Ebbaluwa Omwezi - gw'ekkumi n'ebiri 2005
Okulungamizibwa kwa Katonda mu myaka makumi ana agayise
Font Face
Line Height
Paragraph Gap
Font Size
Isiraeri yatambulira mu ddungu okumala emyaka makumi ana n'ebalyoka balemererwa okuyingira ensi ensuubize. Ekigambo kya Katonda ky'ali mu ssadduku y'endagaano. Naye eky'avamu ekimaliriza ky'ali kiri kyennyini ekiswaza. Kino kiringa ekintu ekikutukako ng'atokisuubidde: Omutume Pawulo ageregeranya Isiraeri n'ekkanisa mu kiseera ky'enkomerero, "Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe." (1Abakkolinso 10:1-13). ekyo si kigenyi? Emabegako abantu ba Katonda baasubwa etiiko yaabwe eyakamalirizo ng'oggyeko empagi ey'omuliro era n'olwazi olw'akubibwa, nebilala bingi, nebilala bingi. Obutawulira, okw'emulugunya, n'okusinza ebifaananyi kwe kw'ali okugwa kwabwe. Bonna abaatambula ne Musa abaali abasajja bonna baali bakomole. Nga tukyali ku ebyo, bonna baffa, newakubadde nga baali bakomole, "…kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama" (Yoswa 5:6b). Ezzadde lyokka eriggya ery'ali ly'akomolwa lyayingira mu nsi ensuubize. Akulembera eggye lya Mukama n'alyoka alabikira Yoswa n'ekitala mu mukono gwe (Yoswa 5:13-15) era obuwanguzi n'ebulabisibwa.
Leero tulina okubuuza, "Ani akkiriza ebigambo byaffe? Era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?" (Isaaya 53:1). Ani eyagondera enjiri (Abaruumi 10:16)? eyalina obumanyirivu bw'omunda obw'okukomolebwa kw'omutima gwe (Abaruumi 2:28-29)? Ani eyafuna obumanyirivu obw'okuzibwa obuggya n'Omwoyo omutukuvu (Abakkolosaayi 2:11)? Olubereberye, okukyusibwa kikulu, naye tulina okuwangula ebigezo by'ekiseera mu kukkiriza ne mu bugonvu, tulyoke tutuuke ku kirubirirwa ekimaliriza oluvannyuma lw'okutuukiriza okwagala kwa Katonda (Abaebbulaniya 10:36). Ezzadde eriggya ly'ayingira mu nsi ensuubize mu buwanguzi. Ky'ekimu ne kaakano bigendera ddala eri abaana b'ekisuubizo abakkiriza ekigambo ky'ekisuubizo (Abaruumi 9:6-10; Abaggalatiya 4:28-29). Tebasigalira ku bintu ebyaliwo mu myaka makumi ana, attaano, nkaaga oba myaka kikumi egyayita. Tebabeera mu bukunsu, naye babeera kitundu ku ebyo Katonda byakola kaakano.
Awamu n'abo bonna abakkiriza obubaka bw'obw'aKatonda tutunulira mu maaso, ng'atuzibwamu amaanyi, ng'atugumiziddwa okuyita mu mikisa gy'ebyewunyo obw'emyaka makumi ana agayise egyo Katonda mu kitiibwa gye yatugabirira mu nsi zonna. Naye omulabe teyalemererwa kukyukira mulonde. Emabegako edda Mukama n'agamba Peetero „'Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eggaano…" (Lukka 22:31). Tetwagendera ku kino, naye kyaliwo.
Mu mwezi gw'okuna 1974 tw'alina omukolo gw'okuwaayo ekizimbe ky'ekkanisa, ekyazimbibwa ku kitundu ky'ettaka Katonda kye yali alaze mu kwolesebwa. Okutuukira ddala ku nkomerero y'emyaka gy'ensanvu twafuna obumanyirivu bw'emikisa mingi era n'okubaawo kwa Katonda, okusingira ddala mu kkanisa y'okukyalo mu Krefeld. Ebirabo by'omwoyo omutukuvu byaliwo era n'ebintu byamaanyi ga katonda byakolebwa. Abantu baava mu bibuga ebilala okujja okuwulira Ekigambo. Mu kiseera ky'ekimu n'asobola okukola olugendo lwange olw'obuweereza buli mwezi okutwala obubaka obw'omuwendo ku nkomerero z'ensi. Mu makati g'ensanvu, omwaka 1977 gw'ali mwaka ogw'ateekebwako nnyo esira ng'omwaka ekiseera ky'ekisa gw'ekigenda okukomenkerezebwa. Ow'oluganda Branham yali ayogeddeko ku mwaka 1977 emirundi egiwerako ku kikwata ku nkomerero y'ekiseera, naye teyateekawo lunaku. Ab'oluganda abaalowooza nti buli kigambo Ow'oluganda Branham y'ayogeera nti ky'ali ky'enkana nga "BW'ATYO BW'AYOGERA MUKAMA" Baali bakakasa ddala nti omwaka 1977 ekiseera ky'ekisa ky'ali kirina okukomenkerezebwa.
Mu kukkiriziganya n'emirimu gyonna egya Katonda, yekka asalawo ekiseera, era n'essaawa, kyamusanyusa Yennyini okumpa ekiragiro ku lw'okuttaano, omwezi gw'omusanvu 16, 1976, okusingisibwa okwo kw'ali kunenyezebwa nnyo mu bukunsu obumu obw'obubaka bw'enkomerero. Nali n'akamala okutambula okwetooloola ebugwanjuba bw'ekizimbe ky'ekkanisa, ekizikkiza ky'ali kitandiise okukwata, bwe nawulira eddoboozi ly'ekiragiro kya Mukama, ng'agamba, "Omuddu wange wange, tambula mu kifo kyonna eky'okwongerwako. Kiweeyo mu mikono gyange era ozimbe mu kifo ekyo, kubanga abantu barijja okuva mu mawanga mangi abalyagala okusuzibwa." obuziiba bw'ekiragiro kino magezi agamanyiddwa. Ku lw'ebalaza omwezi gw'omusanvu 19, 1976, n'ayogeera ne nanyini kifo. Y'ambuulira eteekateeka ze ez'omumaaso ez'ekifo kino era n'agamba, "sisobola kukuguza kifo kino." n'akomenkereza okwoogerezeganya kuno n'ebigambo," Tolke, jukira, Mukama Katonda atadde omukono gwe ku kitundu ky'ekifo kyo eky'okwongerwako ku kifo kyaffe, ekkanisa kw'eyazimbibwa."
Oluvannyuma lwa ssabbiiti ssaatu nga ziyise, mu mwezi gw'omunana 9, 1976, n'annyina kifo y'ankubira esimu nga tezinatuuka essaawa munana ez'okumakya n'agamba, "Omubuulizi Frank, ndina okuguza ekifo ekyo. Tugenda ddi?" Endagaano n'ekolebwa mu mwezi gw'omunana 12, 1976. n'annyini kifo y'ankubira esimu ng'atezinaweera ssaawa munana kumakya n'agamba, "Omubuulizi Frank, ndina okuguza ekifo ekyo. Tugenda ddi?" Endagaano n'esibwako omukono mwezi gw'omunana 12, 1976. olw'okugula ettaka n'ebizimbe eby'ali ku ttaka eryo by'ali tebikwatagana n'anjigiri nti bwe bunnatuukira mu 1977 y'enabeera enkomerero. Ekizimbe ekisooka bwe ky'ali kitandiikibwa, Ow'oluganda Paul Schmidt yajja gye ndi ku ttaka eryo n'agamba, "Ow'oluganda Frank, ekizimbe kino tekigenda kumala kitundu ky'abantu abanajja." Amakya agaddako n'abikkula Baibuli yange era amaaso gange n'egalaba ekyawandiikibwa mu 2Ebyomumirembe 14:6, awo e Baibuli ey'olugerman ey'ogeera nti, "Era n'ebazimba ebizimbe nga tewali kibalobera era ne baba basanyufu." Gy'endi kwali kuzibwamu maanyi okuva eri Mukama. Bwe kityo ebizimbe bibiri n'ebiteekebwawo mu mwaka 1977/78. nyinza okwogeera n'okutegeera okulambulukufu, nga Nuuwa bwe yakola mu Lubereberye 6:22, Musa mu Kuva 40:16 ne Eriya mu 1Bassekabaka 18, nti nkoze ebintu bino byonna nga bwe n'alagirwa era n'ekigambo kya Mukama.
Nga tumaze okukola nga Mukama bwe yalagira era ng'ebizimbe biwedde okusobola okukyaza abagenyi, Setaani yakola byonna bye yali asobola okuziyiza ekyo Katonda kye yali ayogedde okubaawo. Kituufu, teyawangula ku ekyo, mu kyo kyennyini ekikakasiza ddala nti mazima mulimu gwa Katonda. Isiraeri n'ekkanisa ey'amazima bye bibaddenga bitunuliddwa n'omulabe. Yerusaalemi yakubibwa emirundi mingi era n'esanyizibwawo emirundi kkumi namwenda. Ne kaakano ekikwatibwako tekiri Telavivi, oba Haifa wabula Yerusaalemi, Ekibuga kya Katonda. Era bwe kityo tekiri ku kkanisa yonna, wabula ekkanisa ey'amazima eya Katonda omulamu eyo y'etunuliddwa mu ngeri ey'enjawulo n'omulabe era eddwaniro ery'omwoyo leero. Okusinzira ku kubikkulirwa 12, ku nkomerero y'ogusota ogunene guli yimirira mu maaso g'omukazi ng'agugezako okulimba omwana w'obulenzi eyayawulibwa okufuga amawanga (Okubikkulirwa 2:26-290, nga tannatwalibwa mu kitiibwa.
Mu kiseera ky'ennyini, omulabe teyategeera ekyo Mukama kye yali alagidde era n'agamba, "Obukulembeze bwa Frank, Russ, Schmidt bulina okugenda.", Kubanga Katonda yali amaze okuteekawo ab'oluganda abalala. Era kituufu babiri ku bo n'ebajja mu maaso ne balinnya awabeera abakulembeze mu kifo ekiyimirirwamu. Nekiryoka kyogerwa nti, "Temwayitibwa Katonda, mwayitibwa Setaani. Mulimu gwo era si mulimu gwa Katonda, n'olwekyo gulina okusanyizibwawo." kyali kye kirubirirwa ekyalangirirwa n'omulabe okutyobola obuyinza bw'oyo asitula ekigambo n'ekikonde kino, era n'ab'oluganda ababiri Katonda be yateeka ku luuyi lwe baali bakoleddwa okuba abatali besigwa mu maaso g'ekkanisa. Ow'oluganda Branham yagamba, "Beera mwegendereza. Gukusinga bw'oyogera ekigambo ekibi ku mugandawo ekitali kituufu, si kumufumitabufumisi kiso mu nsingo okumutta; oyinza okumenya empisa ye era n'omutta, okutta endabika ye, okwogera ku mubuulizi wo wano, okwogera ekintu ekibi ku ye, olinga omukubye esasi; okumwogerako ebintu ebitali bituufu, mazima, kijja kutta endabika ye mu bantu n'ebintu ebiri nga ebyo, era nga gukusinze." (57-09-22). Setaani yalina ekigendererwa, yali ayagala okuteekateeka eky'okuyimirirako mu kkanisa ey'waka era ne mu nsi yonna eri abo abasitula okuvunuula kwe n'enjigiriza ekyamu. N'olwekyo mu kusooka yali alubiridde okusanyawo obuvumu mu oyo asitula Ekigambo eky'amazima ekya Katonda.
N'okutuusa leero kisigalawo nga Mukama bwe ya kyogera emyaka mingi egyayita n'eddoboozi ery'okulagira, "Omuddu wange, baweeyo mu mikono gyange abakadde Leonard Russ ne Paul Schmidt…" Obuweereza bwa b'oluganda bano ababiri bubadde bwa mukisa mu myaka amakumi ana mu kkanisa y'okukyalo era ne mu mawanga mangi ag'enjawulo. Ly'ali ddoboozi ly'erimu ery'okulagira erya Mukama ery'andagira mu 1976 okugula ettaka lino era n'okulizimbako. Ebizimbe bibiri ebinene by'azimbibwa era okuyita mu myaka gyonna amakumi abiri mu ttaano tubadde n'obusobozi okusuuza abantu nga bisatu n'ebina okuva mu mawanga gonna ag'ensi ku gandalo erisooka erya buli mwezi.
Geyeena yonna yali evuddeyo okuziyiza enteekateeka ya Katonda ey'enkomerero mu kitundu kyayo eky'ali kisinga omugaso okusanyawo omulimu ggwe mu ngeri yonna esobooka. Obulumbaganyi obukulu, nga bwe bw'ali busuubirwa, bw'atuunulizibwa eri oyo asitula Ekigambo. Okwogera eby'obulimba obusuka ekipimo, nga gasuka ekintu kyonna mu ndowooza yonna enyoonyoolwa ng'omuntu tayinza kukijamu makulu, byasansanyizibwa mu nsi yonna, ebintu ebitayinzika kuddibwamu wano. Empisa ey'okutta n'ekutandiikibwawo, ebyo ebitawulirwangako, n'ekirubirirwa eky'okutta emyoyo gy'abantu bangi. Bonna abakkiriza okutwalibwa n'emyoyo egyo egisanyawo n'okutuusa ku lunaku luno bakkiriza era ne basasanya obulimba bwe bumu. Tebakiteeka yadde mu nkola n'akaseera katono nti mu bugenderevu batyooboola akamu ku kiragiro, "Towaayirizanga muntu munno." (Okuva 20:16). Mu Baruumi 1:30 tusoma ku, "…abalyolyoma, abakyawa Katonda…" mu 1Abakkolinso 5;9-12 tumanya abantu bano bebagerageranyizibwako.'
Okuttibwa kw'abaana ku kuzaalibwa kwa Musa era nabo abasi b'abaana ku kuzaalibwa kw'omulokozi waffe nabo bayiganyizibwa ku kyalo, nga kikolebwa mu kitundu ekyo kyoka. Setaani mulimba era mussi okuva ku Lubereberye (Yokaana 8:44), Kayini naye yali mussi (1Yokaana 3:12), era omukkiriza yenna akyawa baganda be abeera nga kayini, awatali kuggyako kintu kyonna. Bw'ekityo bw'ekyogera Ekigambo kya Katonda, "Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye." (1Yokaana 3:15). Bonna abakyamiziddwa okuva kw'olwa era ne bataba n'akwagala okuwulira Ekigambo kya Katonda ekitaggwaawo balisomozebwa ku lunaku olwo. Omuntu yenna kin'omu atatwala kwagala kw'amazima mu kaseera katono ku lunaku olusalawo ab'annyikiddwa mu kukkiriza obulimba. Okutaawulurwa tekusoboka. Omuntu yenna agulawo omutima gwe ku ekyo Setaani ky'agamba mazima ddala akigalira ku ekyo Katonda ky'agamba. Omusana n'ekizikiza, obulamu n'okufa by'ayawulwa emirembe gyonna.
Kaakano fenna tulina okw'ebuuza mu maaso obanga okusalawo kwa Katonda kusobola okutaganjulwa. Waliwo omuntu yenna alina obuyinza okusaba ab'oluganda ababiri okujibwawo, abakadde abateekebwawo ng'okulagirwa kw'obwa Katonda? Kyali kituufu okuzimba ebizimbe ng'ekigambo kya Mukama okusuuza abagenyi, oba ky'ali kituufu ku kyo, mu butafaana, okubuulira abo abaali baze wano nti egandalo erisooka mu mwezi gw'okutaano 1979 oluvannyuma lw'enkunggaana nti bonna balina okuddayo ewaka, ng'agamba, "Ebintu byonna wano biweedde emirembe gyonna." Kuno kwe kusalawo omutu yenna kw'atayinza kuteeka kumabali era nga ky'amuntu kin'omu mu butaggwaawo bwonna. Tobeeranga mu bakyamizibwa, Katonda tagenda kukkiriza yennyini kubeera ekisekererwa!
Abo abasigalidde ku mazima ng'abesigwa tebasobola kulaba nti ab'oluganda ne bannyinaffe abaawulirisa Ekigambo kya Katonda wano, abaalokolebwa era n'ebawonyezebwa era ne babeera n'obumanyirivu bwabwe ne Mukama, babatizibwa era okumala emyaka n'ebetaba ku mmere ya Mukama, nti nate bayinza okubakyukira mu ngeri ey'obukyayi bungi ne baziyiza ekwatagana mu by'empuliziganya. Buli mukkiriza ow'amazima alina okukimanya nti Yesu Kristo yaggyawo ekisenge kya wakati ekyawula era n'asanyawo obulabe. Okuyita mu ye tulina obununuzi, okutabagana era n'okusonyiyibwa ebibi byaffe byonna. "Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula, bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; alyoke atonde mu ye yennyini abo bombi okubeera omuntu omu omuggya, okuleeta emirembe; era alyoka atabaganye bombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo …" (Abaefeso 2:14-16).
Buli omu amanyi nti obulabe n'okusanyizibwawo tekuyinza kuva eri Katonda. Waliwo kimu kyoka ku bisooboka ebibiri: Amazima ky'ekyo Katonda kye yasalawo era n'ekyo ekiyinza okulabibwa wano ku kitebe ky'obuweereza, oba ekyo Setaani, bulijo alabika nga Malayika w'omusana, y'ayagala okufuna.
Ku gandalo erisooka erya buli mwezi abantu nga lw'enda okuva mu nsi yonna bajja ku kitebe ky'obuweereza okuwulira Ekigambo kya Katonda era n'okulisibwa eby'omwoyo. Embuulira ezabuulirwa mu lulimi oluGerman kaakano zikyusibwa mu nnimi kkumi nabiri, okusobozesa bonna abaliwo kaakano okuwulira Ekigambo nga kibuulirwa mu lulimi lwabwe. Mu kiseera ky'ekimu ab'oluganda ne bannyinaffe okuva mu nsi yonna basobola okutwegattako mu kusaba kwaffe buterevu okuyita ku mitimbagano. Gano mazima agatayinza kw'eganibwa era ng'ageyogerera. Ekibuuzo kino kiri kw'elaga kyoka: bayinza batya abo ababeera mu kibuga kino era n'okumanya ebikwata ku kuyitibwa n'ekiragiro okuvugibwa n'ekirowoozo nti omuntu oyo tasanidde n'ebayita ku kifo Katonda yennyini kye yalonda? Tebaganye muntu, wabula Katonda yennyini, akola ebintu byonna ng'etegeeka ze ez'obulokozi bwe ziri. Ky'amakulu ki ekiri eri abo okwogera ku bubaka, ku nnabbi, ku kutwalibwa mu ggulu? Okwo kwe kwagala okutuukiridde Omutume Pawulo n'ow'Oluganda Branham kwe yayogerako, okutaliko nkomerero era mu kumaliriza kuliyingira mu kitiibwa?
Omuntu yenna agana emikisa gy'enkunggana ez'ekitiibwa ze twalina okuva mu myaka gy'ensanvu, gye twamanyirira ku lw'amanyi ga Katonda, ali mu kabi k'okuvola Omwoyo omutukuvu. Okw'ekalakasa kw'atandiikira mu kaseera wokka ng'okwagala kw'omuntu kw'eyinula okuba okusukulumu okusuka okufukibwako amafuta, okusuka ekigambo n'okwagala kwa Katonda. Omuntu yenna mu kumalirira ddala ageregeranya ekyo Mukama yennyini kye yayogera n'ekyo omulabe kye y'asiga wansi w'okusikkirizibwa kw'obulimba alitegeera mangu ddala kiki ekituufu era kiki ekituukiriziddwa. Fenna tulina okuyiga okuva ku somo lino elikulu eri bonna abalijja mu maaso. Okutuusa ku nkomerero twetaga era tulina okusaba ku lw'ekirabo ky'okusala omusango bulungi. Kyonna Katonda ky'agamba kibeera ng'ekigambo kye era bulijo kikolera ku lw'okuzimba ekkanisa. Omulabe ky'asiga ne kyakola bulijo kikulembera mu kusanyizibwawo. Katonda akozesa baddu be bokka. Omulabe alonda omuntu yenna gy'asanga ng'alina abagoberezi era awo ng'alubirirwa okuleeta obukosefu bungi. Ekyazimbibwa emyaka mingi n'obuyambi bwa Katonda, Setaani, omuwabi w'ab'Oluganda, yagezako okusanyawo mu lunaku lumu.