkanisa y'endagaano empya, kikyakola n'okutuusa leero (Ebikolwa by'abatume 2:38-41). Okwenenya, okukkiriza, okubatizibwa n'amazzi, era n'okubatizibwa n'omwoyo omutukuvu.
Buli kintu ekikwata ku by'omubiri n'ebyo bwakabaka bw'omwoyo byonna mwe biri mu kumalirizibwa kw'okulongoosa ekkanisa ya Katonda. Buli muntu yenna mu mazima afunye obumanyirivu bw'obulokozi era ng'aze okukkiriza entegeka ey'obwa Katonda si kulwa bya mwoyo naye ne kulw'obulamu bwe, nga ,wwotwalidde obufumbo n'amaka. Tukkiriza era netuwa ekitiibwa buli Kigambo kya Katonda, okuggyako buli kugolorwa era ne twogera obulamu bwaffe mu kugondera amazima aga buli Kigambo, “Kubanga buli akola kitange ali mu ggulu by'ayagala ye muganda wange, ye mwanyinaze, ye mmange.” (Matayo 12:50). “Kale muteekenga wala obugwagwa bwonna n'obubi obusukkiridde, mutolenga n'obuwombefu ekigambo ekisigibwa ekiyinza okulokola obulamu bwammwe.” (Yakobo 1:21). abalala bonna bayinza okukola kye bagala; Mukama yennyini alilangirira okusalawokwe mu kulaga omusango ogusembayo.
Ebigoberera bigenda eri abanunulwa: “Nkunggaanyiza abantu, nange n'abawuliza ebigambo byange, bayige okutyanga ennaku zonna zebanaabanga abalamu ku nsi era bayigirizenga abaana babwe …” (Ekyamateeka Olw'okubiri 4:10; Zabbuli 50:5). Buli wa Katonda awulira ekigambo kya Katonda (Yokaana 8:47); “Kale muve wakati wabo, mweyawule bwayogera Mukama, so temukomanga ku kintu ekitali kilongoofu, nage ndibasembeza era nnaabeeranga kitaamwe gye muli, nammwe munaabeeranga gye ndi abaana b'obulenzi n'abobuwala Bwayogera Mukama omuyinza w'ebintu byonna.” (2Abakkolinso 6:17-18).
Omutume Peetero yatulabula: “Naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna kubanga kyawandiikibwa nti munaabanga batukuvu kubanga nze ndi mutukuvu.” (1Peetero 1:15-16).
“Kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima; nga mukeberanga Mukama waffe kyayagala bwe kiri.” (Abaefeso 5:9-10).
“Naye ebibala by'omwoyo kwe kwagala okusanyuka, emirembe, okugumiinkiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombefu, okwegendereza: kubiri ng'ebyo tewali mateeka.” (Abaggalatiya 5:22-23). “Mulibategeererera ku bibala byabwe.” (Matayo 7:16).
“Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.” (2Abakkolinso 7:1).
“Bwe baali bagenda okugula, anaawasa omugole n'ajja: nabo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbanga ey'obugole: oluggi ne luggalwawo.” (Matayo 25:10).
“Kale tutyenga nti okusuubiza okw'okuyingira mu kiwummulo nga bwe kukyatulekeddwa, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takutuuseeko.” (Abaebbulaniya 4:1).
“Kubanga obuyinza bw'obwa Katonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu ne by'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye; Ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo; olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaalirwana bwa Katonda bwe mwawona okuva mu kuzikkirira okuli mu nsi olw'okwegomba.” (2Peetero 1:3-10). “Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukirize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.” (1Abasessaloniika 5:23).
Weewaawo. Jangu, Mukama waffe Yesu.