Ebbaluwa - Omwezi gw'ekkumi 2017
Omuntu yenna bw'ayongerako oba bw'aggyangamu …
Font Face
Line Height
Paragraph Gap
Font Size
Mu lukunggana olunene olw'ensi yonna e Brussels mu mwezi gw'omukaaga 11, 2017, tw'ajukira ekiragiro eky'ow'oluganda Branham mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933.
Mu mwezi gw'omukaaga 12, 2017, n'ejukanya okwogerezeganya kwe n'alina n'ow'oluganda Branham mu mwezi gw'omukaaga 12, 1958, mu Dallas, Texas. Mu nkomerero ey'okwogerezeganya, yagamba, “Ow'oluganda Frank, ogenda kuddayo mu Germany n'obubaka buno.”
Oluvannyuma lw'okwogerezeganya kwaffe mu Dallas, Ow'oluganda Branham yagamba mu ntandiikwa y'okubuulira kwe “Tw'andilabye Yesu”:
“Kaakano, omusajja yateeka omukono ggwe kunze okuva mu Germany, kaakano, tw'alina omuwendo gw'abantu abaalokoka mutwalo mulamba buli kiro: Emitwalo etaano mu kiro eky'ennaku etaano.” Mu biseera by'okubuulira kuno, naye yayogera ku maanyi g'obutangavu bwa Katonda obwa kwatibwa mu kifaananyi mu bifo eby'enjawulo n'agamba, “Wano we wali omusajja okuva mu Germany, wali wano kaakano, eyaliwo bwe ky'akwatibwa emirundi essatu n'abakwasi be bifaananyi okuva mu Germany.” Ekifaananyi ekyakwatibwa mu lukunggana olw'omubuulizi ne kikwata obutangavu obw'ali waggulu Ow'oluganda Branham osoobola okubulaba ku mitimbagano. Kituufu, ndi mujulizi eyalaba era eyawulira obuweereza bwe obw'ali obw’enjawulo.
Ku lw'amazima nti enkyukakyuka ey'ebintu eby'obumalirivu bikoleddwa eri ekilagiro ekyaweebwa mu mwezi gw'omukaaga 11, 1933, era nate tuli laba ekigambo kyennyini nga ekyawandiikibwa bwe kyakyusibwa olw'okugerageranyizibwa.
Ekyasooka: “Nga Yokaana, Omubatiza, bwe yatumibwa okukulembera okujja okwasooka okwa Kristo, obubaka obukuweereddwa bwe buliteekateeka okujja okw'okubiri okwa Kristo.”
Ow'oluganda Branham yaddinganamu ebigambo by'ebimu ebyayogerwa mu maanyi ge kire kya Katonda emirundi gyonna 55, era bwekityo nti bonna abalonde bandikituute nga kya ddala era ne bakikkiriza, yateeka esira ku bino ebigoberera mu mwezi gw'okubiri 10, 1960, era ne mu bintu ebirala byonna: “Si nti nze ngenda okukulembera, naye obubaka bwe bulikulembera.”
Eky'omukisa omubi, ekiwandiko kyatambuzibwa kaseera katono nnyo ng'ow'oluganda Branham amaze okutwalibwa ewaka mu kitiibwa: “Nga Yokaana bwe yatumibwa okukulembera okujja okwasooka okwa Mukama, so otumiddwa okukulembera okujja kwe okw'okubiri.” Ekigambo ekikulu “Obubaka” tekyateekebwamu. N'olwekyo, kirina okuteekebwako esira omulundi omulala nate nti tewali muntu alina buyinza okukyusa ebigambo ebituufu eby'ekiragiro.
Mu mwezi gw'okutaano 7, 1946, omubaka okuva mu ggulu yalabikirakpo Ow'oluganda Branham, ng'agamba, “Totya, kubanga ntumiddwa okuva eri oyo omuyinza we bintu byonna … okubuulira nti okuzaalibwakwo okw'enjawulo ku kwa balala era n'obulamu kw'alina okulaga nti olina okutwala ekirabo eky'obwa Katonda ekyokuwonya eri abantu ab'okunsi.”
Kino kitujukiza Luka 1:19, Malayika bwe yajja eri Zekkaliya era n'alangirira okuzaalibwa kwa Yokaana omubatiza: “Nze Gabulyeri, ayimirira mu maaso ga Katonda; era nnatumibwa okwogera naawe n'okukubuulira ebigambo ebyo ebirungi.”
Ebiragiro byombi ebyaweebwa Ow'oluganda Branham birina okuteekebwa mu ntegeka yabyo ey'obwa Katonda okusinzira ku byawandiikibwa ebitukuvu. Ekyasooka kyali kyegatta ddala ku bubaka obw'alina okukulembera okujja okw'okubiri okwa Kristo; ekyokubiri kyali kilaga obuweereza bwe obw'okubuulira. Byombi kubyo byali byakolebwa n'omusajja eyatumibwa okuva eri Katonda. Ng'afunye obuyinza obw'obwa Katonda ne kirabo eky'okuwonya, Ow'oluganda Branham yatambula ku semazinga era n'abuulira mu kunggana eza babuulizi mu mawanga ag’enjawulo. Nga bwe kyakolebwa mu buweereza bw'omununuzi waffe, okuwonya okw'enjawulo kwaliwo mu nkunggana ez'ow'oluganda Branham: abatalaba bawonyezebwa ne balaba; abalema baatambula, bakigala ne bawulira. Eyo y'engeri okuzibwa okujja okw'okuwonyezebwa bwe kw'atandika mu 1946. bwe yali yeteekateeka okusaabira abalwadde, Ow'oluganda Branham kiri mu buwandike ng'emirundi 280 nga bwe kyawandiikibwa mu Yokaana 5:19: “Omwana tayinza yekka okukola kintu, bw'atalabira ku kitaawe ng'akola …” naye yalabanga mu kwolesebwa ebyo Katonda bye yali kumpi okukola era ng'abuulira ekyo eri buli muntu mu lunyiriri olw'okusaabirwa era n'akikakasa nti BW'ATYO BWAYOGERA MUKAMA. Nze ng'omuntu n'abiraba mu nkunggana.
Katonda yakulembera mu ngeri bwetyo soobole okuteeka buli kintu ekikwata ku kuteesa kwa Katonda mu ntegeka ey'obwa Katonda mu Baibuli okuva ku Lubereberye. Okuvira ddala ku ntandika, eky'enkomeredde kyange kyali era n'emirembe gyonna kiri sigala Ekigambo kya Katonda ekyawandiikibwa. Mukama yennyini y'andagira okubuulira Ekigambo kya Katonda nga bwe kyawandiikibwa. Ekikwatibwako kyokka mu kulaga obubaka kwe kulangirira ebyawandiikibwa ebitukuvu byokka bye byogera, okulangirira okutalimu kusobya kwonna era nga kusuka ekivume.
Mu mwezi gw'ekkumi n'emu 28, 1963, Ow'oluganda Branham n'agamba, “T'olina kuleeka Kigambo ekyo. Olina okubeera ddala ne Kigambo ekyo nga bwe kyawandiikibwa. Toteekawo ku vunuula kwonna kwa buntu ku kyo. Yogera bw'ogezi nga bwe kyawandiikibwa. Ekyo kye Kigambo kya Katonda ero oyo ye Katonda. Katonda ne Kigambo kye kimu.”
Mu mwezi gw'omwenda 19, 1965, yakiteekako esira mu kubuulira kwe, “Gwe-gwe tolina – tolina kugenda ku kintu kyonna okuggyako ddala nga Kigambo kya Katonda kyennyini. Olina okubeera ddala mu butuufu ne Kigambo kya Katonda.”
Eky'ennaku, ng'oggyeko okweyongera okw'okulangirira okwe Kigambo eky'amazima nga Katonda bwe yalagira, okuvira ddala kw'olwo waaliwo okuvunuula okw'enjawulo okwa gunjibwawo. Ab'oluganda abaawanga ekyokulabirako ky'ow'oluganda Branham baayitamu mu kulaga okuvunuula kwabwe ng'okwamazima era mu kutwala abayigirizwa okubagoberera (Ebikolwa by'abatume 20:30). Ebigambo bya nnabbi bivunuulwa era ne bilagibwa ng'enjigiriza. Ekyo kiresewo era kikyaleeta ebibinja ebirara okubaawo. Si mulundi n'ogumu nze lwe n'etabye mu kukubaganya ebirowoozo ku bigambo bye yayogera, okuva ku ebyo byonna kitondawo enjawukana mu nkunggana (Abaruumi 16:17).
Akatyabaga akanene tekali mu ebyo Ow'oluganda branham bye yayogera – ebiseera ekimu kizibu okutegeera – naye mu ekyo ab'oluganda kye bakola nakyo (2Peetero 3:16). N'ekyo Ow'oluganda Branham kye yagamba mu kubuulira “Okutwalibwa mu ggulu” nakyo kivunuddwa bukyamu newakubadde nga Mukama ali mu kiseera ky'okukka n'okwogerera waggulu. Okw'ogerera waggulu mu 1Abasessaloniika 4 kulaga okuzuukira kwabo abaafiira mu Kristo, si abo abakyali abalamu. Ku kukomawo kwa Kristo buli kintu kiribeerawo mu mazima nga bwe kyayogerwako mu sula 4, okuva ku lunyiriri 13-18: “Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu, n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.” Naye teeka mu nkola ne 1Abakkolinso 15:45-58.
Okw'ogerera waggulu okugenda mu maaso kaakano okuyita mu bubaka kugendereddwa okuzuukiza abalamu, nga Matayo 25: “Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.” (v. 6). Abawala abalongoofu bonna bawulira okuyitibwa okusembayo era bafuluma okusisinkana anaawasa omugole.
Mu Matayo 13, tusanga olugero olw'omusizi eyafuluma okusiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. Mu lugero olwo, omununuzi waffe n'agamba, “Naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu enggaano ey'omunsiko mu nggaano ennungi, n'agenda.” (Matayo 13:25). N'addamu n'agamba abayigirizwa be nti: “Asiga ensigo ennungi ye mwana w'omuntu; ennimiro ye nsi; ensigo ennungi abo be baana bw'obwakabaka; n'enggaano ey'omu nsiko be baana b'omubi …” (Matayo 13:37-38).
Ekyo kyennyini ddala kye kyaliwo mu biro byaffe: okusooka ensigo ennungi ey'ekigambo kya Katonda yasigibwa; omulabe n'alyoka asiga ensigo ey'omu nsiko mu nggaano. Ekyo kyaliwo abawala abalongoofu bwe baali babongoota ne baggwa mu kwebaka kw'omwoyo. Naye enggaano awatali kintu kyonna esigala nggaano, era n'enggaano ey'omu nsiko esigala bwetyo. Ensigo ebiri zaatandikira ku Kayini ne Abiri. Emu eyakyayibwa, era n'endala eyali eyagalwa. “Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda kubanga ekizikiza ky'amuziba amaaso.” (1Yokaana 2:11; 1Yokaana 3:7-15). Osoobola okw'ogera nti omuntu yenna atalina muganda we nga Kayini tasoobola kuba Abiri.
Era ne mu kigambo kino naffe tusanga okulabula okugumivu: “Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka nga takitegedde, mubi oyo ajja n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe.” (Matayo 13:19). Kyamugaso nnyo okukkiriza era n'okutegeera buli Kigambo; awatali ekyo, Mukama yabuuza abayigirizwa be, “mubitegedde ebigambo bino byonna? Ne bamugamba nti weewaawo.” (Matayo 13:51).
Ani asoobola okuddamu mu mazima na kino “Kituufu,” ne leero? Ani mu mazima ategedde ebigambo byonna ebibuuliddwa era ne biwandiikibwa okusinzira ku Kigambo kya Katonda n'e kilagiro ky'obwa Katonda? Amaaso g'ani n'amatu Mukama g'asoobola okulangirira ng'agaweebwa omukisa? Mu butuufu, bonna abawala abalongoofu abaali beteeseteese ku lw'okujja kw'anaawasa omugole bakomenkereza nga babongoota era ne beebaka. Bonna bazuukuka, naye abagezi bokka be beebaka n'esigo ey'ekigambo era ne bazuukuka nayo. Okuva kw'olwo baleeta amacupa gaabwe n'amafuta era ne basoobola okusembera mu bulamba bw'omwoyo omutukuvu, baali beteeseteese okuyingira embaga ey'obugole. Abasirusiru bawulirisa okuvunuula kw'omulabe era ne balimbibwa (2Abakkolinso 11:3-4). Oluvannyuma abawala bali abalala nabo ne bajja, ne bagamba nti Mukama waffe, Mukama waffe, tuggulirewo naye n'addamu n'abagamba nti mazima mbagamba nti sibamanyi (Matayo 25:11-13).
Mu kulaga okujja kwe okusingira ddala atugamba okuba bulindala: “Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu omwana w'omuntu ky'alijjiramu.” (Matayo 24:24).
“Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.” (2Peetero 3:9).
Ekyawandiikibwa kino mu bulambulukufu kiwakanya nti enjigiriza ey'obulimba nti ekiseera kyekisa kiweddewo era nti omusaayi tegukyali ku ntebe ey'ekisa. Ku lw'ekisa kya Katonda, tukyali mu kiseera eky'obulokozi (2Abakkolinso 6:2); Mukama akyatuyita okwenenya; ayita abakkiriza okuva mu mivuyo egy'omwoyo. Abayigiriza ab'obulimba, abalaga okuvunuula kwabwe bennyini mu kulaga ekyo Ow'oluganda Branham kye yabuulira, kiriwulirwa wokka n'abawala abasirusiru. Kirina okutwesitaza wano nate: Leeka ebintu byonna nga bwe byayogerwa! Toyogerako kintu kyonna ku Kigambo kya Katonda ekyawandiikibwa!
Wansi w'okulungamizibwa kw'omwoyo omutukuvu, Ow'oluganda Branham yabikkula ebyama byonna ebyali byakwekebwa. Obuweereza bwe obulungi, obwo bwe tweyanza ennyo Katonda butukkiriziddwa bwonna. Mazima ddala yafuna okubikkulibwa kw'ebintu byonna ebikwata ku ntegeka ey'obulokozi: Obulamba bwa Katonda, okubatizibwa kw'amazzi, Omubiri gwa Mukama, kiki ddala ekyaliwo mu kuggwa mu Lusuku lwa Eddeni; okubikkulirwa okujuvu okw'ebintu byonna, nga mw'otwalidde obubonero omusanvu, byamuwebwa.
Obumanyirivu obw'aamanyi Ow'oluganda Branham bwe yalina mu mwezi gw'okubiri 28, 1963, ng'amaanyi g'ekire kya Katonda bwe galabika era n'ebibwatuuka omusanvu eby'amaanyi, nga byegatiddwako ne musisi, bya kankanya ekifo kyonna n'olusozi Sunset, kyali kyamugaso ogw'enjawulo eri ye mu kugulawo obubonero omusanvu; N'olwekyo, yeyongera ddala ebiseera bingi ku bibwatuuka ebyo omusanvu. Naye, ebibwatuuka omusanvu mu Kubikkulirwa 10:3 biri vuga mu m'addoboozi gabyo wokka nga malayika w'endagaano akka, ng'ayetooloddwa ne musoke.
Tewali kintu kyonna ekyawandiikibwa mu bubonero omusanvu ekyaliwo nga Ow'oluganda Branham abuulira ku byo mu mwezi gw'okusatu 1963. Omwana gw'endiga te gwaleeka entebe mu 1963; omusaayi gw'endagaano empya tegwagibwa ku ntebe ey'ekisa mu watukuvu w'awatukuvu. Ow'oluganda Branham ddala yaddiggana ekyo Omutume Yokaana kye yalaba n'awandika ku kazinga ka patumo era n'ayogera ku kyamubikkulirwa mu kulaga ekyo.
Yali asoobola okulaga era mu byawandiikibwa n'ateeka abasomi mu bubonero obuna obusooka nga abalabe ba Kristo mu mitendera gye enna egy'ekulankulana, nga yevuga ku mbalasi ennya ez'enjawulo, nga bwe yeyongera mu kufaanyanyiza ku kkanisa ey'endagaano empya.
Ow'oluganda Branham yasoobola okulaga nti akabonero akokutaano kakwata ku bajulizi abayudaaya abattibwa abayita obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwabwe. Mu kiwandiko kino, yayogera ne ku Adolf Eishmann eyali ddala avunanyizibwa ku kuttibwa kwabayudaaya ekirindi.
Nnabbi naye mu butuufu yateeka akabonero ak'omukaaga (Okubikkulirwa 6:12-17), ekyokulabirako mu kiseera kye bibonyoobonyo, kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwa Mukama bwe lutandika enjuba n'edugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi (Yoweeri 3:4; Ebikolwa by'abatume 2:20).
Okubikkulirwa 7:1-8 kikwata ku 144,000 abayudaaya okuva mu bikka ekkumi ne bibiri ebya Isiraeri abaali teekebwako akabonero. Mu lunyiriri 9-17, ekyamaanyi, obutabalika bwa bantu okuva mu mawanga gonna bulagibwa, bonna abawona ekibonyoobonyo ekinene era nga banazibwa mu musaayi gwa Mukama.
Akabonero akomusanvu bwe kalangirirwa mu Sula 8, Bamalayika musanvu ab'omusango balabika mu maaso g'entebe ya Katonda, era ne baweebwa ekkondeere musanvu okuleeta omusango ku nsi. Mu sula 8 ne 9, tulaba ekyaliwo ku nsi mu kiseera ky'omusango gw'ekkondeero ey'omukaaga. Mu sula 10, malayika w'edagaano akola ekilango, ekikakasibwa n'ekilayiro, ku ebyo ebiribaawo nga malayika Ow'omusanvu bw'aliba ng'agenda okufuuwa (v. 7) “ekyama kya Katonda ne kilyoka kituukirira …”
Ekilango mu sula 10:7 kilangibwa mu kutuukirira kwakyo mu sula 11:15 mu ntandikwa y'okufuga okw'emyaka olukumi: “Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; newabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, ne boogera nti obwakabaka bw'ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n'emirembe.”