Circular Letter
Ebbaluwa 2006 Omwezi gw'okussatu/n'ogw'okuna
Ewald Frank
Navigate
Kapitoly
expand_more
Navigate
Kapitoly
Navigate
Kapitoly
Jump to any chapter without leaving the reader.
Kapitola 3
Esira ku buyisiramu
3 / 6
Ebyakolebwa mu gw'omwenda nga 11, 2001, abatujju abayisiramu bakola bo kye bayita "ekitukuvu" ekigendererwa kyabwe oluvannyuma lw'okusala obulago bw'omuvuzi wennyonyi owa America ba wamba ennyonyi mu n'geri ya kikusikusi ne bagiyingiza ku munala gwe kizimbe ky'obusuubuzi bw'ensi yonna ekiri mu New York, Kwali kuzuukuza kwa busungu eri amawanga ga bazungu era ne kibaletera okueera n'okutunulira okw'okumpi eri e'nzikkiriza y'obuyisiramu eya "nnabbi" Mohammed. Abantu ng'ekumi ssatu ba zikkirira era ne ggwanga lya America ya salawo okulwanyisa obutujju. Eky'ewunyisa ku ekyo ekigendererwa kyabwe egwanga lya USA kaakano evunanyizibwa mu kulwanyisa abatujju abasinga obunji era ekyennaku tebafayo ku dembe lya bantu n'amateeka ge gwanga ag'abantu abakwatibwa mu kuwanyisiganya amasasi.
Waliwo bangi abayisiramu mu buwarabu ebibinja bya batujju nga ebilala ebitali bya bayisiramu, naye obuyisiramu, ebibinja bya batujju ebikolera mu mawanga manji, nga batukira ddala wala okutuusa mu Phillipines. Ekigendererwa kya ekikulu kwe kumulisa omusingi gw'ebyafayo eri obukyayi n'obutujju obunji obulwanyisa Isiraeri nga kye kifuga e'nzikkiriza eno. Mu 1982, mu biseera nga ndi mu Misiri, n'asoma qurani yonna ne Surahs 114. Abantu be nasinsikana mu Cairo ne Alexandria baali bagaliza era nga balabirila. Okunyaniriza kwe badaga kwali kusufu. Bwe nali soma qurani, nategeera nti tewali kitundu ku yo awali okussekimu n'endagaano enkadde n'empya. Mu kweyongerayo sasobola kufuna ku ekyo eky'esitaza Mohammed n'ekimuletera okubeera n'obukyayi bw'ebutyo eri abayudaaya. Mu surahs 5:19 nakyo kyogera ku Isiraeri, awo wennyini ayitwa "Abantu be kitabo", "… muyingire mu kifo kyonna Katonda kye yaabawa." Omunaggwanga omuyisiramu alangilira atya nti Isiraeri terina kubeera mu nsi yaabwe?
Oluvannyuma lwokka nga maze okusoma ennyanjula y'obuyisirama era nebitabo ebilala ku buyisiramu ne "nnabbi" "Mohammed, nategera ensibuko y'obukyayi buno. Mohammed yali tasobola kusoma oba kuwandiika; n'olwekyo yali esigama kw'ebyo bye yali amanyi era ne kw'ebyo abalala bye baali bagamba. Yakozesa eddowooza okuva mu bukristayo bw'ensi, ekyogera nti Katonda alin'omwana mu ggulu, era nakitwala nga kya buvoozi. N'olwekyo teyawulirisa bakristayo. Baali basasana wonna era te bamutuusako buzibu bwonna.
Embeera n'abayudaaya, abaali nga eggwanga mu Yatrib/Medina, ky'ali kya njawulo nnyo. Ekusuubira mubo kw'ali kujja kwa nnabbi Eriya, eyali alina okutuuka nga olunaku lw'omusango terunatuuka. Ebirowoozo bino byamusikkiriza era nga tebisobola ku muvamu mu birowoozo bye. Okusikkirizibwa na kino, ya genda mu mpuku y'olusozi Hira, ekisangibwa nga 5km mu mambuka ga Mecca. Awo yawulira eddoboozi erikanga nga ligamba, "Soma!" n'addamu, "Sisobola kusoma!" nate, "Soma!" "Sisobola kusoma" nate n'agenda ku lusozi awo eddoboozi ne ligamba, "O mohammed, oli mubbaka wa Allah era nze Gaburyeri." yatunulira waggulu era ngalina okulaba Malayika mu bire eyali amaze okusasanya ebiwawatiro bye ku nsi yonna.
Ekituufu mu nsonga kiri nti bamalayika tebalina biwawatiro, aba abacherubin ne abasseraafi be balina ebiwawatiro. Gabudheri era ne Mikayiri balabika mu kifaanani ky'omuntu nga bwe tukisanga nga kyakakasibwa ebiseera bingi mu bya wandiikibwa ebitukuvu.
Okuva ku lunaku olwo y'ewulira nti ye nnabbi asembayo eyayitiibwa, okuyita mu oyo okubikkulirwa okusembayo gye kulin'okuweebwa eri omuntu. Bino ebyenkulankulana mu mawanga nti abalala bonna, amaggwanga amalala ag'abawarabu nga abakristayo n'abayudaaya, baali balin'okwewayo eri obubbaka buno obusembayo okuva waggulu. Okutuusa ne kaakano kino kisigala nga omusingi gw'okukkiriza eri abayisiramu. Batwala ekyo nti kyabuvoozi omuntu yenna bw'atakkiriza okubikkulirwa kuno okusembayo, eryo Gabudhyeri mwennyini – nga bwe bagamba – yabiwa omubbaka wa Allah.
Abayudaaya mu Yatrib/Medina te bakkiriza Mohammed nga nnabbi wabwe eyasuubizibwa, yesitala mu mwaka 627 yayita abalwanyi bonna, mu biseera ebyo eyawangula nafuga ebifo bya bayudaaya n'asala omuwendo ogusinga ogwa basajja (Abasajja nga 800) era ne basitula abakazi n'abaana. Okuva kw'olwo >>Jihad<
E'nzikkiriza y'obuyisiramu yetagisa okwagala kwonna era n'okwewayo okw'ememe, omwoyo, n'omubiri. Ku lunaku luno obukyayi busooka ne butunuzibwa ku Isiraeri, ensi z'obuyisiramu bu kiyita "Setaani", era eri abo bonna abakakasa eggwanha lya Isiraeri, okusingira ddala USA. Akaseera katono akayise ba fuulumya ebifananyi bya katuni nga Mohammed akubiddwa mu bifananyi nga omubi ayaniriziddwa nabo abagala waggila obukyayi okugenda mu maaso.
Ekigendererwa kye ddinni y'obuyisiramu kisigala kye kimu, ekyokulabirako ekyo mwezi ogw'ekitundu okutuuka ku mwezi omujuvu nga kitwalibwa eri ensi yonna mu nzikkiriza y'obuyisiramu. Okufuulumya kw'ebifanyanyi kumi nabibiri ku funye obuwagizi ku >>Jihad<<. Ensi zabazungu zatekebwa mukutya era zikola buli kisoboka okukakanya abasiramu abakambwe. Kulw'ensonga eno enyonyi ya bangereza yaweera bonna abagenda mu sawudi arabia ne BA teri akkirizibwa okuleta Baibuli.
Kaakano okusinga nga we by'ali esira yaffe ekulu kiri kumpi era n'amakati g'ebuvanjuba: Isiraeri, Syria, Iraq, era n'endala nga Iran. Nga bwe tusobola okubifuna ku mikutu gy'amawulire n'ebifumizibwa, Russia era ne China bawagira ensi z'obuyisiramu era bagezako okutwala omurimu gw'obutabaganya mu kusobola okubafuga. Mu biro bino tetugende mu binji eby'obunnabbi bwa Baibuli, obw'ogeera ku mawanga g'amambuka ne buvanjuba – mu kukolagana ne Isiraeri - , naye emirimu egigenda mu maaso biri kubeerawo mu kutukkirizibwa n'ebyo ebikolebwa ebye biro by'enkomerero.
Omuyisiramu omukambwe owa Iran Mahmoud Ahmadinejad, Yalaga obukyayi bwe mu lwatu eri Isiraeri emirundi minji. Era agenze wala nnyo mu bigambo byayogera okugaana Isiraeri: singa abayudaaya ba tamira, tebandibadde wano kaakano.
Ku kifo kye bijukizo Yad Vashem mu Yerusalemi enkambi zabantu kin'omu abattibwa era abantu bonna abattibwa ekirindi era ne boky'ebwa babawandika mu mannya era ne mu muwendo. SS-myrmidons bennyini baali, kituufu, nga bakuma ebiwandiko ebituufu ku bikolwa byabwe eby'okutta mu buli nkambi. Kino si kituufu; amawulire ku biwandiko ebyo kikakasa awatali kubuusabuusa nti kimu kya kussatu ekyabayudaaya battibwa mu mawanga ge bulaya mu "Third Reich" mu n'geri ezisinga obubi. Lwaki okuwakanya kw'okutta okwe kirindi kaakano kwandibadde ensonga okugaana eddembe lya Isiraeri okubaawo tekokola makulu eri omuntu yenna owebirowoozo ebirekana. Bwo bukakafu bwa ddala nti omulabe wa Isiraeri ajja kunonya e'ngeri yonna esoboka okw'ongeera okuleta obukyayi obusinga.
Katonda mwennyini yawa ebisuubizo eri Isiraeri mu Amosi 9:14-15 ekyo kimaze okutukirizibwa eri amaaso gaffe, "… Era ndibasimba ku nsi yaabwe so tebalisimbulwa nate mu nsi gyebawadde, bw'ayogera Mukama Katonda wo." Ku abo abasasanyiza abantu be ne bawula ensi yaabwe abalangilirako emisango ezigoberera: "… era ndi bakwatira ekisa abantu bange kubanga bwe busika bwange Isiraeri, be basasanyiza ne bava mu nsi yaabwe." (Amosi 3:2). omusango guno nga bwe guli beerawo nga amawanga gonna agetoolodde nga gakunganye okulwanyisa Isiraeri kilagibwa emirundi minji mu Kigambo kya Katonda (Ezeekyeri 38; Yoweeri 4:9-17; Zekkaliya 14:12-21; Okubikkulirwa 19:11-21).
Okubikkulirwa 9:13-19 ayogera ku bamalayika abana abomusango nebasumululwa abaali bategekeddwa essaawa, n'olunaku, n'omwezi, n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu. Ekifo kaakano kiteekebwateekebwa,era awatali kutondawo beera y'ebiro by'enkomerero, ffe mu bulambulukufu tusobola okulangirira, "Muyimuse emitwe gyammwe, kubanga obununuzi bwammwe bu naatera okutuuka!" Okukomawo kwa Kristo mazima kutuuse. Katonda kye yagamba Ibulayimu kisigala emirembe gyonna nga kya mazima era e'nzikkiriza zonna n'obuwangwa biri n'okubitwala mu mitima gyabwe, "Nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolomeranga naamukolimiranga Nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mmwe biriweerwa omukisa." (Olubereberye 12:3). Nebyo ebitafuusibwa byebyo bye yagamba okulaga Isiraeri, abantu be, "… kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunye y'eriiso lye!" (Zekkaliya 2:8).
Available translations
PDF
EPUB