Ebbaluwa Omwezi gw’okuna 2009
Mu kubuulira kwe okw’okubiri Omutume Peetero yali yayogera edda amazima nti Omununuzi asigala mu ggulu okutuusa ng’ekiseera ky’okulongoosezamu ebintu byonna Katonda bye yalangirira okuva ku Lubereberye okuyita mu bannabbi be abatukuvu (Ebikowa by’abatume 3:19-21). Ekyawandiikibwa mu lulimi olu Greek kigenderako ekigambo “Apokatastasis,” Mu kusoma ekitegeeza “Okulongoosa nga bwe ky’ali edda.” Mu kkanisa ya Yesu Kristo ebintu byonna birina okulongoosebwa okudda nga bwe by’ali edda mu kusooka ng’okukomawo kwa Kristo tekunnatuka. Mukama yennyini yasuubiza kino mu Matayo 17:11 era ne Makko 9:12: “N’addamu n’agamba nti Eriya ajja ddala, alirongoosa byonna.” Kino kigenda mu maaso kaakano, ng’anaawasa omugole tannatwala mugole we ewaka.
Oluvannyuma lw’okuleeta obubaka obusembayo (Malaki 4), obunakulembera okujja kwa Kristo okw’okubiri, Mukama kaakano atuma abaddu be okubaayita ku mbaga ey’obugole: “Ng’agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti laba, nfumbye embaga yange … ne byonna byeteeseteese …” (Matayo 22:1-14). Kiri eri abaayitibwa okusalawo oba bajja kuba n’ekyo kw’ekwasa oba okuwulira n’okugondera okuyitibwa. Mu Matayo 24:45-47 tusoma kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow’amagezi, Mukama we gwe yasigira ab’omu ju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo ng’okujja kw’anaawasa omugole tekunnatuka. Kubanga abaanunulwa kino kitegeeza nti okwagala kwa Katonda kaakano kulina okufuuka eky’anamaddala mu bulamu bwabwe, nga bwe kyasooka okubeerawo n’omununuzi: “Yesu n’abagamba nti ekyokulya kyange kwe kukolanga eyantuma by’ayagala n’okutuukiriza omulimu gwe.” (Yokaana 4:34). Kaakano tulindiridde okumalirizibwa kw’omulimu gwa Katonda ogw’obununuzi n’ekkanisa; kale, emmere yaffe ey’omwoyo erina okw’egattira ddala ku kwagala kwa Katonda, awo wokka ekyawandiikibwa kino kiryoke kituukirire gye tuli: “Mu ebyo by’ayagala twatukuzibwa olw’okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi ogumu.Kubanga olw’okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa.” (Abebbulaniya 10:10-14).
Mu Matayo 24:48-51 tulina ekyokulabirako eky’omuddu ow’ekibi agamba mu mutima gwe, “Mukama wange alwisiza okujja kwe …” Era n’atandiika okukuba baddu bane. Omuddu ow’amagezi agabana Ekigambo kya Katonda, emmere ey’omwoyo, mannu eyakwekebwa, n’ekkanisa era asiga ensigo ennungi ekulira mu baana bonna ab’obulenzi n’abobuwala aba Katonda. Omuddu ow’ekibi asiga okuvunuula okukulembera okugwa era naakuba abaweereza abalala bonna abatakiriziganya na by’akkiriza. Omuweereza yenna ataafuna buterevu, okuyitibwa kw’omuntu kin’omu kimubeera kizibu okukkiriza nti omuntu omulala yenna mazima ddala yayitibwa buterevu. Okuyitibwa bwe kuba kw’egatta ku ntegeka ey’obulokozi, bokka abateekebwawo edda ng’omusingi gw’ensi tegunnabawo be basobola okukkiriza (Abaefeso 1:1-5). Oba kyali mu biseera bya bannabbi oba ne Mukama waffe n’abatume – abo bokka abaali aba Katonda baawulira ne bakkiriza ekigambo kye (Yokaana 8:47). Abalala bonna tebaakikiriza. Ekintu ky’ekimu ekikolebwa leero. Ng’ogyeko ekyo bwe kituuka ku kuyitibwa, ebigambo ebigoberera ebya Mukama waffe by’amazima emirembe gyonna: “Abawulira mmwe, ng’awulira nze; era anoonya mmwe ng’anyooma nze; n’oyo anyooma nze ng’anyooma eyantuma.” (Lukka 10:16).
Mu Matayo 25 Oluyoogaano mu ttumbi kugenda mu maaso: “Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana.” n’abo abawala abaalina amagezi “… n’abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey’obugole: oluggi ne luggalwawo.” Lino ly’esomo erisinga amakulu mu kwegatta ku kumawo kwa Kristo: Ku nkomerero yennyini, esira riteekebwa ku mazima nti bokka abawala abagezi be baatuka ku kigendererwa ekisembayo.
Omuwala atamanyi musajja yalondebwa Katonda so Omununuzi asobole okujja mu buntu, nga ekkanisa ku nkomerero bw’erina okufuna ensigo ey’obwa Katonda nti Kristo alabisibwe mu bonna abaanunulwa (Abakkolosaayi 3:1-4). Ensonga kwe kutegeera entegeka ey’obwa Katonda ey’obulokozi, eribeera n’entiiko yakyo ku kukomawo kwa Kristo. Mu kiseera ekyo, 1Abakkolinso 15 kiri tuukirira era emibiri gyaffe ezifa zirifuusibwa okufuna omubiri ogutafa: “Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky’oli ow’ettaka, era tulitwala n’ekifaananyi ky’oli ow’omuggulu.” (v. 49).
Ku bikwata ku Malyamu, waliwo ebyayogerwa bibiri mu Lukka 1 eby’omugaso ogw’enjawulo: “… Simanyi musajja …” era “laba, nzze ndi muzaana wa Mukama; kibe ku nze nga bw’ogambye.” (v. 38) Malyamu yalaba ekisa eri Katonda (v. 30); yasembeza ekigambo ky’ekisuubizo, ekyamuleterwa Malayika Gabulyeri, so ekigambo kisobole okufuuka mubiri era Omwana wa Katonda asobole okuzaalibwa. Obunnabbi obugoberera bw’atuukirira:
Ezzadde ly’obwa Katonda lyali ly’akuva mu mukazi (Olubereberye 3:15) “Kale amateeka kiki? Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w’alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa …” (Abaggalatiya 3:19)
“Nze ndi kitaawe naye aliba mwana wange.” (2Samwiri 7:14) “Era nate nti Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali, Naye annaabeeranga mwana gye ndi …” (Abaebbulaniya 1:5b)
“Gwe oli mwana wange; Leero nkuzzadde.” (Zabbuli 2:7) “Kubanga ani ku bamalayika gwe yali abuuliddeko nti Ggwe oli Mwana wange; Leero Nkuzzadde ggwe.” (Abaebbulaniya 1:5a)
Okuyita mu kuzaala ekyali ekikolwa eky’obutonzi mu kiseera ky’ekimu ezzadde ery’obwa Katonda yateekebwa mu Malyamu; n’olwekyo, ye “Mwana we eyazaalibwa Omu yekka” ow’obulenzi (Yokaana 3:16), Omwana we omubereberye mu b’oluganda abangi (Abaruumi 8:29), olubereberye lw’okutonda kwa Katonda. (Okubikkulirwa 3:14), era omubereberye ow’ebitonde byonna (Abakkolosaayi 1:14-15).Omuntu yenna bw’aba mu Kristo, kyava abeera ekitonde ekiggya (2Abakkolinso 5:17).
Ebyawandiikibwa bino ebigoberera nabyo by’atuukirira: “Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.” (Zabbuli 22:10) era “Anankaabiranga nti Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja ery’obulokozi bwange. Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab’ensi.” (Zabbuli 89:27-28). ebintu ebyo ebyali ekitundu ku kujja okw’asooka okwa Kristo byayogerwa mu bulambulukufu ne Mukama eyazuukizibwa nga bwe bigoberera; “N’abagamba nti Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikibwa, nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli. N’alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa.” (Lukka 24:44-45)
Kiki ekitukwatako leero? Ne kaakano ensonga enkulu kwe kutuukirira kw’ebintu byonna ebyayogerwako edda eby’ebiseera byaffe. Okuyita mu Malyamu eyali tamanyi musajja era n’okuyita mu mununuzi yennyini buli bunnabbi okuva mu ndagaano enkadde kyatuukirizibwa edda. Okuyita mu bawala abagezi abatamanyi batamanyangako basajja era n’omununuzi yennyini obunnabbi bwonna mu byawandiikibwa ebitukuvu eby’ekiseera kino kaakano bituukirizibwa. Nga Malyamu bwe yakola mu kiseera kye, naffe tukkiriza ekisuubizo mu kwagala era ne tugamba, “… kibe ku nze nga bw’ogambye.” (Lukka 1:38). Mu kuddamu ebigambo bye, “Kubanga simanyi musajja …,” Malayika n’addamu, “Ne malayika n’amuddamu n’amugamba nti Omwoyo Omutukuvu alikujjira, n’amaanyi g’Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda.“ (Lukka 1:34-35)
Nga Malyamu bwe yasembeza ekigambo ky’ekisuubizo n’okukkiriza mwoyo mutukuvu n’amukako, bwe batyo n’abakkiria ab’amazima bwe basembeza ekigambo ekyasuubizibwa eky’ekiseera kino n’okukkiriza okw’amazima era ne bajuzibwa n’amaanyi g’egamu ag’omwoyo omutukuvu.
Tw’aweebwa ebisuubizo ebisinga obunene eby’ebiseera byonna era tugenda ku biraba ng’omwana w’omuntu, abawanguzi, n’obulumi bw’okuzaala buli tandikira mu kkanisa era ne mu biseera by’okwekugganya mu bungi okutwalibwa waggulu eri Katonda era ne ku ntebe ye.