Ebbaluwa Omwezi gw’okuna 2009
OKUKOMAWO KWA KRISTOERA N‘OKUJJA OKW‘ENJAWULO
Font Face
Line Height
Paragraph Gap
Font Size
“Era oba nga ngenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi, nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.” (Yokaana 14:3).
Ow’oluganda Branham yagamba: “Waliwo okujja okw’emirundi essatu okwa Kristo. Yajja lumu okununula abagole be. Ajja omulundi oguddako mu kukwakulibwa okutwala omugole we. Ajja nate mu kufuga okw’emyaka lukumi n’omugole we.” (Ekigambo ekyayogerwa y’ensigo eyasooka).
Okujja kwe okw’asooka kw’ogerwako mu njiri enya, okuvira ddala ku kuzaalibwa kwa Mukama waffe era omulokozi okutuusa ku kutwalibwa kwe mu ggulu.
Nga Matayo 25, Mukama waffe ajja ng’anaawasa omugole okutwala omugole we wamu naye mu kitiibwa: “…n’abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey’obugole: oluggi ne luggalwawo.” (Matayo 25:10).
“Laba mbabuulira ekyama tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak’enkomerero bwe kalivuga: Kubanga kalivuga, n’abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.” (1Abakkolinso 15:39-58).
Mu 1Abasessaloniika 4 Omutume Pawulo naye yawa ebyokulabirako ku ku komawo kwa Yesu Kristo n’alaga ekyo mu bujuvu: “ Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama wafe teltulisooka abeebaka. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’okwogerera waggulu n’eddoboozi lya Malayika omukulu n’ekkondeere lya Katonda: n’abo abaafiira mu Kristo be baalisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: Kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama ne Mukama waffe ennaku zonna.” (vv 13-18).
Omutume Yokaana yawandiika, “Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw ‘alirabi sibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw’ali.” (1Yokaana 3:2)
Buli kujja kwa Mukama kubeera mu mubiri – “parousia”.
Mu 2Abasessaloniika 2:1-2 omutume Pawulo yalabula abakkiriza, ng’agamba, “Naye tubeegayirira, ab’oluganda, olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n’olwokukunggaana kwaffe gy’ali; obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw’omwoyo, newakubadde olw’ebbaluwa efaanana ng’evudde gye tuli …”
Ekitukwatako kwe kukomawo kwa Mukama waffe omwaagalwa n’okulabula buterevu okw’aweebwa gye tuli fenna okukwata ku kukomawo kwe okw’okubiri: “Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng’ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.” (2Yokaana 1:7). Mangu ddala oluvannyuma lwa kino tusoma ekyawandiikibwa eky’amaanyi, “Buli muntu ayitirira natabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina kitaffe era n’omwana.” (v. 9)
Okuggaana kw’okukomawo kw’omubiri okwa Mukama waffe era omulokozi kye kisinga obubi era kiteekebwa mu luse lwe lumu ng’omulabe wa Kristo; n’olwekyo, mangu ddala kigobererwa n’okulabula okuddako: “Omuntu yenna bw’ajjanga gye muli n’ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga…” (v. 10). Mugezese emyoyo; mugezese abayigirizwa n’enjigiriza yaabwe!
Okunogola okw’ow’Oluganda Branham: “Kaakano, tutunulidde mu maaso olw’okujja kwa Mukama mu mulembe gwaffe … okukomawo kwa Mukama Yesu mu mubiri Okutwala abantu abalabibwa mu mubiri, abaaweebwa ekitiibwa mu n’omusaayi gwe ogw’abanaza.” (Okwegatta okutalabibwa okw’omugole wa Kristo, omwezi gw’ekkumi n’ogumu 25, 1965).
Omuntu yenna aggaana okukomawo kw’omubiri okwa Yesu Kristo aba afuggibwa n’owoyo gw’omulabe wa Kristo. Kino nakyo kigenda eri abo abateeka omwoyo ku kukomawo okw’okubiri era nga bayigiriza nti Mukama y’ajja dda. Baazibibwa amaaso n’obutayagala kuyigirizibwa era ng’abeteeka bennyini waggulu w’ekigambo kya Katonda. Ku kukomawo kwa Yesu Kristo, buli kintu kijja kubeerawo mazima ddala nga bwe kyawandiikibwa, ekyokulabirako: “Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw’atyo nga bwe mumulabye nga agenda mu ggulu.” (Lukka 24:50; Ebikolwa by’abatume 1:11). Tulina okusa ekitiibwa mu kino, kubanga BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA mu Kigambo kye.
Mu ngeri y’emu, ebyawandiikibwa byonna ebyogera ku kujja okw’enjawulo, ebitakwatagana n’akkanisa, n’okukwakulibwa, birina okwogerwa mu butuufu bw’abyo. Tumanyi nti okukomawo kwa Mukama waffe, ekyokulabirako okukwakulibwa, kubeerawo ng’ebibonyoobonyo ebinene tebinnatuka. Ow’oluganda Branham yakiddinggaana emirundi mingi. Pawulo yawandiikira abakkiriza: “Kubanga esuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey’okwenyumiriza, bwe mutaba mmwe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe?!” (1Abasessaloniika 2:19)
Wakyaliwo okujja okulala okwa Mukama waffe okutakwatagana na kkanisa kwogerwako mu byawandiikibwa eby’enjawulo, ekyokulabirako, mu Matayo 25, okuva ku lunyiriri lwa 31: “Naye Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw’alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye …” mu 2Abasessaloniika 1:7-8 tusoma, “ … mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza bwe, mu muliro ogwaka ng’awalana eggwanga …” ebyokulabirako ebirala bisangibwa mu kubikkulirwa 16:15-16 n’okubikkulirwa 19, okuva ku lunyiriri 11. kyetagisa okuwa ekyokulabirako eky’endagaano enkadde okumanya amazima ddala kye bategeeza era n’ekyawandiikibwa bwe kiri.
Ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe mu Matayo 24:29-30? “Naye amangu ago, oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo eky’omu nnaku ezo, enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n’emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n’amaanyi ag’omu ggulu galinyeenyezebwa: awo lwe kalirabika akabonero ak’Omwana w’omuntu mu ggulu: n’ebika byonna eby’omu nsi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w’omuntu ng’ajja ku bire eby’eggulu n’amaanyi n’ekiitibwa ekinene.”
Ekyawandiikibwa tekyogera ku kujja kw’anaawasa omugole, wabula ku kujja kw’Omwana w’omuntu oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, enjuba ng’efuuse kizikiza era nga n’omwezi tegulyolesa musana gwagwo. Okujja kuno kugwa mu kiseera ky’akabonero ak’omukaaga (Okubikkulirwa 6 okuva ku lunyiriri 12). Okubikkulirwa 1:7 n’akyo kijjulira ku ekyo: “Laba, ajja n’ebire; era buli liiso lirimulaba, n’abo abaamufumita; n’ebika byonna eby’omu nsi birimukibira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.”
“… era balitunuulira nze gwe baafumita …” (Zekkaliya 12:9-10).
“Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omuggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” (Danyeri 7:13-14).
Okubikkulirwa 11, okuva ku lunyiriri 15, kyongera okutunyoonyoola: “Malayika ow’omusanvu n’afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe.”
Mu kyawandiikibwa kino tusoma ku malayika ow’omusanvu ow’akagombe, ayogerwako mu Kubikkulirwa 10:7. Mu mwezi gw’okusatu 17, 1963, Ow’oluganda Branham yagamba bino ebigoberera mu kuwa ekyokulabirako ku kyawandiikibwa kino mu kubuulira kwe okw’enjiri “The Breach…”: “Siri kukikola waggulu ekyo … bwe kiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Nja kusoma gye muli okuyita mu kitabo: ‘Naye mu nnaku z’edoboozi lya Malayika ow’omusanvu bw’alifuuwa akagombe, ekyama kya Katonda kiri tuukirira, nga bwe yakilangirira eri abaddu be bannabbi.’” BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA WA Ow’oluganda Branham talina era tayinza kukwatibwako. Mu bigambo by’ebimu yatuwa okulambulurwa kuno ku kikwata ku Malayika ow’omusanvu ow’akagombe era n’ekikolwa eky’okukka wansi nga Malayika ow’endagaano: “Era obubonero bwe bw’abembulwa era ebyama ne bibikkulwa, wansi n’ewajja Malayika, omubaka, Kristo, ng’atadde ebigere bye ku nsi era ne ku nnyanja ne musoke ku mutwe gwe. Kaakano, jjukira, Malayika ono ow’omusanvu ali ku nsi mu kiseera ky’okujja kuno.”
Naye, w’etegereze nnyo: si ku kukomawo kwa Kristo, omugole we bw’amussinkana ng’anaawasa omugole mu bbanga, wabula bw’akka wansi nga Malayika w’endagaano kye kino, si Malayika w’omusanvu, wabula Malayika w’omusanvu ono ku nsi. Kibeerawo si mu kubikkulibwa kw’obubonera mu 1963, wabula oluvannyuma ng’obubonero bubembuddwa. “… era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye.” (Malaki 3:1b).
Malayika ow’omusanvu ow’akagombe ayannjulwa ku kubikkulwa okw’akabonero k’omusanvu. Mu kubuulira kw’enjiri ye ekwata ku kabonero k’omusanvu, Ow’oluganda Branham yasoma akanyiriri akasooka kokka mu ssula eyo 8 ku kusirikirira okw’ekitundu ky’esawa mu ggulu. Naye buterevu ddala oluvannyuma lwa kino, Yokaana yalaba ekyo ekyawandiikibwa okuva mu kanyirira ako 2 “Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu.” Mu Baibuli ey’oluebbulaniya ekigambo shofar kikozesebwa, mu Baibuli zaffe ekya kyusibwa nga “akagombe.” Ekigambo shofar nakyo kisangibwa mu bifo ebirala mwenda (Okubikkulirwa 8:6; 8:8; 8:10; 8:12; 8:13; 9:1; 9:13; 10:7; 11:15). Kino kilaga mu lwatu nti ebintu by’obubonero omusanvu tebikwatagana na bamalayika omusanvu ab’ekkanisa (Okubikkulirwa 2+3), wabula b’amalayika omusanvu ab’obugombe abayimirira mu maaso ga Katonda.
Oluvannyuma lw’okufuuwa kwa b’amalayika abana ab’obugombe obusooka shofar yaabwe, eyogera bw’eti, “Zibasanze, zibasanze, zibasanze, abatuula ku nsi, olw’amaloboozi agasigaddeyo ag’akagombe/shofar ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa.” (Okubikkulirwa 8:13). Mu ssula 9 Malayika w’okutaano n’owomukaaga n’ebafuuwa obuombe bwabwe era yekka ow’amalayika ow’omusanvu y’asigalawo okuwulirwa. Malayika ow’omusanvu mu Kubikkulirwa 10:7 mu bulambulukufu si ye mubaka w’omulembe gw’omusanvu ogw’ekkanisa, wabula Malayika ow’omusanvu ow’akagombe. BW’AYO BW’AYOGERA MUKAMA ow’Oluganda Branham awatali nsobi yonna awa ekyokulabirako eri eddoboozi ery’amalayika ow’omusanvu ow’akagombe, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira.
Ow’oluganda Branham yawa ekyokulabirako eky’okubikkulirwa 10 mu kwegatta n’obuweereza bwe, yakozesa ekubo ery’obungi – “ebyama.” kino kye kyawulira ddala eky’omugaso kubanga kyali kiyita mu mubaka w’omulembe gw’ekkanisa ya Lawodikiya nti ebyama bino byonna byali bya kubikkulibwa, okuva ku Lubereberye 1 okutuuka ku ssula esembayo eya Baibuli. Ekyo kye, kituufu, engri bwe kyatuukirira. Gw’ali mulimu gw’omubaka asembayo okuleeta obubaka obusembayo. Okubikkulirwa 10:7 eyogera ku “kyama kya Katonda” mu ng’eri y’ekintu ekimu, era kirituukirira Malayika w’omusanvu bw’alifuuwa akagombe. Kyawandiikibwa mu bulambulukufu mu byawandiikibwa. Kristo kye kyama kya Katonda ekibikkuddwa (1Timoseewo 3:16; Abakkolosaayi 2:2-3; a. o): “… emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n’okutuuka ku bugagga bwonna obw’okumanyira ddala okw’amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, … omuli obugagga bwonna obw’amagezi n’obwokutegeera.” Ekyama kya Katonda mu Kristo kyasigala nga kikwekeddwa eri Abayudaaya mu kiseera ekyo, wabula ekiseera kyabwe bwe kirituuka, ekiseera bwe kirituuka kiribikkulwa gye bali.
Ebikwata ku nsonga eno, ekigambo kya Katonda nakyo kirambulukufu era nga tekiyinza butategeerebwa. Ensobi enkulu ekolebwa obunogole n’ebyawandiikibwa mu butuufu, ebyogera ku kujja okw’enjawulo bukolera ku kukomawo kwa Kristo – okujja kwe okw’okubiri. Ky’etagisa nnyo okutwala ebyawandiikibwa era n’okubiteeka nga bwe birina okuba buli kyawandiikibwa mu ntegeka yakyo ey’obwa Katonda. Ekiseera kijja ekya buli muntu okussekimu ne Katonda era n’ekigambo kye. Wa mukisa oyo akikola ekyo wano era kaakano.
Mu ndagaano empya, ekitundu ekisooka kyokka ekya Malaki 3:1; ekilaga Yokaana Omubatiza, ky’ogerwako: “Oyo ye yawandiikwako nti, laba, ntuma omubaka wange mu maaso go, alikukulembera alirongoosa ekubo lyo.” (Matayo 11:10). Ekitundu eky’okubiri ebikwata ku Malayika w’endagaano, agenda okujja mu Yeekaalu ye entukuvu, tekyayogerwako eyo, kubanga kyali tekinatuukirira mu kiseera ekyo. Ekisuubizo kya Malayika w’endagaano kyaliwo edda era ne kaakano kikyaliwo n’okutuusa gye bujja mu maaso.
“…era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw’ayogera Mukama w’eggye. Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga alingganga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow’aboozi.” (Malaki 3:1b-2).
Mu Kubikkulirwa 11:1 Yeekaalu eyazimbibwa nate ekipimo kyayo kiragibwa nga mu 2Abasessaloniika 2:4-8, abalabe ba Kristo baalituula mu Yeekaalu ya Katonda, wabula mu kujja okwo eri Abayudaaya, era Mukama alitta omubi n’omukka ogw’omu mimwa gye. (Isaaya 11:4).
Mu Kubikkulirwa 10 tulaba Malayika w’endagaano ng’akka wansi ne musoke ku mutwe gwe, ng’ayambadde ekire (v. 1) Okuva nga ekintu kino bwe kyaliwo oluvannyuma lw’okubikkulwa kw’obubonero, alina akatabo akabikkuse mu mukono gwe. Alyoke, nga n’annyini byo omutuufu, n’ateeka ebigeere bye ku nsi era ne ku nnyanja (v. 2), “… n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ddene ng’empologoma bw’ewuluguma …” Ekyo ky’ekiseera ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo (v. 3). ebyayogerwa te bikwata ku ffe, kubanga tebikwata ku kkanisa era tebyakkirizibwa kuwandiikibwa: “Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye byogedde, so tobiwandiika.” (v. 4).
Tusseekitiibwa mu kusalawo kw’obwaKatonda ne tumulekera ebintu by’agenda okukola y’ennyini. Awo wokka Malayika w’endagaano, aliyimirira ku nsi era ne ku nnyanja, okuyimusa waggulo omukono gwe ogwa ddyo ng’agutunuliza mu ggula n’alayira “… oli aba omulamu emirembe n’emirembe eyatonda eggulu n’ebirimu, n’ensi n’ebirimu, n’ennyanja n’ebirimu, nti tewalibeera kiseera nate…” mu ekyo nga tw’eyongerayo, ebiseera biriggwaawo; tewaliba nate kulwawo kulala. “Naye mu nnaku z’eddoboozi lya Malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa ekyama kya Katonda ne kiryoka kirituukirira, ng’enjiri bw’eri gye yabuulira abaddu be bannabbi.” Mu ssula 11, oluvannyuma lw’obuweereza bwa bannabbi ababiri nga bumalirizibwa era ne batwalibwa mu ggulu mu kire v. 12), Malayika ow’omusanvu alyoke afuuwe akagombe ke, nga bwe kyalangirirwa mu Kubikkulirwa 10:7, era n’obwakabaka bwa Katonda bulangirirwa. Eky’enkomeredde buli kintu kiri ntegeka etuukiridde.
Nnabbi Danyeri yalaba edda engeri Malayika ng’ayimu omukono gwe n’alayira era n’awandiika nti okuva kaseera ako n’okutuuka ku kufuga kw’obwakatonda awo walibeerawo emyaka essatu n’ekitundu zokka ezisigaddewo “Nti Eby’ekitabo ebyo birituusa wa okukoma? Ne mpulira omusajja ayambadde bafuta, eyali waggulu w’amazzi g’omugga ng’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’omukono gwe ogwa kkono eri eggulu, n’alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna, nga birituusa ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera: era bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag’abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biyoka biggwaawo.” (Danyeri 12:6-7). Katonda yandiba teyakyogeera mu bulambulukufu bungi. Okusingira ddala esomo lino tuyinza okunogola ebyawandiikibwa ebiwerako ebiraga ddi era kyawandiikibwa ki empologoma y’ekika kya Yuda eriwuluguma:
“Mukama aliwuluguma ng’ayima waggulu, alireeta eddoboozi lye …” (Yeremiya 25:30-31).
“Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng’empologoma …” (Koseya 11:10).
“Awo Mukama aliwuluguma ng’ayima e sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng’ayima e Yerusaalemi …” (Yoweri 3:15-17).
Mu Kubikkulirwa 10:7 tulina ekirango; mu Kubikkulirwa 11:15 tulina okutuukirizibwa, omuntu yenna asoma n’obwegendereza alitegeera nti nti mu kiseera ekyo ky’ennyini, Malayika ow’omusanvu ow’akagombe bw’alifuuwa akagombe ke era n’alangirira obwakabaka bwa Katonda ku nsi, ekyama kya Katonda mu Yesu Kristo, Mukama waffe, kituukirira. “Malayika ow’omusanvu n’afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti Obw’akabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe. N’abakadde amakumi abiri mu bana, abatula mu maaso ga Katonda ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka, ne bavuunama amaaso gaabwe, ne basinza Katonda, nga boogera nti Tukwebaza, gwe Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna, abaawo era eyabaawo; kubanga otutte amaanyi go mangi n’ofuga.” (Okubikkulirwa 11:15-17).
Yali nsobi y’amagombe okuvunuula eddoboozi lya Malayika w’omusanvu mu Kubikkulirwa 10:7 ng’eddoboozi lya Katonda, newakubadde nga tewali kigambo kyayogerwa nti eddoboozi lya Katona oba eddoboozi ly’omubaka w’omulembe gw’ekkanisa y’omusanvu mu lunyiri olwo. Kiri nti Eddoboozi lya Malayika ow’omusanvu ow’akagombe. Ow’oluganda Branham yalina obuyinza okuwa ekyokulabirako eky’ekyawandiikibwa kino eky’obunnabbi mu kw’efaananyiza n’obuweereza bwe. Nga bwe tulabe mu kiseera, n’ebiseera nate, nti ebyawandiikibwa eby’obunnabi bulina enkola ey’ekikula eky’emirundi ebiri. Naye, gerageranya ebigoberera: “Isiraeri ye mwana wange, omubereberye wange…” (Okuva 4:22). “Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu misiri.” (Koseya 11:1). “… ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi ng’agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu misiri.” (Matayo 2:15). Ekigambo ekikulu wano ye “mwana.” ebintu eby’ogerwako eyo mu byonna by’anjawulo, wabula ekyawandiikibwa ky’ekimu mu eky’obunnabbi mu Koseya 11:1 kino kigendera ddala eri bombi.
Ow’oluganda eyalina emyaka kkumi egy’obukulu Ow’oluganda Branham bwe yatwalibwa mu kitiibwa mu 1965 n’ajja n’endowooza oluvannyuma lw’emyaka 20 okulangirira nti eddoboozi ly’ow’Oluganda Branham ly’eddoboozi lya Katonda omuntu yenna ly’alina okuwulirwa mu buntu; n’olwekyo, bonna abakikiriza bakiteekawo nti Ow’oluganda Branham yekka yalina okuwulirwa era nti tewali muntu mulala yenna alina obuyinza okubuulira, olw’amazima nti banogola ebigambo bye byokka awatali kubitwala nate mu byawandiikibwa n’okubiteekamu mu butuufu, basiikibwa ebuziba era ebuziba mu musenyu ogw’amangu okw’okuvunuula okungi okutali kwa byawandiikibwa, kwe bawanika waggulu ennyo okusinga Ekigambo kya Katonda.
Tusseekitiibwa mu buweereza obulungi ennyo, obutalina nsobi obwo Katonda bwe yawa Ow’oluganda Branham buterevu mu kwegatta ku ntegeka ye e y’obulokozi. Abo bonna abazaalibwa Katonda bawulira era ne bakkiriza ekigambo ekyasuubizibwa mu kiseera kyaffe. Naye, mu ngeri ey’enjawulo tetukiriza kuvunuula kwonna okw’ekigambo era mu kubbo ly’erimu, n’okugulumiza omuntu mu ngeri yonna, ekitali kintu kirala kyonna wabula kusinza ebifaananyi. Eddoboozi lya Katonda mu Kigambo kya Katonda kisigalawo mu butaggwaawo bwonna. Okugulumiza n’ekitiibwa biri eri Katonda yekka okuyita mu Yesu Kristo, Mukama waffe!
Kaakano nti okukomawo kwa Kristo kuli kumpi, ensonga zino zirina okulambulurwa era mu butuufu era ne by’omwoyo okuteekebwa mu ntegeka yazo ey’obwakatonda. Enjigiriza zonna ekyamu mu maddiini gonna ag’enjawulo kuvira ddala ku obutategeera era n’okuvunuula mu bukyamu ebyawandiikibwa; mu ngeri y’emu buli omu mu ow’enzikiriza ekyamu mu bo bubaka byagunjibwawo ku lw’okuteeka mu bukyamu ebigambo by’ow’Oluganda Branham. Oba Kigambo kya Katonda oba bubaka nnabbi bwe yaleeta ng’atebulambuluddwa, naye Setaani, omulimba, abadde akyusakyusa Ekigambo kya Katonda okuva ku Lubereberye.
“Era oba nga ngenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi, nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.” (Yokaana 14:3).
Ow’oluganda Branham yagamba: “Waliwo okujja okw’emirundi essatu okwa Kristo. Yajja lumu okununula abagole be. Ajja omulundi oguddako mu kukwakulibwa okutwala omugole we. Ajja nate mu kufuga okw’emyaka lukumi n’omugole we.” (Ekigambo ekyayogerwa y’ensigo eyasooka).
Okujja kwe okw’asooka kw’ogerwako mu njiri enya, okuvira ddala ku kuzaalibwa kwa Mukama waffe era omulokozi okutuusa ku kutwalibwa kwe mu ggulu.
Nga Matayo 25, Mukama waffe ajja ng’anaawasa omugole okutwala omugole we wamu naye mu kitiibwa: “…n’abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey’obugole: oluggi ne luggalwawo.” (Matayo 25:10).
“Laba mbabuulira ekyama tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa, mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak’enkomerero bwe kalivuga: Kubanga kalivuga, n’abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.” (1Abakkolinso 15:39-58).
Mu 1Abasessaloniika 4 Omutume Pawulo naye yawa ebyokulabirako ku ku komawo kwa Yesu Kristo n’alaga ekyo mu bujuvu: “ Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama wafe teltulisooka abeebaka. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’okwogerera waggulu n’eddoboozi lya Malayika omukulu n’ekkondeere lya Katonda: n’abo abaafiira mu Kristo be baalisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: Kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama ne Mukama waffe ennaku zonna.” (vv 13-18).
Omutume Yokaana yawandiika, “Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw ‘alirabi sibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw’ali.” (1Yokaana 3:2)
Buli kujja kwa Mukama kubeera mu mubiri – “parousia”.
Mu 2Abasessaloniika 2:1-2 omutume Pawulo yalabula abakkiriza, ng’agamba, “Naye tubeegayirira, ab’oluganda, olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n’olwokukunggaana kwaffe gy’ali; obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw’omwoyo, newakubadde olw’ebbaluwa efaanana ng’evudde gye tuli …”
Ekitukwatako kwe kukomawo kwa Mukama waffe omwaagalwa n’okulabula buterevu okw’aweebwa gye tuli fenna okukwata ku kukomawo kwe okw’okubiri: “Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng’ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.” (2Yokaana 1:7). Mangu ddala oluvannyuma lwa kino tusoma ekyawandiikibwa eky’amaanyi, “Buli muntu ayitirira natabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina kitaffe era n’omwana.” (v. 9)
Okuggaana kw’okukomawo kw’omubiri okwa Mukama waffe era omulokozi kye kisinga obubi era kiteekebwa mu luse lwe lumu ng’omulabe wa Kristo; n’olwekyo, mangu ddala kigobererwa n’okulabula okuddako: “Omuntu yenna bw’ajjanga gye muli n’ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga…” (v. 10). Mugezese emyoyo; mugezese abayigirizwa n’enjigiriza yaabwe!
Okunogola okw’ow’Oluganda Branham: “Kaakano, tutunulidde mu maaso olw’okujja kwa Mukama mu mulembe gwaffe … okukomawo kwa Mukama Yesu mu mubiri Okutwala abantu abalabibwa mu mubiri, abaaweebwa ekitiibwa mu n’omusaayi gwe ogw’abanaza.” (Okwegatta okutalabibwa okw’omugole wa Kristo, omwezi gw’ekkumi n’ogumu 25, 1965).
Omuntu yenna aggaana okukomawo kw’omubiri okwa Yesu Kristo aba afuggibwa n’owoyo gw’omulabe wa Kristo. Kino nakyo kigenda eri abo abateeka omwoyo ku kukomawo okw’okubiri era nga bayigiriza nti Mukama y’ajja dda. Baazibibwa amaaso n’obutayagala kuyigirizibwa era ng’abeteeka bennyini waggulu w’ekigambo kya Katonda. Ku kukomawo kwa Yesu Kristo, buli kintu kijja kubeerawo mazima ddala nga bwe kyawandiikibwa, ekyokulabirako: “Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw’atyo nga bwe mumulabye nga agenda mu ggulu.” (Lukka 24:50; Ebikolwa by’abatume 1:11). Tulina okusa ekitiibwa mu kino, kubanga BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA mu Kigambo kye.
Mu ngeri y’emu, ebyawandiikibwa byonna ebyogera ku kujja okw’enjawulo, ebitakwatagana n’akkanisa, n’okukwakulibwa, birina okwogerwa mu butuufu bw’abyo. Tumanyi nti okukomawo kwa Mukama waffe, ekyokulabirako okukwakulibwa, kubeerawo ng’ebibonyoobonyo ebinene tebinnatuka. Ow’oluganda Branham yakiddinggaana emirundi mingi. Pawulo yawandiikira abakkiriza: “Kubanga esuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey’okwenyumiriza, bwe mutaba mmwe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe?!” (1Abasessaloniika 2:19)
Wakyaliwo okujja okulala okwa Mukama waffe okutakwatagana na kkanisa kwogerwako mu byawandiikibwa eby’enjawulo, ekyokulabirako, mu Matayo 25, okuva ku lunyiriri lwa 31: “Naye Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw’alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye …” mu 2Abasessaloniika 1:7-8 tusoma, “ … mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab’obuyinza bwe, mu muliro ogwaka ng’awalana eggwanga …” ebyokulabirako ebirala bisangibwa mu kubikkulirwa 16:15-16 n’okubikkulirwa 19, okuva ku lunyiriri 11. kyetagisa okuwa ekyokulabirako eky’endagaano enkadde okumanya amazima ddala kye bategeeza era n’ekyawandiikibwa bwe kiri.
Ebikwata ku kujja kwa Mukama waffe mu Matayo 24:29-30? “Naye amangu ago, oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo eky’omu nnaku ezo, enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n’emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n’amaanyi ag’omu ggulu galinyeenyezebwa: awo lwe kalirabika akabonero ak’Omwana w’omuntu mu ggulu: n’ebika byonna eby’omu nsi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w’omuntu ng’ajja ku bire eby’eggulu n’amaanyi n’ekiitibwa ekinene.”
Ekyawandiikibwa tekyogera ku kujja kw’anaawasa omugole, wabula ku kujja kw’Omwana w’omuntu oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, enjuba ng’efuuse kizikiza era nga n’omwezi tegulyolesa musana gwagwo. Okujja kuno kugwa mu kiseera ky’akabonero ak’omukaaga (Okubikkulirwa 6 okuva ku lunyiriri 12). Okubikkulirwa 1:7 n’akyo kijjulira ku ekyo: “Laba, ajja n’ebire; era buli liiso lirimulaba, n’abo abaamufumita; n’ebika byonna eby’omu nsi birimukibira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.”
“… era balitunuulira nze gwe baafumita …” (Zekkaliya 12:9-10).
“Ne ndaba mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajja omu eyafaanana ng’omwana w’omuntu n’ebire eby’omuggulu, n’ajjira ddala eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge. N’aweebwa okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi, bamuweerezenga: okufuga kwe kwe kufuga okw’emirembe gyonna okutaliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwe butalizikirizibwa.” (Danyeri 7:13-14).
Okubikkulirwa 11, okuva ku lunyiriri 15, kyongera okutunyoonyoola: “Malayika ow’omusanvu n’afuuwa; ne wabaawo amaloboozi amanene mu ggulu, nga boogera nti obwakabaka bw’ensi bufuuse bwa Mukama waffe, era bwa Kristo we: era anaafuganga emirembe n’emirembe.”
Mu kyawandiikibwa kino tusoma ku malayika ow’omusanvu ow’akagombe, ayogerwako mu Kubikkulirwa 10:7. Mu mwezi gw’okusatu 17, 1963, Ow’oluganda Branham yagamba bino ebigoberera mu kuwa ekyokulabirako ku kyawandiikibwa kino mu kubuulira kwe okw’enjiri “The Breach…”: “Siri kukikola waggulu ekyo … bwe kiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Nja kusoma gye muli okuyita mu kitabo: ‘*Naye mu nnaku z’edoboozi lya Malayika ow’omusanvu* bw’alifuuwa akagombe, ekyama kya Katonda kiri tuukirira, nga bwe yakilangirira eri abaddu be bannabbi.’” BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA WA Ow’oluganda Branham talina era tayinza kukwatibwako. Mu bigambo by’ebimu yatuwa okulambulurwa kuno ku kikwata ku Malayika ow’omusanvu ow’akagombe era n’ekikolwa eky’okukka wansi nga Malayika ow’endagaano: “Era obubonero bwe bw’abembulwa era ebyama ne bibikkulwa, wansi n’ewajja Malayika, omubaka, Kristo, ng’atadde ebigere bye ku nsi era ne ku nnyanja ne musoke ku mutwe gwe. Kaakano, jjukira, Malayika ono ow’omusanvu ali ku nsi mu kiseera ky’okujja kuno.”