Ebbaluwa Omwezi gw’okuna 2009
ABAZAALIBWA KATONDA BAGABANIRA WAMU OBUZAALIRWANA BWA KATONDA (2Peetero 1:3-11)
Font Face
Line Height
Paragraph Gap
Font Size
“Ezzadde lirimuweereza …” (Zabbuli 22:30; Isaaya 53:10; a.o.) era n’asembeza obuzaalirwana bwa Katonda 2Peetero 3:7). Bonna abaazaalibwa Katonda era nga baazaalibwa omulundi ogw’okubiri baana b’abulenzi n’abobuwala aba Katonda. Ekigambo eky’olu Greek gennao kitegeeza byombi “eyazaalibwa” “N’okuzaala” era nga kigenda eri Omwana wa Katonda era n’abaana b’obulenzi n’abobuwala aba Katonda mu ng’eri y’emu. Bw’oba nga owa ekyokulabirako ku muntu, okukyusa kwandibadde “okuzaalibwa,” nga ku Lubereberye 5, ekyokulabirako, we kyawandiikibwa nga kiddingganwamu: “Adamu n’amala emyaka kikumi mu asatu, n’azala omwana w’obulenzi … Seezi n’amala emyaka kikumi mu ataano, n’azala Enosi …” ku bikwata ku mukazi, kirina okukyusibwa nga “okuzaala.” “Adamu n’amanya kaawa mukazi we; n’abeera olubuto, n’azaala …”(Olubereberye 4:1). Ku bikwata ku Malyamu tusoma nti “… n’azaala omwana we omubereberye ow’obulenzi.” (Lukka 2:7).
Omutume Yokaana n’ayanjula mu bujuvu esomo lino (Yokaana 3:7; 1Yokaana 2:29; 1Yokaana 3:9; 1Yokaana 5:1; Iyokaana 5:18; a.o.). kyamazima nti buli kuzaala kugobererwa okuzaalibwa era nti ezzadde n’erifuna obulamu okuyita mu kuzaalibwa. “Oba nga mumanyi nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaalibwa ye.” (1Yokaana 2:29). “Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.” (1Yokaana 3:9). “Kubanga buli ekyazaalibwa Katonda kiwangula ensi; era kuno kwe kuwangula okwawangula ensi, okukkiriza kwaffe.” (1Yokaana 5:4).
Nga turunulira ku bawala abagezi, tulaba ebyafayo nga biddinggana n’ekitiibwa ng’ebyo ebyaliwo ku Malyamu: Yasembeza ekisuubizo, n’akikkiriza, era omwoyo omutuku mangu ddala n’amukako, bwe kityo ekigambo ne kifuuka mubiri. Kintu ky’ekimu ekikolebwa kaakano nabo bonna abali ekitundu ku kkanisa ey’omugole: basembeza ekigambo ky’ekisuubizo eky’ekiseera kino n’okukkiriza, mwoyo mutukuvu n’abakira. Era ekigambo ensigo ne kibikkulwa. Nga Malyamu nabo bagamba, “… kibe ku nze nga bw’ogambye.” bwe kituuka ku bawala abagezi, tewaliwo kutataganyizibwa kw’amuntu yenna. Tebamanyi musajja yenna, ow’ensigo yonna engennyi, ey’enjigiriza yonna etali ya Baibuli. Abawala abasirusiru bakkiriza okuvunuula okw’obusirusiru nga bagamba nti abasajja musanvu ab’enjawulo be balina okumaliriza omugole nti oba Mukama yamala dda okujja era n’ebirala bingi bwe bityo. Naye abawala abagezi tebakkiriza okuvunuula n’okumu. Be kigambo mugole, era ku lw’ekyo, nga balongoofu ddala nga bakkiriza nti ebisuubizo bya Katonda bifuuka by’amazima mu bo. Abaana b’okusuubiza bakkiriza ekigambo ky’okusuubiza era basembeza omwoyo gw’okusuubiza (Abaruumi 9:8; Abaggalatiya 4:28; Abaefeso 1:13).
Abawala abagezi tebalina ttabaaza zaabwe zokka omusana, balina n’ebibya omuli amafuta okujuza ettabaaza zaabwe so tebagenda wabweru. Kino kitujjukiza nnabbi Eriya, eyatumibwa eri namwandu ezalefaasi era n’amugamba, “Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey’obutta terikendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw’alitonnyesa enkuba ku nsi.”(1Bassekabaka 17:14). emmere y’etagibwa ku lw’omugaati; amafuta ky’etago kya ttabaaza. Nga bwe tusoma, tusanga ebigambo bye nga bikakasiddwa: “Eppipa ey’obutta teyakendeera so n’akasumbi k’amafuta tekaggwaawo ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.” (1Bassekabaka 17:16). bwe kityo bwe kiri kaakano: ebintu byombi ebitumala byakutuweebwa okutuusa ng’ekuba eya ttogo ng’etonye (Isaaya 44:3; Yeremiya 5:24; Yakobo 5:7: a.o.). Mu kubuulira “The Spoken word is the origina seed” Ow’oluganda Branham yagamba, “… omubaka ono eyafuukibwako amafuta bw’alituuka, kituufu, alisiimba ensigo eya Baibuli yonna, okujja okuva ku musota eri omubaka mu nkuba eya ddumbi. … Awo mu nkuba eya ttogo walyoke wajje embalasi ng’esibwa wansi: Baibuli ng’etuukirira eri ebbaluwa.”
Tukkiriza obubaka bwa Eriya obw’ekiseera kyaffe ne tutukuza emmeme zaffe n’emmere ey’omuwendo ey’omwoyo. Abawala abagezi balaba nti ebibya kaakano bijuzibwa amafuta so basobole okujuza ettabaza zaabwe. Kino kibawula nate okuva ku bawala abasirusiru abeyawula bennyini ku kkanisa era n’okuva ku kibya ky’amafuta, ekikulembera ku ttabaaza (Zekkaliya 4:2; Okubikkulirwa 1-3).
Ekisinga, ekintu ekikulu kwe kukkiriza awatali kya kwekwasa wansi w’okulunggamizibwa buterevu okuva ku mwoyo mutukuvu era n’okufuna obumanyirivu bwe byo Katonda bye yasuubiza mu Kigambo kye, wokka ebigambo bino biryoke bifuuke by’amazima gye tuli: “Aweereddwa omukisa eyakkiriza; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wagambibwa Mukama.” (Lukka 1:45). ekisuubizo okulongoosebwa nga 2Abakkolinso 6:14+ 7:1, era n’okulongoosa ebintu byonna okw’enkomeredde nga bwe byali ku Lubereberye. Naye abasiru bakyakubaganya ebirowoozo ku masomo ag’enjawulo, abagezi bali kulaba okutuukirira kw’ebisuubizo.
Ebikwata ku kweteekateeka kw’omuntu kin’omu okw’abo bonna ab’ekkanisa ey’omugole, tulina okutuuka ku kutegeera kw’obumalirivu nti ebiseera ebisembayo ng’embaga tennatuuka, Omugole yennyini tebimukwatako byonna ebigenda mu maaso ebimwetoolodde, teyetaga kumanya abantu ky’ebagamba ne kyebakola, wabula naye yeyongera okweteekateeka. Nnabbi Yeremiya yagamba, “Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby’obuyonjo oba omugole ebyambalo bye?” (Yeremiya 2:32). Eyo y’ensonga kaakano nabo abali ekitundu ku kkanisa ey’omugole: banazibwa mu Kigambo kya Katonda (Abaefeso 5:26); beraba mu ndabirwamu y’ekigambo (Yakobo 1:19-270; bambala bafuta entukuvu, nga bwe butuukirivu bw’abatukuvu. (Okubikkulirwa 19:8), ne beteekateeka okusisinkana anaawasa omugole.
Omutume Yakobo yatulabula ddala okuza ku mabali obubi bwonna tusobole okusembeza ekigambo n’obuwombeefu obungi, obuyinza okulokola emmeme zaffe. Yeyongera ng’agamba, “Naye mubeerenga bakozi ba Kigambo, so si bawulizi buwulizi, nga mwerimbalimba.” ne yeyongera mu maaso n’alyoka awandiika, “Kubanga omuntu yenna bw’aba muwulizi w’ekigambo, so nga si mukozi, oyo afaanana ng’omuntu eyeeraba amaaso ag’obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu …” Ekisembayo tugambibwa nti okwetunulira katono mu ndabirwamu tekimala: “Kubanga yeeraba n’agenda, amangu ago ne yeerabira bw’afaananye.” (Yakobo 1:22-24).
Omwoyo wa Katonda abikkula ebijja byonna eri buli muntu kin’omu. Alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olwobutuukirivu, n’olw’omusango (Yokaana 16:7-15), Ekikulembera mu mazima gonna era n’obuwulize. Tufuuka bakozi b’ekigambo era ng’atusobola okutambula ne Katonda nga Enoki bwe yakola, mu kussekimu okw’enkomeredde n’ekigambo kye era n’okwagala kwe. Mu Abaefeso 5:27 tusoma nti Mukama yennyini aryereetera ekkanisa etanenyezebwa, nga terina bbala newakubadde lufunyiro. Twetaga okusoma ebyawandiikibwa eby’ekitiibwa okusobola okuyiga ekyo ekitwetagisa buli omu ku ffe kin’omu okubeera mu bulamu obusiimisa Katonda. Dawudi yabuuza, “Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu? Oyo alina emikono emirungi, n’omutima omulongoofu; Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, so teyalayiriranga bweerere.” (Zabbuli 24:3-4). Mu kubuulira ku lusozi Mukama waffe yagamba, “Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: Kubanga abo baliraba Katonda.” (Matayo 5:8) Dawudi, mu buntu eyali yagumiikiriza ebigezo bingi yawandiika ebigoberera wansi w’okulunggamizibwa n’omwoyo omutukuvu: “Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby’amazima mu mutima gwe. Atawaayiriza n’olulimi lwe, so mukwano gwe tamukola bubi, so takkiriza kibi ku mulirwana we.” (Zabbuli 15:2-3)
Kyandibadde kyogerwa eri buli mukkiriza yenna okulabira ku 1Abakkolinso 6:9-10 okwekebera obulamu bwe ne Baibuli okusalawo oba nga akyaliko n’obuzibu obutono obuyinza okumugana okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. Aboogera obubi ku bantu abalala balirekeebwa wabweru, bwe batyo abasinza ebifaananyi n’abala abaayogerwako mu kyawandiikibwa ekyo. Mu Baggalatiya 5:19-21 omutume yatuwa ekiwandiiko ky’ebintu bwe bityo. Ekyawandiikibwa ekigenderawo ku ekyo kirina okuwa eky’okuddamu eri buli muntu kin’omu, awatali ekyo ekirabibwa mu ndabirwamu kisigala bwe kityo nga bwe kyali mu kusooka. Wokka ng’atutute okulabula n’obumalirivu bwe tunakola ekyo ekyawandiikibwa mu Abaebbulaniya 12:14: “Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n’obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama …” Kyamugaso nnyo eri buli omu ku ffe okusangibwa mu kukkiriza okutuukiridde n’obuwulize nga tutambulira ku kkubo etono. Obubi bw’omulabe bubikkulwa n’abakkiriza abassa esira ennyo ku ebyo abalala bye bakoze era nga mu ndowooza zaabwe tebandikikoze. Kyandibadde kirungi singa twekebera bennyini ng’abantu okutegeera bintu ki ebyetagisa okulongoosa mu bulamu bwaffe, so tusobole okuba abeeteeseteese okusisinkana Katonda, era n’okutwala okulabula kuno mu mutima: “Era Yeekaalu ya Katonda yegatta etya n’ebifaananyi? “… oba omusana gussakimu gutya n’ekizikiza? …oba mugabo ki eri omukkiriza n’atali mukkiriza?” (2Abakkolinso 6:14-18). Tulina okukkiriza ebintu byonna ebya Mukama ng’ebiragiro: “… so temukomanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza, Era nnabeeranga Kitammwe gye muli, nammwe munabeeranga gye ndi abaana ab’obulenzi n’abobuwala bw’ayogera Mukama Omuyinza w’ebintu byonna.”
Nate omulundi omulala omutume yateeka esira ku bintu ebikulu: “Kale bwe tulina ebyasuubizibwa ebyo, abaagalwa, twenaazengako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo, nga tukkiriza obutuukirivu mu kutya Katonda.” (2Abakkolinso 7:1).
Mu buli mulembe okuyita mu byafayo byonna, abo bokka abaaweebwa omugabo mu kulondebwa kw’ekisa (Abaruumi 11:5) baawulirisa mwoyo kyagamba amakkanisa (Okubikkulirwa 2+3); abamu baazibwa amaaso (Abaruumi 11:7). Kaakano, kino nga tutuuse ku kukomawo kw’oyo anaawasa omugole, okuyitibwa okusembayo n’okweteekateeka okw’ekkanisa ey’omugole kugenda mu maaso. Katonda akoze buli kintu; atuwadde omubaka era n’obubaka era atukulembedde mu bulambulukufu okutuuka mu bulambulukufu. Oluvannyuma lw’omuntu eyaganira ddala eddiini lye Nga bwe kilambulurwa mu Kubikkulirwa nga Baabulooni ekinene, okuyitibwa kugenda mu maaso kubanga ekiseera ekisembayo mu Kubikkulirwa 18:4 eri bonna abakkiriza ab’amazima: “Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.” Kuno kwe kuyitibwa okusembayo okw’abonna abaalina omugabo ogw’ekkanisa ey’omugole erina n’okwekweka ng’okukomaw kw’anaawasa omugole tekunnatuka. Okuyitibwa n’okweyawula kugobererwa n’okulongoosebwa okujuvu. Eyo y’engri, mu kiseera ekisembayo, ebintu byonna bizibwayo nga we byali edda, nga bwe byali ku Lubereberye lw’ekkanisa y’endagaano empya.